KATONDA ALINA OBUBAKA OBW'ENJAWULO OBW'OMU NNAKU ZAFFE ZINO?

Ramoni Umashankar yazaalibwa nga wa mu kika kya Brahmin. Bakadde be ng'akyali muto baamuyigiriza nti yali katonda era okukakasa obwa katonda bwe yalina okukola emikolo egy'okufumiitiriza n'okwefuga egy'aba Hindu egiyitibwa Yoga. Naye bwe yali awezezza emyaka kkumi, Romani yatandika okwewuunya obanga mu mazima ddala yali asobola okuzuula Katonda okuyita mu kusinza ebifaananyi eby'enjawulo ebyali mu ssabo ly'aba Hindu.

Romani yatandika okwetegereza Bayibuli era n'ebyo Kristo bye yeeyita. Bulijjo yali assaamu ekitiibwa Yesu olw'obuwombeefu bwe, naye mu kiseera kino Romani yakitegeera nti Yesu ono yali yeeyita Omwana wa Katonda yekka. Era n'akyetegereza nti Abakristayo bangi baalina emirembe ye egyamulema okufuna okuyita mu myaka emingi egy'okufumitiriza. Naye, era Romani yali mumalirivu okuzuula amazima okuva mu ddiini ye ey'aba Hindu.

Naye bwe yalaba olutambi olw'ebifaananyi eby'obulamu bwa Yesu Kristo. Nga gwe mulundi gwe ogusooka okukakasa nti Yesu yatuusibwako okubonaabona awamu n'okutya ng'omuntu. Emabegako yalowoozanga nti Yesu yakozesa amaanyi ge agataali ga buntu okwejjako obulumi obw'okukomererwa, naye mu kiseera kino, yali tasobola kunnyonnyola musaalaba. Yeewuunya nti: Yesu yayita atya mu kubonaabona okulinga okwo - ku lw'abantu aboonoonyi?

Romani bwe yali yeeyongera okufumitiriza ku kufa kwa Kristo, kyamuyitirirako olw'okulagibwa okwagala okulinga okwo. Yasalawo okulekayo ekitiibwa kye kye yayagalanga eky'obwa Brahmin era n'akyusa obulamu bwe eri Yesu Omulokozi. Ng'agerageranya okwagala kwa Kristo okw'okwewaayo, Romani yagamba nti. "Buli kintu kyonna ekirala kyafuuka butundutundu obutaliimu."

Omuvubuka ono omuto Brahmin yazuula amazima amakulu ag'obukristayo; Yesu, Omulokozi w'ensi.

1. DDIINI KI EROKOLA?

Yesu ly'ekkubo, - ekkubo lyokka - ery'obulokozi.

"So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola." - Bikolwa 4:12.

Bayibuli ekiyigiriza bulungi nti twabulira mu kibi kyaffe, era bwe tutyo tufugibwa empeera y'ekibi-okufa (Abaruumi 6:23). Bonna baayonoona (Abaruumi 3:23), bwe kityo bonna baali ba kufa. Yesu ye yekka obw'omu yekka - y'ayinza okutulokola okuva mu kusingibwa omusango ogw'ekibi.

"Buli muntu yenna alaba omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutagwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunakku olw'enkomerero." -Yokana 6:40.

Waliwo eddiini emu ey'amazima:

"Mukama waffe ali omu, OKUKKIRIZA KUMU, n'okubatiza kumu." - Abeefeso 4:5.

2. KATONDA ALINA OBUBAKA OBW'ENJAWULO OLW'ABAKRISTAYO AB'OMU KISEERA EKY'ENKOMERERO?

Kituufu ddala abulina OBUBAKA buno obw'emirundi esatu balabikira mu Kubikkulirwa 14:6-16. Okulangirirwa kw'obubaka obwaweebwa ba malayika bano abasatu enkomerero yaabwo kwe kujja kwa Kristo omulundi ogw'okubiri (ennyiriri 14-16).

(1) OBUBAKA BWA MALAYIKA ASOOKA.
"N'endaba malayika (omubaka) omulala ng'abuuka wakati mu ggulu ng'alina enjiri ey'emirembe n'emirembe, okubuulira abatuula ku nsi na buli ggwanga n'ekika n'olulimi n'abantu, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky'omusango gwe kituuse; mumusinze eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ensulo ez'amazzi." - Kubikkulirwa 14:6,7.

Newankubadde ebyawandiikibwa biraga obubaka buno okuyita mu bubonero bwa bamalayika abasatu mu butuufu abantu ba Katonda be babaka abatwala obubaka okubuulira mu nsi. Tebabuulira njiri mpya eri ensi yonna, mu buli ggwanga, n'ekika, n'olulimi n'abantu, naye "enjiri ey'emirembe n'emirembe." "Enjiri ey'emirembe n'emirembe" eya Yesu ye njiri yemu ey'obulokozi eyo abantu ab'omu biseera eby'Endagaano Enkadde gye baafuna "olw'okukkiriza" (Abebbulaniya 3:16-19; 4:2; 11:1-40); enjigiriza Yesu yennyini gye yalangirira; enjiri eyo y'emu Abatume gye baabulira ne basobola okukyusa ensi ku lwa Kristo, enjiri eyo y'emu ezze ng'eyita mu byasa by'emirembe eby'emirembe egy'Abakristayo.

Enjiri ennyangu, enjiri erokola eya Yesu Kristo, yabulako katono okuggwaawo okuva mu kaanisa okumala emyaka nga lukumi mu kiseera eky'ekizikiza (Dark ages), naye ekiseera eky'okuzza ekkanisa obuggya (reformation) kyagizza buggya, era abantu ba Katonda gye babuulira mu kiseera kino okwetooloola ensi yonna. Malayika asooka alangirira enjiri eno y'emu, naye abuwa mu nteekateeka empya - entekateeka ya nsi yonna-eri abantu abagibeerako nga Yesu tannaba kudda ku nsi omulundi ogw'okubiri.

Eri abo abakkiriza obubaka buno beesanga nga bayitiddwa "okutya Katonda era n'okumuwa ekitiibwa (okulaga ekifaanannyi eky'empisa ze)." Balaga ensi empisa za Katonda ez'okwagala, si mu bigambo byabwe byokka, naye era ne mu bulamu bwabwe obw'obujjulirwa obw'amaanyi. Balaga ensi ekifaananyi ekisanyusa eky'ebyo Katonda ky'asobola okukola okuyita mu bantu abajjuzibbwa Omwoyo wa Kristo.

Obubaka buno obw'abamalayika abasatu bwa kubuulirwa ddi okwetoloola ensi yonna? "Ekiseeera eky'omusango gwa Katonda nga kituuse." Omulagirizi owe 13 annyonnyola nti Yesu yatandika omulimu gwe ogw'okusala omusango nga tannadda mu 1844. Mu mwaka 1844, Yesu yalung'amya abantu, okwetoloola ensi yonna okutandika okubuulira obubaka obwa Kubikkulirwa 14.

Obubaka buno butuyita "okusinza oyo eyakola eggulu n'ensi" (Kubikkulirwa 14:7). Katonda atusaba "okujjukira olunaku olwa Ssabbiiti nga tulukuuma nga lutukuvu" Kubanga "mu nnaku omukaaga MUKAMA yakola eggulu n'ensi" (Kuva 20:8-11). Mu mwaka 1844 Darwin bwe yali assaawo etteeka erya (evolution) ebintu okwebezesaawo byokka awatali Katonda. Katonda naye yali ayita abantu okuddamu okumusinza ng'Omutonzi. Mu kiseera kino kyennyini abo abaali babuulira obubaka obwa bamalayika abasatu bakizuula nti olunaku olw'omusaanvu ye Ssabbiiti eri mu kigambo kya Katonda era ne batandika okugikuuma nga bassaamu ekitiibwa Katonda omutonzi w'eggulu n'ensi.

(2) OBUBAKA BWA MALAYIKA OW'OKUBIRI.
"Ne malayika omulala ow'okubiri n'agoberera, ng'ayogera nti Kigudde, kigudde Babuloni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge ogw'obusuungu bw'obwenzi bwakyo." - Kubikkulirwa 14:8.

Malayika ow'okubiri alabula nti, "Babuloni ekinene kigudde." Kubikkulirwa 17 annyonnyola "Babuloni" ow'Omwoyo - Obukristaayo obwakyama - ng'omukazi omwenzi (olunnyiriri 5). Ayimiridde nga tafaanana omukazi omulongoofu ow'a kubikkulirwa 12, akabonero ak'ekkanisa ey'abakristaayo ey'amazima. Omukazi ayimiriddewo nga Babuloni omukazi eyaggwa eyanywesa amawanga gonna ku mwenge ogutamiiza ogw'obwenzi bwe. Omwenge gw'enjigiriza enkyamu gusasaaniddde enkola yonna ey'obwenzi bw'obukristayo. Obubaka bwa malayika ow'okubiri buyita abantu ba Katonda bonna, okugaana enjigiriza ez'abakristaayo obw'akyama.

Babuloni kitegeza okutabukatabuka okw'enjigiriza nnyingi ez'obukristayo obwakyama. Babuloni wa kabi ekyenkanidde awo kubanga ayoonoona ekifaananyi kya Katonda n'akivumisa: Alaga Katonda ng'omuwoolezi w'eggwanga era abanja. Babuloni alaga Katonda ng'alinga jjajja w'abaana anyiiganyiga era awoomerwa okubonyaabonya omuntu yenna olw'ekibi. Ekkanisa ennamu ejja kuwa ekifaananyi ekitufu eky'ekitiibwa kya Katonda era erage engeri obutuukirivu bwa Katonda era n'ekisa kye eby'egasse ne biraga nti Katonda kwagala.

Katonda ayita abantu "Okufuluma" Babuloni (Kubikkulirwa 18:4) kwe kugaana enjigiriza ezitali za Bayibuli era n'okugoberera enjigiriza ya Kristo.

(3) OBUBAKA BWA MALAYIKA OW'OKUSATU.
"Ne malayika omulala ow'okusatu n'agoberera, ng'ayogera n'eddoboozi ddene nti omuntu yenna bw'asinza ensolo n'ekifaananyi kyayo, era bw'akkiriza enkovu ku kyennyi kye, oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge ogw'obusuungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky'obusuungu bwe; era alibonyaabonyezebwa mu muliro n'ekibiriti mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g'Omwana gw'endiga; n'omukka ogw'okubonyaabonnyezebwa kwabwe gunnyooka emirembe n'emirembe, so tebalina kuwummula emisana n'ekiro abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo na buli akkiriza enkovu y'erinnya lyayo. Awo we wali okugumikiriza kw'abatukuvu, abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu." - Kubikkulirwa 14:9-12.

Obubaka bwa malayika ow'okusatu bugabanya ensi yonna mu bitundu bibiri. Oludda olumu luyimiriddeko abakristayo abaakyama "abasinza ensolo n'ekifaananyi kyayo era abalina akabonero k'ensolo mu byenyi byabwe oba ne ku mikono gyabwe." Ate ku ludda olulala kuliko abo abagaana obuyinza obw'ensolo, "abatukuvu abagondera amateeka ga Katonda era ne basigala nga beesigwa eri Yesu."

Nsaba weetegereze enjawulo wakati w'ebibiina bino byombi ebitakkirizigannya. Abo abalina akabonero k'ensolo, abo be bantu abasinza bekkiriranya, abagooberera ebirowoozo n'emikolo ebyagunjibwa abantu. "N'abatukuvu" balina empisa ezibawuula: "Bagumikiriza" bakwata "amateeka ga Katonda" ate ne "basigala nga beesigwa eri Yesu."

Ng'obubaka buno obw'emirundi esatu bumaze okusaasanyizibwa okwetooloola ensi yonna. Yesu ajja kujja "okukunguula" abanunule:

"N'endaba, era laba, ekire ekyeru, ne ku kire ne ndaba atuddeko yali afaanana ng'Omwana w'Omuntu, ngalina ku mutwe gwe engule eya Zzaabu, ne mu mukono gwe ekiwabyo eky'obwogi. Ne malayika omulala n'ava mu Yeekaalu, ng'ayogera waggulu n'eddoboozi ddene ng'agamba oyo atudde ku kire nti teekako ekiwabyo kyo, okungule kubanga ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa by'ensi kikaze. N'oyo atudde ku kire n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'ensi n'ekungulibwa." - Kubikkulirwa 14:14-16.

3. EKKANISA YA KRISTO EY'ENNAKU EZ'ENKOMERERO

Wali wewunyiizako omukristayo ow'amaanyi, omuteefu, eyeewaddeyo, omugumikiriza era alina okukkiriza, era ne weegomba okubeera n'obulamu obw'Omwoyo obufaanana ng'obwo? Katonda yatuwa obubaka bwe obw'enjawulo obw'ekiseera kyaffe obuli mu Kubikkulirwa 14, kubanga busobola okutuleeta obulamu ng'obwo.

Nga bwe kyanyonnyolwa mu Mulagirizi owa 25, Kubikkulirwa 12:17 alaga abakristayo ab'omu nnaku z'enkomerero nga bebo "abagondera amateeka ga Katonda era ne banywerera ku kutegeeza kwa Yesu." Kubikkulirwa 14:12 annyonnyola ekibiina kino kyekimu nti "abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda era ne basigala nga beesigwa eri Yesu."

Mu bufuunze leka tulabe empisa z'abakristayo ab'omu kiseera eky'enkomerero.

(1) "BANYWERERA KU KUTEGEEZA KWA YESU." N'ewankubadde Setaani aggulawo obusungu bwe okubalwannyisa, "basigala nga beesigwa eri Yesu." Okukkiriza kwabwe si be bakwekolera, kye kirabo okuva eri Katonda (Abefeeso 2:8). Ekkanisa ya Katonda ey'omu kiseera eky'enkomerero Kristo baamulaba bulungi nnyo, era balaba bulungi nnyo empisa ze ez'amazima era olw'ekisa kya Katonda okuyita mu kukkiriza bafuuka ennyumba ennamu, omuli amaanyi era Kristo mwatuula.
(2) "BALINA OKUKKIRIZA KWA KRISTO" (Kubikkulirwa 14:12). Okukkiriza Kristo kwe yalina, okukkiriza kwe yayigiriza, okukkiriza kwe yali nakwo, mu kiseera kino kujjuza emitima gyabwe. Tebaalina bubeezi mazima kyokka, naye amazima "bagakuuma" bagoberera amazima. Gye bali eddiini efuuka bulamu bwabwe, Okukkiriza kwegatta mu bikolwa, era okukkiriza ne kwegatta wamu n'obuwulize. Ne babeera "n'okukkiriza kwa Yesu." Baazuula enjigiriza enkulu eza Bayibuli ne baziteeka mu nkola mu bulamu bwabwe obwa buli lunaku, era ne zivaammu obulamu obukristayo obw'amaanyi. Baakizuula nti amazima ga Bayibuli gano amakulu gazuukusa okwagala, era galeeta okwewaayo eri Kristo ekyo n'ekimatiza buli kyetaago kyonna era n'okuwankawanka kwonna okw'omu mutima gw'omuntu.
(3) "BAGONDERA AMATEEKA GA KATONDA" - Amateeka ekkumi, amateeka ag'empisa za KATONDA. Ekisinga ebirala byonna obukulu kye beettanira kwe kugondera okwagala kwa Katonda kyonna, buli kiragiro kyonna ekya Katonda. Balaga okwagala kwabwe eri Katonda n'okwagala kwabwe eri abantu olw'okugooberera amateeka ga Katonda gonna, nga omwo mw'otwalidde n'etteeka ery'okuna eritulagira okusinza omutonzi waffe nga tussaamu ekitiibwa Saturday, olunaku olw'omusaanvu olwa Ssabbiiti.
(4) BATWALA OBUBAKA "OBW'ENJIRI EY'EMIREMBE N'EMIREMBE" OKWETOOLOOLA ENSI YONNA (Kubikkulirwa 14:6). Enjiri egamba nti Yesu yafa olw'ebibi byaffe, era yazuukira okuva mu ntaana bwe kityo tusobole okufuna okussa ekimu naye. Ekkanisa ya Kristo ey'omu kiseera eky'enkomerero babadde bayita abantu bonna buli wantu wonna okuva mu kutabukatabuka kw'eddiini era bafune okussa ekimu ne Yesu okwesigamizibwa ku mazima agali mu Bayibuli gokka.
(5) "BAWALIRIZIBWA OBUKULU BW'OKUMANYA" Nti kubanga "ekiseera eky'okukunguliramu kituuse, kubanga ebikungulwa by'ensi byengedde" (Kubikkulirwa 14:15), naye ate obukadde n'obukadde bw'abantu tebannaba kuzuula Kristo.
(6) BAWALIRIZIBWA OLW'OMULIMU GWA KATONDA WAABWE GWE YABATUMA. Kubanga Babuloni ekinene kigudde, abantu bano basaasanya amawulire eri abo abakyali mu kutabukatabuka kw'eddiini agagamba nti "Mukifulumemu mmwe abantu bange" (Kubikulirwa 18:4). Baagala nnyo okugabana n'abantu abalala bonna enkolagana yaabwe ey'ekitalo, n'essanyu lyabwe, lye baafuna okuva ku Kristo.

Bino byonna, awamu n'ebirala bingi bigatta wamu emitima gy'abantu obukadde n'obukadde Abakristaayo mu nnaku ez'enkomerero abaayitibwa obubaka obwa bamalayika abasatu. Obulamu bwabwe obujjudde essanyu bubakulembera okwegatta ku mutume Yokana okwongera okutwala mu maaso okuyita kuno nti:

"Kye twalaba ne tuwulira, kye tubabuulira nammwe, nammwe mulyoke musse ekimu naffe; era naye okussa ekimu kwaffe kuli mu Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo; n'ebyo tubiwandiike ffe, essanyu lyaffe liryoke lituukirire." - 1 Yokanna 1:3,4.

Okuyita mu Mwoyo we, era n'okuyita mu kkanisa ye, naawe Yesu akuyita ojje oweeyo byonna gy'ali;

"Era Omwoyo n'omugole (ekkanisa) boogera nti: Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa." - Kubikkulirwa 22:17.

4. AMAKUNGULA AG'EMIRUNDI EBIRI

Obubaka obwa bamalayika abasatu bukkomekkerezebwa n'okudda kwa Yesu ku nsi okukungula abanunule bonna ekiseera kyonna (Kubikkulirwa 14:14-16). Yesu wakukung'anya abantu abanunule bonna era n'abatwala mu nnyumba ye erimu "ebifo ebingi mu ggulu" (Yokana 14:1-3). Ajja kumalawo ekibi, endwadde, okubonaabona, n'okufa emirembe gyonna (Kubikkulirwa 21:1-4).

Mu kujja kwe omulundi ogw'okubiri Yesu ajja "kukungula" n'ababi. Agamba bwati!

"Ne malayika omulala n'ava mu yeekaalu ey'omu ggulu, naye ng'alina ekiwabyo eky'obwogi, ng'ayogera nti Teekako ekiwabyo kyo eky'obwogi, onoge ebirimba by'omuzabbibu gw'ensi; kubanga ezabbibbu zaagwo zeengeredde ddala; Ne malayika n'asuula ekiwabyo kye ku nsi, n'anoga omuzabbibbu gw'ensi, n'asuula mu ssogolero eddene ery'obusungu bwa Katonda. N'essogorero ne lirinnyirirwa ebweru w'ekibuga, n'omusaayi ne guva mu ssogolero, n'okuutuuka ku nkoba z'embalaasi, n'okutuuka amabanga lukumi mu lukaaga." - Kubikkulirwa 14:17-20.

Kino kijja kubeera kiseera kya nnaku eky'okuzikirira okw'enkomerero, ekiseeera eky'okunakuwala eri Yesu kubanga ateekwa okuzikiriza abo abaagaana okununulibwa. Yesu "akugumikiriza nga tayagala wabeewo azikirira, wabula bonna beenenye" (2 Peter 3:9).

Yesu bw'anajja okunoga amakungula ag'ensi gwe onoobera mu makungula ki? Onooyimirira awamu ne bikungulwa eby'engedde eby'anunulibwa emirembe gyonna (Kubikkulirwa 14:13-16)? Oba olibeera ku mizabbibu egyengedde egy'obusungu egy'abantu abaabula (ennyiriri 17-20)?

Ensonga eno etegeerekeka bulungi ku ludda olumu, Yesu ayimiridde ng'agolodde emikono gye egyakomererwa n'emisumaali ng'akyakuyita oyimirire awamu "n'abatukuvu abakwata ebiragiro bya Katonda n'okukkiriza kwa Yesu" (olunnyiriri olwe 12). Ate ku ludda olulala ge maloboozi ag'abantu obuntu nga gakuyita nga gagamba nti okugondera Bayibuli yonna awamu n'okukwata ebiragiro bya Katonda ekyo si kikulu.

Ekibiina ky'abantu abaali mu kisenge kya Pirato kye yasalirangamu emisango baatuuka ku nsonga y'emu efaananira ddala n'eno. Ku ludda olumu waaliyo Yesu, Katonda Omuntu ate omuntu Katonda. Ku ludda olulala waaliyo Balabba, omuntu atasobola kweyamba yadde okuyamba abo abaali batunuulira ebyali bigenda mu maaso. Naye ate ebigambo eby'ekiragiro ebya Pirato ne biwulirwa okuyita mu kibiina ky'abantu ab'enjawulo nga bigamba nti "ku abo bombi aluwa gwe mwagala mbasumululire?" Mu busungu obungi, amaloboozi gaava mu kibiina ky'abantu ne gaddamu nti; "Balabba."

Olwo nate Pirato n'abuuza nti "Nnaakola ntya Yesu ayitibwa Kristo?"

N'eddoboozi limu ery'omwanguka ne boogerera waggulu nti! "Akomererwe." Bwekityo Yesu, ataalina musango na'komererwa; era Balabba, eyalina omusango n'ateebwa. (soma Matayo 27:20-26.)

Gwe onoolonda ani olwa leero, Balabba oba Yesu? Onoloondawo okugoberera ebirowoozo ebyagungibwa abantu ebiwakanya n'enjigiriza z'amateeka ga Katonda era ebiwakanya n'enjiri ey'emirembe n'emirembe eya Yesu? Oba oyagala okukwata ebiragiro bya Katonda era n'okubeera omwesigwa eri Yesu? Jjukira nti Yesu ye yatusuubiza okutuweereza Omwoyo Omutukuvu okumalawo obuzibu bwaffe bwonna, era n'okutuwonya okweralikirira kwonna, era n'okumatiza okuwankawanka kwo kwonna.


copyright © 2002 The Voice of Prophecy