NSOBOLA
OKUZUULA EKKANISA YA KATONDA MU KISEERA KINO?
Katonda
ebiseera ebimu awa obubaka obw'enjawulo olw'obwetaavu obw'emirembe egy'enjawulo:
Yawa obubaka obw'okuyamba Adamu ne Kaawa
ng'ekibi kimaze okujja okwonoona ensi yaabwe, yawa obubaka eri ensi
eyali mu buzibu obw'amataba; n'obubaka eri Isiraeri Abasuuli oba Aba
Babuloni bwe baali nga babalumba. Yesu yajja n'obubaka obw'enjawulo
obw'omulembe gwe era Katonda alangiridde obubaka obw'enjawulo olw'ekiseera
kyaffe kino. Essuula eya 12 ne 14 ez'omu kitabo kya Kubikkulirwa zituwa
obubaka bwa Katonda obw'enjawulo obw'omu kiseera kino mu bufunze. Mu
Mulagirizi owa zuula ono n'oyo ajja okuddirira, tujja kutunuulira obubaka
obwo.
1.
EKKANISA YATEEKEBWAWO YESU
Obulamu
n'okuyigiriza kwa Yesu byateekawo obwegaffu obw'okukkiriza era n'oluganda
olw'okumpi mu kkanisa y'Abatume gye yateekawo. Abatume baatekawo enkolagana
ey'oluganda egenda ewala ne Kristo eyazuukira. Omutume Paulo yawa ekifaananyi
eky'oluganda olwo, ng'alugerageranya n'enkolagana ey'obufumbo obw'omwami
n'omukyala we:
"Kubanga
mbakwatirwa obuggya bwa Katonda: kubanga nnabafumbiza bbammwe omu, ndyoke
mbaleete eri Kristo nga omuwala omulongoofu." - 2 Abakkolinso 11:2.
Okusinziira
ku mutume Paulo, ekkanisa y'Abakristayo ye mukazi omulongoofu, omugole
omusajja ye Yesu, akabonero akatuufu ak'ekkanisa ye gy'ayagala.
Mu
Ndagaano Enkadde ekifaananyi kyekimu ekyakozesebwa ku Israeri, abantu
ba Katonda abalonde. Katonda yayogera eri Israeri nti: "Ng'omugole
omukyala wanjagala" (Yeremiya 2:2) "kubanga nze bbammwe"
(Yeremiya 3:14).
Ekitabo
kya Kubikkulirwa nakyo kyogera ku kkanisa ng'omukazi:
"Akabonero
akanene akewuunyisa ne kalabika mu ggulu, omukazi ng'ayambadde enjuba,
n'omwezi nga guli wansi w'ebigere bye, ne ku mutwe gwe (nga guliko)
engule ey'emmunyeenye kkumi na bbiri; era ng'ali lubuto n'akaaba ng'alumwa
era ng'abalagalwa okuzaala." - Kubikkulirwa 12:1.
(1)
OMUKAZI "AYAMBADDE ENJUBA": Kino kitegeeza ekkanisa emasamasa
ng'enjuba, kubanga eyambaziddwa n'ekitiibwa kya Kristo. Yesu gwe "musana
gw'ensi" (Yokana 8:12), amasamasa ng' ayita mu bantu b'ekkanisa
ye era nabo ne bafuuka "omusana ogw'ensi" (Mayato 5:14).
(2) OMUKAZI ALINA "OMWEZI WANSI W'EBIGERE BYE": Omwezi
kitegeeza ekifanaanyi ky'omusana ogw'enjiri okuyita mu Ssaddaaka ne
mikolo egy'abantu ba Katonda mu Ndagaano Enkadde. Omwezi okubeera "wansi
w'ebigere bye" kitegeeza ekimyanso eky'omusana ogw'enjiri okujjibwawo
olw'okuwereza kwa Kristo.
(3) OMUKAZI ALINA "ENGULE EKKUMI N'EBBIRI KU MUTWE GWE":
Emmunyeenye kitegeeza Abatume ekkumi n'ababiri, abasajja abeesigwa abaawa
obujulirwa bwabwe ku Yesu obukyayaka n'okutuusa ekiseera kino.
Mu
ngeri etegerekeka, enyinnyonnyola ey'omukazi ono, eraga nti Omutume
Yokana mu birowoozo ajja ekifaananyi ky'abantu ba Katonda Isiraeli mu
Ndagaano Enkadde okukizza ku kkanisa ey'omu Ndagaano Empya, eyo Yesu
gye yateekawo. Enjuba, omwezi, era n'emmunyeenye bya kukuwereza olw'okwasa
omusana okw'ekkanisa y'Abakristayo, mu kubunyisa Amawulire Amalungi.
2.
OMUZANNYO OGW'OKUWANGULWA KWA SETAANI
Okuyingira
kw'omukazi kutuwa entandikwa ey'omuzannyo omunene:
"Yali
lubuto, ng'alumwa, n'aleekaana mu bulumi obw'okuzaala. Ekyewunyisa ekirala
ne kirabika ku ggulu; ne wabaawo ogusota ogunene ogumyufu, nga gulina
emitwe musanvu, n'amayembe kkumi, nga ku buli mutwe kuliko engule. Omukira
gwagwo ne guwalula ekitundu ekimu eky'okusatu eky'memunyeenye ez'oku
ggulu, ne gikisuula ku nsi. Ogusota ne guyimirira mu maaso g'omukazi
eyali okumpi okuzaala, gulyoke gumire omwana we. Omukazi n'azaala omwana
ow'obulenzi, agenda okufuga amawanga gonna, ng'alina omuggo ogw'ekyuma.
Kyokka omwana we n'atwalibwa eri Katonda, n'eri entebe ye ey'Obwakabaka."
- Kubikkulirwa 12:2-5.
Abantu
basatu abakulu abeenyigira mu muzannyo guno:
(1) OMUKAZI, oyo twamaze dda okumulaga nga y'ekkanisa ya Katonda.
(2) OMWANA OW'OBULENZI eyazaalibwa omukazi ono, "nakwakkulibwa
n'atwalibwa eri Katonda n'eri entebe ye." Yesu ye mwana yekka eyali
azaaliddwa ku nsi kuno eyatwalibwa mu ggulu eri entebe ye era olunaku
lumu agenda kufuga amawanga gonna.
(3) OGUSOTA, gutegeeza omulabe oba Setaani.
"Olwo
ne wabaawo olutalo mu ggulu. Mikaeri ne bamalayika be ne balwanyisa
ogusota nagwo ne gubalwanyisa ne bamalayika baagwo. Naye ogusota ne
guwangulwa. Gwo ne bamalayika baagwo, ne batakkirizibwa kwongera kusigala
mu ggulu. OGUSOTA OGWO OGUNENE GWE GUSOTA OGW'EDDA, OGUYITIIBWA OMUBI
ERA SETAANI, alimbalimba ensi zonna, ne gusuulibwa ku nsi, awamu ne
bamalayika baagwo." - Kubikkulirwa 12:7-9.
Kati
ekifaananyi kitegeerekeka, kasita tutegeera amakulu ag'obubonero obwo.
Setaani ne bamalayika be bwe baafiirwa ekifo kyabwe mu ggulu "baasuulibwa
ku nsi." Yesu bwe yazaalibwa mu nsi eno Setaani yagezaako okutta
Yesu, omwana ow'obulenzi, nga yakajja azaalibwe. Setaani yalemwa, era
Yesu yatwalibwa mu ggulu eri entebe ya Katonda.
Sitaani
n'atandika okuzikiriza ekkanisa y'Abakristayo Yesu gye yateekawo. Omutume
Yokana, eyawandiika ekitabo kya Kubikkulirwa, yalaba ekifananyi eky'olutalo
olunene wakati wa Kristo ne Sitaani nga lulwanibwa ku nsi eno. Ng'olutalo
ku ntikko yaalwo, ku kukomererwa kwa Kristo, Yokana yawulira eddoboozi
nga lifuluma mu ggulu nti:
"Kaakano
Katonda waffe atulokodde. Alaze amaanyi ge, n'Obwakabaka bwe, n'obuyinza
bwe, n'obuyinza bwa Kristo we kubanga oyo alonkoma baganda baffe, n'abaloopa
emisana n'ekiro mu maaso ga Katonda waffe, agobeddwa mu ggulu."
- Kubikkulirwa 12:10. (Gerageranya ne Yokana 12:31 ne
Luka 10:18.)
Yesu
yawangula Sitaani okuwangula kakuuse ku musaalaba. Era Yesu n'anyweeza
obukakafu bw'enteekateeka "ey'obulokozi" era n'awa amaanyi
olw'okuziyizanga obulimba bwa Sitaani. "Obwakabaka bwa Katonda"
bwanywezebwa, "n'obuyinza" bwa Kristo okubeera Kabona waffe
asinga obukulu era Kabaka waffe byakakasibwa.
"Kaakano
obulokozi buzze" kirangirira nti ekikolwa eky'entikko eky'ebyafaayo
kimaze okujja. Okuzaalibwa kwa Kristo, Omulokozi w'ensi, kumaze okubeerawo
(Olunyiriri 5). Awamu n'okukemebwa ebikemo ebikambwe ebya Setaani, Yesu
yalina obulamu obutaliiko kibi, yafa era n'azuukira ng'awangudde ekibi
awamu n'okufa (Olunyiriri 10). Setaani yawangulwa emirembe gyonna (Olunyiriri
7-9). Omusaalaba gwazimbulukuka mu maanyi gaagwo amajjuvu.
Ekirangiriro
kino nti "Kaakano obulokozi buzze" tekyasanyusa Yokana yekka
naye kyasanyusa ne ggulu lyonna:
"Kale
musanyuke mmwe eggulu n'abalirimu. Naye mmwe ensi n'ennyanja zibasanze!
Kubanga Setaani asse gye muli ng'alina obusungu bungi, ng'amanyi nti
alina akaseera katono." - Kubikkulirwa 12:12.
Eggulu
lyonna lyajaguza olw'obuwanguzi bwa Yesu. Kristo yazikiriza okukaayana
kwonna Sitaani kwe yandikaayanidde ekifo kyonna mu ggulu, era Sitaani
ono eyawangulwa emirembe gyonna n'afiirwa okukaayana kw'akaayanira ensi
yaffe eno.
3.
EKKANISA Y'ABAKRISTAYO MU LUTALO NE SETAANI
Nga
Yesu tannaba kulinnya mu ggulu yateekawo ekkanisa y'Abakristayo (eragiddwa
mu kabonero ak'omukazi). Okufa kwa Yesu ku musaalaba kwawa amaanyi ekkanisa
y'Abakristayo okuwangula Sitaani.
"Nabo
(ekkanisa y'Abakristayo) baamuwangula olw'omusaayi gw'Omwana gw'Endiga,
n'olw'ekigambo eky'okutegeeza kwabwe, ne batayagala bulamu bwabwe okutuusa
okufa." - Kubikkulirwa 12:11.
Mu
kiseera kino Kristo asobola okuwa amaanyi ge, ekkanisa ye ng'ebyo bye
bibala ebyava mu kuwangula kwe. Ku musaalaba Kristo yawangulira ddala
Setaani era mu kiseera kino yeeyongera okumuwangula okuyita mu kkanisa
ye. Obubonero busatu obulaga ekkanisa empanguzi okuyita mu myaka egiyise
egy'omulembe ogw'obukristayo.
(1) "NABO BAAMUWANGULA (SITAANI) OLW'OMUSAAYI GW'OMWANA GW'ENDIGA."
Yesu yatwalibwa mu ggulu ku ntebe ya Katonda, bw'atyo asobole okukozesa
omusaayi gwe ku bulamu bw'abagoberezi be. Yesu asobola okutunaazako
ebibi byaffe, n'atulokola okuyita mu musaayi gwe ogwayiika (1 Yokana
1:7), era atuwa amaanyi aga buli lunaku okubeera n'obulamu obukristayo
obulungi.
(2) "NE BAWAAYO OBULAMU BWABWE, N'OKUTUUKA NE KU KUFA."
"Omusaayi gw'omwana gw'Endiga" gwa bawa obumalirivu okwewaayo
okufa olw'omulimu gwa Kristo, "tebadduka kuva mu kufa." Olw'okubanga
Katonda yabonaabona kinene, bwe kityo n'Abakristayo abajulizi nabo baali
bamalirivu okubonaabona n'okufa. N'abaana nabo beewaayo. Olugero lwogera
ku mukyala omuzadde Omukristayo eyasuulibwa mu kisaawe mu mpologoma
mu Ruumi kubanga yagondera Kristo n'atagondera ggwanga. Omwana we omuwala
omuto, mu kifo ky'okudduka entiisa yawulira obuzira okwewaayo n'ayingira
mu nda. Empologoma bwe yalumba nnyina omuwala yayimirira n'agamba nti
"Nange ndi Mukristayo." Abafuzi Abaruumi baamukwata naye ne
bamusuula mu nsolo ezali zirumwa enjala.
(3)
"NABO BAMUWANGULA (SETAANI) N'OLW'EKIGAMBO EKY'OKUTEGEEZA KWABWE."
Si lwa bigambo bya mumwa bumwa naye olw'ebigambo eby'obujulirwa bwabwe
- obujulirwa obw'obulamu bwabwe, obujulirwa obulaga amaanyi ga Yesu
awamu n'ag'enjiri ye. Mu kiseera eky'ekizikiza ekyasingira ddala obubbi,
eky'omu Mulembe ogw'obukristayo, - okuva ku mulembe ogwa bakitaffe abasooka,
n'okutuuka ku Bazza b'Ekkanisa obuggya, eggye ly'Abakristayo - baawangula
obulabe obubi Sitaani bwe yasobola okubateekako, okuyita mu bujulirwa
obw'amaanyi obw'obulamu bwabwe.
Kubikkulirwa
12:11, akuba ekifaananyi ekkanisa empanguzi ng'ejjudde abawanguzi, ng'Abatume,
Abajjulizi, Abazza b'Ekkanisa obuggya era n'Abakristayo abalala abeesigwa.
Ekisa kyabwe, obwesigwa bwabwe, obuzira bwabwe era n'obuwanguzi bwabwe
bibadde biwulikika mu byasa byonna eby'emyaka ne bukyusa ensi.
Okuva
nga Sitaani bwe yalemererwa okuzikiriza Yesu bwe yali ng'ali ku nsi,
mu kiseera kino anoonya okuzikiriza Kristo ali mu kkanisa ye.
"Ogusota
bwe gwalaba nga gusuuliddwa ku nsi, ne guyigganya omukazi eyazaala (omwana)
ow'obulenzi. Omukazi n'aweebwa ebiwawaatiro bibiri eby'empungu ennene,
alyoke abuuke okutuuka mu ddungu mu kifo kye, gy'alisizibwa ekiseera
n'ebiseera n'ekitundu eky'ekiseera, mu maaso g'ogusota. N'ogusota ne
guwandula mu kamwa kaagwo ennyuma w'omukazi amazzi ag'omugga, gulyoke
gumutwaze omugga. Ensi n'ebeera omukazi, ensi n'eyasamya akamwa kaayo,
n'enywa omugga ogusota gwe gwawandula mu kamwa kaagwo." - Kubikkulirwa
12:13-16.
Mu
butuufu ddala nga bwe kyalangibwa, mu kiseera eky'ekizikiza (Dark Ages)
eky'omulembe Omukristayo, Sitaani yaweereza "omugga" ogw'okuyiganyizibwa
okujjawo ekkanisa okugitwaza "amazzi ag'omugga." Sitaani ayagala
okuzikiriza ettutumu lya Kristo olw'okusaanyawo ekkanisa ye era akozesa
obutego bwonna amagezi ge amabi gasobole okukola. Ogusota gutegeeza
Sitaani. Naye tukirabye nti Sitaani ku mulimu gwe akozesa ebitongole
eby'abantu okulumba abantu ba Katonda. Yakozesa Kabaka omuruumi Kerode
okugezaako okutta omwana Yesu amangu ago nga yakajja azalibwe. Sitaani
yakola ng'ayita mu mpaka ez'obuggya eza bannaddiini okulemesa era n'okuteganya
omulokozi, n'ekyenkomerero n'okumusalira omusango, ogw'okukomererwa
ku musaalaba. Naye obwalabika ng'obuwanguzi bwa Sitaani bwavaamu obuwanguzi
obusingira ddala obukulu obwa Kristo.
Ng'ajjudde
obusungu olw'okuwangulwa kwe ku musaalaba, Sitaani obusungu bwe yabukyusiza
eri ekkanisa eyo Kristo gye yatekawo. Mu makumi g'emyaka egyaddirira
okukomererwa kwa Kristo, enkumi n'enkumi z'abantu baafiira mu bisaawe
ebinene eby'emizannyo eby'e Ruuma; mu bifo ebigazi, mu makkati g'ebibuga
ebinene, mu makomera, era ne mu bifo ebyekwekeebwamu eby'omu malungu.
Ku
luberyeberye obufuzi obw'ensi bwe bwatandikiriza okuyigganya kuno, naye
nga Abatume bamaze okufa, obukyufu obw'ekimpowooze bwasensera mu kkanisa.
Mu kyasa eky'okubiri, eky'okusatu n'ekyokuna, abantu bangi abaali mu
kkanisa baatandika okukyusa mu mazima ga Kristo n'Abatume be ge baayigiriza.
Abakulembeze abamu abakyamu batandika n'okuyigganya Abakristayo abo
abaguggubira ku bulungi eby'enzikiriza ez'Endagaano Empya.
Abayizi
b'ebyafaayo bateebereza nti abantu abeesigwa abawera obukadde 50 baazikirizibwa.
Mu kufuba kwe okunnyika ekkanisa n'okugizikiriza Setaani yaweereza "omugga"
ogw'okugiyigganya alyoke agitwaze omugga. Naye ensi n'eyamba omukazi
"n'enywa omugga" ogw'okuyigganyizibwa era n'ogwenjigiriza
enkyamu.
Mu
kiseera ky'okuyigganyizibwa eky'emyaka egy'omu massekkaati (1100-1500)
ekkanisa ey'amazima yabula okuva ku bakulembeze abawaba era ne yeekweka
"mu ddungu mu kifo kye ekyateekebwateekebwa Katonda balyoke bamulisizenga
eyo ennaku lukumi mu bibiri mu nkaga" (Olunyiri 6). Obunnabbi bwo
bwatuukirira mu kiseera eky'emyaka 1260 egy'okuyigganyizibwa egyatandika
nga AD 538 okutuusa 1798. (Olunaku olumu lutegeeza omwaka gumu mu bunnabbi
bwa Bayibuli. Soma Ezek. 4:6).
Mu
byasa by'emyaka gino eby'ekizikiza, Abakristayo abakkiriza mu Bayibuli
baanoonyanga obuddukiro buli gye baali basobola okubusanga; eky'okulabirako,
ebiwonvu bya Waldensian mu buggwanjuba bwa Italy ne mu buvanjuba bwa
Bufransa, ne mu kkanisa ya Celtic eya British Isles.
4.
EKKANISA YA KATONDA MU KISEERA KYAFFE
Kino
kitutuusa mu kiseera kyaffe kino kyetulimu. Eky'ekkanisa ya Kristo ey'amazima
okuva mu mwaka 1798. Nga bwe kiteekwa okusuubirwa, ogusota gukyalina
obusungu eri abantu ba Katonda, olutalo olunene olutalabika lukyagenda
mu maaso. Mu butuufu Setaani ajja kukola olulumba olusingira ddala obunene
eri ekkanisa nga Kristo anatera okudda.
"Ogusota
(ye Setaani) ne gusunguwalira omukazi (ekkanisa ya Katonda) ne gugenda
okulwana n'abomu zzadde lye abasigalawo abo abakwata ebiragiro bya Katonda,
era abalina okutegeeza kwa Yesu." - Kubikkulirwa 12:17.
Obunnabbi
buno bwogera ku kiseera kyaffe. Setaani anyiize; alwana entalo n'abaasigalawo
ab'omu zzadde ly'omukazi - Abantu ba Katonda ab'omu kiseera kino, nsaba
weetegereze obubonero bwabwe obubaawula:
(1)
ABAKKIRIZA BANO AB'OMU NNAKU EZ'ENKOMERERO "BANYWERERA KU KUTEGEEZA
KWA YESU." N'obwesigwa banywerera ku njigiriza entuufu ey'ekigambo
kya Katonda, bawa obujulirwa ku lwa Yesu okuyita mu maanyi ag'obulamu
obw'Obukristayo.
(2) ABAKRISTAYO BANO AB'OMU KISEERA EKY'ENKOMERERO BANTU ABALINA
OBUNNABBI. Olw'okufuna Omwoyo ogw'obunnabbi Yokana yasobola okuwandiika
ekitabo kya Kubikkulirwa (Kubikkulilrwa 1:1-3). Ekibiina eky'enkomerero
eky'abakkiriza bafuna ekirabo kyekimu: obujjulirwa obw'obunnabbi obuva
obutereevu eri Katonda okuyita mu mubaka ali ku nsi. Ekirabo kyabwe
eky'obunnabbi kyogera ku kubikkulwa kwa Katonda okw'omulimu gwabwe era
ne ku nkomerero yabwe ey'oluvannyuma.
(3) ABAKRISTAYO BANO AB'OMUNNAKU EZ'ENKOMERERO ERA BALINA AKABONERO
AKABAWULA "NGA NABO BEEBO ABAKUUMA AMATEEKA GA KATONDA."
Tebalwanirira bulwanirizi bwesigwa bwa mateeka ga Katonda, naye era
bagagondera. Okwagala kwa Katonda nga kuli mu mitima gyabwe kuvaamu
essanyu ery'obuwulize (Abaruumi 5:5; 13:8-10).
Abakristayo
bano ab'omu nnaku ez'enkomerero bagoberera eky'okulabirako kya Kristo
era n'eky'ekkanisa eyasooka eky'okugondera amateeka ga Katonda. Kino
kyekiviiramu ddala ogusota okubakyawa - Setaani okubakyawa. Setaani
alwanyisa abaasigalawo: ab'omu zadde ly'omukazi, kubanga bawa obujjulirwa
obulaga nti okwagala kwa Katonda kuvaamu Abatume abamugondera. Nga Yesu
bw'atulagira nti:
"Obanga
munjagala munaakwatanga ebiragiro byange." - Yokana 14:15.
Obulamu
obw'abakristayo ab'omu nnaku ez'enkomerero bulaga nti kisoboka okwagala
Katonda mu mitima, n'okwagala bantu bannaffe nga bwe beeyagala bokka.
Okusinziira ku Yesu, empisa zino, okwagala Katonda awamu n'okwagala
abantu abalala Amateeka ga Katonda ekkumi mwegasinziira (Matayo 22:35-40).
Etteeka
ery'okuna ku mateeka ga Katonda litusaba okukuuma Saturday, olunaku
olw'omusanvu mu wiiki, nga ye Ssabbiiti. Okuva ng'okwagala kwa Yesu
bwe kwayingiza amateeka gonna ekkumi mu mitima gyabwe, Abakristayo bano
ab'omu nnaku ez'enkomerero bakuumi ba Ssabbiiti.
Ssabbiiti
eri mu mutima gw'obubaka bwa Katonda obukomererayo eri abantu be obuli
mu Kubikkulirwa, mu ssuula eye 12 ne mu 14:6-15. Obugagga bwonna obw'eggulu
buteekeddwatekeddwa Abakristayo ab'omu nnaku ez'enkomerero bunnyonnyolebwa
mu ssuula ezo waggulu. Omulokozi omulamu ye mukwano gwabwe owa buli
kiseera, era Omwoyo Omutukuvu akola "okubazzaamu amaanyi mu muntu
ow'omu nda." Ekisuubizo kikakafu nti: Bagenda kuwangula Setaani
olw'omusaayi ogw'omwana gw'endiga n'olwekigambo eky'okutegeeza kwabwe
(Kubikkulirwa 12:11).
Naawe
oyagala okubeera omu ku Bakristayo bano ab'omu nnaku ez'enkomerero,
"abagondera Amateeka ga Katonda: era abalina obujjulirwa bwa Yesu"
Lwaki naawe mu kiseera kino kyennyini tomalirira?