OMUNTU BW'AFA KIKI EKIDDIRIRA?

Twesisiwala omwana bw'asooka okubuuza nti, "Kitegeeza ki okufa?" tutya okwogera oba okuloowoza ku muntu gwe twagala ng'afa. Okufa mulabe wa buljjo ow'abantu buli wantu.

Eby'okuddamu ki bye tulina ku bibuuzo ebizibu ebikwata ku kufa? Ng'omuntu amaze okufa waliwo obulamu? Tuliddayo nate okulaba abaagalwa baffe?

1. OKWANG'ANGA OKUFA AWATALI KUTYA

Ffena ekiseera ekimu, mpozi oluvannyuma olw'okufiirwa ow'omukwano, oba omwagalwa wo, tuwulira obutaliimu, n'ennaku n'etukwata, nga tutunuulira enkomerero y'obulamu.

Mu nsonga eno enkulu bw'etyo, ejjudde okutya, tusobola kufuna wa amazima agakwata ku bintu ebibaawo nga tumaze okufa. Eky'omukisa omulungi, ekitundu ku mulimu gwa Kristo ku nsi eno gwali "okuwa eddembe abo bonna abaali abaddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa ey'okufa" (Abebbulaniya 2:15). Era mu Bayibuli Yesu atuwa obubaka obutugumya, era n'eby'okuddamu ebitegerekeka ku bibuuzo byaffe byonna ebikwata ku kufa era ne ku bulamu obw'omu maaso.

2. KATONDA YATUTONDA ATYA?

Nga tunoonya okutegeera amazima gennyini agakwata ku kufa (okuva mu Bayibuli) ka tutandikire ku Luberyeberye era tulabe engeri Omutonzi gye yatutondamu.

"MUKAMA Katonda n'abumba omuntu N'ENFUUFU Y'ENSI, n'amufuuwamu mu nnyindo OMUKKA OMULAMU, omukka omulamu." - Luberyeberye 2:7.

Ku kutondebwa, Katonda yabumba Adamu okuva "mu nfuufu ey'oku nsi." Mu mutwe gwe mwalimu obwongo nga bweteeseteese okulowooza, omusaayi mu misuwa gye nga gweteeseteese okukulukuta. Katonda bwe yafuuwa mu nnyindo ze "omukka ogw'obulamu," Adamu n'afuuka omuntu (Lwebbulaniya Omwoyo omulamu). Wetegereze Bayibuli tegamba nti Adamu n'afuna Omwoyo, naye egamba nti "Omuntu n'afuuka omukka omulamu." Katonda bwe yafuuwa mu Adamu omukka, obulamu bwatandika okukulukuta okuva ewa Katonda. Obwegaffu bw'omubiri awamu "n'omukka ogw'obulamu" byafuula Adamu ''omuntu omulamu," "omwoyo omulamu." N'olw'ekyo tusobola okuwandiikwa nti omuntu yenkanankana bwati:

"Enfuufu ey'ensi" bw'ogattako ''Omukka ogw'obulamu" tufunamu "omuntu omulamu."

"Omubiri ogutalimu bulamu" bw'ogattako "omukka okuva ewa Katonda" tufuuna "omuntu omulamu."

Buli kinoomu kuffe, buli muntu alina omubiri era n'ebirowoozo. Gye tukoma okussa omukka, tubeera omuntu omulamu oba Omwoyo omulamu.

3. KIKI EKIBEERAWO OMUNTU BW'AFA?

Okufa kye kiggyawo ekikolwa eky'okutonda nga bwe kinnyonyoddwa mu Luberyeberye 2:7.

"Enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali OMWOYO (OMUKKA GW'OBULAMU) ne gudda eri Katonda eyaguwa." - Mubulizi 12:7.

Oluusi Bayibuli ekozesa ekigambo eky'olwebbulaniya Omwoyo mu kifo ky'omukka. Abantu bwe bafa, emibiri gyabwe gifuuka "nfuufu" era Omwoyo (omukka ogw'obulamu) gudda eri Katonda ensibuko yagwo. Naye kiki ekibeerawo ku Mwoyo agamba bwati:

"Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera MUKAMA Katonda… Laba EMYOYO GYONNA gyange; OMWOYO OGUKOLA EKIBI GWE GULIFA." - Ezekeri 18:3-4.

Omwoyo gufa! Mu kiseera kino tegulina bulamu butaggwawo - gusobola okuzikirira.

Enkola yaffe eyagiddwa mu Luberyeberye 2:7, ey'engeri Katonda gye yatutondamu evaawo mu kufa bw'eti:

"Enfuufu y'ensi" bw'ogiggyako - "Omukka ogw'obulamu" ofunamu "Omwoyo omufu."
"Omubiri ogutalina bulamu" bw'oguggyako "omukka gwa Katonda" "ofunamu omuntu omufu."

Okufa kwe kuggyawo obulamu. Omubiri guvundira mu ttaka era omukka oba Omwoyo gudda eri Katonda. Nga tuli mu bulamu tubeera Omwoyo omulamu, naye mu kufa tubeera mulambo, Omwoyo omufu, oba omuntu omufu. N'olw'ekyo abafa tebategeera.Katonda aggya mu ffe omukka ogw'obulamu ogwo gwe yatuwa, emyoyo gyaffe ne gifa. Naye tujja kweyongera okulaba oluvannyuma mu ky'okuyiga kino nti, nga tuli ne Yesu wabeerawo essuubi.

4. OMUNTU AMAZE OKUFA ATEGEERA KYENKANA WA?

Nga tumaze okufa obwongo buvunda tebusobola kutegeera yadde okujjukira ekintu kyonna. Embeera z'omuntu zonna zikoma ku kufa.

"Okwagala kwabwe n'okukyawa kwabwe n'obuggya bwabwe, bizikiridde kaakano." - Mubuulizi 9:6.

Abafu tebategeera n'olw'ekyo tebalina kye bamanyi mu ebyo ebibeerawo. Tebalina nkolagana yonna n'abantu abalamu.

"Kubanga abalamu bamanyi nga balifa, NAYE ABAFU TEBALIKO KYE BAMANYI." - Mubuulizi 9:5.

Okufa kufaananyizibwa n'otulo okutaliimu birooto - mu butuufu, Bayibuli eyita okufa "okwebaka" emirundi 54. Yesu yayigiriza Abatume be nti:

"Mukwano gwaffe LAZAARO YEEBASE, wabula ng'enda okumuzukusa." Abayigirizwa be ne bamugamba nti, Mukama waffe, oba nga yeebase, anaazuukuka. Naye Yesu yayogera ku kufa kwa Lazzaro naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka tulo. Awo Yesu n'alyoka ababulira lwatu nti LAZAARO AFUDDE." - Yokana 11:11-14.

Nga Yesu tannatuuka Lazaaro yali yafa dda ennaku nnya eziyiseewo. Naye Yesu bwe yagenda ku ntaana ye, yakikakasa nti kyangu nnyo eri Katonda okuzuukiza omufu nga kifaanana ng'omuntu bw'ozuuukusa mukwano gwe eyeebase. Kibasanyusa nnyo okumanya nti mikwano gyaffe abafudde baba "beebase" bawumudde mu mirembe mu Kristo. Ekkubo ery'okufa eryo ffe kennyini lye tugenda okuyitamu olunaku olumu, lifaanana ekifo eky'akasirise eky'emirembe eky'okwebaka.

5. KATONDA YEERABIRA ABANTU ABO ABEEBASE MU KUFA?

Okwebaka mu kufa si y'enkomerero ya byonna. Ku ntaana, Yesu yagamba Maliza mwanyina Lazaalo nti:

"NZE KUZUUKIRA era nze bulamu, ANZIKIRIZA NE BW'AFA ALIBA MULAMU." - Yokana 11:25.

Abo abafiira "mu Kristo" beebase mu ntaana - naye bakyalina ekiseera ekitangaavu eky'omu maaso... oyo abala buli luviri oluli ku mitwe gyaffe era atuwanniridde mu bibatu by'emikono gye tagenda kutwabuulira. Tukyasobola okufa era ne tufuuka enfuufu, naye obuwandiike bwaffe obwa buli kinnomu busigala bulungi mu birowoozo bya Katonda. Era Yesu bw'anajja, ajja kuzuukiza abatukuvu abafu okubaggya mu tulo twabwe, mu ngeri y'emu nga bwe yakola Lazaaro.

"Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, EBY'ABO ABEEBAKA, MULEMENGA OKUNAKUWALA, ERA NG'ABALALA ABATALINA SSUUBI. Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era ne Katonda alireetea bw'atyo abeebaka ku bwa Kristo wamu naye… kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya Malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda, n'abo ABAFIIRA MU KRISTO BE BALISOOKA OKUZUUKIRA, NAFE ABALAMU ABASIGALAWO NE TULYOKA TUTWALIBWA WAMU NABO mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga, kale bwe tutyo tunabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna. KALE MUSANYUSAGANENGA MWEKKA NA MWEKKA N'EBIGAMBO BINO." - 1 Abassesolonika 4:13, 16-18.

Ku lunaku olw'okuzuukira ekinnya eky'okufa kigenda kufaanana ng'akaseera akatono ak'okuwummula. Abafu tebalina kye bamanyi ku buwanvu bw'ekiseera ekiyitawo nga bali mu ntaana. Abo abakkiriza Kristo nga ye mulokozi waabwe, bagenda kuzuukusibwa mu tulo n'eddoboozi lye ery'ekitalo ng'akka ku nsi.

Essuubi ery'okuzuukira ligendera wamu n'ebintu ebirala bingi essubi ery'amaka ag'omu ggulu eyo Katonda "gy'alisangulira buli zziga okuva mu maaso gaabwe. Tegenda kubeerawo nate kufa yadde okunakuwala oba okukaaba" (Kubikkulirwa 21:4). Abo abaagala Katonda tebateekwa kutya kufa. Emitala wakwo, eriyo obulamu obujjuvu obw'emirembe n'emirembe nga tuli wamu ne Katonda. Yesu y'alina "ebisumuluzo eby'okufa" (Kubikkulirwa 1:18). Awatali Kristo, okufa kufuuka oluguudo olw'ekkubo erimu erikoma mu kuzikirira, naye nga tuli wamu ne Kristo waliwo essuubi ery'obulamu erimasamasa.

6. MU KISEERA KINO TETUFA?

Katonda bwe yatonda Adamu ne Kaawa yabatonda nga basobola okufa, baali bafugibwa okufa. Singa baasigala nga bawulize eri Katonda by'ayagala tebandifudde. Naye bwe baayoonoona, omukisa gwabwe eri obulamu ne bagufiirwa. Olw'obutagonda bafuuka abafugibwa okufa. Ekibi kyabwe kyayoonoona olulyo lw'omuntu lwonna era olw'okubanga bonna baayoonoona, ffena tufa, tufugibwa kufa, (Abaruumi 5:12). Era tewali katundu konna mu Bayibuli akagamba nti Omwoyo gw'omuntu gusigala nga gukyategeera oluvannyuma lw'okufa.

Yadde omulundi ogumu Bayibuli tennyonnyolangako nti Omwoyo mu kiseera kino tegufa - ekitegeeza nti tegufugibwa kufa, Ekigambo "emmemme," oba "Omwoyo," oba "Obulamu," mu luyonaani n'olwebbulaniya kirabika emirundi 1,700 mu Bayibuli. Naye tewali mulundi na gumu wekyogerwako nti "Omwoyo," oba "Obulamu" eby'omuntu tebifa. Mu kiseera kino kyetulimu Katonda yekka y'alina obulamu obutafa.

"Katonda ALINA OBUTAFA YEKKA." - 1 Timosewo 6:15,16.

Ebyawandiikibwa byogera bulungi nti abantu mu bulamu buno bafa: bafugibwa kufa. Naye Yesu bw'anadda, obuzaalliranwa bwaffe bujja kukyusibwa.

"Laba, mbabulira ekyama; TETULYEBAKA FFENNA, naye ffenna TULIFUUSIBWA mangu ago, nga kutemya kikowe AKAGOMBE AK'ENKOMERERO bwe kalivuga; kubanga kalivuga n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifusibwa. Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda N'OGUFA GUNO OKWAMBALA OBUTAFA." - 1 Abakkolinso 15:51-53.

Ng'abantu, mu kiseera kino tufa. Naye obukakafu bw'abakristayo buli nti tulifuna obulamu obutafa Yesu bw'anakomawo omulundi ogw'okubiri. Obukakafu obw'ekisuubizo eky'obulamu obutafa kyalagibwa Yesu bwe yazuukira okuva mu ntaana era:

"EYAGGYAWO OKUFA N'ALEETA OBULAMU OBUTAGGWAAWO, ng'ayita mu Mawulire Amalungi." - 2 Timosewo 1:10.

Ebigendererwa bya Katonda ku nkomerero y'omuntu bitegeerekeka bulungi: Kufuna okuzikirira okw'emirembe n'emirembe eri abo abagaanye okukkiriza Kristo n'okuguggubbira ku bibi byabwe, oba kufuna kirabo eky'obulamu obutafa (obutaggwaawo) eri abo abakkiriza Kristo nga Mukama era omulokozi waabwe, mu kujja kwe omulundi ogw'okubiri.

7. NGA TUTUUSE KU KUFA KW'ABAGALWA BAFFE

Okutya kwe tulwana nakwo nga tutunuulidde okufa kubeera kunene naddala ng'abagalwa baffe bafudde. Okusigala obw'omu n'okufiirwa bisobola okuyitirira. Ekintu kyokka ekimalawo obulumi buno obuva mu kwawukana n'abagalwa baffe kwe kugumizibwa Kristo kw'atuwa kwokka. Jjukira nti omwagalwa wo yeebase era omwagalwa wo eyeebakidde mu Kristo agenda kuzuukira "mu kuzuukira okw'obulamu" Yesu bw'anajja.

Katonda atuteekeraateekera okuddamu okusisinkana n'abagalwa baffe okw'ekyewuunyo. Abaana bagenda kuddizibwa eri bazadde baabwe abajjudde essanyu. Abasajja abafumboo ne bakazi baabwe bagenda kuggwang'ana mu bifuba. Okwawukanyizibwa mu bulamu okukambwe kuliba nga kuweddewo. "Okufa kumiriddwa mu kuwangula" (1 Abakkolinso 15:54).

Abantu abamu okwawukanyizibwa n'abagalwa baabwe kibaluma nnyo ekigenda ewala, ne bagezaako okukolagana n'abagalwa baabwe okuyita mu basamira emizimu oba okuyita mu nkola eya New Age. Bayibuli etulabulira ddala obutagezaako kukendeeza obulumi obw'okufa mu kkubo lino.

"Era bwe babagambanga nti mubuuze abo abaliko emizimu n'abafumu, abalira ng'ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekiriggwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by'abalamu bandibibuuzizza bafu?" - Isaya 8:19.

Mu butuufu ddala lwaki tugaanibwa? Bayibuli etulaze butereevu nti abafu tebategeera. Engeri yokka ey'okumalawo obulumi obuva mu kwawukana n'abagalwa baffe kwe kugumizibwa Kristo kw'atuwa kwokka. Okubeera ne Kristo n'okwogera naye mu kusaba ly'ekkubo erisingira ddala obulungi okuyita mu kiseera eky'ennaku. Bulijjo jjukiranga, okutegeera okulikuddirira eri ababeebase mu Kristo kugenda okubeerawoolw'amaloboozi ag'okujja kwa Kristo omulundi ogw'okubiri okuzuukiza abafu.

8. OKWANG'ANGA OKUFA AWATALI KUTYA

Okufa kutuggyako kumpi buli kintu. Naye ekintu kimu kyokka kye kutasobola kutuggyako ye Kristo, era Kristo y'asobola okutuddiza buli kintu ekiseera kyonna. Okufa tekugenda kufuga ku nsi eno. Setani, ababi, okufa, era n'amagombe bigenda kuzikirira mu "nnyanja ey'omuliro," "kwe kufa okw'okubiri" (Kubikkulirwa 20:14).

Bino by'ebirowoozo ebina ebyangu ebikusobozesa okwang'anga okufa awatali kutya:
(1) Beera n'obulamu obulimu essuubi mu kwesiga Kristo, olwo ojja kubeera omweteefuteefu okufa ekiseera kyonna.
(2) Okuyita mu maanyi ag'Omwoyo Omutukuvu, beera muwulize eri Amateeka ga Kristo, era ojja kuba nga weteeseteese olw'obulamu obugenda okujja eyo etagenda kubeera kufa.
(3) Lowooza ku kufa nga okwebaka okw'akaseera akatono omwo eddoboozi lya Yesu mwe lirikuzuukusa mu kujja kwe omulundi ogw'okubiri.
(4) Sanyukira obukakafu Yesu bw'atuwa obw'amaka ag'omu ggulu nga tuli wamu naye emirembe gyonna.

Amazima ga Bayibuli gasumulula omuntu obutatya kufa kubanga gatulaga Yesu, oyo yadde okuffa gwe kutasobola kuwangula. Yesu oyo bw'ajja mu bulamu bwaffe, ajjuza obulamu bwaffe emirembe.

"Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa…. Omutima gwammwe tegweralikiriranga so temutyanga." -Yokana 14:27.

Yesu era atusobozesa okugumira obuzibu obw'okufiirrwa abagalwa baffe. Yesu yayita mu "Kiwonvu eky'okuffa"; amanyi ennaku ez'ekizikiza zetuyitamu.

"Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini bw'atyo yagatta ebyo; OLW'OKUFA alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa ye Setaani; - era ALYOKE ABAWE EDDEMBE ABO BONNA ABALI MU BUDDU OBULAMU BWABWE BWONNA OLW'ENTISA EY'OKUFA." - Abebbulaniya 2:14,15.

Omusawo, omukulu James Simpson eyatandikawo enkola ey'okusirisa abantu, yatuukibwako okufiirwa okuzibu, omwana we asinga obukulu bwe yafa. Ng'omuzadde bwe yandibadde yanakuwala nnyo. Naye oluvannyuma yazuula ekkubo erimutuusa ku ssuubi. Ku ntaana y'omwana we omwagalwa yateekako ekijjukizo era n'awandiikako ebigambo bino Yesu bye yayogera ebikwata ku kuzuukira kwe. "Naye ndi mulamu."

Ekyo kimalayo byonna ebyogerwa. Obuzibu bw'omuntu ebiseera ebimu buggyawo ebire; naye Yesu mulamu! Emitima gyaffe gisobola okuba nga giggwerera Naye Yesu mulamu!

Mu Kristo tulina essuubi ery'obulamu oluvannyuma lw'okufa. Ye "kwe kuzuukira n'obulamu" (Yokana 11:25). Era atusuubiza nti "kubanga nze ndi mulamu; era nammwe muliba balamu" (Yokana 14:19) Kristo ly'essuubi lyaffe lyokka nga tumaze okufa. Era olwo Kristo bw'anaggya omulundi ogw'okubiri ajja kutuwa obulamu obutafa. Tetugenda kuddayo nate okubeera wansi w'ekisikirize eky'okufa, olw'okubanga tuliba nga tulina obulamu obutaggwaawo. Ggwe omaze okuzuula essuubi lino ekkulu nti tuyinza okusanyukira mu kiseera ekisinga okuba eky'ekizikiza? Oba nga tokkirizanga Yesu okubeera Mukama era Omulokozi wo, onokikola olwa leero?

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy