GEYEENA
KYEKI? ERA ERI LUDDA WA?
Omuyizi
w'essomero omu awatali kufaayo yayingira mu ssomero n'akuba amasasi
era n'atta bayizi banne bangi be yali asoma nabo. Ng'ajjukidde obusungu
omusajja eyali agobeddwa okuva ku mulimu, yayingira mu kifo kye yali
akoleramu n'akuba emmundu mukama we eyali abakulira ku mulimu. Omukyala
omuzadde yateeka abaana be babiri mu motoka n'agisindika mu nnyanja
n'esaanawo.
Abantu
nkumi na nkumi abattibwa mu mikolo egy'okulongoosa egy'ebika ku nsi.
Ensonga ettisa abantu bano z'entalo ez'edda ezimaze emyaka n'ebisiibo
ez'enjawukana wakati w'amawanga. Abasajja, n'abakyala awamu n'abaana
n'amabuje battibwa, basalibwamu, bakubibwa era ne basobezebwako olw'empaka.
Okubonereza
abantu ng'obawa ekibonerezo eky'okufa olw'emisango gino egy'ekikafiiri,
egy'okutugumbula abantu, abantu bangi bakivumirira. Abantu bangi abawakanya
ekibonereza eky'okuttibwa boogerera waggulu nga bakiyita ekikolwa ekitali
kya buntu, "omukolo ogw'ekikafiiri." Beebuuza nti abantu bano
abatta abantu baba bassusse okulokolebwa?
Nkola
ki ey'obuntu esingira ddala obulungi ey'okutta abasingiddwa emisango
egy'obutemu? Kutuula ku ntebbe ey'amasannyalaze? Abantu abamu balowooza
nti okumuyingiza akaayiso akalimu eddagala ery'obutwa ke kataluma nnyo.
Abalala bagamba nti omuntu afa mangu nnyo bw'omutuga obutuzi.
Naye
mu kukubaganya ebirowoozo kuno kwonna okw'okusaasira ku kibonerezo eky'okufa,
naye waliwo okubonaabona okulala okusigaddewo okutafiibwako muntu yenna.
Tewali n'omu awa ekirowoozo nti abatemu abo, abatta obulamu bwa bannabwe
mu bukambwe bateekwa nabo babonyaabonyezebwe mu bulumi nga bookebwa
n'omuliro okutuusa okufa. Tewali n'omu aleeta ekirowoozo nti omutemu
ateekwa ayokebwe mpola okutuusa okufa.
Naye
abakristayo abeesigwa bangi bagamba nti Kitaffe ow'omu ggulu ajja kukola
n'ekisinga ekyo obubi. Bagamba nti; aboonoonyi bateekwa okubonyaabonyezebwa,
basobole okusasula ebibi byabwe.
Ekirala ekisingako awo, balaga ekifaanayi eky'ekifo Katonda w'asalira
omusango okuba ekifo eky'okubonyaabonya okutakoma.
Bwe
kiba bwe kityo olwo bwenkanya ki Katonda bwalina eri ababi? Omusango
gw'okufa kwabwe kuyingira kutya mu butuukirivu ne mu kwagala kwa Katonda?
Leka tunoonye eky'okuddamu mu Bayibuli:
1.
ENNAKU YA YESU ESEMBAYO ESINGIRA DDALA OBUBI
Okumala
emyaka nga 6,000, Katonda abadde nga yeegayirira abasajja n'abakazi
nti:
"Nga
bwe ndi omulamu, bw'ayogera MUKAMA Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira
okufa kw'omubi; wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu."
- Ezeekyeri 33:11.
Omusaalaba
gwa Yesu gwalaga okwagala bwe kwenkana Katonda ky'ayagala okulokola
omuntu. Yesu bwe yakaabira ku musaalaba nti:
"Kitange,
basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola," 'abikkula obulumi obwali
mu mutima gwe (Luka 23:34). Ekyaddirira mu bwangu ddala, n'afa era abantu
abamu bakkiriza nti, yakutuka omutima n'afa (Yokana 19:30,34).
Naye
awamu n'okulaga okwagala kwa Katonda kuno okw'amaanyi abantu tebagenda
kukyukira Yesu. Ekiseera ekibi kye kinamala nga kifuga ensi eno gye
kinaakoma, okugenda nga kyongera ku nnaku y'omuntu. N'olwekyo ekibi
kiteekwa okuzikirizibwa. Katonda ateekateeka atya okukomya ekibi?
"Naye
olunaku lwa Mukama waffe lulijja nga mubbi; eggulu lwe lirivaawo n'olw'okuwuuma
okunene n'ebintu eby'obuwangwa birisaanuuka olw'okwokebwa okungi, N'ENSI
N'EBIKOLWA EBIGIRIMU BIRISIRIKKA." - 2 Petero 3:10.
Eky'enkomerero,
Katonda ateekwa okulongoosa ensi yonna okugiggya mu bubi era ekibi akikomye.
Abantu abo abeesibye ku kibi, ekirivaamu bagenda kuzikirizibwa n'omuliro
ogwo ogwateekerwateekerwa okwokya Setaani ne bamalayika be n'ekibi okukiggya
ku nsi eno. Nga kiriba kiseera kya bulumi eri Yesu okulaba ng'omuliro
gwokya abantu abo be yajja okufiirira abalokole.
2.
GEYEENA ERYAKIRA LUDDAWA ERA MU KISEERA KI?
Kino
kikonagana n'endowooza eri mu bantu abamu, abagamba nti mu kiseera kino
Katonda alina ekifo ekiyitibwa Geyeena ekyaka omuliro abantu aboonoonyi
gye bagenda nga bamaze okufa. Geyeena egenda kubeerawo ensi eno bw'erifuulibwa
ennyanja ey'omuliro. Katonda akyalinze okuwa abantu ababi ekibonerezo
okutuusa ku lunaku olw'omusango ogw'enkomerero ogugenda okubeerawo ku
nkomerero y'emyaka 1,000 (Kubikkulirwa 20:9-15).
"Mukama
waffe amaanyi okulokola abatya Katonda mu kukemebwa, n'okukuuma abatali
batuukirivu okutuusa KU LUNAKU OLW'OKUSALIRWAKO omusango, babonerezebwa."
- 2 Petero 2:9.
Mu
kiseera ky'ekimu alirongoosa ensi yaffe eno n'omuliro ogulongoosa.
"Eggulu
n'ensi ebiriwo kaakano, bikuumibwa okutuusa ku LUNAKU OLW'OKUSALA OMUSANGO
N'OKUZIKIRIZA kw'abantu abatatya Katonda." - 2 Petero 3:7.
Katonda
tateekerateekeranga muntu yenna okukkomekereza obulamu bwe mu nnyanja
ey'omuliro. Naye abantu bwe bagaana okwawuukana ne Setaani era ne beenywereza
ku bibi byabwe, eky'enkomerero bateekwa okufuna ekyo ekiriva mu kulondawo
kwabwe.
"Awo
aligamba n'abo abali ku mukono gwe ogwa kkono nti: muve wo wendi mmwe
abaakolimirwa mugende mu muliro ogutaggwaawo OGWATEEKERWATEEKERWA SETAANI
NE BAMALAYIKA BE." - Matayo 25:41.
Okusinziira
ku njigiriza ya Yesu Geyeena eribaawo ddi?
"Kale
ng'engano ey'omu nsiko bw'ekung'anyizibwa bw'eyookebwa mu muliro; bwe
kityo bwe kiriba KU NKOMERERO Y'ENSI. Omwana w'omuntu alituma bamalayika
be, nabo BALIGGYAMU mu bwakabaka bwe EBINTU BYONNA EBISITTAZA N'ABO
ABAKOLA OBUBI, BALIBASUULA MU KIKOOMI EKY'O MULIRO: mwe muliba okukaaba
amaziga n'okuluma obujiji." - Matayo 13:40-42.
Eng'ano
ey'omu nsiko, abakozi b'obubi, tebagenda kwokebwa okutuusa ng'enkomerero
y'ensi emaze okutuuka. Ng'omusango guno tegunaba kusalibwa, ensi yonna,
n'eggulu biteekwa okumala okukakasibwa nti Katonda yali mwenkanya mu
nkolagana ye na buli muntu. Nga bwe kinnyonnyolwa mu Mulagirizi No.
22, olutalo olunene wakati wa Kristo ne Setaani. Setaani abadde agezako
okukakasa eggulu lyonna n'ensi yonna nti ekkubo ery'ekibi ly'ekkubo
erisingiko obulungi; nga ne Yesu abadde akiraga nti ekkubo ery'obuwuulize
ky'ekisumuluzo ekituusa ku bulamu obumatiza.
Ku
nkomerero y'emyaka 1,000, okulaga kuno kugenda kukomekkerezebwa mu kusala
omusango gwa Setaani, ne bamalayika be, gattako n'abantu aboonoonyi.
Ng'ebitabo bimaze okubikkulibwa ebiraga ekitundu buli muntu kye yakola
mu muzannyo guno omunene, Katonda agenda kusuula Setaani, okufa, amagombe,
awamu n'abo bonna "amannya gaabwe agatasangibwa nga gawandiikiddwa
mu kitabo eky'obulamu
mu nnyanja ey'omuliro" (Kubikkulirwa
20:14-15). Okusinziira ku lunyiriri oluddirira olwa Kubikkulirwa 21:1,
nga Katonda amaze okulongoosa ensi okuva mu kibi n'omuliro, agenda kutonda
"eggulu eriggya n'ensi empya."
3.
GEYEENA EGENDA KUMALA KISEERA KI NG'EYAKA?
Abakkiriza
bangi abalina ekirowoozo ekigamba nti omuliro gwa Geyeena gwa kubeerawo
emirembe gyonna, era ne guvaamu okubonaabona okw'emirembe gyonna. Leka
tutunuulire n'obwegendereza ku kyawandiikibwa ekinnyonnyola engeri Katonda
gy'ayisaamu ekibi n'aboonoonyi:
"Ng'awalana
eggwanga abatamanyi Katonda, n'abo abatagondera njiri ya Mukama waffe
Yesu, ABALIBONEREZEBWA, KWE KUZIKIRIRA EMIREMBE N'EMIREMBE okuva mu
maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge." - 2 Abasessalonika
1:8,9.
Nsaba
weetegereze ekigambo "okuzikirira okw'emirembe n'emirembe."
Amakulu gaakyo si ge gamu n'ekigambo "okubonabona okw'emirembe
gyonna." Mu bwangu, kino kitegeeza ekikolwa eky'okuzikiriza kwakyo
kwa mirembe n'amirembe. Ekikolwa kya kufa mirembe gyonna, Petero yayogera
ku lunaku olw'omusango "n'okuzikirira kw'abantu abatatya Katonda"
(2 Petero 3:7).
Okusinziira
ku Yesu, "Omwoyo n'omubiri, byombi byakuzikirizibwa mu Geyeena"
(Matayo 10:28). Mu kubuulira kwe Yesu ku lusozi, yayogera ku mulyango
omufunda "ogutwala abantu mu bulamu," era ne ku kkubo eggazi
"eritwala abantu mu kuzikirira" (Mataayo 7:13,14). Mu Yokana
3:16, Yesu annyonnyola nti Katonda "yawaayo omwana we omu yekka,"
abo abamukkiriza baleme "okubula, naye babeere n'obulamu obutaggwaawo."
Yesu atulaga enkomerero za mirundi ebiri, obulamu obutaggwaawo oba okuzikirira
- so si okwokebwa emirembe gyonna. Tusobola okukubira nti Geyeena erivaako
okufa era n'okuzikirira kw'ababi eriko ekikomo.
Okuyita mu byawandiikibwa byonna mulimu obubaka obutegeerekeka obulungi
obututegeeza nti ababi balizikirizibwa.
"Naye
ezzadde ly'omubi lirizikirizibwa" (Zabbuli 37:28), "Balizikirizibwa"
(2 Petero 2:12), "Baribula; balibulira ddala mu mukka" (Zabuli
37:20). Omuliro gugenda kubafuula vvu (Malaki 4:1-3). "Empeera
y'ekibi kwe kufa," so si bulamu obutaggwaawo mu muliro gwa Geyeena;
so nga "ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo" (Abaruumi
6:23).
Ekigendererwa
ky'ekibonerezo ekisembayo mu muliro gwa Geyeena kwe kuggyawo ekibi mu
ggulu lyonna n'ensi, so si kukuuma kibi emirembe gyonna. Kizibu ddala
okuteebereza nti Kristo oyo y'omu yakaabira okufa kwa Yerusaalemu eyali
ey'omutawaana era n'asonyiwa abo abaamukomerera okutuusa okufa, yandisobodde
okumala ekiseera kye eky'emirembe n'emirembe ng'atunuulira okubonaabona
kw'abantu abazikirizibwa.
Geyeena
awatali kubuusabuusa aliko enkomerero. Ku nkomerero y'emyaka 1,000,
Katonda agenda kutonyesa omuliro okuva mu bire, era aggyewo Setaani,
ne bamalayika be, era n'abantu ababi abaguggubira mu bibi byabwe. "Omuliro"
ne guva "mu ggulu okukka wansi ne gubazikiriza" (Kubikkulirwa
20:9).
Okusinziira
ku njigiriza ya Yesu, omuliro guno "teguzikira" (Matayo 3:12).
Tewali muntu muzikiriza wa muliro alisobola okuguggyawo okutuusa nga
gumaze okukola omulimu gwagwo ogw'okuzikiriza.
Katonda
asuubiza nti; okuva mu muliro guno ogulongoosa, agenda "kutonda
ensi empya" omwo, "emitawaana egy'oluberyeberye tegirijjukirwa
era nga gyerabiddwa" era nga "so n'eddoboozi ery'okukaaba
nga terikyawulirwa omwo" (Isaaya 65:16-19).
Ng'olunaku
luno luliba lwa kitalo nnyo! Buli kintu kyonna ekireeta okweralikirira
kigenda kuvaawo. Katonda aliggyawo ebiwundu eby'ekibi okuva mu mutima
era olwo essanyu lyaffe liriba lijjuvu.
4.
EKIGAMBO "EMIREMBE N'EMIREMBE" MU BYAWANDIIKIBWA EBITUKUVU
Mu
Matayo 25:41 Yesu ayogera ku "muliro ogutaggwaawo ogwateekerwateekerwa
Setani ne bamalayika be." Ekigambo "ogutaggwaawo" wano
kitegeeza nti Geyeena ya mirembe ne mirembe? Yuda 7 alaga Sodoma ne
Gomola "nga byateekebwawo okuba eky'okulabirako, nga bibonerezebwa
n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo." Kitegeerekeka bulungi nti
ebibuga ebyo tebikyayaka mu kiseera kino. Naye omuliro ogwabyokya GWALI
ogutaggwaawo ekitegeeza nti ekyava mu muliro ogwo kyali ekikolwa eky'enkomeredde.
Mu
2 Petero 2:6, omulundi omulala, nga tuddamu okusoma ku muliro ogutaggwaawo.
Naye mu kyawandiikibwa kino nate kiraga bulungi nti Katonda "bwe
yasirissa ekibuga Sodomu ne Gomola n'abisalira omusango ng'abizikiriza
ng'assaawo eky'okulabirako eri abo abagenda obutatya Katonda."
Abantu abatatya Katonda ab'omu Sodoma ne Gomola tebakyali mu bulumi,
baafuuka dda vvu ebbanga ddene eriyisewo. Naye era omuliro ogwo ogwabookya
gwali "ogutaggwaawo" nga kitegeeza nti ekikolwa ekyavaamu
- kyali okuzikirira okutagenda kuvaawo.
Olw'okubanga
ekitabo kya Kubikkulirwa kikozesa olulimi olutegeerekeka olw'obubonero,
ebitundu byakyo ebimu tebitegeerwa bulungi. Eky'okulabirako: Kubikkulirwa
14:11, kyogera ku bantu abagenda okuzikirizibwa nti: "N'omukka
ogw'okubonyaabonyezebwa kwabwe gunyooka emirembe n'emirembe." Kino
kiwulikikanga okubonaabona okutakoma. Naye era ka tuleke Ebyawandiikibwa
binnyonnyole byawandiikibwa binnabyo.
Kuva
21:6, Kyogera ku muddu okuwummulibwa okutu ng'akabonero akalaga nti
yalina okuweereza Mukama we "emirembe n'emirembe." Mu nsonga
eno, "emirembe n'emirembe," kiba kitegeeza ekiseera eky'omuddu
eky'omu maaso ky'anaawangaala. Yona, eyamala ennaku essatu zokka, n'ebiro
bisatu mu lubuto lwa lukwata (Matayo 12:40) kimwogerwako nti yalubeeramu
"emirembe gyonna" (Yona 2:6). Tewali kubuusabuusa ennaku esatu
ze yamala mu kizikiza eky'olubuto lw'eky'ennyanja kyamufaananira nga
emirembe gyonna.
N'olw'ekyo
tuteekwa okubeera abeegendereza engeri ebyawandiikibwa ebitukuvu gye
bikozesa olulimi olw'obubonero era n'olw'ebitontome. Omukka ogunyooka
emirembe gyonna okuva mu nnyanja ey'omuliro y'engeri etegeerekeka okunnyonnyola
okuzikirira okw'emirembe gyonna. Kubikkulirwa 21:8, kitutegeeza bulungi
nti ennyanja eyaka n'omuliro n'ekibiriti "kwe kufa okw'okubiri."
Geyeena aliko enkomerero ye. Abantu ababi ba kwokeebwa; era bazikirizibwe.
5.
LWAKI WATEEKWA OKUBEERAWO GEYEENA
Ku
luberyeberye Katonda yatonda ensi nga etuukiridde. Naye ekibi bwe kyayingira
ne kireeta okuzikiriza, okuvunda awamu n'okufa. Singa olw'eggulo olumu
okomawo awaka n'osanga nga ennyumba yo bagibbye era ng'eyonooneddwa,
nawe onogireka ng'efaanana bw'etyo emirembe gyonna? Mu butuufu si bwe
wandikoze. Wandijeeze n'oggyawo obujama n'ebisasiro, n'oginaaza yonna
era n'ossuula ebweru ebintu byonna bye baayoonoonye. Ne Katonda ajja
kukola ekintu kyekimu. Ajja kukola ku bubi bwonna era n'obwonoonefu
bwonna obw'ekibi omulundi gumu, era atonde ensi empya mu kifo ky'enkadde.
Ekigendererwa
kya Katonda okulongoosa ensi eno n'omuliro, kwe kuteekateeka ekkubo
ery'ensi etuukiridde eyo abatukuvu mwe banaabeera.
Naye Katonda alina obuzibu bungi, kubanga ekibi tekyayonoona nsi yokka,
naye kyayonoona n'abantu bennyini. Ekibi kyayonoona enkolagana yaffe
ne Katonda ate era n'eri bantu banaffe. Olulyo lw'omuntu lugenda mu
maaso n'endwadde ey'okwonoona abaana abato, obutemu, okuyita obukunya
awamu n'endwadde endala nnyingi ez'Omwoyo. Katonda ateekwa olunaku olumu
okuzikiriza ekibi; kubanga ekibi kyonoona abantu. Obuzibu bwa Katonda
buli nti: asobola atya okuggyawo endwadde enzibu ey'ekibi okuva mu nsi
ate n'atazikiriza bantu bonna abayonoonebwa ekibi? Okumalawo omutawaana
guno ye kwe kuteeka endwadde ey'ekibi ku mubiri gwe; n'akkiriza obulwadde
obw'ekibi okumuzikiriza ye ku musaalaba. Nga n'ebyavaamu bye bino:
"Bwe
twatula ebibi byaffe ye wa mazima era mutuukirivu okutusonyiwa ebibi
byaffe, N'OKUTUNAAZAKO BYONNA EBITALI BYA BUTUUKIRIVU." - 1 Yokana
1:9.
Omutawaana
ogw'okumalawo ekibi, ekyo Katonda agaba kya bwerere eri abantu bonna.
Naye ekinakuwaza kye kino abantu bakyekutte ku ndwadde ey'ekibi. Era
Katonda tagenda kuwaliriza muntu yenna okulonda ekkubo lye ery'obulamu
obutaggwaawo. Abo abagaana ekkubo lye ery'obulamu ery'okumalawo omutawaana
gw'ekibi, eky'enkomerero bagenda kuzikirizibwa ne ndwadde eyo. Ensonga
ey'amazima ebeezesawo Geyeena y'eno nti:
"Kubanga
bwe nnayita temwayitaba, bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali
ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kyesasanyukira." - Isaaya
65:12.
Abo
aboonoonyi abalondawo okwejja ku Yesu, bagenda kukizuula nti eky'okukola
kyokka ekirala kye balina kwe kufa.
6.
OKUZIKIRIRA KIRIKUFIIRIZA KI?
Newankubadde
ng'ebyawandiikibwa tebiyigiriza nti omuliro gwa Geyeena guvaamu okubonaabona
okutakoma. Naye bituwa ekifaananyi nti kintu kya ntiisa okuzikirira.
Aboonoonyi bagenda kufiirwa obulamu obutaggwaawo. Nga kiriba kigambo
kya ntiisa ya kitalo, okukitegeera nti essanyu ery'obulamu obutaggwaawo
nga bali wamu ne Katonda bibavudde mu ngalo era nti tebagenda kuddayo
kufuna essanyu ery'okwagala okw'oluganda okutuukiridde okuyita mu myaka,
emirembe gyonna.
Kristo
bwe yali awanikiddwa ku musaalaba ng'ebibi by'ensi bimwawudde ne Kitaawe,
yawulira obulumi obw'okubula emirembe n'emirembe. Ng'aboonoonyi batunuulidde
ekizikiza ekikutte ekiri ku mitwe gyabwe nga balaba kuzikirira kwerere
okw'emirembe gyonna. Bateekwa okufa nga tebalina ssuubi ery'okuzuukira
okw'okubiri. Ate mu kiseera kyekimu ne balaba engeri gye baasindikanga
eri Kristo, buli kaseera bwe yasemberanga gye bali okubalaga okwagala
kwe. N'ekyenkomerero ne bafukamira ku mavviivi gaabwe era ne bakakasa
obwenkanya n'okwagala kwe (Abafiripi 2:10,11).
Tekyewuunyisa
abawandiisi ba Bayibuli batukubiriza okwanguwa okulonda Kristo era n'okumukaayanira:
Agamba bwati:
"Tubeegayirira
muleme okugayaalirira kisa. Katonda kye yabakwatirwa. Kubanga agamba
nti: 'Nakuwuliriza mu kiseera eky'okusaasirirwamu, ne nkuyamba ku lunaku
olw'okulokokerako.' Laba kaakano ky'ekiseera eky'okusaasirirwa mu, era
lwe lunaku olw'okulokolorako." - 2 Ab'ekkolinso 6:1-2.
Ndowooza
nti teri mutawaana ogusinga obunene omuntu okwonoona ssaddaaka ya Yesu
etegula sente, olw'okulondawo okuzikirira. Ebintu ebibiri ebituli mu
maaso gaffe eby'enjawulo bitegerekeka bulungi: Okuzikirira okw'emirembe
gyonna - emyaka egy'emirembe gyonna ng'oggyiddwa mu maaso ga Katonda,
oba omukwano ogw'emirembe gyonna awamu ne Kristo, omukwano ogwo ogumatiza
okwegomba kwaffe kwonna okugenda ewala. Ggwe weerondeddewo ki? Lwaki
olwa leero tozuula nkomerero y'obulamu bwo mu Kristo?