KATONDA
MWENKANYA?
Omulenzi
omuyizi ng'ali ku mmeeza mu maka gaabwe ng'asoma ebitabo bye yattibwa
n'amasasi agakubibwa olw'okuyigga ababbi mu kibuga.
Omukyala
omuzadde ali mu kyalo okukizuula ng'omwana we yafuna obulwadde obwa
Sirimu okuva mu musaayi ogwalimu obulwadde ogwa muteekebwamu.
Ebizibu
ebifaana ng'ebyo mu nsi yaffe eno tebiriiko kkomo. Ate nga naffe twetaaga
nnyo eky'okuddamu ku bintu nga ebyo byonna. Mu nsi eno eteriimu ka buntu,
erimu okubonaabona, n'okufa, Katonda ye ali luddawa? Omuwandisi wa Zabbuli
atukakasa nti; "Ensi ejjudde ekisa kya Mukama" (Zabbuli 33:5).
Naye
obanga nga kino kya mazima, lwaki tamalawo kubonaabonna awamu n'ebizibu?
Essula eya 20 ey'ekitabo kya Kubikkulirwa eraga engeri Katonda gy'agenda
okukomya ekibi awamu n'okubonaabona.
1.
EMYAKA OLUKUMU (1,000) OKUBIKKULIBWA
Kubikkulirwa
essuula eya 20 eraga entandiikwa y'emyaka 1,000 egijja okuddirira okudda
kwa Kristo omulundi ogw'okubiri ku nsi eno. Ebintu ebijja okubeerawo
mu kiseera eky'emyaka gino olukumi by'ebikolwa eby'enkomerero mu lutalo
olunene wakati wa Kristo ne Setaani, olubadde lugenda mu maaso kasookedde
ekibi kiyingira mu nsi.
Omuzanyo
guno gwatandika mu ggulu Lusifa bwe yakwatirwa obuggya Kristo, n'atandika
olutalo ng'alwana ne bamalayika abalungi abataagwa, era ye n'agobebwa
mu ggulu era n'addukira ku nsi yaffe eno. Omuzanyo gweyongera okugenda
mu maaso ku nsi eno mu lusuku Adeni era ne guyita mu byasa n'ebyasa
by'emyaka, okutuusa lwe gwatuuka ku ntikko yagwo, Setaani bwe yapikiriza
abantu okukomerera Kristo. (Wandyagadde okuddamu okusoma ebyafaayo bino
eby'ennaku mu Mulagirizi No.3.) Omuzanyo gugenda kutuuka ku ntikko yagwo
esembayo ku nkomerero ey'ekiseera eky'emyaka 1,000 ensi yaffe eno ey'ekibi
lw'eneerongoosebwa era n'eteekebwa mu bufuzi bwa Kristo. Kubikkulirwa
essuula eya 20 eturaga ekiseera eky'emyaka 1,000, n'okuzuukira okw'emirundi
ebiri okweyawudde.
Bantu
bangeri ki Katonda bagenda okuzuukira mu kuzuukira okw'oluberyeberye
okujja okubeerawo ku ntandikwa y'emyaka 1,000? Agamba bw'ati,
"Aweereddwa
omukisa, era ye Mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'oluberyeberye
okufa okw'okubiri tekulina buyinza kubo, naye banaabeeranga bakabona
ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka olukumi."
- Kubikkulirwa 20:6.
"Abatukuvu
era abaweereddwa omukisa" be bantu abo abakkiriza Yesu okuba Omulokozi
waabwe ba kuzuukira "mu kuzuukira okusooka." Oba nga abatukuvu
ba "kufugira wamu" ne Kristo mu kiseera eky'emyaka 1,000,
bateekwa okuzuukizibwa ku ntandikwa y'emyaka 1,000.
Bantu
ba ngeri ki ab'okuzuukira ku nkomerero y'ekiseera eky'emyaka olukumi?
Agamba bw'ati:
"Abafu
abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwaako."
- Kubikkulirwa 20:5.
"Abafu
abalala abasigaddewo" kisobola okubanga kyogera ku bafu aboonoonyi,
kubanga abatukuvu, "abaweereddwa omukisa abatukuvu" bo bazuukizibwa
ku ntandikwa y'emyaka olukumi.
Bwe
kityo ekiseera eky'emyaka olukumi kiriko okuzuukira okw'emirundi ebiri,
okuzuukira okusooka okw'abantu abatuukirivu ku ntandikwa y'emyaka egyo,
n'okuzuukira okw'abantu aboonoonyi ku nkomerero yagyo.
2.
ABANTU ABAZUUKIZIBWA MU KUJJA KWA KRISTO
Okuzuukira
okusooka, okwo okw'abatuukirivu, kujja kubeerawo ku kiseera eky'okudda
kwa Kristo omulundu ogw'okubiri. Agamba bw'ati:
"Kubanga
Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi
lya malayika omukulu n'ekkondeere lya katonda, N'ABO ABAAFIIRA MU KRISTO
BE BALISOOKA okuzuukira: oluvannyuma lw'ebyo, NAFFE ABALAMU abaasigalawo
NE TULYOKA TUTWALIBWA WAMU NABO mu bire OKUSISINKANA MUKAMA WAFFE MU
BBANGA. Kale bwe tutyo tunaabeeranga ne MUKAMA waffe ennaku zonna."
- 1 Abassessalonika 4:16,17.
Yesu
bw'anajja ku nsi eno omulundi ogw'okubiri, ajja kuzuukiza "abaafu
abaafiira mu Kristo," era wamu nabo abatuukirivu abalamu abatwale
mu ggulu. Kubanga aboonoonyi bakyekutte ku kibi, tebasobola kuyimirira
mu maaso ga Katonda, era ne bazikirizibwa mu kujja kwa Kristo (Lukka
17:26-30). (Ndowooza wandyagadde okuddamu okusoma Omulagirizi No.3 ku
bintu ebikwata ku kujja kwa Yesu.)
3.
SETAANI OKUSIBIBWA MU NJEGERE KU NSI ENO OKUMALA EMYAKA 1,000
Emyaka
olukumi (1,000) bwe gitandika abatukuvu bonna bagenze mu ggulu, era
n'abantu ababi bonna bafudde. Kiki ekiribeerawo ku nsi eno mu kiseera
ekyo eky'emyaka olukumi?
"Ne
ndaba Malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya
obutakoma n'olujegere olunene mu mikono gye. N'akwata ogusota, omusota
ogw'edda, ye Mulyolyomi era Setani, n'agusibira emyaka lukumi, n'agusuula
mu bunnyua obutakoma n'aggalawo n'atekako akabonero, gulemenga okulimba
amawanga nate, okutuusa emyaka lwe giriggwaako." - Kubikkulirwa
20:1-3.
Ku
kujja kwa yesu, Setaani asibiddwa era agenda kusigala mu njegere mu
kiseera ekyo eky'emyaka olukumi. Setani alisibirwa wa? Mu "ddungu"
ekigambo ekyo luyoonani kitegeeza ekinnya "ekiwanvu ennyo"
oba "ekinnya ekitaliiko we kikoma." Mu (Luberyeberye 1:2),
mu kikyuse ekyo luyonaani mu Ndagaano Enkadde ekozesa "eddungu"
okunnyonnyola ensi yaffe eno nga tennatondebwa, nga obutonzi nga tebunnabaawo.
Bwe kityo ensi yaffe eno ddungu Katonda w'asibira Setani.
Ebyawandiikibwa
binnyonnyola Setaani ng'asibiddwa mu "lujegere olunene." Luno
lujegere lwennyini? Nedda, kano kabonero buboonero, luno lujegere lwa
bintu ebimwetoloodde. Setaani yandyagadde nnyo okugenda mu maaso okulimba
abantu mu kiseera eky'emyaka olukumi. Naye tasobola kusanga Mutuukirivu
n'omu okukema, kubanga bonna bali mu ggulu. Tasobola kuzuula abantu
aboonoonyi ab'okukulembera, kubanga bonna bafudde, beebase mu nfuufu
ey'oku nsi. Tasobola kulimba yadde okukema omuntu yenna, atambula ku
nsi yonna okutali muntu, kino ne kimuleetera okulowooza ku bulamu bwonna
n'ebizibu bye yaleeta.
4.
ABATUKUVU OKUSALIRA ABABI OMUSANGO
Emyaka
olukumi nakyo kiseera kya kusala musango. Naye jjukira nti okusala omusango
kulimu enitundu ebikulu bina (4).
(1) Okusala omusango ogw'abatukuvu nga Yesu tannaba kudda ku nsi omulundi
ogw'okubiri.
(2) Okuwa empeera abatukuvu ku kujja kwa Yesu omulundi ogw'okubiri.
(3) Okusala omusango okw'abantu ababi mu kiseera eky'emyaka olukumi.
(4) Okusarula Setaani n'abantu ababi empeera yaabwe ku nkomerero ey'ekiseera.
Ndowooza wandyagadde
okuddamu okusoma Omulagirizi No.13 akwata ku kitundu ekisooka n'eky'okubiri
eby'okusala omusango okwetegereza ebitabo era n'okuwa empeera abatuukirivu.
Mu kiseera kino tugenda kutunula ku kitundu eky'okusatu n'eky'okuna,
okukebera ebitabo era n'okuwa ababi empeera yaabwe.
Tulabye
nti abatuukirivu abaali bafude nga bwe bazuukizibwa era n'abatukirivu
ababadde abalamu bwe batwaliddwa mu ggulu mu kujja kwa Kristo omulundi
ogw'okubiri. Mu myaka gino olukumi abatukuvu bali mu maka gaabwe mu
ggulu. Baliba nga bakola ki? Agamba bw'ati:
"Oba
temumanyi NG'ABATUKUVU (abalokole) be BALISALIRA ENSI OMUSANGO
Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango?" - 1 Abakkolinso
6:2,3.
"NE
NDABA ENTEBE EZ'OBWAKABAKA, NGA KULIKO ABATUDDEKO, NE BAWEEBWA OKUSALA
OMUSANGO
NE BABA BALAMU, NE BAFUGIRANGA WAMU NE KRISTO EMYAKA
LUKUMI." - Kubikkulirwa 20:4.
Mu
kiseera eky'emyaka olukumi, abatukuvu bagenda kuddamu okwetegereza emisango
egy'abantu aboonoonyi n'egya bamalayika abaagwa, ng'omwo mwotwalidde
omukulembeze waabwe Setaani. Nga kituufu nnyo abajjulizi ba Kristo,
n'abawanguzi, era n'abo abaliko enkovu z'ebiwundu olw'okunywerera ku
njiri, okwetegereza, n'okumanya ensala y'omusango gwa Katonda eri aboonoonyi.
Katonda
ow'ekisa awadde omukisa abantu abanunule okutaganjula ebikolwa bya katonda
ng'akolagana n'abonoonyi. Tulisobola okubeera n'ebibuuzo bingi okugeza
nga, "Lwaki Senga wange tali wano? Afaanana okuba nga yali muntu
mulungi." Bwe tulimala okuyita mu buwandiike bw'ebitabo era n'okusala
omusango ogw'abafu, "nga basalilwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa
mu bitabo ng'ebikolwa byabwe bwe byali." (Olunnyiriri olwa 12),
tugenda kukiraba ffe kennyini, mu bikolwa bye byonna, ng'akolagana n'omuntu,
Katonda mutuukirivu era nga mwenkanya eri buli muntu yenna. Tugenda
kukiraba engeri Omwoyo Omutukuvu gye yawa omukisa egya buli kaseera
omuntu okujeemulukukira Katonda, era obw'enkanya bwe obwokusala omusango
bigenda kutegeerekeka bulungi.
5.
SETAANI OKUSUMULULWA MU NJEGERE KU NKOMERERO Y'EMYAKA OLUKUMI
Ku
nkomerero y'emyaka olukumi Bayibuli egamba bw'eti:
"Ne
ndaba ekibuga Ekitukuvu, Yerusalemi ekiggya nga kika okuva mu ggulu
ewa KATONDA, ngakitegekeddwa ng'omugole ayonjeddwa bba." - Kubikkulirwa
21:2.
Ekibuga
kino eky'ekyewuunyo kibadde amaka gaffe okumala emyaka olukumi. Mu kiseera
kino ekibuga kino Ekitukuvu - awamu ne Kristo era n'abantu bonna be
yanunula nga bali mu nda mu kyo - kikka ku nsi yaffe okuva mu ggulu.
Setaani
agenda kukola ki ku nkomerero y'emyaka 1,000?
"Awo
emyaka egyo olukumi bwe giriggwa, Setaani n'alyoka asumululwa mu kkomera
lye, era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi
Okubakung'anya mu lutalo: Omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyini. Ne
balinnya ku bugazi bw'ensi ne bazingiza olusiisira olw'abatukucu n'ekibuga
akyagalwa." -Kubikkulirwa 20:7-9.
Abantu
ababi bakuzuukizibwa mu kuzuukira okw'okubiri okulibeerawo mu nkomerero
y'emyaka 1000 (olunnyiriri olwa 5). Abatukuvu bwe baliba nga bakka ku
nsi nga bali mu kibuga kya Katonda ekitukuvu, abantu ababi ne bazuukizibwa
olwo ne Setaani aliba "asumuluddwa akaseera katono" (olunnyiriri
olwa 3). Olwo Setaani aliba afunye abantu ababi okubakulembera era n'ekigendererwa
kye kwe kuwamba abatukuvu. Nga tayoonoonyewo kaseera n'akamu. Amangu
ago atandika okuteekateeka ababi mu ggye eddene. Setaani n'awa ebiragiro
okulwanyisa ekibuga, ng'ababi bonna beeteeseteese mu bifo byabwe okwetoloola
ekibuga Yerusalemi (soma olunnyiriri olwa 9), olwo entiisa ey'okuzikirira
emirembe n'emirembe n'eryoka ebakwata.
6.
OKUSALA OMUSANGO OKUSEMBAYO
Wano
nga gwe murundi ogusooka olulyo lw'omuntu, tukung'ana awamu amaaso n'amaaso.
Yesu ng'akulembedde abaana ba Katonda abanunule abali mu nda mu kibuga
kya Katonda. Setaani akulembedde oluggube lw'ababi abali ebweru w'ekibuga.
Mu kiseera kino ekizibu ennyo, Katonda n'akola ekitundu ekisembayo eky'okusala
omusango, era ababi ne bafuna empeera yaabwe mu kooti ye.
"Ne
ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu
n'ensi ne bidduka mu maaso ge
Ne ndaba abafu abakulu n'abato,
nga bayimiridde mu maaso g'entebe era
abafu ne basalirwa omusango
mu ebyo ebyawandikkibwa mu kitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali."
- Kubikkulirwa 20:11,12.
Ng'abantu
ababi bayimiridde mu maaso g'entebe ey'obutuukirivu, obulamu bwabwe
bwonna ne bubabikkulirwa mu maaso gaabwe okuva mu ebyo ebyawandiikibwa
mu bitabo eby'omu ggulu. Yesu omulamuzi omutuukirivu, y'asooka okulaga
enkola ye yonna gy'akolaganyemu n'abasajja n'abakazi ne bamalayika abaagwa.
Eggulu
lyonna n'ensi yonna ne bitunula n'addamu mangu ng'ayimiridde mu maaso
g'entebe ya Katonda, Yesu n'awa buli muntu okulaba omulimu gwe omuzibu
ogw'okulokola. N'akiraga nti yajja okunnoonya n'okulookola ekyo ekyabula.
Yajja mu nsi yaffe ng'ayambadde omubiri ogw'omuntu n'abeera naffe mu
bulamu obutuukiridde, mu bizibu ne mu kukemebwa, n'eky'enkomerero n'awaayo
ssaddaaka enkulu ku musaalaba era n'aweereza nga Kabona waffe mu ggulu.
N'eky'enkomerero, Yesu mu nnaku ennyingi n'avaayo era n'asalira omusango
abo bonna abaalemera mu kujeemera ekisa kye. Olwo buli kitonde mu ggulu
ne mu nsi yonna ne kikakasa obutuukirivu era n'obwetaavu bw'ekikolwa
kya Katonda eky'okusala omusango ogw'enkomerero.
"Kubanga
fenna tuliyimirira mu maaso g'entebe ey'emisango eya Katonda. Kubanga
kyawandiikibwa nti: Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, buli vvivi
lirinfukamirira, na buli lulimi lulyatula Katonda." - Abaruumi
14:10,11.
"Kristo
Yesu
Nga muwulize okutuusa okufa
buli vvivi lifukaamirirenga
erinnya lya Yesu, ery'omu ggulu n'ebyomu nsi
Era buli lulimi lwatule
nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda KITAFFE aweebwe ekitiibwa."
- Abafiripi 2:5-11.
Kasookedde
ekibi kitandika, Setaani abadde anyooma empisa za Katonda, ng'ateeka
ku Katonda omusango ogw'obutaba mwenkanya. Naye mu kiseera kino ebibuuzo
byonna biddiddwamu, okutabukatabuka kwonna kuvuddewo. Mu kiseera kino,
ekitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi bikakasizza nti Yesu, OMWANA ogwendiga
ogwa Katonda, ateekwa okwagalibwa n'okusinzibwa.
Enteekateeka
yonna awamu n'ekigendererwa kyonna ekya Katonda kibikkuliddwa mu bujjuvu,
era olwo empisa za Katonda ne zisigala nga teziriko musango. Kino tekigenda
kutegeerebwa abanunule bokka, yadde ne bamalayika ababi ne Setani yennyini
agenda kukyatula nti amakubo ge gaali makyamu, era nti amakubo ga Katonda
ga mazima era ga butuukirivu. Ebitonde byonna bya kukiraba nti ekibi,
n'okwerowoozako byaleeta nnaku na butamatira kyokka era tebyetaaga kiseera
kirala okubirekawo kweyongera kugenda mu maaso.
7.
ENKOMERERO Y'EKIBI
Newankubadde
nga Setaani n'oluggube lw'abantu ababi balikkiriza nti amakubo ga Katonda
matuufu, naye omutima gwabwe tegugenda tegukyusibwa, era n'empisa zaabwe
zisigala nga mbi. Nga omusango gwa Katonda gumaze okulangirirwa; olwo
ababi:
"Ne
balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga
ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu ne gubookya. N'omulyolyomi
eyabalimbanga n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro n'ekibiriti.
N'okufa n'amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Ekyo kwe kufa
okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro. Era omuntu yenna ataalabika ng'awandiikiddwa
mu kitabo eky'obulamu n'asuulibwa mu nnyanja ey'omuliro." - Kubikkulirwa
20:9-15.
Mu
musango gwa Katonda ataggwaawo ogukomererayo omuliro gujja kuzikiriza
ekibi awamu n'abo abakyekutteko mu bujeemu. Setaani awamu n'abantu bonna
abaabula bajja kuzikirira mu "kufa okw'okubiri," okufa okw'emirembe
n'e mirembe, eyo gye batagenda kuva nate. Amayisa gaabwe ag'obujeemu
gaasigala nga ga kibi era nga tebasaanira essanyu ery'amazima, era kyebava
bazikirizibwa awamu ne Setaani ne bamalayika be. Omuliro ogw'omu ggulu
gwa kulongooseza ddala ensi yonna okugijja mu bubi obw'ekibi, era eky'enkomerero
Katonda alongoosezza eggulu n'ensi obutaddayo kwonoonebwa ekibi nate.
Olutalo wakati w'obulungi n'obubi, wakati wa Kristo ne Setaani luwedde,
eky'enkomerero Kristo afuga. Olutimbe luddawo nga luggalawo omuzannyo
ogw'edda ogw'ekibi, ate ne luggulawo ekitiibwa eky'ensi empya ey'obuyinza
obutakoma.
8. ENSI ELONGOOSEBWA ERA N'ETONDEBWA BUGGYA
Okuva
mu vvu ery'omuliro egw'enkomerero ogw'okulongoosa ensi, Katonda agenda
kutonda ensi empya. Agamba bwati:
"Ne
ndaba eggulu eriggya n'ensi empya; kubanga eggulu ery'oluberyeberye
n'ensi ey'oluberyeberye nga bigenze
Ne ndaba ekibuga ekitukuvu,
Yerusalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda
Laba,
eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatulanga wamu nabo, banaabeeranga
bantu be, naye yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: naye
alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era okufa tekulibeerayo nate;
so tewaabenga wo nate nnaku newankubadde okukaaba newankubadde okulumwa;
eby'oluberyeberye nga biweddewo
Laba, byonna mbizzizza buggya."
- Kubikkulirwa 21:1-5.
Ng'ezzibwa
mu bulungi bwayo obw'oluberyeberye, ensi egenda kuddamu okubeera amaka
ag'abanunule emirembe gyonna. Ng'ejjiddwa mu okwerowoozako, endwadde
awamu n'okubonaabona, tugenda kulambula eggulu lyonna, enkolagana ey'oluganda
olw'ekitalo eddewo, era tubeere n'emyaka egitaggwaawo mwe tugenda okutuulanga
ku bigere bya Yesu okuwuliriza era n'okuyiga okwagalakwe. (Okwagala
okuyiga mu bujjuvu ebinnyonnyola ensi empya, okyasobola okuddamu okusoma
nate Omulagirizi 9.)
Ggwe
oteekateeka kubeera wa ku lunaku olwo? Omaliridde okubeera ne Kristo
mu nda mu kibuga ng'olokoleddwa emirembe n'emirembe? Oba olibeera bweru
wa kibuga awatali Kristo ng'ozikiridde emirembe gyonna?
Singa omaze okuteeka obulamu bwo mu mikono gya Yesu, teweetaaga kutuusibwako
entiisa etayogerekeka ey'abo abali ebweru w'ekibuga nti bazikiridde
emirembe gyonna.
Ekikulu
si ekyo obulamu kye bukuleetedde, singa oteeka obulamu bwo mu mikono
gya Kristo kaakati, osobola okubeera mu kibuga mu nda awamu ne Kristo
n'abanunule. Singa nga kino tokikolanga, nsaba oweeyo omutima gwo eri
Yesu olwa leero, era naye ajja kukwetooloza emikono gye n'okwagala kwe,
era n'okusonyiwa kwe. Guno gwe mukisa gwe. Era luno lwe lunaku lwo olw'obulokozi.