ABANTU ABASINGA OBUNGI BAYINZA
OKUBA ABAKYAMU?

Mu Mulagirizi No. 16, twakizuula nti okukuuma Ssabbiiti ddagala kkulu eri obulamu obw'okunyigirizibwa obw'ennaku zino. Okuva nga Katonda bw'ategeera ebyetaago byaffe, yateekawo olunaku olw'omusanvu okuba ekiwummulo eky'emibiri gyaffe era n'okudda obuggya okw'emyoyo gyaffe. Ng'amaze okutonda ensi yaffe mu nnaku omukaaga, "yawummula ku lunaku olw'omusanvu, naluwa omukkisa era n'alutukuza" (Lubereberye 2:1-3).

Katonda bwe yawa Amateeka ekkumi eri abantu be Isiraeri, yateeka etteeka ery'okukuuma Ssabbiiti ey'olunaku olw'omusanvu mu mutima gw'amateeka ge (Kuva 20:8-11).

Okusinziira ku tteeka lino, Ssabbiiti kijjukizo eky'amaanyi ga Katonda ag'obutonzi, olunaku olw'okuwummula era n'okulowooza ku bulungi era ne ku by'amagero eby'omulimu gwe gwe yakola, olunaku olw'okuwummula n'okusembera kumpi n'omutonzi waffe olunaku olw'okuzuula enkolagana ya Katonda naffe egenda ewala.

Yesu ng'ali mu bulamu obw'obuntu ku nsi kuno, naye era yakuumanga Ssabbiiti (Luka 4:16) era Ssabbiiti n'agikakasa ng'olunaku oluwa emikisa Abakristayo (Mako 2:27, 28). Ebyawandikibwa bingi ebisangibwa mu kitabo kya Bikolwa ebiraga obulungi nti Abatume ba Kristo baasinzanga ku lunaku olwa Ssabbiiti nga Yesu amaze okuzuukira (Bikolwa 13:14, 16:13, 17:2; 18:1-4, 11).

1. EKIBUUZO EKITABULATABULA

Kino kitutuusa ku ky'okuyiga abangi kye basanga nga kibatabulatabula. Abakristayo mu nsi yonna bamaze ekiseera nga bakuuma ennaku bbiri ez'enjawulo. Ku ludda olumu Abakristayo abasinga obungi abeesigwa bakuuma Sunday, olunaku olusooka mu wiiki, bo lwe bakkiriza okuba ekijjukizo eky'amazukira ga Kristo. Ate ku ludda olulala ekibiina kinene ekya Abakristayo nabo nga beesigwa, bakkiriza nti Bayibuli ewa ekitiibwa olunaku lumu olw'omusanvu nga ye Ssabbiiti era nga tewali walala awakakasa obutukuvu bwa Sunday.

Kirina enjawulo gye kikola, bwe tukuuma olunaku lwonna olwa Ssabbiiti? Nga abantu abeesigwa abafuba abagaala okutegeera amazima, bulijjo tulina okwebuuza nti "Kiki Yesu ky'afaako? Yesu ayagala nkole ki?"

Nga tusalawo eky'okukola ku nsonga eno, ensonga zino enkumu enkulu zeetaaga okusooka okutegeerebwa: Ani eyakyusa Ssabbiiti okuva ku Saturday, olunaku olw'omusanvu olwa wiiki n'aluzza ku Sunday, olunaku olusooka mu wiiki? Bayibuli ewa ekiragiro ku kukyuka okwo? Bwe kiba bwe kityo, Katonda, oba Kristo, mpozzi Abatume be be baakyusa? Tujja kugenda mu maaso nga tutunuulira ku ebyo byonna ebisoboka.

2. KATONDA YE YAKYUSA OLUNAKU?

Waliwo ekirangiriro kyonna okuva eri Katonda ekikyusa Ssabbiiti okuva ku lunaku olw'omusanvu okudda ku lunaku olusooka mu wiiki?

Abakristayo abasinga obungi bakkiriza Amateeka Ekkumi nga gakyaliwo okukulembera obulamu. Bwe bubaka bwokka Katonda yennyini bwe yali awandiise olw'olulyo lw'omuntu. Amateeka makulu ekyenkaniddewo, yagawandiika n'engalo ye ku bipande eby'amayinja (Kuva 31:18).

Mu tteeka ery'okuna Katonda atulagira nti:

"Jjukira olunaku olwa Ssabbiiti okulutukuzanga. Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna, naye OLUNAKU OLW'OMUSANVU YE SSABBIITI ERI MUKAMA KATONDA WO: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna… kubanga mu nnaku omukaaga MUKAMA mweyakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, N'AWUMMULIRA ku lunaku olw'omusanvu: MUKAMA KYEYAVA ALUWA OMUKISA olunaku olwa Ssabbiiti: N'ALUTUKUZA." - Kuva 20:8-11.

Katonda bwe yawa abantu be Amateeka Ekkumi, yakitangaaza bulungi nti tewateekwa kubeerawo muntu yenna agaddamu era n'awa ebiragiro nga byawukana n'ebyo ebyava mu kamwa ke. Agamba bwati:

"TEMWONGERANGA ku kigambo kye mbalagira so TEMUKISALANGAKO, mukwatenga ebiragiro bya MUKAMA Katonda wammwe byembalagira." - Mateeka 4:2.

Ne Katonda yennyini yeerayirira obutakyusa biragiro bye:

"SIMENYENGA NDAGAANO YANGE, SIJJULULENGA KIGAMBO EKYAVA MU MIMWA GYANGE." - Zabbuli 89:34.

Bayibuli etegeerekeka bulungi nti Katonda si ye yakyuusa olunaku olwa Ssabbiiti okuva ku lunaku olw'omusanvu okudda ku lunaku olusooka mu wiiki.

3. YESU YE YAKYUSA SSABBIITI?

Okusinziira ku ngigiriza ya Yesu Amateeka Ekkumi si gakukyusibwa; Agamba bwati:

"Temulowoozanga nti najja okudibya Amateeka oba ebya Bannabbi! Sajja kudibya wabula okutukiriza kubanga Mbagamba amazima nti Eggulu n'ensi okutusa lwe biriggwaawo, ennukuta emu newankubadde akatonnyeze akamu ak'omu mateeka tekaliggwaawo, okutuusa byonna lwe birimala okutuukirirra." - Matayo 5:17-18.

Mu Mulagirizi owe 16, twakizuula nti yali mpisa ya Yesu okusinzanga mu kung'aniro ku lunaku olwa Ssabbiiti (Luka 4:16). Era nate twakizuula nti Yesu yayagala Abayigirizwa be okugenda mu maaso okufuna essanyu ery'okukuuma Ssabbiiti ey'amazima (Matayo 24:20).

Okuva mu njigiriza ya Yesu ne mu ky'okulabirako kye, kitegerekeka bulungi nti tukyetaaga ekiwummulo ekya Ssabbiiti, OLW'OKUWUMMULA era n'okufuna ekiseera nga tuli wamu ne Katonda waffe.

4. ABATUME BEEBAAKYUSA OLUNAKU LWA SSABBIITI?

Yakobo, omukulembeze ow'ekkanisa eyasooka ey'Abakristayo, bino bye yawandiika ebikwata ku Mateeka Ekkumi:

"Kubanga omuntu yenna bw'akwatanga amateeka gonna, naye n'asobya mu limu, ng'azizza omusango gwa gonna. Kubanga oyo eyayogera nti Toyendanga, ate y'ayogera nti Tottanga. Kale bw'otoyenda naye n'otta, ng'ofuuse mwonoonyi w'amateeka. Mwongerenga era mukolenga bwe mutyo ng'abagenda okusalirwa omusango n'amateeka ag'eddembe." - Yokana 2:10, 11.

Luka, omusawo era omubuulizi w'enjiri amawulire gano g'atuwa ku kkanisa eyasooka:

"Awo ku lunaku olwa Ssabbiiti ne tufuluma mu mulyango gw'ekibuga okugenda mu mugga bwe twalowooza nga waliwo ekifo eky'okusabirangamu, ne tutuula ne twogera n'abakazi abakung'ana." - Bikolwa 16:13.

Mu Ndagaano Empya ekitabo kya Ebikolwa kiraga emirundi 84 abagooberezi ba Kristo nga bakuuma Ssabbiti, emirundi egyo gyonna nga gyaliwo mu myaka 14 egy'addirira okuzuukira kwa Yesu: Emirundi 2 mu Antiokiya (Bikolwa 13:14, 42, 44). Omulundi 1 mu Firipo (Bikolwa 16:13); emirundi 3 mu Ssessalonika (Bikolwa 17:2, 3). Ate Ssabbiiti 78 mu kibuga kye Kolinso (Bikolwa 18:4, 11).

Yokana, omu ku batume 12 eyasembayo okufa, naye yakuuma Ssabbiiti; yawandiika bwati:

"Ku lunaku lwa Mukama, nnali mu Mwoyo." - Kubikkulirwa 1:10.

Okusinziira ku njigiriza ya Yesu, olunaku lwa Mukama ye Ssabbiiti:

"Kubanga omwana w'omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti." - Matayo 12:8.

Okunoonyereza okw'obukakafu obw'ebyawandikibwa kulaga nti Abatume tebaagezako kukyusa olunaku lwa Katonda olw'okuwummula okuva ku lw'omusanvu okudda ku lunaku olusooka mu wiiki. Endagaano Empya eyogera ku lunaku olusooka mu wiiki emirundi 8 gyokka. Mu mirundi gino gyonna tewali mulundi n'ogumu olunaku olusooka we lwayogerwaako ng'olunaku olutukuvu yadde we kisiinyizibwako nti lwayawulwa, lunaku lutukuvu lwa kusinzizangako. Ka twetegereze ebyawandikibwa 8 ebikwata ku lunaku olusooka mu wiiki, tulage ebintu bino ebyaliwo ku Sunday.

(1) Abakyala bajja ku ntana ku lunaku olusooka mu wiiki (Matayo 28:1).
(2) "Ssabbiiti ng'eweddeko" Abakyala baddamu okukola emirimu gyabwe egya bulijjo ku lunaku olusooka mu wiiki (Mako 16:1, 2).
(3) Yesu yasooka okulabikira Maliyamu Mangudalena mu makya ku lunaku olusooka mu wiiki (Mako 16:9).
(4) Abagooberezi ba Yesu baddamu okukola emirimu gyabwe egya bulijjo ku lunaku olusooka mu wiiki (Luka 24:1).
(5) Maliyamu y'agenda ku ntaana ya Yesu era n'asanga entaana nga njeerere ku lunaku olusooka mu wiiki (Yokana 20:1).
(6) Abatume baakung'ana awamu "olw'okutya Abayudaaya" (naye si lwa kusinza) ku lunaku olusooka mu wiiki (Yokana 20:19).
(7) Omutume Paulo yasaba abantu b'ekkanisa okubalirira ensimbi zaabwe ku lunaku olusooka mu wiiki era "batereke omuwendo gwa sente wabbali" olw'abaavu abaali e Yerusalemi (1 Abakolinso 16:1, 2). Ekyawandikibwa kino tekyogera ku lukung'ana olw'omukolo ogw'eddiini.
(8) Mu Bikolwa 20:7, Luka ayogera ku kubuulira kwa Paulo ku lunaku olusooka mu wiiki ku lukung'ana olw'omukolo ogw'okusiibula. Paulo yabuuliranga buli lunaku, era n'Abatume baamenyanga omugaati buli lunaku (Bikolwa 2:46).

Mu byawandikibwa bino byonna tewali n'ekimu ekikuwa okulowooza nti Abatume baali bagenderera okulekeraawo okukuuma olunaku olw'omusanvu olwa Ssabbiiti. Abatume teboogeranga ku kukyuka kwa Ssabbiiti ey'olunaku olw'omusanvu okudda ku lunaku olusooka mu wiiki.
Mu Ndagaano Empya temulimu bukakafu obutegeerekeka olw'okukyuka kwa Ssabbiiti okuva ku Saturday, olunaku olw'omusanvu mu wiiki okudda ku Sunday, olunaku olusooka mu wiiki. Okukyuka kwajja luvannyuma lw'ennaku ez'ebiseera ebya Yesu n'a Abatume, n'olw'ekyo tuteekwa okudda mu byafaayo byensi okulaba okukyuka bwe kwabaawo era n'engeri gye kwajjamu.

5. SUNDAY YAVA WA?

Abatume baatulabula buterevu nti Abakristayo abamu bagenda kukyama okuva kunjigiriza ey'Obukristayo e y'Endagaano Empya; Agamba bwati: "Mwekuumenga" (Bikolwa 20:29-31). Era ekyo kyennyini kye kyabaawo. Abawandiisi b'ebyafaayo abeesigika baawandiika bulungi engeri Abakristayo gye baatandika okukyama okuva ku bugolokofu bw'Abatume. Obulombolombo n'enjigiriza ebyo Paulo, Petero n'abatandisi b'Ekkanisa bye batakkiriza byasensera mpola ne biyingira mu kkanisa.

Okukyuka okuva ku Ssabbiiti okudda ku kukuuma Sunday kyaliwo nga Endagaano Empya emaze okuwandiikibwa era nga n'Abatume bonna bamaze okufa. Ab'ebyafaayo bawandiika nti Abakristayo ekyavaamu baava ku kusinzanga ne ku kuwummulanga ku lunaku olw'omusanvu ne badda ku lunaku olusooka mu wiiki. Naye kwo okuba Abakkiriza tebaalekayo kukuuma Ssabbiiti ey'olunaku olw'omusanvu ku nkomerero ya wiiki emu ey'abaweebwa ate era mangu ago ne batandikirawo okukuuma Sunday ng'olunaku lwa Mukama. Ekikolwa ekyasookera ddala eky'okukuuma olwa Sunday eky'Abakristayo kyaliwo mu Italy mu makkati ag'ekyasa eky'okubiri nga Kristo amaze okugenda. Ekiseera ekirala ekyaddirira kiwanvu Abakristayo bangi baakuumanga ennaku zombi; ate nga abalala baasigala nga bakuuma Ssabbiiti yokka.

Nga 7 March 321 AD, Constantine omukulu n'ayisa etteeka eryasooka erya Sunday, nga liwaliriza abantu bonna, okujjako abalimi mu bwakabaka bwa Ruumi okuwummula ku Sunday. Ekiragiro kino, awamu n'ebiragiro ebirala bitaano ebyalagirwa Constantine nga bikwata ku lunaku olwa Sunday, kye kyatandikawo amateeka gonna aga Sunday okuva mu kiseera ekyo n'okutuusa mu kiseera kino. Mu kyasa eky'okuna olukiiko olwa Laodokiya lwaziyiza Abakristayo obutavanga ku mirimu gyabwe ku lunaku olwa Ssabbiiti, ate mu kiseera kyekimu nga lubakubiriza okussaamu ekitiibwa Sunday nga balekeraawo okulukolerako emirimu, bwe kiba nga kisoboka.

Ebyafaayo biraga nti okusinza ku lunaku olwa Sunday era n'okulukuumanga empisa eyakolebwa omuntu, Bayibuli tewa muntu yenna buyinza okuggyawo Ssabbiiti ey'olunaku olw'omusanvu esangibwa mu tteeka ery'okuna. Nnabbi Danieri yakiranga nti mu kiseera eky'obukristayo, obuyinza obw'obulimba bugenda kugezaako okukyusa amateeka ga Katonda (Danieri 7:25).

6. ANI EYAKYUSA?

Ani ow'obuyinza eyakyusa Ssabbiiti okuva ku lunaku olw'omusanvu okudda ku lunaku olusooka mu wiiki? Ekkanisa y'Abakatuliki ekayaana okuba nti ye yakola ekyo. Olw'okugezaako okuwonya obwakabaka bwa Ruumi eyali emenyekamenyeka, abakulembeze b'ekkanisa abaalina ekigendererwa bekkiriranya era ne bagezaako okukyusa olunaku olw'okusinza okuva ku lunaku olwa Saturday okuda ku Sunday.

Katekisimu ey'ekkanisa y'Abakatuliki abe Ruumi esoma bweti:
"Ekibuuzo: Olunaku olwa Ssabbiiti lunaku ki?
"Okuddamu: Satuday lwe lunaku olwa Ssabbiiti.
"Ekibuuzo: Lwaki tukuuma olunaku olwa Sunday mu kifo kya Saturday?
"Eky'okuddamu: Tukuuma olunaku olwa Sunday mu kifo kya Satuday, kubanga Ekkanisa y'Abakatuliki… yakyusa obutukuvu okuva ku Saturday okudda ku Sunday." Bya Peter Geiermann, mu kitabo The Convert's Catechism of Catholic Doctrine (1957 Edition) Olupapula 50.

Ekkanisa y'Abakatuliki mu kwenyumiriza erangirira nti abantu abakulembeze b'ekkanisa be baalukyusa.

"Olunaku olutukuvu, Ssabbiiti, yakyusibwa okuva ku Saturday okudda ku Sunday… si kuva mu biragiro bya Byawandikibwa Ebitukuvu, naye kuva mu kkanisa okulowooza ku obuyinza bwayo… Abantu abalowooza nti Ebyawandikibwa Ebitukuvu biteekwa okubeera obuyinza bwokka, obufuga, bateekwa kufuuka Aba Seventh-Day Adventist, era batukuze Saturday." Bya Cardinal Maida, Archbishop owe Detroit, Saint mu kitabo Saint Catherine Catholic Church Sentinel, Algonac, Michigan, May 21, 1995.

7. AMAKANISA AG'ABAPROTESTANTE AGAMU GAGAMBA KI?

Ebiwandiiko eby'obuyinza ebiraga enzikiriza ez'Amaddiini ag'Abaprotestant ennyingi bakkiriziganya nti Bayibuli tewa bantu buyinza okukuuma olunaku lwa Sunday.

Martin Luther, omutandisi w'ekkanisa ya ba Lutheran, mu kitabo Augsburg Confession, ku mutwe ogwa 28, akatundu ako 9, yawandiika bwati:
"Bo (Abakatuliki Ab'eRuumi) bawa ensonga nti Ssabbiiti yakyusibwamu Sunday, olunaku lwa Mukama, nga kiwakanya Amateeka Ekkumi… tewali kyakulabirako ekisinga okwegulumiza okusinga okukyusa olunaku olwa Ssabbiiti. Bagamba nti, bakulu mu maanyi ne mu buyinza bw'ekkanisa, okuva ng'ekikolwa kino bwe kikwata ku limu ku Mateeka Ekkumi."

Amosi Binney ne Daniel Steele abasajja abayivu ab'eddiini ya Methodist kino kye beetegereza:

"Mazima, tewali kiragiro ekiraga okubatiza abaana abato… newankubadde era tewali kiragiro kyonna eky'okukuuma olunaku olusooka mu wiiki nga lutuukuvu." Mu kitabo Theological Compend (New York: Methodist Book Concern 1902) olupapula 180, 181.

N. Summerbell, ow'ebyafaayo ow'ekkanisa Abatume ba Kristo oba Ekkanisa ey'Abakristayo, awandiika bwati:

"Ekkanisa y'Abakatuliki yakyamira ddala… baggyawo Etteeka Ery'okuna olw'okuggyawo Ssabbiiti esangibwa mu kigambo kya Katonda era ne bassaawo Sunday ng'olunaku olutukuvu." - A True History of the Christian and the Christian Church, olupapula 417, 418.

8. EKITUUFU KYE KIRUWA?

Kino kituleeta okutunuulira ekibuuzo kino n'amaaso gaffe nti: Lwaki Abakristayo abangi bwe batyo bakuuma olunaku olwa Sunday olutaliiko kiragiro kya Bayibuli? Naye ekisinga obukulu kiri nti, Lunaku ki lwenteekwa okukuuma? Nnaagoberera abo abagamba nti: "Sirowooza nti kirina enjawulo gye kireetawo, kasita nkuuma olunaku olumu ku nnaku omusanvu?" oba "olunaku olw'omusanvu olwa Ssabbiiti" ndutwala nga lukulu, olunaku Yesu omutonzi waffe, lwe yateekawo bwe yali ng'atonda ensi yaffe era olunaku Katonda lwe yatuwa mu Mateeka Ekkumi?

Kati wano kye tuliko tuli ku kintu ekisinga okwetegereza ebitatukwatako, naye tuli kku nsonga ey'olunaku ki okusinziira ku Bayibuli olulabika okuba olutuufu. Ensonga esinga okuba enkulu wano y'ey'obuwulize; okugondera Yesu Omutonzi waffe eyayawula Ssabbiiti nga lunaku "lutukuvu" nga kye kiseera gye tuli era awamu n'amaka gaffe okumusemberera olw'okufuna amaanyi n'okudda obuggya. Ani gwe nnaagondera? Nnaagondera Kristo, omwana wa Katonda, oba nnaagondera bulombolombo bw'abantu mu nsonga ez'olunaku olutukuvu lwe nnaakuuma. Eky'okulondawo kitegerekeka bulungi nti: kuno kuba kulondawo ekimu ku bibiri: njigiriza za bantu oba njigiriza ya Katonda. Kigambo kya bantu oba kigambo kya Katonda. Omuntu kye yateekawo oba Tteeka lya Katonda.

Nnabbi Danieri atulabula ku bantu abo abagenda "okugezaako okukyusa ebiseera n'amateeka" (Danieri 7:25). Katonda ayita abantu be bakomewo okumugondera. Abayita okukuuma Ssabbiiti nga akabonero ak'obwesigwa n'okumwagala.

Yesu agamba nti "obanga munjagala munaakwatanga ebiragiro byange" (Yokana 14:15). Asuubiza essanyu erituukiridde eri abo abamwagala ne bakwata amateeka ge (Yokana 15:9-11). Tulina omulokozi w'akitalo. Ayagala nnyo gye tuli okufuna okwagala kwe mu bujjuvu bwakwo. Omutima gw'omuntu ogwewaddeyo okugonda guba guguddewo oluggi eri okwagala okwo.

Mu lusuku olwa Gessesumani Kristo yeeweerayo ddala eri okwagala kwa Kitaawe newankubadde yali atunuulidde omusaalaba, era ebibi eby'ensi yonna byali bya kuzikiriza obulamu bwe. Bwe yali ng'akabiirira Katonda nti: "Ekikompe kino kiveeko," yasigala nga ajeemulukuse mu kwegayirira kwe, era n'agattako na kino nti: "si nga nze bwenjagala, naye ky'oyagala kikolebwe" (Mako 14:36).

Kristo atwagaliza okufuna okutuukirira okwo okuleetebwa obulamu obweweereddeyo ddala. Era ayagala tumwesige ekimala tube nga tumugondera mu bintu byonna ebikwata ku bulamu bwaffe, singa nga oyanukula okuyita kwa Katonda era n'ogondera amateeka ge gonna, ojja kufuna okusuubiza kwa Yesu nti essanyu lye "lijja kubeera mu ggwe" era "essanyu lyo lijja kubeera erituukiridde" (Yokana 15:11).

 

© 2002 The Voice of Prophecy Radio Broadcast
Los Angeles, California, U.S.A.