EKYAMA KY'OKUKULA OKUYITA MU
KUSSA EKIMU

Mu mwaka 1960 owooluganda Andrew omusajja eyava mu Holland, ng'ali mu motoka ye eya VW, yakukusa ekitereke ekyalimu Bayibuli n'aziyingiza mu Romania era n'ayita ku basirikale abakoministi. Yanoonyako mu wooteri era n'atandika n'okusaba Katonda amukulembere amutuuse ku kibiina ekituufu eky'Abakristayo abajja okukozesa obulungi ebitabo bya Bayibuli ezo.

Ku nkomerero ya wiiki yagenda eri omuwandiisi wa wooteri era n'amubuuza ekifo w'asobola okusanga ekkanisa. Omuwandiisi oyo yamutunuulira ng'amwewuunya era n'amuddamu nti, "Abantu abo naawe okimanyi nti teturina bangi. Ng'oggyeko ekyo, tosobola kutegeera lulimi lwe boogera."

Andrew n'amuddamu nti, "Tokimanyi nti Abakristayo boogera olulimi olw'ensi yonna."

"Lulimi ki olwo?"

"Luyitibwa (Agape) Kwagala."

Omuwandiisi yali takiwuliranga nako na ye Andrew yamukakasa nti, "Lwe lulimi olusingira ddala okuba olulungi mu nsi yonna."

Andrew yasobola okutegeera ebifo by'amakanisa bingi era n'ateekateeka okusisinkana n'abakulembeze era n'abawandiisi ab'eddiini ezo. Eky'omukisa omubi, Andrew awamu n'abantu baali bamanyi ennimi nnyigi eza Balaaya ze baali boogera naye tebaalina lulimi lubagatta. N'olw'ekyo buli omu yatunulanga butunuzi ku munne. Andrew yali atambudde olugendo oluwanvu olwalimu obuzibu nga yeetisse omugugu gwe ogw'omuwendo, naye tewali ngeri esobola okumutegeeza obanga abantu bano baali basajja bakristayo abooluganda ab'amazima oba baali ba mbega ba Gavumenti.

Eky'enkomerero, Andrew yalaba Bayibuli eri mu lulimi Oluromaniya ng'eri mu mmeza mu offisi. Andrew yakwata mu nsawo ye era n'aggyayo Bayibuli ey'olulimi oluddaaki. Yabikkula mu 1 Abakkolinso 16:20 era n'aggyayo Bayibuli n'agibalaga ng'asonze olunywe ku lunyiriri olwo, bonna baasobola okugiteegera. Mu kiseera ekyo amaaso gaabwe bonna ne gajjako essanyu. Nabo ne babikkula mu ssuula y'emu mu Bayibuli zaabwe ezaali mu lulimi Oluromaniya ne basoma nti; "Abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu ngeri eraga nti mwagalana."

Abasajja ne Andrew ne baseka. Omu ku bo n'abikkula Bayibuli mu Ngero 25:25. Ne Andrew naye n'abikkula Bayibuli olunyiriri olwo n'asoma nti; "Ng'amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeme erumwa ennyota, Ebigambo ebirungi ebiva mu nsi eyeewala bwe biba bwe bityo."

Abasajja bano baamala essaawa nnamba n'ekitundu nga banyumya era nga bagabana ebigambo okuva mu Byawandiikibwa Ebitukuvu. Baali basanyufu nnyo mu kutabagana kuno, newankubadde nga obuzaale bwabwe tebwali bumu. Baaseka okutuusa n'amaaso bwe gajula amaziga.

Andrew yakitegera nti yali asanze baganda be. Olwo nno Andrew n'abalaga omugugu gwe ogwa Bayibuli, era olwo abaromaniya ne basanyuka nnyo era ne bamugwa mu kifuba emirundi mingi.

Akawungezi ako mu wooteri, omuwandiisi yasemberera Andrew n'amugamba nti; "Nnanoonyeza ekigambo "Agape" mu kitabo ekivvunula amakulu g'ekigambo. Naye si linnya lya lulimi. Kino kigambo kya Luyonaani ekitegeeza okwagala."

Andrew n'amuddamu n'amugamba nti; "Ky'ekyo. Akawungeezi ka leero konna mbadde nga njogera mu lulimi olwo."

Nawe omaze okuzuula olulimi luno olulungi. Mu Mulagirizi ono ojja kuyiga engeri Katonda gy'asobola okutugatta awamu ffenna mu luganda lwe olunene olw'okwagala.

1. EKKANISA YATONDEBWAWO LWA KUKUNG'ANA AWAMU

Yesu yatekawo ekkanisa olw'okuyamba obwetaavu obusooka obw'omuntu obw'okukuzibwa era n'okuwagirwa. Abantu ffenna tulina ebyetaago. Era bino ekkanisa by'ekolako. Ky'ekifo we tukung'anira era ne tuyambagana. Ebyawandiikibwa bitulaga ekkanisa ey'Abatume ey'amaanyi omwali abasajja n'abakazi mu kussa ekimu okw'essanyu era eyagaziwa n'etuuka eri Omuyinza w'Ebintu byonna, agamba bwati;

"Kye twalaba era kye twawulira, kye tubategeeza, nammwe mulyoke mutwegatteko mu KUSSA EKIMU ne Kitaffe era n'Omwana we Yesu Kristo. Era kino tubiwandiika, ESSANYU LYAFFE LIRYOKE LITUUKIRIRE." - 1 Yokana 1:3,4.

Abantu abalina emitima egyegasse awamu okuyita mu kukolagana ne Yesu era n'okukolagana na buli kinnomu kuleeta essanyu erijjulidde ddala. Bonna nga bogeera olulimi lumu, olulimi olw'okwagalana.

Abakristayo baafuuka ekitundu eky'olulyo lw'abantu olugazi. Baafuuka abooluganda n'ebannyina mu Kristo kubanga bonna balina Omwoyo og'okwagalana. Gye bakoma okuba abegaffu mu kukkiriza, gye bakoma okubeera Abakristayo ab'amannyi. Abantu b'amakanisa agatekebwawo Abatume ba Yesu baali beegasse wamu olw'okukkiriza kwabwe okutaalimu njawukana mu kwagala kwabwe eri Katonda, n'okwagala kwabwe okumuweereza, era n'olw'okubuulira ekisa kye eri ensi. Oluganda luno olw'okumpi olw'okussa ekimu ye yali ensonga lwaki ekkanisa entono etaalina maanyi eyali eyigganyizibwa yavvuunika ensi.

2. EKKANISA KRISTO GYE YATEEKAWO

Kristo alina ekkanisa? Oba ekirowoozo kyonna eky'enteekateeka y'eddiini kuvvumbula kwa muntu? Yesu addamu bwati;

"Nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno, so n'emiryango gy'emagombe tegirigiyinza." - Matayo 16:18.

Yesu lwe lwazi olwesigamwako, ejjinja ery'oku nsonda, ery'ekkanisa ye.
Kibiina ki ekyakola ekitundu eky'omusingi?

"Kubanga mwazimbibwa ku musingi be Batume ne bannabbi, Kristo Yesu yennyini bwali ejjinja eddene ey'oku nsonda." - Abaefeso 2:20.

Enjiri bwe yabuulirwa, Mukama kiki kye yakola?

"Mukama N'ABONGERANGAKO bulijjo abaali balokoka." - Ebikolwa 2:47.

Yesu bwe yateekawo ekkanisa ye yasuubiza nti, "emiryango egy'emagombe tegigenda kugiwangula" (Matayo 16:18), era ekyaliwo. Erina abalabe ab'amaanyi bangi - okuva ku bafuzi Abaruumi okutuuka ku bwa nnakyemalira obukomunisiti-omusaayi ogw'abajulizi baayo gugireetera buleetezi kweyongera kuba na maanyi. Omukristayo omu bwe yayokebwanga omuliro oba n'asuulibwa mu mpologoma, abalala bangi baagolokokanga ne batwala ekifo kye. Abatakkiriza bakoze ekitundu kyabwe okuggyawo ekkanisa, y'Abakristayo. Naye amazima g'obukristayo googeera kinene nnyo okusinga bwe kyali kibadde mu mulembe gwaffe guno ogw'ensi ogwa sayansi.

Okusomooza okumu okukyasingidde ddala obunene kwajja mangu ddala ekkanisa bwe yakkirizibwa ng'eddiini enkulu ey'eggwanga ey'obwakabaka bwa Abaruumi. Ekkanisa yakula n'efuna omukisa ate oluvannyuma ekyavaamu n'eyonnoonebwa. Mu myaka egy'ekizikiza yalabika ng'efude mu by'Omwoyo. Naye buli kiseera Mukama yakuumanga ensigo ey'obuzira era n'abakkiriza abeesigwa abo mu kiseera eky'obutafaayo oba ekizibu abaayakayakananga ng'emmunyenye mu kiro ekitaliiko mwezi.

Enkolagana ye kkanisa ne Kristo, Omutume Paulo agigerageranya n'omusajja omufumbo bw'alabirira bw'akuuma enkolagana ye ne mukazi we (Abaefezo 5:23-25). Ekkanisa maka g'abantu, nga buli muntu alina oluganda ne muntu munne ow'amaka ago era ng'akola olw'obulungi bwa munne (Abaefeso 2:19).

Omutume Paulo, era alaga ekkanisa nga omubiri omulamu nga gulina omutwe gwagwo nga ye Yesu Kristo yennyini (Bakolosayi 1:18).

Bwe tubatizibwa tukakasa okukkiriza kwaffe mu Kristo era ne tufuuka ekitundu ku mubiri gwa Kristo, y'ekkanisa ye.

"Bwe tutyo nafe ffena TWABATIZIBWA Mwoyo omu, NE TUFUUKA OMUBIRI GUMU, era ffena twafuuna Mwoyo omu." - 1 Abakolinso 12:13.

Ekitabo kya Kubukkulirwa kiwa ekifaananyi Yesu eyazuukira ng'atambulira mu makanisa ng'agirabirira (Kubukkulirwa 1:20,12,13). Kristo talekanga bantu be era tagenda kukikola.

3. EKKANISA ERINA EKIGENDERERWA

Eri Abakristayo kikulu nnyo okukung'ana mu kkanisa. Okukkiriza kwaffe okukula nga kulamu twetagga okuzzibwamu amannyi okw'abantu abalala. Ekkanisa erina emirimu emirala esatu emikulu okukola,
(1) Ekkanisa ekuuma amazima. Nga "empagi n'omusingi eby'amazima" (1 Timosewo 3:15), ekkanisa ewanirira era n'erwanirira amazima ga Katonda mu maaso g'ensi. Twetagga okuweebwa amagezi ag'awamu okuva mu bakkiriza abalala okutuyamba okulaba amazima agetaagibwa okuva mu Byawandiikibwa Ebikutuvu.
(2) Ekkanisa kyakulabirako eky'ebyo ekisa kya Katonda kye kisobola okukolera aboonoonyi. Okukyusibwa Kristo kw'akoze mu bulamu bw'abakkiriza kiwa obujulirwa ku Katonda eyatuyita "okuyingira mu kutangaala kwe okw'ekitalo" (1 Petero 2:9).
(3) Abantu ba Katonda be bajulirwa be eri ensi eri mu bwetaavu. Nga tannaba kuddayo mu ggulu Yesu yasuubiza abayigirizwa be nti,

"Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bwalimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange mu Yerusaalemu ne mu Buyadaaya ne mu Samaliya, n'okutuuka ku nkomerero y'ensi." - Bikolwa 1:8.

Mukisa munnene ekkanisa okutwala obubaka obw'okwagala obw'ekisa kya Katonda mu nsi.

4. EKKANISA OKUTEEKEBWATEEKEBWA OLW'OKUFUNA AMAANYI

Ekkanisa Kristo gye yateekawo yalina enteekateeka etegerekeka. Omuntu yali asobola okubeera mu yo, oba okuggyibwamu, obutabeera muntu wa kkanisa (Matayo 18:15-18). Ekkanisa ya Katonda yateekangawo abakulembeze era yalina ekitebe ekikulu eky'ensi yonna era n'ebifo ebya bulijjo awakung'anirwa (Bikolwa 8:14; 14:23; 15:2; 1 Timosewo 3:1-13). Abantu bwe baabatizibwanga beegattanga ku kibiina ekiteekateeke (Bikolwa 2:41 ne 47).

Ekkanisa ebeerawo olwa buli muntu okuzzamu munne amanyi.

"Tussenga Omwoyo ku kukubiriza bannaffe okwagalana n'okukola ebikolwa ebirungi. Tuleme kugayaaliriranga nkung'ana zaffe, ng'abamu bwe bakola. NAYE BULI OMU AGUMYE MUNNE, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lwa Mukama lunatera okutuuka." - Abebbulaniya 10:24, 25.

Kino ky'ekigendererwa ekikulu kyenyini ekibiina ky'ekkanisa ennamu ky'ekola. Abantu b'ekkanisa buli kinnomu azimba okukkiriza kwa munne, era buli omu n'azzaamu munne amaanyi. Katonda yateekateeka ekkanisa ye olw'okuzzamu amaanyi abantu ba Katonda era n'okuweereza ensi. Bwe tubeera awamu tusobola okukola kinene okusinga abantu kinnomu ng'ate tweyawuddeyawude. Twala eky'okulabirako kimu; eky'ekkanisa eya Seventh-Day Adventist. Tukola omulimu omugazi ogw'amalwaliiro okwetoloola ensi yonna - okutandikira mu motoka ez'eby'obulamu mu kibuga munda okutuuka ku bulwaliro obutono obuli ewala ennyo mu bizinga by'amambuka ga Pacific. Amasomero gaffe gasomesezza abavubuka emitwalo ne mitwalo okumanya obulamu obusingako obulungi mu Kristo okuva mu University ya Loma Linda, abatandiikiriza okusimbuliza emitima okutuuka ku busomero obutono obusaasaanye mu nda mu Afrika. Tuddukanya omulimu ogw'okuddukirira abagude mu njala era ne mu bizibu okuyita mu ADRA. Amakanisa aga bulijjo gayamba okwambaza era n'okuliisa abaavu n'abatalina mayumba mu nkumi ne nkumi mu Community Centers. Era ebibiina by'Abadventisti abakkiriza babuulira obubaka obw'obulokozi mu nsi ezissuka 200. Ekibiina ekiteeketeeke kyokka eky'abakristayo abewaddeyo be basobola okukola omulimu guno omugazi ogw'ensi yonna.

Kristo awamu n'Abatume baagerageranya ekkanisa n'omubiri era ne bakiraga nti ebitundu byonna eby'omubiri byetaagibwa (1 Abakolinso 12:21-28). Ebitundu byonna eby'omubiri tebifaanagana, naye byonna bikulu era byonna biteekwa okukolera awamu mu kukkiriziganya. Singa eriiso liggyiddwa ku mubiri teguyinza kulaba. Omukono bwe gutemebwa okuva mu mubiri guba nga tegukyalina mugaso. Si nsonga oba tuli liiso oba mukono oba ngalo, tetusobola kubeera ba mugaso singa tubeerawo ffeka. Bwe tubeera mu kkanisa, nga twegasse ku bitundu ebirala eby'omubiri, ng'abakristayo kituwa amaanyi.

5. ESSANYU ERY'OKUSINZA

Mu nda mu mitima gyaffe mulimu okwegomba okusinga Katonda, era okwegomba okwo tekuyinza kuggwaawo okujjako nga kulagiddwa. Omuwandiisi wa Zabbuli kiki kye yawuulira bwe yalowooza ku kugenda mu kifo eky'okusinza?

"NASANYUKA bwe bang'amba 'Nti tugende mu nnyumba ya MUKAMA." - Zabbuli 122:1.

Okuyimba kulina kitundu ki kye kukola mu kusinza okw'awamu?

"Muweereze Mukama n'essanyu, mujje mu maaso ge nga muyimba." - Zabbuli 100:2.

Bayibuli etutegeeza nti okuwaayo ebirabo nakyo kitundu kirungi mu kusinza Katonda.

"Mumuwe Mukama ekitiibwa ekigwanira erinnya lye. Muleete Ssaddaaka, mujje mu mpya ze. Kale mumusinze MUKAMA mu bulungi obw'obutukuvu." - Zabbuli 96:8-9.

Okusaba nakyo kitundu kikulu mu kusinza okw'abantu bonna.

"Mujje tumusinze, tumuvuunamire, tufukamire mu maaso ga MUKAMA omutonzi waffe." - Zabbuli 95:6.

Okuyiga ebyawandiikibwa ebitukuvu n'okubuulirwa gwe mutima gw'okusinza mu Ndagaana Empya. Okutandika n'okubuulira kwa Petero ku lunaku olwa Pentekonte okuli mu Bikolwa essuula 2, era n'okuva mu kiseera eky'okuzza obuggya okwa Abaprotestante n'okutuusa ku kiseera kye tulimu, okudda obuggya kwonna okw'amaanyi okw'eddiini kwesigamizibwa ku kubuulira okuva mu Bayibuli. Lwaki? "Kubanga ekigambo kya Katonda kiramu era kikozi kisala okusinga ekitala eky'obwogi obubiri" (Abebbulaniya 4:12-13).

6. EKITUUFU KU KKANISA KIRUWA?

Abantu abamu bakaayana nti ekkanisa ejjudde abantu aboonoonyi. Ekyo Henry Ward Beecher kye yayogera kituufu, yagamba bwati; "Ekkanisa si ky'ekifo eky'okulaga Abakristayo ab'enjawulo abalungi naye ly'essomero ery'okuyigiriza aboonoonyi."

Olw'okubanga kuffe ffena tekuli muntu mutuukirivu, n'ekkanisa tesobola kubeera ntuukirivu. Mu lumu ku ngero ze, Yesu yatujjukiza nti omuddo gukulira wamu ne ng'ano (Matayo 13:24-30). Bwe tusoma ebbaluwa za Paulo mu Ndagaano Empya, tukizuula nti ekkanisa y'omu kiseera eky'Abatume yalina ebizibu. Era n'ekkanisa ey'omu kiseera kya leero erina ebisobyo nkumu. Naye nsaba okujjukira nti tewali kkanisa erina ebisobyo esobola okuzikkiriza oba okutabulatabula Ejjinja Ekkulu Ery'okunsonda ery'ekkanisa - ye Yesu Kristo yennyini. N'olw'ekyo mu makanisa gaffe agatali matuukirivu tuteekwa okutuunuulira omulokozi waffe atuweereza. Newankubadde ng'ekkanisa erina ebisobyo ekkanisa yiye, n'olw'ekyo tunuulira Kristo.

"KRISTO YAYAGALA EKKANISA NE YEEWAAYO KU LWAYO; alyoke agitukuze ng'amaze okugirongoosa n'okuginaaza n'amazzi mu kigambo, alyoke agyeretere ye yennyini ekkanisa ey'ekitiibwa nga terina bbala newankubadde kyonna ekifaanana nga bino, naye ebeere entukuvu, eteriiko bulema." - Abeefeso 5:25-27.

Ekkanisa kintu kikulu nnyo eky'enkaniddewo eri Kristo kyeyava "yeewaayo ku lwayo" bwe yafa ku lwa buli kinnomu ku ffe era ne ku lwe kkanisa yonna awamu. N'olw'ekyo abantu b'ekkanisa bateekwa okuba ab'omuwendo gy'oli. Naawe oli kitundu eky'omubiri gwa Kristo?

7. OKUNOONYA EKKANISA

Kristo alina okukkiriza okutuufu kwa mirundi emeka mu nsi?

"Omubiri guli gumu, ne Mwoyo omu,… Mukama ali omu, n'okukkiriza kumu, n'okubatizibwa kumu." - Abeefeso 4:4,5.

Okuva nga Yesu bw'alina "okukkiriza okumu" okutuufu tusobola tutya okutegeera nti kwe kuno? Yesu atuwa ekisumuluzo kino nti;

"Buli ayagala okukola Katonda by'ayagala alitegeera oba nga bye njigiriza biva wa Katonda, oba byange ku bwange." - Yokana 7:17. (Soma ne Yokana 8:31,32.)

Bwe twewaayo okukola Katonda by'ayagala, ajja kutuyamba okulaba oba ng'okuyigiriza kwava eri Katonda oba kwava mu bulombolombo bw'abantu. Ekisumuluzo ekikulu ng'onoonya ekkanisa kwe kwetegereza enkolagana yaayo: y'ekkanisa n'Ekigambo kya Katonda. Okussa ekimu okw'amazima kwesigamizibwa ku byawandiikibwa so si ku mukulembeze yadde si ku bukulu bwa kkanisa.

Weeyongere okugenda ng'ozuula mu by'okuyiga ebya Omulagirizi ono, tambulira mu musana Katonda gw'akubbikkulira okuva mu Bayibuli, era ajja kukubikkuilra okwagala kwe gy'oli, Omukristayo akula ye muntu aggulawo omutima gwe n'ebirowoozo bye okukkiriza amazima ga Katonda nga bw'agamubikkulidde okuva mu kigambo kye.

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy