OKUYINGIRA
MU OBULAMU OBUKRISTAYO
Ebbaluwa
eno esanyusa eva mu omu ku babaka baffe ab'essomero lya Bayibuli mu
Africa:
"Emyaka
etaano egiyise nafuna ebbaluwa okuva mu EDDOBOOZI LY'OBUNNABBI, ng'ensaba
okukyalira omusibe eyali omuyizi w'essomero lya Bayibuli. Okusaba kuno
bwe nnakulaga eri ab'obuyinza abaali bafuga ekkomera, bankwatirwa ekisa
ne banzikiriza. Olw'okubanga omuyizi oyo yali yeetaaga nnyo okuyiga
Bayibuli; nnamukyaliranga buli kaseera.
Nga
wayiseewo emyezi mukaaga okuva ku kukyala kwange okwasooka, omuyizi
yansaba okubatizibwa, era yeegatta ku kkanisa. Ab'obuyinza bakkiriza
okutuwa ebintu eby'okukozesa olw'okubatiza omuntu mu kkomera. Abakuumi
b'ekkomera awamu n'abasibe abalala baakung'ana, okulaba omukolo ogw'okubatiza
ogukyasingidde ddala okuba ogw'ekitalo gyendi.
Mangu
ddala nga kino kimaze okubaawo owooluganda oyo yateebwa okuva mu kkomera
newankubadde nga yali akyalina yo ekiseera kiwanvu kye yali ateekwa
okubeera nga musibe mu kkomera. Bwe nnabuuza ensonga lwaki, yateebwa
nnategezebwa nti obulamu bwe bwali bukyukidde ddala kinene, era bwali
obujulirwa eri omulokozi n'eri eddiini ye bw'atyo n'aba nga takyasaana
kulowoozebwa, wadde okuyisibwa ng'omusibe. Omusajja ono yaddayo eka
ne yeegatta n'abantu ab'omu maka ge, era kati y'omu ku bakulambeze mu
kkanisa yaffe emu ennene mu Africa."
1.
AMAKULU G'OKUBATIZIBWA KYE KI?
Omusajja
ono omusibe bwe yafuuka omukristayo obulamu bwe ne bukyukira ddala,
lwaki kyali kikulu era nga kimwetaagisa okubatizibwa? Ng'ali mu mboozi
ne Nikoddeemu omukulembeze w'abantu, eyajja eri Yesu ekiro, Yesu yatangaaza
obukulu n'amakulu agali mu kubatizibwa:
"Omuntu
bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda
Omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo Omutukuvu, tayinza kuyingira bwakabaka
bwa Katonda." - Yokana 3:3,5.
Okusinziira
ku kuyigiriza kwa Yesu tuteekwa okuzaalibwa "amazzi n'oMwoyo Omutukuvu."
Okuzaalibwa Omwoyo kitegeeza okuyingira obulamu obuggya olw'okukyusibwa
ebirowoozo n'omutima. Olw'okubanga okuyingira obwakabaka bwa Katonda
kyetagiisa obulamu obuggya, so si kuddabiriza obulamu obukadde, ekyo
kiyitibwa okuzaalibwa obuggya. Okubatizibwa n'amazzi ke kabonero ak'okungulu
akalaga okukyuka okw'omu nda. Omubaka waffe yabatiza omusibe nga ke
kabonero akakasa okwewaayo kwe eri Kristo era akabonero ak'obukyufu
mu mpisa ze.
2. LWAKI NTEEKWA OKUBATIZIBWA?
Obulokozi
bwaffe bwetoloorera ku bikolwa bisatu ebikulu ebya Kristo:
"KRISTO
YAFA olw'ebibi byaffe, ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba, era nti YAZIIKIBWA,
N'AZUUKIRA ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe bigamba."
- 1 Bakolinso 15:3,4.
Kristo
yasobozesa obulokozi okubeerawo okuyita mu KUFA KWE, mu KUZIIKIBWA kwe
ne mu KUZUUKIRA KWE.
"Oba
temumanyi nga ffe ffena, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu, nga
TWABATIZIBWA KUYINGIRA MU KUFA KWE? Kyetwava TUZIIKIBWA AWAMU NAYE MU
KUBATIZIBWA okuyingira mu kufa: NGA KRISTO BWE YAZUUKIZIBWA MU BAFU
olw'ekitiibwa kya KITAAWE, BWE TUTYO NAFFE TUTAMBULIRENGA MU BULAMU
OBUGGYA." - Abaruumi 6:3,4.
Kristo
yafa olw'ebibi byaffe, yaziikibwa, ate n'azuukira okuva mu ntaana olw'okutuwa
obulamu obuggya obw'obutuukirivu. Naffe bwe tubatizibwa tuyingira mu
kufa kwe, mu kuziikibwa kwe, ne mu kuzuukira kwe. Okubatiza kitegeeza
nti twafa mu bibi byaffe awamu ne Kristo, ne tuziika obulamu bwaffe
obw'edda obw'ekibi awamu ne Kristo, era ne tuzuukira eri "obulamu
obuggya" mu Kristo. Okufa kwa Kristo era n'okuzuukira kwe, bifuuka
okufa kwaffe awamu n'okuzuukira kwaffe. Katonda asobola okututta ng'atujja
mu kibi, nga tufaanana nga ffe twakomererwa. Asobola okutufuula abalamu
mu bintu eby'Omwoyo, nga tuli nga ffe abaazuukira okuva mu kufa.
Ekikolwa
eky'omubiri eky'okubatizibwa kiraga amaddala ag'okukyuka. Okusooka byonna,
twannyikibwa mu mazzi ne tusaanawo mu ngeri y'emu nga abantu abafa bwe
bassibwa mu ntaana era ne baziikibwa.
Kino kiba kitegeeza tuli beeteefuteefu okufiira awamu ne Kristo era
n'okuziika obulamu obw'edda. Okubatizibwa mukolo gwa kuziika, omukolo
ogw'okungulu ogw'okusiibuula obulamu ekibi mwe kibadde kifugira. Olwo
nate ne tusitulibwa okuva mu mazzi olw'okubatizibwa okumu, mu ngeri
y'emu ng'omuntu azuukiziddwa okuva mu ntaana. Kino kiba kitegeeza nti
tufuuse "bitonde biggya," nga tweweereddeyo ddala eri obulamu
obuggya, Katonda bw'atuwa.
Okubatiza
okw'okunnyika kwokka kwe kunnyonnyola amakulu ag'amazima ag'okubatizibwa
- kwe kufa, n'okuziikibwa, n'okuzaalibwa obuggya. "Okubatizibwa"
okw'okuyiwako amazzi si kabonero akategeeza okuzaalibwa obuggya.
Okufiira
awamu ne Kristo mu butuufu ddala kitegeeza ki?
"Bwe
tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa wamu naye, omubiri
ogw'ekibi gulyoke guggyibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu ab'ekibi."
- Abaruumi 6:6.
Okubatizibwa
kulaga kungulu ekyo omuntu ky'akola mu nda: okujeemulukukira bulambalamba
Kristo. Singa twesigaliza ekintu kyonna ne tutakiwaayo eri Katonda olwo
tujja kusigala nga tukyali "baddu eri ekibi." Bwe tujeemulukukira
bulambalamba Kristo, okwegomba kwaffe okw'okukola ekibi, "kuggwaamu
amaanyi" era okukyuka kwaffe olwo ne kutandika.
Ani
avunaanyizibwa olw'okukyuka okwo okujja?
"Nakomererwa
wamu ne Kristo, naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye KRISTO YE MULAMU
MU NZE; era obulamu bwe nina kaakano mu mubiri, MBULINA LWA KUKKIRIZA
OMWANA WA KATONDA eyanjagala ne yeewaayo ku lwange." - Abagalatiya
2:20.
Bwe
nneegatta mu kukomererwa kwa Kristo okuyita mu kubatizibwa, mba mpise
amaanyi ag'obuyinza mu bulamu bwange - "Kristo ye mulamu mu nze."
Ng'oyagala okuteeka mu bujjuvu obulamu bwo mu mikono gya Kristo, sooka
otunule ku kufa kwa Yesu ku musaalaba. Totunuuliira ku kibi ekyo ekikutiisatiisa,
totunula ku bikolwa byo ebyayita olwo okaabe, naye tunula ku Kristo.
Ng'otunuulidde ekisa kya Kristo era n'okufa kwe okw'obuzira ku musaalaba,
okyasobola okwatula obwegaffu bwo naye nti: "olw'amaanyi ag'omusaalaba,
njatula nti ndi mufu mu mpisa zange ez'edda era nnyanukula Katonda.
Nnyimiridde wamu ne Kristo, okuva leero n'okweyongerayo, nja kubeera
nga mulamu 'olw'okukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala era ne yeewaayo
ku lwange.'"
Bwe
twegatta mu maanyi ag'okufa era n'okuzuukira kwa Kristo, tujja kweyongera
okulaba ng'empisa ze ennungi nga zigenda zitwala ekifo ky'empisa zaffe
embi ez'edda.
"Omuntu
yenna bw'aba MU KRISTO kyava abeera EKITONDE EKIGYA; eby'edda nga biweddewo;
laba, nga bifuuse bigya." - 2 Abalolinso 5:17.
Mu
maaso ga Katonda aba akyusiddwa okuva mu boonoonyi okudda mu batuukirivu,
tukulira mu butuukirivu obwo, era bwe tutyo bwe tubeera mu bulamu obugya
mu Kristo.
3.
LWAKI YESU YABATIZIBWA?
Ku
lunaku olwa Pentikote Petero yagamba abo abaali banoonya okusumululwa
okuva mu kusingibwa omusango nti, "mwenenye era mubatizibwe"
olwo Kristo asobole okubasonyiwa "ebibi byamwe" (Bikolwa 2:38).
Okuva nga Yesu bw'atakola kibi yadde ekimu, ate lwaki yeewaayo ye yennyini
okubatizibwa?
"Awo
Yesu n'ava e Galilaya n'atuuka ku Yoludaani eri Yokana amubatize
okutuukiriza obutuukirivu bwonna." - Matayo 3:13,15.
Yesu
teyakola kibi. Yali teyeetaaga kwenenya kibi kyonna. Yabatizibwa lwa
nsonga ndala: "okutuukiriza obutuukirivu bwonna." Yesu okubatizibwa,
yali atuteekerawo eky'okulabirako ekirungi eri ffe abantu abanafu, era
boonoonyi. Kristo tasabanga bagooberezi be okugenda mu kifo kyonna ye
gy'atabeeranga. N'olw'ekyo abakkiriza bwe bannyikibwa mu mazzi mu kubatizibwa,
baba bagooberera ebigere bya Mukama waabwe.
Kubanga
Kristo yafa ol'ebibi byaffe, asobola okutuwa obutuukirivu.
"Atamanya
kibi Katonda yamufuula ekibi ku lwaffe, ffe nga tuli mu ye tulyoke tufune
obutuukirivu bwa Katonda." - 2 Abakkolinso 5:21.
Nga
tumaze okukyusibwa mu Maaso ga Katonda, okuva mu bwonoonyi okufuulibwa
abatukuuvu, tukkulira mu "butuukirivu" obwo era ne tubeera
mu bulamu obuggya mu Kristo.
4.
LWAKI NTEEKWA OKUNNYIKIBWA?
Mu
kubatizibwa kwe, Yesu yannyikibwa teyamansirwako mazzi. Yokana ye yamubatiza
mu mugga Yoluddani "kubanga eyo ye yali amazzi mangi" (Yokana
3:23). Yesu bwe yabatizibwa, yakka wansi mu mazzi "Awo Yesu bwe
yamala okubatizibwa (bwe yannyikibwa, oluyonaani) amangu ago n'ava mu
mazzi" (Matayo 3:16).
Bwe
tumala okutegeera amakulu ag'amazima ag'okubatizibwa, tuba tulina obuzibu
butono okutegeera enkola ey'amazima ey'omukolo ogw'okubatiza.
Ekigambo kyennyini "okubatiza" kiva mu kigambo eky'oluyonaani
"baptizo," ekitegeeza okunnyika mu mazzi (okuteeka wansi mu
mazzi).
Mu
mwaka 1737, John Wesley bwe yakyala mu Amerika, olukiiko lw'ekkanisa
olw'abantu 34 baamuwozesa omusango ogw'enjawulo ogw'okugaana okubatiza
omwana wa mwami Parker okuggyako ng'amunnyise mu mazzi. Bwe bujulirwa
nti omukulembeze we kkanisa ya Bamethodist yabatizanga abantu be abakyukanga
ng'abannyika mu mazzi.
Omuzza
w'ekkanisa obuggya ayitibwa John Calvin yagamba bwati: "Kikakafu
nti okunnyika ye yali enkola ey'ekkanisa eyasooka" - Institutes
of the Christian Religion - ekitabo ekyo 4 essuula ya 15. Akatundu ake
19.
Ebyafaayo
eby'ekkanisa eyasooka bikiraga bulungi nti okubatiza kyali kitegeeza
kunnyika mu mazzi. Dean Stanley, ow'ekkanisa y'e Bungereza, yawandiika
bwati: "Ebyasa ebyasooka ekkumi, n'ebisatu omukolo ogw'ensi yonna
ogw'okubatizibwa gwali ogwo gwe tusomako mu Ndagaano Empya, era ge makulu
gennyini ag'ekigambo 'okubatiza' - nti abo bonna ababatizibwanga baasuulibwanga
mu mazzi, babaasanyangawo mu mazzi, bannyikibwa nga mu mazzi.'' - Christian
Institutions, Olupapula olwa 21.
Amabatirizo
omwannyikibwanga abantu abakyufu gasangibwa mu makanisa mangi agazimbibwa
wakati w'ekyasa eky'okuna n'eky'ekkumi n'ebina mu Bulaaya, ne mu Asia;
amakanisa okugeza nga mu Pisa mu Italy, era ne mu kkanisa esingira ddala
obunene ey'omu Rome ey'omutukirivu Yokana.
Okutuusa
ku lukiiko olw'e Ravenna bwe lwabeerawo, dda nnyo mu kyasa ek'y'ekkumi
n'ebitaano, ekkanisa y'abakatuliki lwe yakkiriza okufukako amazzi mu
kyenyi okuba nga kyenkana n'omukolo ogw'okunnyikibwa mu kubatizibwa.
Nga twebuuza ku mikolo egy'ekkanisa egy'okubatiza, tetujja kugobeerera
ekyo omuntu ky'ayigiriza, okuggyako ekya Kristo n'Abatume be kye batuyigiriza.
Abakristayo
bangi abeesigwa bagaala akalombolombo ak'okubatiza abaana abato, ddala
okuwaayo abaana abato eri Katonda okuviira ddala ku ntandikwa y'obulamu
bwabwe kitenderezebwa. Ne bwe kiba bwe kityo, naye Bayibuli ekiraga
bulungi nti omuntu ateekwa okusomesebwa ekkubo ery'obulokozi nga tannaba
kubatizibwa (Matayo 28:19,20), era nti omuntu ateekwa kumala kwenenya
ebibi bye era bisonyiyibwe nga tannaba kubatizibwa (Bikolwa 2:38). Omwana
omuto tasobola kukkiriza, okwenenya oba okwatula so ng'ate ebyo bye
biteekwa okukulembera okubatizibwa.
5.
LWAKI KIKULU NNYO OKUBATIZIBWA?
Okusinziira
ku kuyigiriza kwa Yesu okubatizibwa kyetaagibwa eri abo abagaala okuyingira
mu ggulu, agamba nti:
"Ddala
ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira
mu bwakabaka bwa Katonda." - Yokana 3:5.
Kino
ekisonyiwo Yesu yakiwa omuntu omu. Omubbi eyafiira ku musaalaba "yazaalibwa
Mwoyo," newankubadde kyali tekisoboka gy'ali okuva ku musaalaba
era agende annyikibwe mu mazzi ng'akabonero akalaga okukyuka kw'omu
mutima gwe. Era Yesu yamusuubiza okubeera naye mu bwakabaka (Luka 23:42,43).
Eri omubbi, "eby'okuzaalibwa amazzi era n'Omwoyo" kitegeeza
omusaayi gwa Yesu ogwo ogwayiika okumunaazako ebibi bye. Kino omusajja
Augustine kye yeetegereza: "Waliwo omulundi gumu ogwawandiikibwa
ogw'omuntu eyeenenya ng'agenda okufa ogw'omubbi eyafiira ku musaalaba,
omuntu yenna aleme okuggwaamu essuubi; era okwo kwokka omuntu yenna
aleme okumufaanana."
Yesu kennyini yawa okulabula kuno:
"Akkiriza
n'abatizibwa, alirokoka, naye atakkiriza omusango gulimusinga."
- Mako 16:16.
Yesu
okufa mu kifo kyaffe ku musaalaba e Gologoosa yalaga mu lwatu okwagala
kwe gye tuli. Awatali kukwatibwa nsonyi, naffe tuteekwa okumuddamu mu
lwatu mu ku batizibwa nga twatula okwewonga kwaffe gyali. Omaze okutandika
obulamu obuggya mu Kristo? Wabatizibwa? Oba nga tonnaba kubatizibwa,
lwaki toteekateeka kubatizibwa mu Kiseera ekitali ky'ewala?
6.
OKUBATIZIBWA NTANDIKWA BUTANDIKWA
Okubatizibwa
kulaga okwewaayo kwaffe eri, obulamu obukristayo. Naye okujeemulukuka
kwaffe ku kubatizibwa tekyakola kyokka nti kujja kubeerawo ekiseera
kyonna eky'obulamu.
Omwana
bw'azaalibwa, kiba kituufu okujaguza. Ng'olunaku olw'okuzaalibwa luwedde
n'essanyu nalyo likendera, omwana alina okuliisibwa buli lunaku, okunaaba
buli lunaku, n'okulabirirwa. Bwe kityo bwe kiri ne mu kubatizibwa. Omutume
Paulo yagambo bwati; ng'ayogera ku byamubeerako. "Nfa buli lunaku"
(1 Abakolinso 15:31). Nga buli lunaku tukyuka okuva mu kwerowoozako,
nga tweyongerayongera okujeemulukukira Kristo.
Omukolo
ogw'okubatizibwa, okufaanana ng'omukolo ogw'embaga gwateekebwateekebwa
okuba akabonero ak'okungulu akalaga nti enkolagana ey'ekitalo emaze
okutandika. Enkolagana eno, oba oluganda luno okukula buli kiseera twetaaga
okwewaayo buli lunaku eri Kristo, okufuna obulamu obuggya buli lunaku
okuyita mu kusaba n'okuyiga Bayibuli.
7.
EKIREETA OKUSANYUKA
Okubatizibwa
kuvaamu essanyu lingi nnyo kubanga abo abateeka okukkiriza kwabwe mu
Kristo balina obukakafu obw'obulamu obutaggwaawo. "Buli akkiriza
n'abatizibwa alirokoka" (Mako 16:16). Bwe tuba nga tumaze okubatizibwa,
tuba tukutte ekkubo erigenda waggulu okututuusa ku ssanyu ery'emirembe
gyonna.
Era
okubatizibwa kuleeta essanyu ery'omu kiseera kino ery'okubeera ne Kristo.
Atusuubiza ekirabo ekitagulwa sente eky'Omwoyo Omutukuvu eri abo ababatiziddwa
(Bikolwa 2:38). Awamu n'Omwoyo Omutukuvu tufuna "ekibala eky'Omwoyo"
- "okwagala," ekijjuza obulamu, "n'okugumikiriza, ekisa,
obulungi, obwesigwa, obuwombeefu era n'okwegendereza." (Abagalatiya
5:22,23).
Nga
Yesu ali mu ffe okuyita mu Mwoyo Omutukuvu kituwa obukakafu obw'okutegeera
okugenda ewala. Olw'okubanga "Omwoyo yennyini
ategeeza nga
tuli baana ba Katonda" (Abaruumi 8:15,16).
Oluganda
luno olw'okukuumibwa Katonda lutuleetera emigaso mingi, naye terutegeeza
nti obulamu bwaffe tebufune bizibu. Mu mazima, omulabe emirundi mingi
agezaako okukasukira ebizibu ebinene eri abo abakawaayo obulamu bwabwe
eri Kristo. Ne bwe kiba kitya, bwe tubeera mu mikono gya Katonda tukimanyi
nti ajja kukozesa ekintu kyonna ka kibe kirungi oba kibi okutuyamba
okutuyigiriza era n'okutuyamba okukula (Abaruumi 8:28).
Omukyala
omu omuvubuka yasalawo okuwaayo obulamu bwe eri Kristo era n'abatizibwa,
newankubadde nga bba yali amutisizatisiza okwawukana naye. Omwami we
teyayagala kwegatta mu nzikiriza ye empya, naye omukyala yeekwata ku
Yesu era n'agezaako okubeera omukyala ayagala omwami we okusinga nga
bwe kitabangawo. Naye ebiseera ebimu omwami ebintu yabifuulanga ebizibu
mu maka gaabwe. Naye oluvannyuma yawangulwa mu mpaka ze yali tasobola
kuddamu; bwe obulamu bw'amukyala we obukyufu. Omwami oyo naye yawaayo
obulamu bwe eri Kristo, naye n'abatizibwa.
Weekwate
kumpi ne Kristo okuyita mu mbeera yonna eriwo, ajja kutufuula eky'okulwanyisa
kye eky'amaanyi mu mikono gye. Tusobola okuwaayo obulamu bwaffe gy'ali
awatali bukwakurizo, kubanga ye yamala dda okwewaayo gye tuli bwe yasasula
omuwendo ogw'ebibi byaffe ku musaalaba. Nga mukisa munene okumuwa okwagala
kwaffe kwonna n'omukwano gwaffe mu lwatu. Bw'oba ng'ekyo tonnaba kukikola,
lwaki towaayo bulamu bwo eri Kristo kaakano. Musabe atonde mu ggwe obulamu
obuggya okuyita mu Mwoyo Omutukuvu olwo naawe obatizibwe okuyingira
mu Kristo.