EKY'AMA KY'EMPISA EZ'OBULAMU OBULUNGI Abanoonyereza
ab'omu kiseera kino batutte omutawaana okuwandiika amazima ago Bayibuli
ge yasooka okuteekawo. Ebitundu by'omuntu ebingi byegasse mu kimu. Emirundi
ebitundu bino bye twawula mu nti; omubiri, ebirowoozo era n'omwoyo nabyo
byegasse wamu era tebyawukananyizibwa. Mu
ngeri endala, ekyo ekikwata ku mubiri kikwata nekubirowoozo. Embeera
yaffe ey'eby'Omwoyo erina ky'ekola ku mubiri. N'embeera yaffe ey'omubiri
erina ky'ekola ku by'omwoyo. Omuntu kitundu kimu. Eky'okulabirako, abanoonyereza
aba saayansi bakizudde mu by'okuyiga byabwe ebiteeketeeke nti, essanyu,
okuseka okw'essanyu kuvaamu enkyukakyuka nnene mu maanyi agali mu mubiri
agawoonya endwadde. Osobola okuyamba omubiri gwo okugwongera okulwana
n'endwadde olw'okubeera ng'oli musanyufu. Eby'okuyiga byabwe bino biraga
engeri ebirowoozo gye bikolaganira awamu n'omubiri. Emyaka
nkumi na nkumi egyayita Ekigambo kya Katonda kyalaga obwegaffu buno
obuli wakati w'ebirowoozo n'omubiri ekyo ekyakakkirizibwa ennaku zino
mu mateeka ag'okujjanjaba ag'ekisawo. "Omutima
ogujaguza ddagala ddungi; Naye Omwoyo ogumenyesee gukaza amagumba."
- Ngero 17:22. Okusinziira
ku Mutume Yokana, ebikwata ku birowoozo, ne ku mubiri ne ku mwoyo bikolagana
bitya olw'omuntu n'asobola okubeera obulungi? "Omwagalwa,
NSABA OBEERENGA BULUNGI mu bigambo byonna era obeerenga n'obulamu ng'obulamu
bwo bwe bubeera obulungi." - 3 Yokana 2.
Omutonzi
waffe ayagala tubeere "n'obulamu obulungi" omutali ndwadde.
Ekigambo kya Katonda kisobola okutufuukira ensibuko ey'obulamu obulungi
ate era n'obulamu obutaggwaawo. Olw'okubanga
omubiri n'obulamu obw'ebirowoozo era n'embeera ennungi ey'omwoyo bigendera
wamu, Omutume Paulo kyeyava yeegayirira abantu bw'ati; "Kale
obanga mulya, obanga munywa, obanga mukola, ekigambo kyonna kyonna,
mukolenga byonna olw'ekitiibwa kya Katonda." - 1 Bakkolinso 10:31. Amawulire
amalungi aga Katonda gatwaliiramu okudda obuggya okw'emibiri gyaffe
n'omwoyo gwaffe. Enneeyisa ennungi ey'obulamu esobola okutuyamba okubeera
abakristayo abasanyufu. Wano tulinawo amateeka munaana ag'okugobereera bw'oba ng'oyagalira ddala okubeera n'obulamu obusingako obulungi era obuzaala ennyo. 1.
EMPEWO ENNUNGI Empewo
ennungi yeetagibwa olw'obulamu obulungi. Emisana n'ekiro nga weebase,
okuteeka obumooli ku nnyumba yammwe era ne ku bifo by'etukoleramu emirimu
kituwa obukakafu nti omusaayi gwo gujja kutwala empewo emala ku buli
kitundu eky'omubiri. Okusika
empewo ennungi okugenda mu mawugwe ku makya ng'otambula ly'ekkubo eddungi
okuyingiza empewo ennungi mu mubiri gwo. Ekika ky'empewo gye tussa nakyo kintu kikulu nnyo. Weegendereze obutabeera mu mpewo ewunya ennyo, oba mu gasi oba mu mpewo erimu obuwuka (bacteria), nga biva mu kintu ky'otamaanyi. Omukka ogunnyooka okuva mu bintu eby'okebwa gwonona empewo era ye kattira omukulu ow'abantu ow'ennaku zino. Abanonyereza aba sayaansi baakakasa dda omutawaana oguli wakati w'okunywa taaba (seggeereti) ne kokolo (cancer) ow'amawuggwe n'endwadde ez'omutima. Omubiri okumanyira okunywa obutwa obuyitibwa nakotini obuli mu seggeereti, kifuula okunywa seggeereti empisa esingira ddala okuba enzibu okulekayo. Okunywa segereti kijja kutta abantu obukadde 12 mu mwaka 2020, senga nga okunywa segereti okuliwo mu kiseera kino kunaagenda mu maaso. 2.
OMUSANA "Emigaso
gy'ebitangala eky'omusana mingi, Okulabula: "Omusana gukyayinza okubeera ogw'omutawaana. Singa omala ebbanga eddene mu musana gubabula olususu lw'eddiiba ly'omuntu, gwongera omutawaana ogw'obulwadde, obwa kokolo (cancer) ow'eddiba, gukaddiya mangu abantu, gwonoona amaaso era guleeta endwadde ey'ensenke ku maaso." (Ebiwandiiko byonna ebiri mu Mulagirizi ono bigyiddwa mu kitabo Look Up and Live, mu katabo ak'eby'okuyiga eby'abakulu eby'obulamu obulungi ak'emyezi esatu egisooka ak'omwaka 1993. Akawandiikibwa era ne kafulimizibwa (Nampa, Idaho: Pacific Press Publishing Association). Ebiwandiiko ebisinga obungi ebiri mu ky'okuyiga kino, newankubadde nga ebimu tebiragiddwa, bissimbuddwa era ne biyimpayizibwa nga bigyiddwa mu bawandiisi abo.) 3.
OKUWUMMULA Omubiri
guteekwa okuwummula gusobole okweddabiriza. Tuteekwa okufuna ekiseera
eky'okwezza obuggya era n'okuwummula okutewuluza ku bukoowu obw'emirimu
era n'obuvunanyizibwa obw'amaka. Awatali kufuna okuwummula okwetaagibwa,
abantu oluusi abafuna okweralikirira, okuggwaamu amaanyi era n'okulumizibwa.
Okunyigirizibwa ng'okwo okw'ebirowoozo kuvaamu okulwala, era ne kituwaliriza
okuwummuza emibiri gyaffe amangu nga tusasula ekiseera kyegutawummula.
Mu kwebaka okulungi okw'ekiro tewaliiwo kintu ky'osobola okuzza mu kifo
kyakwo. Okuzzaamu obuggya amaanyi ag'omwoyo gwaffe buli lunaku nakyo kikulu nnyo olw'obulamu obulungi obw'omubiri. Ekiseera ekya buli lunaku eky'omukristayo eky'okufumitiriza, okusoma Bayibuli, n'okusaba kijja kuwoonya omubiri n'Omwoyo. Twetaaga okuwummula okuva ku mirimu gyaffe egya buli lunaku, ate n'okuwummula ku lunaku olwa Ssabbiiti olw'okuwummula, n'okuwummula okw'omwaka oba okw'ekitundu eky'omwaka. 4.
OKUKOZESA OMUBIRI (EXERCISE) Okukozesa
omubiri kikulu nnyo olw'obulamu bwaffe obulungi: Bw'oba ng'obadde tokozesa mubiri (exercising), tandika mpola era genda nga weeyongera mpola nga bw'osobola okugumikiriza. Kyandibadde kya magezi okufuna okuweebwa amagezi okuva eri omusawo wo nga tonnaba kutandika. Ekigendererwa kyo kiteekwa okuba nga wennyigira mu kika kyonna eky'okukozesa omubiri (exercise) ekyo ekyenkanankana n'okutambula milo emu mu ddakiika 15 emirundi egisuuka ena buli wiiki. 5.
AMAZZI Okuva
ng'amazzi bwe getaagibwa mu buli katafaali (cell) ka mubiri, tuteekwa
okunywa amangi. 6.
OKULYA OKUTUUFU Ku
kutonda ensi, Katonda yalagira Adamu ne Kaawa okulya eby'okulya eby'ebinyeebwa
ensigo n'ebibala (Luberyeberye 1:29). Nga Adamu amaze okwonoona enva
zagattibwa mu by'okulya by'omuntu (Luberyeberye 3:18). Ng'amataba gamaze
okubeerawo, omutonzi yagattako ennyama "ennongoofu" ku by'okulya
byabwe (Luberyeberye 7:2-3, 9:1-6). Ennyama
ey'ensolo erimu amasavu ag'ekwata awamu, era n'okuzibikira emisuuwa,
kino ne kireeta omutawaana ogw'entunnusi, (pressure), omutima okusirika,
endwadde z'omutima, kokolo, okugejja, sukaali (diabetes), era nendwadde
endala nkumi. Ennaku zino abasawo bawa amagezi abantu abo abalya ennyama
okulya ennyama enkapa, ng'efumbidwa bulungi era n'eby'ennyanja, naye
birye bbalirirwe. Olw'okubanga
abantu abatalya nnyama be basingako okuba n'obulamu obulungi, era bawangaala
nnyo abakugu mu by'endiisa ne mu by'obulamu batukubiriza okudda ku mmere
eyasooka eyaweebwa omuntu ey'ebinyeebwa, ensigo era n'ebibala ate gataako
n'enva. By'ona
ng'oyagala okutandika okulya emmere eteriimu nnyama, kikakase nti oteekwa
kusooka okumanya engeri gy'osobola okuteekateeka emmere ennungi emala
awatali kukozesa nnyama. Lya ebigero bitaano oba mukaaga buli lunaku
eby'ebibala eby'enjawulo, ebinyeebwa, ensigo ebijanjalo era n'enva.
Enva eza kiragala ne za kyenvu awamu n'emicungwa, bikulu nnyo. Kozesa
obuwunga obw'ensigo yonna ng'esereddwa, era kozesa omukyere omumyufu
mu kifo ky'ogwo ogutukula. Sitaki ne carbohydrates biteekwa okuba ebigero
mukaaga buli lunaku. Mu kifo ky'amasavu ag'ensolo (butter) (omuzigo)
kozesa amasavu ag'ebibala. Endya eyo waggulu emala buli lunaku awatali
nnyama. Abo
abalondawo ennyama okuba ekitundu ku mmere yaabwe bateekwa okulya ensolo
ezo zokka ezalagirwa mu Bayibuli nga "nnongoofu" era zisaanira
okuliibwa abantu. Oluvannyuma lw'amataba Katonda bwe yakkiriza omuntu
okulya ennyama, (Luberyeberye 7:2-3, Abalevi 11:47). Yannyonnyola ennyama
ey'ensolo ennongoofu era n'ezo ezitali nnongoofu era ezitasaana kuliibwa.
Soma
mu Kitabo kya Abalevi 11 ne Ekyamaeteka 14 olabe omuwendo gw'ennyonyi,
n'ensolo, era n'eby'ennyanja Katonda bye yagaana okulya. Okusinzira
ku ssuula ezo, ensolo ennongoofu eteekwa okuba ng'erina ekigere ekyaseemu
ekyeyawuddemu era nga ezza obwenkulumu. Eby'ennyanja ebirongoofu biteekwa
okubeera nga birina amaggwa n'amagamba. Ennyonyi ezirya n'ennyama y'emirambo
gy'ensolo ezifudde teziriibwa zagaanibwa. Emu ku nsolo ezitali nnongoofu, embizzi eyogerwako mu ngeri ey'enjawulo era n'egaanibwa okuliibwa (Kyamateeka 14:8). Abantu nkumu abalongoosebwa emibiri gyabwe gisangibwamu akawuka Trichinea Obuwuka obusing'anyi obusirikitu buyingira mu bantu abalya ennyama y'embizzi. Okunoonyereza kwa saayansi okw'ennaku zino kweyongedde ne ku zuula ensonga lwaki Katonda embizzi yagiteeka mu nsolo ezitali nnongoofu. Ensonga emu esobola okuba endwadde ey'akabi, okugeza nga Trichinea obusiring'anyi obusagibwa mu nnyama yayo. Ensonga endala esobola okuba amasavu gaayo makwafu agonoona ebyenda by'omuntu ebigaaya emmere. 7.
OKWEWALA EBINTU EBY'AKABI Kulabula
ki Bayibuli kw'ewa mu kunywa omwenge? "Omwenge
Mukuddazi, ekitamiiza mulekaanyi, era buli akyama olw'ebyo talina magezi."
- Ngero 20:1. "Newankubadde
ababbi newankubadde abeegombi, newankubadde ABATAMIIVU, newankubadde
abavumi, newankubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda."
- 1 Bakkolinso 6:10. Omwenge
gw'onoona ebitundu eby'omubiri bino; Okunywa omwenge kwe kuvunaanyizibwa ku kitundu eky'abantu bangi abeetuga, okufa kw'abantu mu bubenje obw'ebidduka, okukwata abaana abato, era n'ennyombo mu maka. 8.
OKWESIGA AMAANYI GA KATONDA Omuntu
ali mu kutya oba alina omusango ajja kukisanga nga kizibu okufuna mu
bujjuvu enkola ey'obulamu obulungi bwe twakamala okubannyonnyola. Naye
omuntu alina okukkiriza okulungi mu Katonda ajja kufuna ensibuko ey'obulamu
obulungi. "Weebaze
MUKAMA ggwe emmeeme yange, so tewerabiranga birungi bye byonna. asonyiwa
ebikolwa byo byonna ebitali bya butukirivu, awonya ENDWADDE ZO ZONNA.
ANUNULE OBULAMU BWO BULEME OKUZIKIRIRA." - Zabbuli 103:2-4.
David
Larson, Omuwi w'amagezi mu ssomero ely'eggwanga ery'abalwadde b'emitwe
mu Amerika, yakola okunoonyereza okugazi ku bikwata ku nkolagana y'eddiini
n'eby'obulamu. Okuyiga kwe kwalaga enkolagana wakati w'omukristayo eyeewaaddeyo
era n'eby'obulamu. Kyamwewuunyisa okukiteegera nti: Abantu abo abagenda
mu kkanisa bawangaala okusinga abo abatagenda mu kkanisa. Abagenda mu
kkanisa endwadde ez'emitima zibarumba kinono, n'ez'emisuuwa, ne pureesa
era n'endwadde endala. Abo abalina okukkiriza mu Katonda bazaala nnyo,
kubanga emirundi mitono gye banyigirizibwa, oba okunywa omwenge, okusibibwa
mu makomera okwa buli kaseera ng'abamenyi b'amateeka ab'olulango, yadde
okwegatta mu bufumbo obutali busanyufu. Okwesiga amaanyi ga Katonda
ky'ekisumuluzo ekikulu ekituusa ku bulamu obulungi obw'amazima, obulamu
obulungi omutali ndwadde ate, era obusanyufu. Abantu
abaweera 50,000 abe kkanisa eya Seventh-Day Adventist, mu California
beekebejjebwa okumala emyaka 30. Ebyavaamu biraga nti; Abadventisti
abasajja (ng'obageragereanyiza n'abasajja abalala abatali Badventi)
bawangaala emyaka 8.9 okusinga abalala ate bo abakyala bawangaala emyaka
7.5 okusinga bannabwe ab'omulembe gwabwe. Okuyiga Abadventisti mu Holland,
Norway ne mu Poland nakwo kwalaga ebintu bye bimu. Abanoonyereza eky'okuwangaala
kwabwe kuno bakissa ku nsonga nti Abadventisti bassa mu nkola amateeka
ago gonna oba agamu ku go. Abo abagobeerera amateeka gano ag'obulamu
tebawangaala buwangaazi kyokka naye era balina obulamu obusingako obulungi. Bwe
tussa enjigiriza ya Bayibuli mu bulamu bwaffe kireetawo enjawulo mu
makubo gaffe gonna, nga kiwa obujulirwa obumatiza nti obukristayo y'eddiini
essinga okukola era n'obuteegevu mu nsi yonna. Ekyusa abantu endowooza
era n'ebikolwa byabwe era n'ebatondamu enkola ey'obulamu empya. Olw'okubanga
ebirowoozo n'omubiri era n'obulamu obw'omyoyo birina enkolagana ey'awamu,
Abakristayo abatambulira mu kigambo kya Katonda bajja kwagala okugobeerera
amateeka ag'enkola ey'obulamu obulungi nga beeteekerateekera okujja
kwa Yesu omulundi ogw'okubiri, (1 Yokana 3:1-3). Kristo tatwagaliza
kubeera beeteefuteefu olw'omulundi ogw'okubiri kyokka, naye era ayagala
tubeere n'obulamu obusingako obulungi mu bulamu obw'ekiseera kya kaakano.
Tusobola okwegatta naye nga tugobeerera amateeka ga Katonda ag'obulamu
obulungi. Yesu yasuubiza okutujja mu buli mpisa embi ezikiriza obulamu ng'ayita "mu maanyi ge agakolera muffe" (Abeeffeso 3:20). Singa nga ogezako okuwangula empisa embi eyonoona omubiri, okugeza: ng'okunywa seggeereti, oba okunywa omwenge, okugezaako kwo okusingira ddala obulungi okw'okuva ku mutawaana ogwo ekivaamu kuba kulemererwa. Naye bw'onegatta mu maanyi ga Katonda ago agakolera muffe, Katonda asobola okukuwa amaanyi n'owangula. Ekigambo kya Katonda kitusubiza nti, "Nnyinziza byonna mu Kristo oyo ampa amaanyi" (Bafiripi 4:13).
© 2002 The
Voice of Prophecy Radio Broadcast |
|