EKYAMA
KY'OKUKULA OKUYITA MU KUGABA
Larry
bwe yali mu nnyumba ya mwami Komori yali asanyukira emboozi emusanyusa
nga, bwanywa kyayi ow'ekijapani n'emigaati emikole mu mukyere, abagenyi
banne ne baggyayo Bayibuli zaabwe, bonna baamutunuulira nga naye bamusuubira
okubegattako. Omwami Kimori n'amubuzza nti "oyinza okutuwa eky'okuyiga
eky'olwa leero?"
Larry
kaabulakata ne kyayi amutuge. Ye yali alowooza nti okukung'ana kwabwe
okwo kwali kwa kwesanyusamu. Era mu kiseera ekyo yali talina kintu kyonna
kye yali alowooza kwogera.
Mu
mazima Larry yali asomesezzako ebibiina bingi ku ssomero ly'Abakristayo
ery'olungereza mu Japan gye yali akolera. Naye mu bibiina eby'okuyiga
byalinga biteeketeeke bulungi. Ng'okwogera ku Bayibuli takisangamu buzibu.
Naye okwogera ku Katonda mu kiseera ekyo kyali kirala nnyo.
Larry
okuva mu buto bwe yali awulidde eby'okuyiga bingi okuva mu Bayibuli.
Naye ye gy'ali ng'omuntu eby'okuyiga bino byali tebirina makulu. Yali
akola ebintu bye yali amanyi nti bikyamu mu maaso ga Katonda. Olwo yali
asobola atya okwogera ku Katonda ye kennyini gwe yali tamanyi?
Ng'atudde
awo ku ntebe, nga yeetolodwa abantu abamusuubira okubaako eky'okwogera'
yali anaatera okulemererwa oluwalo lwe. Ng'ali mu kutya, olunyiriri
olw'Omwoyo Omutukuvu ne lujja mu birowoozo bye olugamba nti:
Nga tuli mu maaso g'abantu okuwa obujulirwa Omwoyo ajja kutuwanga eky'okwogera
(Luka 12:12). Mu
kiseera kino kye yava awaayo okusaba olw'obuyambi era n'afuna olugero
olusinga okutegeerwa abantu bonna lwe wandirowoozezzako olw'omwana eyazaawa.
Bwe
yali ng'annyonnyola engeri Katonda gy'ayagala abantu newankubadde abo
abamuvaako, Larry yeesanga ng'ayogera ebyo ebiri mu mutima gwe. Ebigambo
bye byali nga biyingira mu nda. Nga gwe mulundi gwe ogusooka mu bulamu
bwe Larry yakikakasa nga Katonda bwe yali amwagala.
Ekiro
ekyo Larry yafukamira ku kitanda kye n'awaayo obulamu bwe eri Katonda,
era n'ekyenkomerero kino kyafuuka kya lubeerera. Okugabana okwagala
kwa Katonda n'abantu abalala yakifuula kikulu nnyo okusinga ebirowoozo
obulowoozo. Mu kiseera kino yali nsonga eyakola ku bulamu bwe.
1.
YESU ATUYITA TUKULE OLW'OKUGABA
Abatume
baali bamaze ekiseera kya myaka esatu n'ekitundu nga bayiga ebigambo
bya Kristo era n'ebikolwa bye, era n'eky'enkomerero ne balaba okufa
kwe era n'okuzuukira kwe. Nga Yesu anaatera okuddayo mu ggulu, yatuma
abatume be okubeera ababaka be.
"Naye
MULIWEEBWA AMAANYI Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mwe, nammwe
MUNAABANGA BAJULIRWA BANGE
n'okutuusa ku nkomerero y'ensi."
- Bikolwa 1:8.
Abagooberezi
ba Kristo bwe beewaayo bulambalamba gy'ali ku lunaku olwa Pentekonte,
Kristo eyazuukira yakyusa obulamu bwabwe okuyita mu maanyi ag'Omwoyo.
Baafuuka abajulizi, si eri omubiri gwa Yesu ogwazuukira n'okugenda mu
ggulu kyokka, naye era n'eri amaanyi ge agazuukiza agaali gakyusizza
obulamu bwabwe.
Ng'Abakristayo
naffe tulina okubeera abajulizi eri okuzuukira kwa Yesu, kubanga naffe
tufunye amaanyi ge agazza obuggya mu bulamu bwaffe.
"Kyokka
KATONDA ow'ekisa era atwagala ennyo, bwe twali NGA TUFIIRIDDE MU BUJEEMU
BWAFFE, YATUZUUKIZA WAMU NE KRISTO. Mwalokolebwa lwa kisa kya Katonda,
Nga tuli mu Kristo Yesu, Katonda yatuzuukiza wamu naye
yakola
ekyo ALYOKE ALAGE
OBULUNGI BWE N'EKISA KYE EKINGI ENNYO, kye yatukwatira
mu Kristo Yesu." - Abeefeso 2:4-7.
Yatuzuukiza
wamu ne Kristo, n'olw'ekyo tusobola "okulaga obulungi bwe n'ekisa
kye ekingi ennyo" era (Yesu) atusaba okutwala amawulire ge amalungi
ag'ekyo ky'asobola okukola mu bulamu bw'abantu bonna abali ku nsi, era
atusuubira okugenda awamu naffe bwe tunaakola bwe tutyo (Matayo 28:19-20).
Omwami
H.M.S Richards, omukulembeze w'okuweereza eddoboozi ly'obunnabbi ku
mpewo (Radio) omulundi ogumu yawa obujulirwa nti: "Ndabye okukyuka
kw'emitima gy'abantu abaawulira enjiri ya Kristo. Ntambudde ne ntuuka
mu nsi erinnya lya Katonda ne Kristo gye lyali litawulirwangako okutuusa
ekkanisa bwe yatwalayo obubaka. Ndabye abantu abo nga bakyuka okuva
mu bujama okudda mu buyonjo, okuva mu bulwadde okudda mu bulamu obulungi,
okuva mu kutya emizimu emibi okwa buli kaseera okudda mu ssanyu ery'obulamu
Obukristayo obw'essanyu. Ndabye okukyuka mu mbeera ez'abakyala. Ndabye
amaka ag'amazima amaKristayo nga gava mu kizikiza eky'obukafiiri mu
buli nsi gye nnakyalira ndabye obulamu bw'abantu nga bukyusiddwa. Nkimanyi
nti enjiri ya Kristo
ge maanyi ga Katonda ag'obulokozi (Abaruumi
1:16). Nkimanyi nti ekkanisa bw'ebuulira obubaka obw'enjiri, wabaawo
obukyufu mu mitima gy'abantu, mu maka g'abantu era ebyo birabikira mu
bulamu bw'abo abakkiriza okuyita kwayo."
Katonda
yatuwa ffe abantu abanafu ekitundu eky'enjawulo eky'okukola mu mulimu
guno ogusanyusa, kubanga okugabana kitundu kikulu eky'okukula kwaffe.
Okukkiriza kwaffe okusigala nga kulamu, kutekwa okulagibwa abalala.
Nga Larry bwe yakizuula nti okugabana okukkiriza kwaffe n'abalala kituyamba
nnyo okukuteeka mu bikolwa mu bujjuvu era ne kituviiramu okukula.
2.
TUGABANA KRISTO N'ABANTU ABALALA MU NGERI Y'OBULAMU GYE TWEYISAAMU
Omuvubuka
omuto eyakulira mu maka amabi olumu yakyetegeereza nti: Bwe natunuulira
eby'okulabirako abazadde bange bye bampa kya yonoona ekifaananyi kya
Katonda; Saafuna kifaananyi kyonna eky'omuntu anjagala. Abantu abatwetoorodde
beetaaga nnyo ekiyitiridde omuntu ajja okubawa ekifaananyi kya Katonda
ekiramu. Eky'okubuulira kyaffe ekisingira ddala amaanyi ekyangu ddala
y'embeera gye tweyisamu. Ng'omuntu tannaba kulowooza kyenkana wa ky'omanyi,
ateekwa okusooka okumanya omufaako kyenkana wa ky'omufaako. Omutume
Petero atukubiriza bwati:
"MUKUUMENGA
EMPISA ZAMMWE ENNUNGI olw'abantu ab'ensi be mulimu
BASOBOLE OKULABA
EBIRUNGI BYE MUKOLA, BAGULUMIZE KATONDA
kubanga ne KRISTO YABONYAABONYEZEBWA
KU LWAMMWE N'ABALEKERA EKY'OKULABIRAKO, MULYOKE MUMUGOBERERE."
- 1 Petero 2:12,21.
Nga
Kristo "bwe yabonyaabonyezebwa" ku lwaffe ku musaalaba, tulina
eky'okulabirako eky'okwagala okw'okwewaayo mu maaso gaffe. Okwagala
kuno, nga kuzaaliddwa mu ffe ng'ekikolwa eky'okwagala abalala, kisobola
okufuuka amaanyi ag'okuleeta abakkiriza mu mikono gya Kristo.
3.
TUGABANA KRISTO N'ABANTU ABALALA MU NGERI GYE TULOWOOZAMU
Setaani
bwe yalumba Yesu mu ddungu ng'amukema okulya, n'amalala, n'okwegulumiza,
Yesu yamulwanyisa n'amuwangula olw'okujjuliza mu byawandiikibwa ebitukuvu
(Matayo 4:4,7,10). Yesu yali mweteefuteefu kubanga yali ajjuzizza ebirowoozo
bye n'amazima ga Bayibuli.
Wano olutalo we tuluwangulira oba we lutulemera - mu birowoozo byaffe.
Agamba bwati:
"Kubanga
nga bw'alowooza munda ye bw'ali bw'atyo." - Ngero 23:7.
Abakristayo
abakulu balowooza bya mu ggulu. Balowooza ku bulamu obulungi bwe bageezaako
okufuna.
"Musanyukirenga
mu Mukama waffe bulijjo
Naye byonna mubitegeezenga Katonda; nga
MUSABA, nga mumwegayirira era nga mumwebaza. Emirembe gya Katonda egisukkiridde
okutegeera kwaffe, GINAAKUUMANGA EMITIMA GYAMMWE, N'EMYOYO GYAMMWE,
nga biri wamu ne Yesu Kristo. Ab'oluganda eky'enkomerero, ebyo BYONNA
EBY'AMAZIMA, ebissibwamu ekitiibwa, EBITUUFU, ebirongoofu, EBYAGALIBWA,
N'EBY'ETTENDO, bye muba mulowoozaako
Katonda ow'emirembe anaabeeranga
nammwe." - Abafiripi 4:4-9.
Ekyo
kye tuteeka mu birowoozo byaffe kye kitufuula ab'enjawulo. Bw'onootekamu
ebintu ebitalina mugaso mu bulamu bwo, ojja kujjamu obutaba na mugaso.
Teekamu ekigambo kya Katonda ojja kujjamu obulamu obutya Katonda.
4.
TUGABANA KRISTO N'ABANTU ABALALA MU NGERI GYE TUTUNULAMU
Ng'ababaka
abali mu kifo kya Kristo, Omukristayo ateekwa okuba ow'ekigero newankubadde
mu ntunula, nga yeewala ebintu byonna ebisukkiridde.
"Abamu
ku bbo bwe baba nga tebakkiriza kigambo kya Katonda, balyoke baleetebwe
mu kukkiriza olw'empisa zammwe ennungi, nga temuli na kye mubagambye.
Kubanga bajja kulaba empisa zammwe ennoongoofu era ezibassisaamu ekitiibwa.
Okweyonja kwammwe kulemenga kuba mu bya kungulu: mu misono gy'enviiri
n'egy'amajolobera aga Zzaabu n'egy'ebyambalo, naye kube kwa mutima munda:
OKWEYONJA OKUTAYONEENEKA, OKW'OMWOYO OMUWOOMBEEFU ERA OMUTEEFU. Okwo
kwe kw'omuwendo ennyo mu maaso ga Katonda. Kubanga n'abakazi ab'edda
abatukuvu, abaasuubiranga mu Katonda, bwe batyo bwe beeyonjanga, era
nga bawulize eri babbabwe." - 1 Petero 3:1-5.
Obwangu
mu nnyambala era ne mu kweyonja bulijjo kulaga empisa ez'amazima ezifaanana
eza Kristo. Eky'okugeza: abantu abalala batekwa okusikirizibwa okujja
gye tuli si lwa misono egy'ennyambala gye tukola, naye olw'obulamu kye
bukola ekyogera ku Kristo.
5.
TUGABANA KRISTO N'ABANTU ABALALA OLW'EBYO BYE TUKOLA
Omukugu
ow'ebyafaayo Edward Gibbon atutegeeza nti Gelerious bwe yawamba enkambi
eya Persia, ensawo emasamasa ey'eddiba eyali ejjudde amayinja ag'omuwendo
amangi yagwa mu mikono gy'abasirikale abaali banyaga ebintu. Omusajja
ono mu bwegendereza yakuuma ensawo ey'omuwendo ey'omugaso, naye n'asuula
amayinja ag'omuwendo omungi agagirimu.
Abantu
beekutte ku bulungi obw'okungulu obusanyusa amaaso, ensi bw'ebawa, naye
ne bagaana Yesu, ejjinja ekkulu ery'omuwendo omunene - basingako n'abasikale
bali abaali banyaga. Tetufiirwa bufiirwa mikisa okuva mu mikono gyaffe
kyokka naye tufiirwa obulokozi obutaggwaawo. N'olw'ekyo ekyawandiikibwa
kitulabula nti:
"Temwagalanga
nsi, wadde ebintu ebigirimu. Oyo ayagala ensi, tabaamu kwagala Kitaffe.
Kubanga buli ekiri mu nsi - okwegomba okw'omubiri, n'okwegomba okw'amaaso,
n'okwegulumiza okw'obulamu buno -ebyo tebiva eri Kitaffe, naye biva
mu nsi. Ensi eggwaawo n'okwegomba kwayo, naye akola Katonda by'ayagala,
abeerawo emirembe n'emireembe." - 1 Yokana 2:15-17.
Setaani
akola nnyo okulaba nga ebibi ebizikiriza awamu n'empisa embi abisiigako
Zzaabu oba akazigo. Bwe tulanga okunywa omwenge ku Radio ne mu mpapula
z'amawaulire, eri abavubuka tubalaga bulungi okukola ennyo, n'abantu
abayitiridde essanyu. Naye tetubalaga muntu anakuwadde ng'ava mu ttundiro
ly'omwenge, ng'agenda ataggatta, ate mu kiseera kyekimu ng'agobeddwa
ne ku mulimu.
Tuteekwa
okuba abegendereza eri emikwano egituleetera okusuula empisa ez'obukristayo
(2 Bakolinso 6:14). Mu butuufu, Kristo ayagala tubeere n'emikwano gy'abantu
abatali bakristayo. Okubeera n'emikwano y'enkola esookera ddala mwe
tuyita okugabana n'abantu abalala okukkiriza kwaffe. Kino kikakase nti
mukwano gwo oyo taakuzzeeyo emabega mu mpisa zo ez'edda enkadde.
Ekintu
kyonna kye tussa mu bulamu bwaffe, yadde ebyo ebitusanyusa bye tulonda,
birina kinene kye bikola ku bulamu bwaffe obw'Omwoyo. Tuteekwa okuba
abeegendereza ennyo ku ebyo bye tuteeka mu birowoozo byaffe:
"Siteekenga
kintu kyonna ekitasaana mu maaso gange." - Zabbuli 101:3.
Singa
tunaateekanga mu myoyo gyaffe ebyo ebisinga obulungi, ebisinga obubi
tebijja kutusika kutuzzaayo wansi. Okwekwata ku bintu ebyeddaala erya
waggulu mu bintu bye tuyingiza mu maka gaffe ne mu birowoozo byaffe
tekijja kukendeeza ku bulamu bwaffe. Omukristayo alina ebintu bingi
nnyo ebimuwa essanyu okusinga omuntu yenna omulala.
6.
TUGABANA KRISTO N'ABANTU ABALALA MU NGERI GYE TUGABA
Bwe
yali agenda okubatiza omukkiriza omuggya omusumba H.M.S Richards yagenda
okukyetegereza yali akyalina kaadi z'omuzaanyo gwa canisi mu nsawo ye.
Omusumba Richards kyeyava amubuuza oba nga yali yeerabidde okuleka ensimbi
ze mu kisenge ekyambalirwamu. Omusajja yamuddamu nti "ensawo yange
awamu nange tujja kubatizibwa wamu." Yali ategedde Omwoyo ogwamazima
ogw'obukristayo okuwaayo okw'okuyamba abantu abalala. Abakristayo bakula
lwa kugaba era eno y'ensonga lwaki Yesu yennyini yagamba nti "okugaba
kwa mukisa kusinga okutoola" (Bikolwa 20:35).
Ebyo
bye tuwaayo olw'okutwala mu maaso obwakabka bwa Katonda biba bya muwendo
ogutaggwaawo.
"Temweterekeranga
bugagga ku nsi kuno kwe bwonoonerwa ennyenje n'obutalagge, n'ababbi
kwe basimira ne babba, Naye MWETEREKERE OBUGAGGA MU GGULU
kubanga
obugagga bwo gye buba, n'omutima gwo gye guba." - Matayo 6:19-21.
Bw'oba
ng'owa, bino bijjukire: "Ensi ya Mukama era n'ebintu byonna ebigirimu"
(Zabbuli 24:1), ng'omwo mwotwalidde ne Zzaabu ne ffeeza (Kaggayi 2:8).
Ffe ku bwaffe tuli ba Katonda, kubanga yatutonda ate era yatununula
okuva mu kibi olw'okusasula omuwendo ogw'ebibi byaffe n'omusaayi gwe
(1 Bakkolinso 6:19-20). Buli kintu kyonna kye tulina kya Katonda, "kubanga
ye y'akuwa obuyinza okufuna obugagga" (Ekyamateeka 8:18).
Omulokozi
waffe eyakomererwa n'afa ate n'azuukira, atwegayirira kyenkana wa okugaba
olw'okutwala enjiri eri abalala?
"Omuntu
alinyaga Katonda? Era naye mmwe munnyaga nze. Naye mwogera nti twakunyaga
tutya? MWANNYAGAKO EKITUNDU KY'EKKUMI N'EBIWEEBWAYO. Mukolimiddwa ekikolimo
ekyo, kubanga munnyaga nze eggwanga lino lyonna. Muleete ekitundu ky'ekkumi
ekiramba mu ggwanika, ennyumba yange ebeeremu emmere, era munkeme nakyo,
bw'ayogera MUKAMA w'eggye, OBANGA SIRIBAGGULIRAWO EBITULI EBY'OMU GGULU
ne mbafukira omukisa, ne wataba na bbanga kuggyawo." - Malaki 3:8-10.
Ekitundu
ky'ekkumi kyekimu "ky'ekkumi eky'ebyo bye tufuna" (Ekyamateeka
14:22, Lubereberye 28:22). Eri omulimi n'eri omusuubuzi ekitundu eky'ekkumi
akijja ku magoba ng'amaze okuggyako ensimbi z'akozesa. Eri abo abakozi,
ekitundu ky'ekkumi tukiggya ku mpeera yonna gy'ofuna. Etteeka ery'okuwa
ebitundu eby'ekkumi tteeka lya mpisa anti litwaliramu empisa. Ekitundu
ky'ekkumi kya Katonda era kiteekwa okukozesebwa olw'okuwagira omulimu
gwa Kristo (1 Bakkoliso 9:14) era n'okumaliriza omulimu gwe ku nsi alyoke
akomewo (Matayo 24:14).
Yesu
bwe yajja ku nsi n'abeerako mu ffe, mu Ndagaano empya Yesu akakasa nkola
ey'ekitundu ky'ekkumi (Matayo 23:23).
Tuteekwa
okuwa ekirabo kyenkana wa obunene? Ekirabo kisinziira ku kusalawo kwa
buli muntu kinnomu. Buli muntu ateekwa okuwaayo ng'asinziira ku kusalawo
kwe mu mutima gwe (2 Bakkolinso 9:5-7).
Tetuyinza kuwa kirabo ne tusinga Katonda by'atuwa:
"Mugabenga
nammwe muligabirwa; ekigera ekirungi ekikkatiddwa, ekisuukundiddwa,
eky'omuyiika kye balibaweera mu kifuba." - Luka 6:38.
H.M.S
Richards omulundi gumu yatunnyonnyola ebyamubaako bino:
"Omukubi wa zzaala kayingo yajja mu nkung'ana zange mu Los Angeles,
era sigenda kwerabira kiseera kye nayogerako naye nga tuli ffeka ku
nkomerero y'ekisaawe. Yajjayo ensimbi ze zonna ze yalina mu nsawo ze
dolla 500, era n'azimpa zonna nga bw'agamba nti; 'kino kye kitundu kyange
eky'ekkumi ekisoose.'
"Omusajja
teyali bulungi, era yali talina ky'akola okugyako okukuba zzaala okumala
emyaka 30 oba 40, Olwo ne ndyoka mugamba nti, 'onoobeerawo otya?'
"Yaddamu nti, 'nsigaza dolla ttano oba mukaaga, naye zino endala
za Katonda.'
"Olwo ne mubuuza nti: 'onookola otya?'
"Yaddamu n'agamba nti: 'Simanyi, naye nkimanyi nti nteekwa okuwa
ekitundu eky'ekkumi kyange eri Katonda, era ye ajja kundabirira.'
"Era ddala kino Katonda yakikola. Okwenenya kw'omusajja ono kwali
kwa mazima. Ekiseera kye kyonna yakimala nga yeewaddeyo era yali musanyufu
mu bulamu bwe obw'obukristayo. Era Katonda yamuwanga byonna bye yeetaaga
okutuusa ku lunaku lwe yafiirako." Katonda tasuubizanga nti abantu
bonna abakkiriza ab'amazima bajja kubeera bagagga. Naye yatukakasa nti
Omutonzi waffe ajja kutuwanga ebyetaago eby'obulamu.
Kristo
yawaayo byonna ku lwaffe. Naffe ka tumuwe bulambalamba emitima gyaffe
kaakano. Katugabane Kristo n'abantu abalala, mu ngeri gye tubeeramu
mu bikolwa byaffe, mu ntunula yaffe, mu bikolwa byaffe era ne mu kugaba.
Lwaki teweezuulira essanyu eriri mu kugabana Kristo n'abantu abalala
era naffe tukulire mu kisa kye eky'ekitalo.