EKYAMA
EKITUUSA KU KIWUMMULO EKY'OMU GGULU
Emyaka
mitono egyakayita abantu abamu baalanga nti mu kiseera ekitali ky'ewala
tujja kubeera n'ekiseera eky'eggandaalo kinene nga tetumanyi na ngeri
ki gyetunakikozesa. Baalina ensonga ennungi okukola okulangirira okwo
okw'obwesige. Mu bibuga eby'ensi, omuli ebyuma bikalimagezi (Kompyuta)
byali nga bigayagaya omulimu ogukolebwa mu mwezi omulamu mu kaseera
ka dakiika ntono nyo. Era n'ebyuma (roboti), zaali zitandise okukola
emirimu egikooya agy'amakolero amanene.
Naye
nga Kompyuta zikola era n'ebyuma ebyekozesa byokka bikola emirimu, abantu
beeyongera kuba nga tebalina w'ebassiza mukka n'okusinga nga bwe kyali
kibadde. Ennaku zino abantu tebalina biseera. Ekisinga byonna, n'amaka
nago tegalina kiseera. Abasajja abafumbo ne bakyala baabwe bakisanga
nga kizibu okufuna "ekiseera ekirungi" okubeera n'abaana baabwe,
ng'ojjeko obutabeera na kyabwe bennyini.
Okuyiga
okumu, mu bantu abamu abatono, kwalaga nti ekiseera ekya buli lunaku
omusajja omuzadde ky'asobola okubeera ne batabani be zaali sekendisi
37 zokka. Amaka tegakyalina kiseera era tebakyasobola kusisinkana.
Tusobola
tutya okuddirizamu era tusobola okusisinkana?
1.
EDDAGALA ERY'OKUVUMULA OBULAMU OBULIMU OKUKAKALUKANA
Yesu
yamanya obuzibu bw'amaka agalina okunyigirizibwa era ayagala tutegeere
nti ekiwummulo eky'Omwoyo kyekimu ku bitundu ebikola obulamu obulungi.
Agamba bw'ati:
"MUJJE
GYE NDI, mmwe mmwenna abakoze ne mukoowa n'abazitoowereddwa, NZE NNABAWUMMUZA
era MUYIGIRE KU NZE, kubanga ndi muteefu era mwetoowaze mu mwoyo, MULIZUULIRA
EMYOYO GYAMMWE EKIWUMMULO." - Matayo 11:28,29.
Bayibuli
etuwa amagezi okufuna ekiwummulo eky'ekika kino mu ngeri bbiri, okujja
eri Yesu BULI LUNAKU era ana BULI WIIKI.
2. OKWEGATTA NE YESU BULI LUNAKU
Ebibiina
by'abantu buli kaseera byali byetaaga okubeerawo kwa Yesu. Era Yesu
mu mwoyo ogw'eddembe yakolagana na buli muntu eyamwetooloolanga. Yakikola
atya? Yafunanga ekiseera buli lunaku eky'okwogera nga ne Kitaawe ow'omu
ggulu. Yesu yeesigamanga ku Kitaawe buli kaseera olw'okufuna amaanyi
olw'ebizibu obw'obulamu (Yokana 6:57).
Singa
nga tunabeera n'obulamu obukkakkamu, obulamu obuteefu nga ye bwe yalina
tuteekwa okwesigama ku Yesu bulijjo - ka tukkirize ekigambo kye n'Omwoyo
we ajjule muffe era bituwunde ebirpwoozo. Ekkubo erisingako obulungi
ery'okulwanyisa amaanyi agasiiriza buli kinnomu era ne gatukutulakuturamu
ng'amaka kwe kugatta obulamu bwaffe awamu n'obwa Kristo. Atugamba bw'ati:
"MUBEERE
MU NZE, nange mbeere mu mmwe
kubanga NZE WE SIRI, TEMULIIKO KYE
MUYINZA KUKOLA." - Yokana 15:4,5.
Obwetaavu
obusingira ddala obunene obw'ekiseera kyaffe bwe bw'abantu okufuna amaanyi
ag'Omwoyo okuyita mu kuteekawo enkolagana eya buli lunaku ne Yesu. Ensonga
emu enkulu ennyo eteekwa okussibwako essira ku nkolagana yaffe ne Kristo
gwe mulimu gwe gwe yakola n'agumaliriza ku musaalaba. Kiwummulo eky'amazima,
obwekweko obw'amazima, busobola okubeerawo lwa nsonga emu yokka, kubanga
Yesu bwe yali ng'amaliriza omulimu yakaaba ng'afa ng'agamba nti, "Kiwedde"
(Yokana 19:30). Mu bigambo ebirala yali agamba nti omulimu gwe ogw'okutununula
gwali guwedde.
"Naye
kaakano OMULUNDI GUMU ku nkomerero ey'emirembe (Kristo) ALABISE OKUGGYAWO
EBIBI olw'okwewaayo yennyini." - Abebbulaniya 9:26.
Kristo
bwe yafa "yaggyawo ebibi." Eno y'ensonga ky'avudde lwaki kigambibwa
nti abakkiriza abo abeenenyezza ebibi byabwe (kabe musajja oba mukazi),
asobola "okuwummulira" mu mulimu ogwa Yesu ogwamalirizibwa.
Twakkirizibwa.
Omusango
guli mu buli kigere kye tutambula mu bulamu bwaffe kaakano. Naye Yesu
ku musaalaba, yamalawo omutawaana ogw'okusalirwa omusango omulundi gumu
ku lw'abantu bonna. Okukaaba kwa Yesu nti, "Kiwedde," kyateeka
akaboneero akakakasa ensonga ey'ekisuubizo kye nti, "nange nnabawummuza."
Kristo yamaliriza omulimu ogw'okutununula ku musaalaba (Tito 2:14).
Olwo n'awummulira mu ntaana ku Ssabbiiti ate n'azuukira okuva mu ntaana
enkya ku Sunday ng'awangudde ekibi awamu n'okufa. Abakristayo tebasobola
kubeera na bukakafu obusinga awo obw'okuwummulira mu mulimu gwa Yesu
ogwamalirizibwa.
"Kale
tusembere eri Katonda n'Omwoyo OGUTALIMU BUKUUSA, OGUJJUDDE OKUKKIRIZA
Tunyweze essubi lye tulina tuleme kulivaako kubanga KATONDA EYASUUBIZA
MWESIGWA." - Abebbulaniya 10:22,23.
Olw'okubanga
"eyatusuubiza mwesigwa" tusobola okuyingira mu kiwummulo eky'obulokozi
bwa Yesu kwe yatusuubiza. Obuwombeefu, emirembe era n'ekiwummulo kye
tufuna mu Yesu buli lunaku tebiva mu kintu kyonna ffe kye tukola, naye
biva mu ekyo Kristo kye yakola ku musaalaba.
Tusobola
okuwummulira mu Kristo kubanga obulokozi bwaffe bwakakasibwa. Obukakafu
obwo, butuleetera naffe okubeera ne Kristo buli lunaku nga tulya ku
Kigambo kye era nga tussa omukka ogw'eggulu okuyita mu kusaba. Okusisinkana
ne Yesu kituyamba okufuula obulamu obunyigirizibwa okuba obw'emirembe
era obulina ekigendererwa.
3. OBWEGAFFU NE YESU OBWA BULI WIIKI
Kristo
ng'amaze okutonda ensi mu nnaku omukaaga (Abakolosayi 1:16-17). Yateekawo
ekiwummulo ekya Ssabbiiti. Gwe mukisa gwaffe ogwa buli wiiki okuteekawo
obwegaffu naye.
"Katonda
n'alaba buli ky'akoze, era laba kirungi nyo. Ne buba akawungeezi ne
buba enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga. Ne bigwa okukola eggulu n'ensi
n'eggye lyabyo lyonna, Katonda n'amalira ku lunaku olw'omusanvu emirimu
gye gye yakola; n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna
gye yakola. Katonda n'awa omukisa olunaku olw'omusanvu n'alutukuza,
kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda
gye yakola." - Luberyeberye 1:31-2:3.
Nga
omutonzi waabwe, Yesu "yawummula" ku lunaku olwa Ssabbiiti
olwasooka awamu ne Adamu ne Kaawa, era "N'awa omukisa" olunaku
olwa Ssabbiiti era "n'alutukuza." Katonda ye yaateekawo enkola
eya wiiki ey'ennaku omusanvu si lwa bulungi bwe, naye lwa Adamu ne Kaawa
era ne ku lwaffe mu kiseera kino. Olw'okubanga yalowooza kinene olw'abantu
be be yali amaze okutonda, yabatekerawo buli lunaku olw'omusanvu okuyita
mu bulamu bwabwe okubeera nga luweereddwayo olw'okunoonya amaaso ge.
Buli Ssabbiiti, nga bwe yalutuuma, lwali lwa kubeera lunaku olw'okuwummulirako
mu byombi eby'omubiri n'okudda obuggya mu by'Omwoyo. Okuyingira kw'ekibi
mu nsi yaffe kyafuula ekiwummulo ekya Ssabbiiti okuba ekyetaagibwa ennyo.
Omulokozi
omu oyo eyasuubiza Adamu ne Kaawa "ekiwummulo," nga wayisewo
emyaka nga enkumi bbiri yawa Musa amateeka ku lusozi Sinaayi (1 Bakolinso
10:1-4). Yesu yalondawo okuteeka ekiwummulo ekya Ssabbiiti mu mutima
gwe nnyini ogw'Amateeka Ekkumi. Etteeka ery'okuna lisoma bwe liti:
"JJUKIRA
OLUNAKU OLWA SSABBIITI OKULUTUKUZANGA. Ennaku omukaaga okolanga emirimu
gyo gyonna; naye olunaku olw'omusanvu ye Ssabbiiti eri MUKAMA KATONDA
WO: Olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna, so naawe weeka,
newankubadde omwana wo omulenzi, newankubadde muwala wo, newankubadde
omuddu wo, newankubadde omuzaana wo, newankubadde ebisolo byo, newankubadde
munnaggwanga ali omumwo, kubanga mu nnaku omukaaga MUKAMA mweyakolera
eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku
olw'omusanvu; MUKAMA kyeyava ALUWA OMUKISA olunaku olwa Ssabbiiti, N'ALUTUKUZA."
- Kuva. 20:8-11.
Katonda
yateekawo olunaku olwa Ssabbiiti olunaku "olw'okujjukira"
Mukama "eyatonda eggulu n'ensi." Ekiwummulo ekya Ssabbiiti
buli wiiki kitugatta n'omutonzi waffe eyawa omukisa olunaku luno era
n'alwawuula ku nnaku endala.
Yesu
bwe yali ku nsi eno, yeefuniranga omukisa ogwa buli ngeri yonna ogw'okunyweza
obwegaffu ne Kitaawe. Yafuna omukisa okuva mu kiwummulo ekya Ssabbiiti
ng'asinza ku lunaku olwa Ssabbiiti, nga Luka bw'atutegeeza nti:
"Najja
Ennazalesi gye yakulira KU LUNAKU OLWA SSABBIITI nayimirira mu kung'aniro
NGA BWE YALI EMPISA YE, n'ayimirira okusoma." - Luka 4:16.
Oba
nga Yesu Katonda - omuntu yeetaaga okuwummula mu maaso ga Kitaawe ku
lunaku olwa Ssabbiiti, ffe ng'abantu obuntu mu butuufu ate ffe tusingawo
nyo okukyetaaga. Yesu bwe yajja enkuuma ya Ssabbiiti ey'e Kiyudaaya
ey'amateeka gye baali bagitaddeko, (Matayo 12:1-12), yakiraga nti Ssabbitti
Katonda yagiteekawo lwa kugasa muntu.
"N'abagamba
nti Ssabbiiti yabaawo ku lwa muntu so si omuntu ku lwa Ssabbiiti bwe
kityo Omwana w'Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti nayo." - Mako 2:27,
28.
Mu
kufa kwe Yesu yalaga obukulu bwa Ssabbiiti. Yafa ku Friday, "olunaku
olw'okuteekateka, nga Ssabbiiti enneetera okutandika." (Luka 23:54).
Ku lunaku olwo kwe yalangirira nti "Kiwedde," ekitegeeza nti
omulimu gwe ogw'okujja ku nsi kuno okufa mu kifo ky'olulyo olw'omuntu
gwali guwedde (Yokana 19:30; 4:34; 5:30). Bwe kityo olw'okussaamu ekitiibwa
omulimu gwe gwe yali amaze okukola, kyeyava awummulira mu ntaana ku
lunaku olwa Ssabbiiti.
Mu
ngeri y'emu, nga Kristo bwe yamaliriza emirimu gye egy'obutonzi ku lunaku
olw'omukaaga n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu, bwe kityo okuyita
mu kufa kwe ku musaalaba Yesu yamaliriza omulimu gwe ogw'okununula omuntu
ku lunaku olw'omukaaga era n'awummulira ku lunaku olwa Ssabbiiti.
Ku
lunaku olwa Sunday ku makya Yesu yava mu ntaana, omulokozi omuwanguzi
(Luka 24:1-7). Yali amaze okutegeeza abayigirizwa be okusisinkana naye
ku Ssabbiiti ng'amaze okuzuukizibwa. Ng'ayogera ku kuzikirizibwa kwa
Yerusalemi, ekyo okwaliiwo emyaka nga ana ng'amaze okufa, yabalagira
bw'ati:
"Nammwe
musabe ekiddukiro kyammwe kireme okuba mu biro eby'empewo newankubadde
ku Ssabbiiti." - Matayo 24:20.
Omulokozi
waffe yayagala Abatume be awamu n'abagobereezi baabwe okusigala nga
bassa mu nkola ebyo byonna bye yabayigirizanga (Yokana 15:15,16). Yayagala
bafune ebiwummulo byombi, ekiwummulo eky'obulokozi, era ekya Ssabbiiti.
Era nabo tebamuswaza. Abatume, nga Yesu amaze okufa baagenda mu maao
n'okukuuma Ssabbiiti. (Soma Luka 23:54-56; Bikolwa 13:14; 16:13; 17:2;
18:1-4).
Omutume
omwagalwa Yokana yakuumanga obwegaffu bwe ne Kristo ku lunaku olwa Ssabbiiti,
mu bbaluwa ye gye yawandiika mu myaka gye egy'oluvannyuma yagamba bw'ati:
"Nnali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama" (Kubikkulirwa 1:10).
Okusinziira ku kuyigiriza kwa Yesu "olunaku lwa Mukama" ye
Ssabbiiti, "kubanga Omwana w'Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti"
(Matayo 12:8).
Ku
lunaku olwa Ssabbiiti tujjaguza olw'ebikolwa ebibiri ebisinga obukulu
eby'okukola kwa Mukama waffe ku lwaffe. Olw'okututonda era n'okutununula.
Okukuuma Ssabbiiti kuno ne mu ggulu kugenda kubeerayo:
"Kubanga
eggulu eriggya n'ensi empya bye ndikola bwe birisigala mu maaso gange
bw'ayogera MUKAMA
okuva ku Ssabbiiti okutuuka ku Ssabbiiti, bonna
abalina omubiri banajjanga okusinza mu maaso gange bw'ayogera MUKAMA."
- Isaaya 66:22,23.
4. EMIGASO GY'EKIWUMMULO KYA SSABBIITI
Ennaku
zino abantu balinnya ku bannabwe mu bulamu bwabwe obujjudde emitawaana.
Abamu basiriira. Amaka gakutukamu olw'okunyigirizibwa. Naye Katonda
atuwa Ssabbiiti ng'ekkubo erisingako obulungi olw'okubeera n'obulamu
obulungi.
Leeka
twetegereze ekimu ku mikisa egy'enjawulo egy'ekiwummulo ekya Ssabbiiti.
(1)
SSABBIITI KIJJUKIZO KYA BUTONZI ERA OKUGIKUUMA NGA NTUKUVU, TUZIMBA
EKIJJUKIZO KY'OMUTONZI WAFFE. Essawa za Ssabbiiti entukuvu zituwa
omukisa ogw'enjawulo ogw'okwegatta mu nsibuko yaffe ey'obutonzi obw'ensi
obwa Katonda. Omulundi gwo ogwasembayo gwaliiwo di, ggwe n'abantu ab'omu
maka go lwe mwafuna ekiseera ne mukyalako mu kibira ekisirifu ekirungi
oba ku mugga oguliko ebiyiriro? Ssabbiiti etuwa ekiseera okubeera ko
ne Yesu era ne tulaba eby'amagero bye yatukolera.
(2)
KU SSABBIITI TUFUNA ESSANYU ERY'OKUSINZA ERA N'OKUKUNG'ANA N'ABAKRISTAYO
ABALALA. Waliwo emigaso egiva mu kuteendereza Katonda nga tuli wamu
ng'ekibiina eky'abantu abasinza. Ssabbiiti etuwa ekiseera eky'enjawulo
okusisinkana awamu ng'ekkanisa okuzza obuggya amaanyi g'emyoyo gyaffe.
(3)
SSABBIITI ETUWA EMIKISA OKUKOLA EBIKOLWA EBY'OKULOWOOZA EBY'EKISA.
Muliraanwa wo wakati mu wiiki abadde mulwaadde ng'ate tolina kiseera
kumukyalira? Mukwano gwo bwe yafiirwa omwami we nga yeetaaga okusaasira
n'okukubagizibwa era okunyigirizibwa okw'emirimu eggya buli lunaku gyakuziyiza
okumukyalira? Yesu atuwa amagezi nti: "Kale kirungi okukola obulungi
ku Ssabbiiti" (Matayo 12:12).
(4)
KU LUNAKU OLWA SSABBIITI LWE LUNAKU OLW'OKUZZAAMU AMAANYI EBIGATTA AMAKA.
Yesu bwe yalagira nti, "Ku lunaku olwa Ssabbiiti tokolanga mulimu
gwonna" (Kuva 20:10). Teyandisobodde kuwa kunnyonnyola okusingako
awo eri ba Ttaata abafa emirimu n'eri ba Mmaama bannyigirizibwa. Ssabbiiti
kye kipande ekinene ekisoma nti, YIMIRIRA eri amaka. Yimirira ojjemu
ebintu ebisinga okwetaagibwa mu ebyo ebisinga obukulu. Ssabbiiti lunaku
lumu lwe tusobola okuteeka okusaba mu kifo ky'okunnyigirizibwa, okuseka
mu kifo ky'okukola, okulowooza okw'akasirise mu kifo ky'oluseregende
olw'emirimu egy'okukola. Ekiwummulo kya Ssabbiiti kiwa abantu ab'omu
maka bonna okwegatta ne Kristo era n'okufuna amaanyi ge ag'omwoyo.
(5)
SSABBIITI KISEERA KYA KUSEMBERERA YESU MU NGERI EY'ENJAWULO. Enkolagana
yonna yeetaaga ekiseera ekirungi, n'enkolagana yaffe ne Yesu teyawukana
n'ekyo. Okuwaayo olunaku olulamba eri Yesu buli wiiki ly'ekkubo eddene
ery'okukuuma omukwana gwaffe ne Yesu nga mulamu ate nga gusanyusa. Ssabbiiti
etuwa ekiseera ekinene olw'okuyiga Bayibuli n'okusaba ekiseera ekinene
ekitalimu mitawaana nga tuli ne Yesu yekka mu kifo eky'akasirise nga
tumuwuliriza.
Yesu
"yawa omukisa olunaku olwa Ssabbiiti era n'alutukuza" n'ekisuubizo
eky'okubeerawo kwe (Luberyeberye 2:3). Osobola okukitegeera nti okukuuma
olunaku olwa Saturday, olunaku olw'omusanvu mu wiiki nga Ssabbiiti lwa
kubanga Yesu lwe yayawula okuva ku nnaku endala ku kutondebwa kw'ensi,
olw'okukolagananga naffe mu ngeri ey'enjawulo.
Yesu
bwe yateeka wo Ssabbiiti kirabikira ddala nti omulembe gwaffe guno gwamuli
mu biroowozo. Ekiwummulo kino tukyetaagira ddala mu mbeera yaffe gye
tulimu ey'okunyigirizibwa: Olunaku olutuggira ddala ku bintu byonna
ebirala. Olunaku olw'okusinza Katonda, tuyingire mu kutondebwa obuggya,
era tolowooze ku nkolagana yaffe ne Katonda okusinga okulowooza ku bintu.
5. OKULEGA KU KIWUMMULO EKY'OMU GGULU
Tusobola
okuwumbawumba emikisa egy'okwegatta ne Yesu ejja "buli lunaku"
n'ejja "buli wiiki" mu kigambo kimu - okuwummula. Ekigambo
"Ssabbiiti" kiva mu lulimi Olwebbulaniya ekitegeeza okuwummula,
n'olw'ekyo tekyewuunyisa ebyawandiikibwa ebitukuvu bwe biyita olunaku
olw'omusanvu "Ssabbiiti ey'okuwummula." (Balevi 23:3).
"Kubanga
olunaku olw'omusanvu lulina (Katonda) w'alwogererako awagamba nti: 'Katonda
n'awummulira emirimu gye gyonna ku lunaku olw'omusanvu.'
N'OLW'EKYO
ABANTU BA KATONDA BAKYALINAWO EKIWUUMULO EKY'OKU LUNAKU OLW'OMUSANVU
Kale tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo." - Abebbulaniya 4:4-11.
Okufuna
"ekiwummulo ekya Ssabbiiti" ekya buli wiiki kituwa okulega
ku sanyu liri lye tufuna mu kiwummulo ekitukiridde eky'omu ggulu. Ekiwummulo
kino si kya butakola kyokka, kikwata ku bukuumi bwe, emirembe, era n'okubeera
obulungi nga biva mu nsibuko y'obulamu obungi obw'amazima. Ekiwuumulo
eky'omwoyo eky'ekika kino tuyinza okukisanyukira nga tukissa mu nkola.
Obujjulirwa bw'abo abafunye ekiwummulo eky'obulokozi era n'ekiwummulo
ekya Ssabbiiti buli mu nsi yonna: "singa ng'oyingira mu kiwummulo
eky'okwegatta ne Yesu buli lunaku na buli wiiki, ojja kuzuula essanyu
erisingira ddala mu bulamu."
Wandyagadde
okwebaza Yesu olw'ekirabo kye eky'ekiwummulo? Wandyagadde okumwebaza
olw'ekisuubizo ky'ekiwummulo eky'obukolozi ekya buli lunaku olw'okusobola
okusisinkana n'ebintu ebisomooza obulamu era n'okumwebaza olw'ekisuubizo
eky'ekiwumulo ekya Ssabbiiti buli wiiki olw'okukakasa enkolagana yo
naye? Obanga tokikolanga, wandyagadde okukkiriza ekirabo ekyo bulokozi
ky'akuwa? Wandyagadde okumutegeeza nti oyagala okukuuma Ssabbiiti ye
buli wiiki. Wandyagadde okumugamba nti "Nzikiriza Mukama! Njagala
okuzuula essanyu mu lunaku lwe wassaawo." Lwaki tosobola kwewaayo
mu kiseera kino?
(Okyasobola
okwewuunya: ani eyakyusa Ssabbiiti okugijja ku Saturday, olunaku olw'omusanvu
mu wiiki ne baluzza ku Sunday, olunaku olusooka mu wiiki? Okukyusa kuno
kwaliiwo di? Katonda ye yalagira okukyusa kuno? Ebibuuzo bino byonna
bijja kuddibwamu mu Omulagirizi owa No.21.)