EKY'AMA KY'ESSANYU

Mu mwaka1943 ab'obuyinza obw'abakozi Abajapaani baalagira abantu ab'amawanga g'Abamerika n'aga Bulaaya "amawanga aga balabe" okukunganyizibwa mu nkambi ekuumirwamu abalabe mu China mu kitundu ekiyitibwa Shantung. Abasibe baali balina okugumiikiriza ekiseera eky'okukoowa, obutetaaya, okugottekebwa awamu era n'okutya. Obuntubulamu bwaggwaawo, obusungu bwa balinnya ku mitwe. Okuyombayomba ku bintu ebitaliimu kweyongera.

Naye eyali akuuma abantu bano yannyonnyola omusajja omu Erick Liddell, Omubuulizi w'enjiri eyava mu Scotland nti: "awatali kubuusabuusa Erick Liddell ye muntu eyasingira ddala okwetaagibwa, eyassibwangamu ekitiibwa era n'okwagalibwa mu nkambi."

Malaaya omurussia eyali mu nkambi oluvannyuma yajjukira Liddell nti ye yali omuntu yekka eyakukoleranga ekintu n'atayagala kumusasula. Omukyala oyo bwe yajja mu nkambi omulundi gwe ogwasooka ng'ali yekka omwami oyo ye yamuteekerawo amasa ga kabada ye.

Omukuumi omulala amujjukira nti "yalina ekitiibwa, yalina engeri ey'obuntu ey'okukkakkanya obusungu."

Mu lukung'ana olumu olwalimu abakuumi abaali bajjudde obusungu buli omu ng'akaayana nti wabeewo omuntu omu akolewo ekintu olw'abavubuka abato abalalulalu abaali batandise okufuna emitawaana. Liddell ye yaleeta n'ekintu ekyamalawo obuzibu. Yateekawo emizannyo, emirimu egy'okukola n'emikono era n'ebibiina by'abaana abato, era n'awaayo ekiseera kye eky'olw'eggulo ng'ali nabo.

Liddell yafuna etutumu n'ekitiibwa mu 1924 mu mizannyo gy'ensi yonna egya Olympic bwe yawangula omuddaali ogwa Zzaabu mu mbiro eza mita 400. Naye mu kisaawe kiri ekifunda yeeraga nga bwe yawangula bulungi embiro ez'Obukristayo n'ayanaamiriza abakuumi abasinga okubeera ab'ensi.

Kiki ekyamufuula okuba ow'enjawulo? Wali osobola okuzuula ekyama kye ku Ssaawa 12 eza buli nkya. Kino ky'ekiseera lwe yasoobanga mpola n'ava mu banne abaali beebase n'akoleeza ettabaaza ye n'atuula ku mmeeza ye n'asoma akatabo ke era ne Bayibuli ye. Erick Liddell yanoonya ekisa era n'amaanyi buli lunaku okuva mu bugagga obw'ekigambo kya Katonda.

1. EKITABO EKIKULEMBERA OKUTUUSA KU MPISA EZ'OBUKRISTAYO

Bayibuli yawandiikibwa nga ky'ekitabo ekikulembera Omukristayo. Ejjudde ebyafaayo eby'abantu bennyini abaali nga ffe abaatuukibwako ebintu ebizibu ebisoomoza obulamu ebifaanana ng'ebyo naffe bye tutuukako buli lunaku. Okumanya abantu bano; essanyu lyabwe era n'ennaku yaabwe, obuzibu bwabwe era n'emikisa gyabwe bituyamba okukula ng'Abakristayo.

Omuwandiisi wa Zabbuli awa ekifaananyi ekya buli lunaku okwesigama ku kigambo kya Katonda ng'akigerageranya n'ettaala oba toki.

"Ekigambo kyo ye tabaaza eri ebigere byange, n'omusana eri ekkubo lyange." - Zabbuli 119:105.

Omusana gwe tufuna buli lunaku okuva mu Bayibuli gulaga lwatu empisa n'amateeka agetaagibwa mu kukula okw'eby'Omwoyo. Ekisinga byonna, Bayibuli etulaga Yesu, omusana ogw'ensi. Obulamu bubeera n'amakulu singa Yesu abwakira.

2. OMUKWANO OGUTUKYUSA

Kristo ayagala Bayibuli ebeere ng'ebbaluwa eva ewa mukwano gwo akuli okumpi.

"Mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawuulira eri Kitange mbibabuulidde." - Yokana 15:15.

Yesu atwagaliza ekisingira ddala obulungi ku lw'obulamu bwaffe - Eri abo abakyesiga ne kibayigiriza. Ekigambo kye kituyingiza munda mu luganda olw'enkolagana ne Katonda.

"Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze." - Yokana 16:33.

Okufuna emirembe gino n'obukakafu bunno obw'enkolagana ne Kristo, tuteekwa okusoma ebbaluwa gy'atuweereza. Ekyo Bayibuli kyeri: Ebbaluwa evudde mu ggulu. Tova ku bbaluwa eno n'ogireka nga togibikkudde. Obubaka obukyusa bwe weetaaga kye Kigambo kya Katonda.

Wano waliwo ek'yokulabirako kimu eky'obujulirwa, ku maanyi ga Bayibuli: "Nali nneetaaga obuyambi era nnabusanga mu Yesu. Buli kyetaago kyange kyonna kyampeebwa, enjala y'Omwoyo gwange yamatizibwa. Nze gyendi, Bayibuli embikkulira Kristo. Nzikkiriza mu Yesu kubanga gyendi ye Mulokozi Katonda. Nzikiriza mu Bayibuli kubanga nnagizuula nga ly'eddoboozi lya Katonda eri obulamu bwange." - The Ministry of Healing, p. 461.

3. EBIKULEMBERA OBULAMU OKUBEERA MU BAYIBULI NE MU MATEEKA EKKUMI

Mu bwangu, bwe tutunula ku mateeka ekkumi kijja kutuyamba okutegeera lwaki amateeka ago ne Bayibuli gy'emisingi egyetaagibwa mu bulamu obulungi

Amateeka ekkumi gawuulwamu ebitundu bibiri, Ekitundu ekisooka eky'amateeka ana gannyonyola enkolagana yaffe ne Katonda, era n'amalala omukaaga agasembayo gannyonnyola enkolagana ne bantu bannaffe. Amateeka gano gasangibwa mu kitabo kya Kuva 20:3-17.

AMATEEKA AGASOOKA ABIRI GALAGA ENKOLAGANA YAFFE NE KATONDA ERA N'E KITIIBWA KYE.
I. "Tobanga na bakatonda balala we ndi."
II. "Teweekoleranga kifaananyi ekyole Tobivunamiranga so Tobisinzanga."
AMATEEKA ERYO 3 N'ERYO 4, GATULAGA ENKOLAGANA YAFFE N'ERINNYA LYE ERA N'OLUNAKU LWE OLUTUKUVU.
III. "Tolayiriranga bwerere mu linnya lya Mukama Katonda wo."
IV. "Jjukira olunaku olwa Ssabiiti okulutukuzanga, ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo, naye olunnaku olw'omusaavu ye Ssabbitti eri MUKAMA KATONDA WO…"
ETTEEKA ERY'OKUTAANO N'ERY'OMUSANVU GAKUUMA
ENKOLAGANA Y'ABANTU EY'OMU MAKA.

V. "Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa."
VII. "Toyendanga."
ETTEEKA ERYO 6,8,9 NE 10 GAKUUMA ENKOLAGANA YAFFE N'ABANTU B'ANAFFE.
VI. "Tottanga."
VIII. "Tobbanga."
IX. "Towayirizanga muntu munno."
X. "Teweegombanga nnyumba ya muntu munno, Teweegombanga mukazi wa muntu munno, oba newankubadde ekintu kyonna ekya muntu munno."

Amateeka ekkumi gannyonnyola enkolagana yaffe eri Katonda n'eri abantu abalala. Ge gatulagirira okkubo ery'obulamu Obukristayo.

4. KIKI YESU KYE YAYOGERA KU MATEEKA EKKUMI?

Olunaku olumu Yesu yali ayigiriza omusajja omuvubuka omujagujagu n'agenda gy'ali n'amubuuza nti, "Omuyigiriza nkole kigambo ki ekirungi mbeere n'obulamu obutaggwaawo?" (Matayo 19:16). Kristo yasobola okumulaba ng'alina obuzibu obw'eby'ensimbi era n'amuwa amagezi okweggyako eby'obugagga byonna era "agondere amateeka" (olunyiriri olwa 17).

Omuvubuka yagezaako okwewala eddagala ly'ebizibu bye Yesu lye yamuwa ng'abuuza ekibuuzo nti tteeka ki lye yali ayogerako. Yesu n'amulaga amateeka mangi ku mateeka ekkumi (olunyiriri olwa 18:19).

Eky'enkomerero, "Omuvubuka omugagga yakyuka era n'atambula nga yenna munakuwavu" (olunyiriri olwa 20-22). Yali asobola okukwata mu bwongo ebigambo by'amateeka ekkumi, naye yali tasobola kugondera Mwoyo gw'amateeka okulekayo enkola ye ey'okwerowoozako yekka mu bulamu.

Amateeka ekkumi galaga ensalo we tukoma mwetuberera n'enkolagana ennamu, enkola eya Katonda n'ey'abantu abalala. Yesu yalaga nti obuwulize ly'ekkubo erituusa abantu ku ssanyu ery'a mazima. Agamba bw'ati:

"Bwe MUKWATA EBIRAGIRO BYANGE munaaberanga mu kwagala kwange, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange ne mbeera mu kwagala kwe. EBYO MBIBAGAMBYE, essanyu lye nnina lilyoke libeere ne mu mmwe, era ESSANYU LYAMMWE LILYOKE LITUUKIRIRE." - Yokanna 15:10, 11.

5. OMUKULEMBEZE AKUTUUSA KU BULAMU OBW'ESSANYU

Ekitabo kya Mubuulizi ye ripota eyava mu kunoonyereza kwa Sulemani ng'anoonya essanyu. Awandiika okunoonya kwe essanyu mu bugagga obw'ensi, mu mayumba amanene amalungi, mu nnimiro ez'emizabbibu, mu nnimiro ennungi ne mu nnimiro ez'ebibala ebiwunya obulungi. Yakung'anya abaddu bangi. Yeesanga nga yeetooloddwa buli kintu omuntu ky'asobola okwegomba. Naye essanyu lyamudduka, era yawandiika bwati:

"Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola, era laba byonna butaliimu na kugoberera mpewo." - Omubuulizi 2:11.

Sulemani nate yakyuka okunoonya essanyu okuva mu bugagga obw'ensi eno ng'asuubira okufuna essanyu. Yagenda mu kunywa omwenge, mu kwagala abakazi, era ne mu nnyimba. Okumaliriza kwe agamba nti:

"Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna bw'ayogera Omubuulizi byonna butaalimu." - Omubuulizi 12:8.

Sulemani olumu yali aleze era ng'alabye nti Mukama mulungi. Bwe yagerageranya obulamu bwe obwo obwasooka obw'obuwulize eri Katonda n'obulamu obw'obutafaayo obw'okugoberela essanyu mu bintu eby'ekibi; okusalawo kwe okw'enkomerero kwe kuno:

"Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa, otyanga katonda okwatanga ebiragiro bye kubanga ebyo bye byonna ebigwanira omuntu." - Omubuulizi 12:13.

Sulemani yali akiwulira nti ayinza okufuna essanyu okuyita mu kkubo ery'amakutu ery'obutaba muntu mulamu, ku nkomerero y'obulamu bwe, yali musajja akuze ekimala okukkiriza ensobi ye. Olw'okulokola abantu abalala baleme kugwa mu nsobi y'emu eyo, kyeyava awandiika nti:

"Naye akwata amateeka alinna omukisa." - Ngero 29:18.

6. AMATEEKA EKKUMI OMUKULEMBEZE OW'ENDAGANO EMPYA ATATEEKWA KUVAAWO

Mu Ndagaano Empya Omutume Yakobo yawa obujulirwa nti:

"Buli akwata amateeka gonna kyokka n'asobya mu limu, aba n'omusango ogw'okumenya amateeka gonna. Kubanga eyagamba nti "Toyenda nga" era ye yagamba nti; "Tottanga muntu" kale bw'otoyende naye n'otta omuntu, oba mumenyi wa mateeka… N'olw'ekyo mwogera era mukolenga ng'ab'okusalirwa omusango, ng'amateeka agatufuula ab'eddembe bwe gali." - Yakobo 2:10-12.

Charles Spergeon Omubuulizi w'enjiri kayingo ow'e kkanisa eya Baptist ow'ekyasa ekyayita, yagamba nti; "Amateeka ga Katonda matukuvu gava mu ggulu matuukirivu… Ebiragiro byago si bingi nnyo; tewali n'erimu ku go ettono ennyo, naye tewali kintu kyonna ky'ogagerageranya nago era obutuukirivu bwago ky'ekikakasa nti ga Katonda."

John Wesley, omu ku batandisi b'ekkanisa eya Methodist, yawandiika bino ku kubeerawo n'obutavaawo bw'amateeka: "Amateeka ag'empisa ennungi agasangibwa mu Mateeka ekkumi… Kristo teyagaggyawo… Buli kitundu kyonna mu Mateeka gano kiteekwa okusigala nga gafuga abantu bonna ate ab'emirembe gyonna." - Sermon, omuzingo, 1, olupapula 221, 222.

Billy Graham, Omubuulizi ow'ensi yonna asinga okussibwamu ekitiibwa ow'aba Evangilical atwala Amateeka Ekkumi okuba aga wagulu ennyo era bwe kityo kye yava awandiika ekitabo ekiramba ku bukulu bwago eri Omukristayo.

7. AMAANYI OKUGAGONDERA

Bayibuli awamu n'Amateeka Ekkumi tekyusibwa, teteekwa kuvaawo ye mukulembeze Omutuukirivu atuusa abantu ku bulamu obw'essanyu naye emitima gyaffe gikyalimu entalo. Omukyala omu yannyonnyola bwati: "Nzikiriza nti Amateeka ekkumi gakyafuga, era ndi mukakafu nti okugakuuma kituusa abantu ku bulamu obw'essanyu. Ngezezzako kyonna ky'ensobola okugakuuma, naye sikisobola. Era ntandise okukkiriza nti tewali muntu mulala yenna asobola kugakuuma."

Obunafu bw'obuzaaliranwa bw'omuntu kwe kugezaako okubeera n'obulamu obugondera ebiragiro bya Katonda. Naye ebiva mu kugeezako nga kuno, okuva mu mutima ogw'ekizikiza ogw'omuntu kwe kukkiriza okulemwa nti "sisobola kugagondera." Lwaki? Kubanga:

"Kubanga okulowooza okw'omubiri bwe bulabe eri Katonda, tekufugibwa Mateeka ga Katonda kubanga n'okuyinza tegakuyinza." - Abaruumi 8:7.

Ekigendererwa ky'Amateeka Ekkumi kye kiruwa?

"Kubanga Amateeka ge gamanyisa ekibi." - Abaruumi 3:20.

Omulimu gw'Amateeka kwe kutukulembera okukakasiza ddala nti tuli boonoonyi abaabula abatalina ssuubi twetaaga Omulokozi.

"Bwe kityo Amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza." - Abagalatiya 3:24.

Yesu ky'eky'okuddamu; Bwe tujja ku bigere bya Yesu nga tuli mu butesobola bwaffe, olw'okukkiriza tusobola okufuna okusonyiyibwa ebibi byaffe era n'amaanyi okuva gy'ali okugondera Amateeka ge.

8. OKWAGALA OKUGONDERA AMATEEKA EKKUMI

Yesu atutegeeza nti okwagala kwe kuvaamu obuwulize.

"Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange." - Yokana 14:15.

Singa twagala Katonda, tujja kugondera Amateeka ana agasooka ago agannyonnyola enkolagana wakati waffe ne Katonda, era singa twagala abantu tujja kugondera Amateeka omukaaga agasembayo agannyonnyola enkolagana yaffe ne bantu bannaffe.

Omuntu yenna alinnyirira Amateeka Ekkumi akola ebibi.

"Omuntu yenna akola ebibi amenya Amateeka." - 1 Yokana 3:4.

Naye Katonda yeebale, tulina omulokozi eyajja ku nsi n'afa era n'azuukizibwa era kaakati, mulamu ng'alina ekigendererwa kino:

"Mumanyi nga Kristo yalabika alyoke aggyewo ebibi, era nga mu ye temuli kibi." - 1 Yokana 3:5.

Omulokozi waffe asonnyiwa era ajjawo obutali butuukirivu - (1 Yokana 1:9). Olwo ate atusuubiza okutuwa okwagala kwe okujja, okutwagazisa - eddagala ekkulu eriwonya okwerowoozako ffeka awamu n'ekibi.

"Kubanga OKWAGALA KWA KATONDA KUFUKIDDWAKO MU MITIMA GYAFFE ku bw'Omwoyo Omutukuvu gwe twawebwa." - Abaruumi 5:5.

Mu nda yaffe tetulina obusobozi okukuuma amateeka ga Katonda.
Okwagala kwa Katonda "okwafukibwa mu mitima gyaffe" ly'e ssuubi lyaffe lyokka.

9. EKISA KYA KATONDA N'OBUWULIZE ERI AMATEEKA

Obulokozi kirabo. Tetusobola kukikolerera. Kye tusobola okukola kyokka kwe kukkiriza. Olw'ekisa kya Katonda tuweebwa obutuukirivu (okuyimirira mu masso ga Katonda nga tetubalirwa kibi), ng'ekirabo okuyita mu kukkiriza kyokka.

"Kubanga bwe mwakkiriza MWALOKOLEBWA LWA KISA kya Katonda.Okulokolebwa tekwava ku mwe, wabula kyali KIRABO KYA KATONDA." - Abeffeso 2:8.

Tetusobola kukuuma mateeka ekkumi olw'okukola kwaffe - olw'okugezaako. Tetusobola kukuuma Mateeka tusobole okulokolebwa. Naye bwe tujja eri Yesu mu kukkiriza era ne mu buwombeefu olwo ne tulokolebwa, okwagala kwe kujjuza emitima gyaffe. N'ekiva mu kisa kya Katonda kino era n'okukkirizibwa, naffe twegomba okumugobeerera era n'okumugondera okuyita mu maanyi ag'okwagala kwe agali mu mitima gyaffe (Abaruumi 5:5).

Omutume Paulo assa essira ku butaliimu obw'okufuba kw'omuntu, era n'atulaga nti tetuli wansi w'amateeka ng'ekkubo ery'obulokozi naye "tuli wansi wa kisa."

"Kale tukole ki? Tukole ekibi kubanga Amateeka si ge gafuga, wabula ekisa kya Katonda? Nedda tekisoboka." - Abaruumi 6:15.

Lwaki? Kubanga omutima bwe gufugibwa okwagala kuvaamu obulamu obuwulize! (Abalumi 13:10). Okwagala Kristo kwe kumugondera:

"Awulira ebiragiro byange n'a bikwata, oyo yanjagala." - Yokana 14:21.

Eric Liddell ekyo kye yalaga newankubadde ng'embeera yali mbi nnyo, omukkiriza ali mu maanyi ga Katonda asobola okubeera n'obulamu obumativu era obuwulize. Liddell yalaga ekisa ekisanyusa mu kiseera eky'okunyigirizibwa awamu n'okutya. Enkolagana ey'okwagala kwe yalina ne Kristo, n'Omwoyo Omutukuvu byamuwa amaanyi era ne bimusobozesa okutuukiiriza ebyetaago by'Amateeka (Abaruumi 8:1-4). Enkolagana ey'oluganda ey'okwagala Omulokozi eyakomererwa asobole okuvaamu obulamu obulungi.

Ggwe ekyama kino omaze okukyezuulira? Okwagala kwa Yesu gyoli okwamuleetera okuwaayo obulamu bwe ku lw'ebibi byo. Ayagala okuwa amaanyi, enkolagana yo n'okwagala kwe era "akuwe buli kirungi kyonna, olyoke okolenga by'ayagala" - (Abebbulaniya 13:21). Ggwe oddamu otya?

 

© 2002 The Voice of Prophecy Radio Broadcast
Los Angeles, California, U.S.A.