EKYAMA
KY'OKUSABA OKUDDIBWAMU
Anatoli
Levitim, omuwandiisi omurussia era omuyizi w'ebyafaayo yamala emyaka
mingi mu Sayiberia Gulag eyo okusaba Katonda gye kwali kuweeddewo. Naye
yagenda okuvaayo ngali bulungi mu by'Omwoyo. Yawandiika bwati: "Eky'amagero
esingira ddala byonna kwe kusaba." Kye nina kyokka kwe kukyukira
Katonda mu birowoozo byange era mu kiseera ekyo mpulira amaanyi agava
awantu agafukibwa mu nze, mu mwoyo gwange, mu nze nzenna. Kiki ekyo?
Ludda wa nze, omusajja omukadde ataliimu ka buntu, akooye obulamu, gye
nnandifunye amaanyi agazza obuggya era agandokola, ne gansitula waggulu
w'ensi? Gaali gava bweru - era tewali maanyi mu nsi yonna agasobola
okugaziyiza."
Mu
"Mulagirizi" ono tujja kulaba engeri okusaba gye kusobola
enkolagana ey'amaanyi ne Katonda era n'obulamu obukristayo obugumu.
1.
OKWOGERA NE KATONDA
Tusobola
tutya okubeera abakakafu nti Katonda awulira okusaba kwaffe?
"Era
mulinkaabira, era muligenda ne munsaba, NANGE NDIBAWULIRA. Era mulinnoonya
ne mundaba, bwe mulinkennenya n'omutima gwammwe gwonna." - Yeremiya
29:12,13.
Kisuubizo
ki Yesu kye yatuwa ekikakasa nti ajja kuwuliranga era n'okuddamu okusaba
kwaffe?
"Nange
mbagamba mmwe nti, musabe, muliweebwa; munoonye, mulilaba; mweyanjule,
muliggulirwawo." - Luka 11:9.
Okusaba
y'emboozi eyabantu ababiri. Ekyo Yesu ky'atusuubiza:
"Laba
nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula; omuntu yenna bw'awulira eddoboozi
lyange n'aggulawo oluggi nnaayingira gyali, era nnaaliira wamu naye,
naye nange." - Kubikkulirwa 3:20.
Kisoboka
kitya okutuula wansi era n'ofuna akawungeezi akalungi n'emboozi awamu
ne Yesu? Ekisooka, olw'okumutegeeza buli kantu konna akali mu mitima
gyaffe mu kusaba. Eky'okubiri; olw'okuwuliriza n'obwegendereza. Bwe
tuba nga tufumintiriza mu kusaba, Katonda ayinza okwogera naffe butereevu.
Bwe tuba nga tusoma ekigambo kya Katonda nga twewaddeyo, Katonda aba
ayogera naffe okuyita mu mpapula zaakyo.
Okusaba kusobola okufuuka ekkubo ery'obulamu eri Omukristayo.
"MUSABENGA
OBUTAYOSA; mwebazenga mu kigambo kyonna kyonna; kubanga ekyo Katonda
ky'ayagala mu Kristo Yesu gye tuli." - 1 Abasesolonika 5:16-18.
Tusobola
tutya "okusaba buli kaseera?" Tulina kufukamira ku mavvivi
ekiseera kyonna, oba buli kaseera okwogera ebigambo ebitendereza oba
okwegayirila? Mu butuufu si bwe kiri. Naye tulina okubeera n'enkolagana
ey'okumpi ne Yesu era nga tuwulira eddembe okwogera gyali ekiseera kyonna,
mu kifo kyonna wetuli.
"Bwe
tuba mu nguuddo mu bibiina by'abantu, bwe tuba ku mirimu gyaffe tuyinza
okuwaayo okusaba kwaffe eri Katonda, nga tumusaba okutulunga'mya
kitusaanira buli kaseera konna okuggulawo oluggi lw'omutima gwaffe,
ne tusaba Yesu ajje abeere mu mwoyo gwaffe ng'omugenyi waffe omwagalwa,"
- Omusaale waffe, P.III.
Erimu
ku makubo erisinga obulungi okubeera n'enkola ey'ekika kino, ey'enkolagana
ey'omukwano kwe kuyiga okufumitiriza nga tusaba.
"Okulowooza
kwange kumusanyusenga, Nnasanyukiranga mu Mukama." - Zabbuli 104:34.
Bw'oba
ng'osaba toyanguyiriza n'oyita mu lukalala olw'eby'okusaba. Lindirira
ate lowooza. Okusaba okuttono okulimu okufumintiriza kusobola okuwa
omukisa mungi enkolagana yo ne Katonda.
"Musemberere
Katonda naye anaabasemberera." - Yakobo 4:8.
Gye
tukoma okusemberera okumpi ne Yesu, gye tukoma okuwulira okubeerawo
kwe. N'olw'ekyo beera kumpi ne Yesu, era teweeralikirira bigambo ki
ebituufu by'oyogera. Gwe yogera n'obwesigwa mu mwoyo ogw'eddembe. Yogera
ku buli kintu kyonna. Ye yayita mu bulumi bwonna obw'okufa asobole okufuuka
mukwano gwo ow'omu nda.
2.
TUSABA TUTYA
Bwe
tuba nga tusaba twandyagadde okugobeerera enkola y'okusaba kwa Mukama
waffe, eky'okulabirako eky'okusaba Yesu kye yayigiriza abayigirizwa
be ng'adda mu kusaba kwabwe nti: "Tuyigirize okusaba."
"Kitaffe
ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe. Obwakabaka bwo bujje. By'oyagala
babikole mu nsi, nga bwe babikola mu ggulu. Otuwe leero emmere yaffe
eya leero. Otusonnyiwe amabanja gaffe nga ffe bwe tusonnyiwa abatwewolako.
Totutwala mu kukemebwa, naye otulokole eri omubi. Kubanga obwa kabaka,
n'obuyinza, n'ekitiibwa bibyo. Emirembe n'emirenbe-Ammiina." -
Matayo 6:9-13.
Okusinziira
ku ky'okulabirako Yesu kye yatuwa mu kusaba kwe, tugenda eri Katonda
nga Kitaffe owo mu ggulu. Nga tusaba by'ayagara bifuge emitima gyaffe
mu ngeri y'emu nga bwe kiri mu ggulu lyonna. Tumusaba olw'ebyetaago
byaffe eby'omubiri. Okusonyiyibwa, era n'olw'empisa ey'okusonyiwa (abalala).
Jjukira nti obuyinza bwaffe okulwana n'ekibi gava eri Katonda. Okusaba
kwa Kristo kumalirizibwa n'okutendereza.
Ku
mukolo omulala ogumu, Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba Kitaffe
okuyita "mu linnya lye" (Yokana 16:23). OKwo kwe kusaba ng'etteeka
lya Yesu. Eno y'ensonga lwaki bulijjo abakristayo okusaba kwabwe bakukkomekereza
n'ebigambo nti: "Mu linnya Yesu, Amiina!" Amiina kigambo kya
Lwebbulaniya ekitegeeza nti "kibeere bwe kityo!"
Newankubadde
ng'okusaba kwa Mukama waffe kutuwa eky'okulabirako eky'ebyo ebisaanidde
okusaba era n'engeri gye tusobola okuteekawo okusaba, enkolagana yaffe
ne Katonda esingawo okuba ennungi bwe tubeera n'okusaba okuviira ddala
mu mutima.
Tusobola
okusaba ku buli kintu kyonna. Katonda atuyita tusabe okusonyiyibwa ebibi
byaffe (1 Yokana 1:9), okubeera n'okukkiriza okunene (Mako 9:24), ebyetaago
eby'obulamu, (Matayo 6:11), okuwonyezzebwa okuva mu ndwadde ne mu kubonaabona
(Yakobo 5:15), n'okufukibwako Omwoyo (Zakaliya 10:1). Yesu atukakasa
nti tusobola okutwala okwetaaga kwaffe kwonna n'okweralikirira kwaffe
gyali; tewaliiwo kintu kitono nnyo kye tutateekwa kusaba.
"Mumukwaseenga
byonna ebibeerarikiriza, kubanga ya abalabirira." - 1 Petro 5:7.
Omulokozi
waffe asanyukiira nnyo (okumanya) kalonda yenna ow'ebyo byonna ebiri
ku bulamu bwaffe. Omutima gwe gusanyuka singa emitima gyaffe gyekwata
ku ye mu kwagala ne mu kukkiriza.
3.
OKUSABA OKWA SSEKINNOOMU
Abasinga
obungi kuffe tulina ebintu eby'ekyama bye tutasobola kubuulirako yadde
mukwano gwaffe asingira ddala okuba ow'okumpi. Katonda atuyita okweggyako
emigigu ng'ejo mu kusaba okwo omu: ggwe ng'oli omu awamu naye yekka.
Tekitegeeza nti yeetaaga amawulire okuva gye tuli. Katonda ayinza byonna
amanyi bulungi nnyo, ebyama byaffe, okutya kwaffe, ebirowoozo ebikweke,
obusungu obukweke n'okusinga kye tumanyi. Naye twetaaga okuggulawo emitima
gyaffe eri oyo atumanyi ekigenda ewala, era atwagala n'okwagala okutaggwaawo.
Okuwonyezebwa kuyinza okutandika Yesu bw'anaakwata ku biwundu byaffe.
Bwe
tusaba, Yesu, Kabona waffe asinga obukulu aba kumpi okutuyamba.
"Kubanga
tetulina Kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe bunafu
bwaffe; NAYE EYAKEMEBWA MU BYONNA BUMU nga ffe; so nga ye talina kibi.
Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa, tulyoke tuweebwe okusasirwa
era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe, tukwetaaga." - Abebbulaniya
4:15,16.
Owulira
mu nda yo nga weeralikiridde ozitoweereddwa, oba owulira omusango? Biteeke
mu maaso ga Mukama. Asobola okukuwa ng'obwetaavu bwo bwe buli.
Tugwanidde
okubeera n'ekifo eky'enjawulo olw'okusaba okw'omuntu omu?
"Naye
ggwe bw'osabanga, yingiranga mu kisenge mu nda, omalanga kuggalawo luggi,
n'olyoka osaba Kitaawo ali mu kyama, kale Kitaawo alaba mu kyama, alikuwa
empeera." - Matayo 6:6.
Ng'ogasseko
okusaba ng'otambula mu nguudo, ng'okola ku mulimu, ng'oli mu ssanyu
musanyuka, buli mukristayo ateekwa okubeera ne kiseera eky'okusaba n'okuyiga
Bayibuli. Funa ekiseera eky'okusisinkana ne Katonda ekya buli lunaku,
mu kiseera lw'owulira ngoli bulungi, mu kiseera era ng'olowooza bulungi.
4.
OKUSABA OKWA BANGI
Okwegattira
awamu n'abantu abalala mu kusaba tuteekawo oluganda olw'enjawulo era
ne kuyita amaanyi ga Katonda mu ngeri ey'enjawulo.
"Kubanga
ababiri oba abasattu we baba nga bakung'anye ku lwange, nange mbaawo
wamu nabo." - Matayo 18:20.
Ekimu
ku bintu ebisinga obukulu kye tusobola okukola ng'amaka kwe kubeera
n'obulamu obw'okusabira awamu. Laga abaana bo nti tusobola okutwala
okwetaaga kwaffe gy'ali buterevu. Bajja kuba basanyufu eri Katonda bwe
banamulaba ng'adda mu kusaba ku bintu byonna eby'omu bulamu. Ekiseera
eky'okusaba eky'amaka kifuule eky'okugabana essanyu n'emirembe.
5.
EBYAMA 7 EBY'OKUSABA OKUDDIBWAMU
Musa
yasaba ennyanja emyufu n'eyawukanamu. Eriya yasaba omuliro ne guva mu
ggulu ne gukka ku nsi. Danieri yasaba Malayika n'aziba obumwa bw'empologoma.
Bayibuli etulaga emirundi mingi egy'okusaba okwaddibwamu. Era etukubiriza
okusabanga ng'ekkubo ery'okufuna amaanyi ag'obuyinza bwa Katonda. Yesu
yasuubiza nti.
"Bwe
munasabanga ekintu mu linnya lyange, nnaakikolanga." - Yokana 14:14.
Naye
okusaba okumu kulabika ng'okugenda nga tekuddibwamu. Lwaki? Gano ge
mateeka omusaanvu agajja okutuyamba okusaba kwo okuddibwamu.
(1)
SEMBEERA KUMPI NE KRISTO.
"Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange
ne bibeera mu mmwe, musabenga kyonna kye mwagala, kinabakolerwanga."
- Yokana 15:7.
Singa
tunafuula enkolagana yaffe ne Katonda okuba ekintu ekikulembera era
ne twekuuma nga twegasse naye, tujja kuba nga tuwuliriza era nga tulindirira
okuddibwamu kw'okusaba kwaffe bwe kitaba bwe kityo kujja kugenda nga
tekufiiriddwako.
(2)
WEESIGE KATONDA.
"Ne byonna byonna bye munaayagalanga nga
musaba, NGA MUKKIRIZA munaabiweebwanga." - Matayo 21:22.
Okukkiriza
oba okubeera n'okukkiriza, kitegeeza nti tutunuulidde Kitaffe ow'omu
ggulu okutuwa eby'etaago byaffe. Singa nga obutakkiriza bukutawanya
jjukira nti omulokozi yakolera eky'amagero eri omusajja eyasaba nti:
"Nzikiriza,
wabula nnyamba; okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa." - Mako
9:24.
Ssaayo
essira okuteeka mu nkola okukkiriza KW'OLINA, teweralikiriranga. Olw'okukkiriza
OKWO kw'otalina.
(3)
MU BUKAKKAMU JEMULUKIKIRA KATONDA KY'AYAGALA.
"Era buno bwe bugumu bwe tulina eri ye,
nti, bwe tusaba ekintu nga bw'ayagala, atuwulira." - 1 Yokana 5:14.
Jjukira
nti Katonda ayagala okutuyigiriza mu ngeri y'emu nga bw'ayagala okutuwa
ebintu, okuyita mu kusaba. Bwe kityo emirundi egimu agamba nti "Nnedda"
ate ebiseera ebimu naddamu mu ngeri endala. Okusaba ly'ekkubo ery'okufuna
engeri y'okweyongerayongera okwegatta ku Katonda by'ayagala. Tulina
okussaayo omwoyo ku kuddamu kwa Katonda era n'okuyiga okuva mu kwo.
Okukuuma olukalala lw'eby'okusaba n'ebyo ebiva mu byo kiyamba kinene.
Omwoyo
Omutukuvu ajja kukuyamba okutandika okutambulira mu kkubo etuufu: "Kubanga
mwoyo awolereza abantu ba Katonda, nga Katonda bw'ayagala" (Balumi
8:27). Jjukira nti bulijjo okwagala kwaffe kuteekwa kubeera bumu ne
Katonda by'ayagala, singa nga tunasobola okulaba byakola.
(4)
LINDIRIRA KATONDA N'OKUGUMIKIRIZA.
"Nalindirira Mukama n'okugumikiriza; N'antegera
okutu, n'ampulira okukaaba kwange." - Zabbuli 40:1.
Ensonga
enkulu wano kwe kuteeka amaaso go ku Katonda, olw'okumalawo omutawaana.
Togezangako omulundi ogumu okusaba obuyambi bwa Katonda olwo ate mu
kiseera ekirala n'ossa emitawaana gyo mu kunoonya amasanyu. Katonda
mulindirire n'okugumikiriza; empisa eno nno tugyetaaga nnyo.
(5)
TEWEKWATA KU KIBI.
"Bwe mba ndowooza obutali butuukirivu
mu mutima gwange, Mukama tawulira." - Zabbuli 66:18.
Ekibi
ekimanyiddwa kikendeeza amaanyi ga Katonda mu bulamu bwaffe, kitwawukanya
okuva ku Katonda (Isaaya 59:1-2). Tosobola kuddira mukono ogumu okwekwata
ku kibi ate mu kiseera ky'ekimu omukono omulala n'ogwekwata ku buyambi
bwa Katonda. Okwatula okw'amazima era n'okwenenya ebyo bimalawo omutawaana
guno. Singa nga tetuli beeteefuteefu okukkiriza Katonda okutugya mu
birowoozo eby'ekibi, n'ebigambo awamu n'ebikolawa eby'ekibi, okusaba
kwaffe tekujja kukola.
"Musaba
ne mutaweebwa, kubanga musaba bubi, mulyoke mubikozese okwegomba kwammwe."
- Yakobo 4:3.
Katonda
tagenda kuddamu ng'akkiriza eri okusaba okw'okwerowoozako. Amatu go
gaggulewo okuwulira amateeka ga Katonda, n'eri okwagala kwe, naye ajja
kuggulawo amatu ge eri okusaba kwo.
"Akyusa
okutu kwe obutawulira mateeka, N'OKUSABA KWE KWA MUZIZO." - Ngero
28:9.
(6)
KIWULIRE NTI WEETAAGA KATONDA
Katonda addamu abantu abo abasaba okubeerawo kwe n'amaanyi ge mu bulamu
bwabwe.
"Balina
omukisa abalummwa enjala n'ennyonta olw'obutukirivu; kubanga abo balikkusibwa."
- Matayo 5:6.
(7)
NYWERERA MU KUSABA
Yesu yannyonnyola
nga bwe tugwanidde okunywerera mu kusaba, ng'atutegeeza olugero lwa
Nnamwandu eyajjanga eri omulamuzi buli lunaku olw'okumwegayirira. Era
ku nkomerero Omulamuzi yayogera nti; "Naye olw'okunteganya Nnamwandu
ono kw'anteganya nnaamulamula, aleme okuntengezza ng'ajja olutata."
Era Yesu yamaliriza ng'agamba nti" "Kale ne Katonda taliramula
abaronde be abamukaabirira emisana n'ekiro? Alirwaawo nga tanabayamba?"
(Luka 18:5-7).
Yogera
ebyetaago byo byonna, essuubi lyo n'entekateekazo eri Katonda, saba
emikisa egy'enjawulo egy'obuyambi mu kiseera eky'obwetaavu sigala ng'okyanoonya,
era sigala ng'okyawuliriza, okutuusa lw'onoyiga ekintu kyonna okuva
eri okuddamu kwa Katonda.
6.
BAMALAYIKA BAWEEREZA OLW'EBYETAAGO BY'ABO ABASABA
Omuwandiisi
wa Zabbuli okuyita mu kuweereza kwa bamalayika ba Mukama yasanyuka olw'okuddamu
okusaba kwe:
"Nanoonya
Mukama n'anziramu n'andokola mu kutya kwange kwonna
Malayika wa
Mukama asiisira okwetooloola abo abamutya, n'abalokola." - Zabbuli
34:4-7.
"Bwe
tusaba, Katonda aweereza bamalayika olw'okuddamu okusaba kwaffe (Abebbulaniya
1:14). Buli muntu Omukristayo alina malayika amukuuma amuwerekera.
"Mulabe
temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika
baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu"
- Matayo 18:10.
"Kubanga
olw'okusaba kwaffe; Mukama waffe ali kumpi. Temweralikiriranga kigambo
kyonna kyonna; naye mu bigambo byonna mu kusabanga n'okwegayiriranga
bye mwagala bitegeezebwenga eri Katonda. N'emirembe gya Katonda, egisinga
okutegeerwa kwonna ginabakuumanga emitima gyammwe n'ebirowoozo byammwe
mu Kristo Yesu." - 2 Abafiripi 4:5-7.
7.
ENNEYISA EY'OBULAMU OBUKRISTAAYO
Bayibuli
ennyonyola ku mpisa ez'enjawulo ez'obukristaayo. Okusinziira ku kyawandiikibwa
ekya Abaefeso 4:22-24, Omukristaayo ateekwa "okweggyako" enneeyisa
ey'obulamu obw'edda obuva mu "kwegomba okw'obulimba" era "n'okwambala"
obulamu obuggya obwo obw'atondebwa mu kifaananyi kya Katonda" Mu
ky'okuyiga OMULAGIRIZI ekyo 6, mu kifaannanyi kino, twakizuula nti mu
kuzaalibwa obuggya "tuddibwamu okutondebwa nate" okubeera
abantu ab'enjawulo mu Kristo.
Omulagirizi
ono, era n'a- balagirizi abalala 6 abagobeerera, balaga enneeyisa y'obulamu
obukristayo; bulaga ebyama by'obulamu obukristayo obusanyufu. Bijja
kukuyamba okuzimba enkolagana ey'amaanyi ne Kristo, eyo ejja okuvaamu
empisa ez'enjawulo ez'obulamu obukristaayo. N'olwekyo amaaso go gateeke
ku Yesu leero, era emirembe gya Kristo bwe ginafuga obulamu obulambalamba,
ojja kusobola okubeera ekitundu eky'abawanguzi nga basanyuka.