OKUVA
MU MWONOONYI ASINGIDDWA OMUSANGO OKUFUUKA OMUTUKUVU ASONNYIYIDDWA
Tewaali
bubonero bulaga ngalo ze. Tewaaliwo kya kulwanyisa ekissi ekyazuulwa.
Tewali n'omu eyalaba ng'omuntu ayingira offisi y'omusawo. Newankubadde
tewali n'omu eyawulira omusinde ogw'emmundu. Naye omusawo yasangibwa
ng'agudde magalabanja emabega w'emmeeza ye. Ng'alina ebiwundu eby'amasasi
bitaano nga biyuzizza esaati ye.
Guno
gwali musango gwennyini. Abapoolisi ku luberyeberye tebaasobola kuzuula
nsonga ntuufu. Naye oluvannyuma baazuula waya entono eyali esibiddwa
ku kkalaamu ku mmeeza y'omusawo.
Waya
eno yali eraga ku kyuma ekiwandiika amaloboozi ekyali mu kabada ey'emmeeza.
Akasaanikira k'ekkalaamu ke kaalimu akuuma akakwata amaloboozi omusawo
ke yakozesanga okuwandiika emboozi zonna ze yayogeranga n'abalwadde
be abajjanga okuweebwa amagezi.
Abaali
banoonyereza ku musango guno mu bwangu ddala baateekako teepu eno ne
yeetoolola era n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baatandika okuwulira ensonga
eyavaako omusango gwennyini.
Omusajja
eyali ayitibwa Anthony yayingira offisi era n'atandika oluyombo kakuzzi
n'omusawo. Ekyaddirira amasasi ne gatulika. Era teepu n'emaliriza n'okukaaba
okw'obulumi okw'omusawo ng'afa ng'agudde ku kiwempe.
Buli kantu konna akaali ak'entiisa kaali kawandiikiddwa. Omutemu yalowooza
omusango gwe emirembe gyonna gwali gwakusigala nga kyama. Yali mwegendereza
nnyo obutarekawo kizibiti. Naye teepu yategeeza abantu ebyaliwo byonna.
Mu Mulagirizi ono tugenda kuyiga ku musango gwa Katonda ogusembayo ng'abantu
basalirwa omusango "okusinziira ku ebyo bye baakola, nga bwe byawandiikibwa
mu bitabo" (Kubikkulirwa 20:12). Eri abo abatannaba kukkiriza Yesu
ng'omulokozi waabwe gajja kuba mawulire mabi. Naye omusango mawulire
malungi eri abo abazudde Yesu ng'obuddukiro bwabbwe.
1.
ENGERI GY'OSOBORA OKUYIMIRIRA MU MUSANGO NGA TOLINA KUTYA
Ani
agenda okusalira ensi omusango?
"Era
Kitaawe talina n'omu gw'asalira omusango wabula Omwana gwe yawa Okusala
emisango gyonna." - Yokana 5:22.
Omusaalaba
gwateekateeka gutya Kristo okufuuka omulamuzi waffe?
"Yesu
oyo mu kufa kwe, yateekebwawo okuba amutango ogw'ebibi by'abamukkiriza
alyoke akakase mu kiseera kino, NGA BW'ALI OMUTUUKIRIVU, ERA NGA BW'AWA
OBUTUUKIRIVU buli akkiriza Yesu." - Abaruumi 3:25, 26.
Okufa
kwa Kristo ng'adda mu kifo kyaffe kimusobozesa okukola mu bifo byombi,
ng'omulamuzi omwesigwa era ow'ekisa awa obutuukirivu era asobola okusonyiwa
omwonoonyi eyeenenya. Eggulu n'ensi bitunuulidde ebintu bino nga bwe
libuuza ekibuuzo nti; "Omulamuzi ow'amazima ayinza atya okujja
omusango ku muntu oyo eyaguzza?" Kristo addamu ng'alaga ku nkovu
ez'ebiwundu bye ebiri mu bibatu bye. Yafuna ekibonerezo ekituufu olw'ebibi
byaffe mu mubiri gwe.
Ebitabo
eby'omu ggulu bikuuma obuwandiike buno era bukozesebwa mu kusala omusango
(Kubikkulilwa 20:12). Ago nno mawulire mabi eri abo abalowooza nti ebibi
byabwe bya kyama tewali abimanyi, era n'omusango gwabwe tegugenda kudda
okubayigga. Naye ate waliwo amawulire ag'ekitalo eri abo mu mazima akkiriza
Kristo ng'omuwolereza wabwe mu ggulu: "Omusaayi gwa Yesu
gutunaazaako buli kibi" (1 Yokana 1:7).
Yesu
atuwa ki okuwanyisa n'ebibi byaffe?
"Kristo
ataalina kibi, Katonda yamufuula ekibi, ffe olw'okwegatta ne Kristo,
tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda." - 2 Abakkolinso
5:21.
Obulamu
bwaffe obw'ekibi buwanyisibwa mu bulamu obutuukirivu obwa Kristo. Olw'obulamu
obwa Kristo ataalina kibi era n'olw'okufa kwe, Katonda ayinza okutusonyiwa
era n'okututwala ng'abatayoonoonangako.
Kiki
ekimusaanyiza okubeera omuwolereza era omulamuzi waffe?
2.
KRISTO YAJJIRA MU KISEERA
Ku
kubatiza kwe Yesu yafukibwako amafuta n'Omwoyo Omutukuvu.
"Yesu
bwe yamala okubatiza, amangu ago n'ava mu mazzi, awo eggulu ne libikkuka,
n'alaba Mwoyo wa Katonda ng'akka ng'ejjiba, ng'ajja ku ye. Era eddoboozi
ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: "ono ye Mwana wange omwagalwa
era gwe nsiimira ddala." - Matayo 3:16,17.
Ekyaddirira
okufukibwako amafuta n'Omwoyo Omutukukuvu okwa Yesu Kristo ku kubatizibwa
kwe, abayigirizwa be kwe kulangira nti:
"Messiya
tumulabye." - Yokana 1:41.
Abayigirizwa
baali bamanyi ekigambo ekyo ekyolwebulaniya "Messiya" era
n'eky'oluyonaani "Kristo" byombi ebiteegeeza nti "eyafukibwako
Amafuta."
Luka, omuyigiriza wa Yesu, yawandika ekiseera kya Yesu eky'okufukibwako
Amafuta nga Messiya mu mwaka ogw'ekkumi n'etaano ogwa Kayisaali Tiberiya
(Luk 3:1). Gyetuli, ogwo guba mwaka ogwa 27 AD.
Ng'ebula emyaka 500 nga Yesu tannaba kujja Nnabbi Danieri yakiranga
nti Yesu yali wakufukibwako amafuta nga Messiya mu mwaka AD 27:
"Kasooka
ekiragiro kifuluma okuzzayo n'okuzimba Yerusalemi okutuusa ku Afukibwako
amafuta
walibawo Ssabbiiti musanvu; (olwebbulaniya wiiki) era
walibawo Ssabbiiti nkaga mu ebiri." - Danieri 9:25.
Ssabbiiti
omusanvu ne Ssabbiiti enkaga mu ebbiri bw'ozigatta awamu ojjamu Ssabbiiti
(wiiki) nkaga mu mwenda oba ennaku 483. (7 x 69 = 483 ennaku). Mu bunnabbi
bwa Bayibuli olunaku olumu lutegeeza mwaka gumu (Ezekieri 4:6; Kubala
14:34), bwe kityo ennaku 483 zenkanankana emyaka 483. Danieri yalaga
nti ekiragiro kigenda kulagirwa ekyokuddayo n'ekyokuzimba Yerusalemi
era ng'ekiragiro kino kimaze okuyita, emyaka 483 gigenda kuyitawo, olwo
Messiya n'alyoka alabika.
Yesu
yalabika nga Messiya ku kiseera kino ekyayogerwako? Alutagizeragizi
yayisa ekirangiriro ekyokuddamu okuzimba Yerusalemi mu mwaka 457 BC
(Ezera 7:7-26). Emyaka 483, gyaggwaako mu AD 27. (457 BC + 27 AD = 484.)
Ekiragiro kyalangirirwa mu mwaka 457 BC era ne Kristo n'afukibwako amafuta
mu mwaka 27 AD bw'ogatta ebitundu by'emyaka gino gyombi olwo ekiseera
ekituufu kibeera emyaka 483.
Mu
kiseera kyennyini ekyalangibwa, mu 27 AD, Yesu yalabika ng'alina obubaka
obugamba nti "Ekiseera kituuse" (Mako 1:15) obutuufu bw'okutuukirira
kw'obunnabbi bwa Bayibuli bwe bukakafu obw'amanyi nti Yesu ow'eNazaleesi
ye Messiya yenyini, Katonda ng'ayambadde omubiri ogw'omuntu.
Yesu
yali wakumala kiseera ki okunyweza endagaano?
"Era
aliragaana endagaano ennywevu n'abangi okumala Ssabbiiti emu."
- Danieri 9:27, ekindu ekisooka.
Bw'okozesa
etteeka ery'olunaku okuba mwaka, Ssabbiiti eno emu (wiiki) ejja kubaamu
emyaka musanvu (7) Bwe kityo emyaka musanvu giva mu mwaka AD 27 okutuusa
AD 34 - Yesu yali "wakunyweza endagaano" oba ekisuubizo, kye
yakola ne Adamu ne Kaawa mu lusuku Adeni nga kye bajje boonoone. Katonda
yakola endagaano oba ekisuubizo, nti yali wa kulokola olulyo lw'omuntu
okuva mu kibi ng'ayita mu omuntu omu gw'agenda okuweereza okufa olw'ebibi
byaffe (Luberyeberye 3:15).
Kiki
ekyali ekyokubeera mu makkati ga Ssabbiiti (wiiki)?
"Ne
mu kitundu ekya Ssabbiiti alikomya ssaddaaka n'ekitone." - Danieri
9:27, ekitundu ekisembayo (mu lwebulaniya wiiki).
Yesu
yakomererwa ku musaalaba mu AD 31 "mu makkati ga Ssabbiiti"
(wiiki). Mu kiseera kyennyini eky'okufa kwa Yesu, Katonda yayuza "eggigi
ery'omu Yeekaalu ebitundu bibiri okuva waggulu okutuuka wansi"
(Matayo 27:51). Ssaddaaka ey'endiga ey'ekiweebwayo eyali egenda okuttibwa
endiga (akabonero aka Yesu endiga ya Katonda) yava mu mikono gya Kabona
n'edduka. Kano kaali akabonero akategeeza nti Katonda yali takyayagala
muntu okuwaayo Ssaddaaka ez'ensolo.
Ng'amaze
okutuukiriza obunnabbi bwonna bwamuwandiikibwako, Yesu "yakomya"
okwetaaga kwonna `okulala okw'okuwaayo Ssaddaaka. Okuva ku kufa kwa
Kristo, abantu kaakati batuuka eri Katonda si kuyita mu Ssaddaaka ez'ensolo
yadde mu Kabona omuntu, naye bayita mu Messiya, endiga ya Katonda era
Kabona waffe asinga obukulu.
3.
OBUKAKAFU BW'EBIBI OKUSONYIYIBWA
Okusinziira
ku bunnabbi bwa Danieri lwaki Yesu yafa?
"Oyo
afukibwako amafuta n'alyoka azikirizibwa, naye si ku lulwe'." -
Danieri 9:26.
Okufa
kwe ku musaalaba, Yesu "yasalibwako" yafa, "naye si ku
lulwe" si lwa kusasula kibonerezo eky'ebibi bye, naye olw'okusasula
ekibonerezo eky'ebibi by'ensi yonna.
Tusobola
tutya okutegeera nti Katonda asonyiye ebibi byaffe byonna?
"Bwe
butuukirivu bwa Katonda, okuyita mu kukkiriza Yesu, eri bonna era ku
bonna bakkiriza
Kubanga BONNA BAAYONONA
Katonda OLW'EKISA
KYE, YABAWA OBUTUUKIRIVU bwa buwa kubanga baanunulibwa Yesu Kristo
OKUYITA MU KUKKIRIZA OMUSAAYI GWE." - Abaruumi 3:22-25.
Ensonga
enkulu mu kyawandiikibwa kino ze zino: Ffe "ffena twayonoona"
naye Katonda "olw'ekisa kye'' bonna "baweebwa obutukirivu"
abalina "okukkiriza" mu kunaazibwa okw'amaanyi "okw'omusaayi"
gwa Kristo. Bwe tuweebwa obutuukirivu, Katonda atulangirira nga abatalina
musango, ng'ajjawo omusango ogw'ebibi byaffe ebyayita. Era Katonda atulangirira
okuba abatukuvu "Olw'obutuukirivu obuva eri Katonda okuyita mu
kukkiriza mu Yesu Kristo."
Ffe
ffena abakooye olw'okufuba okuba abalungi ekimala, nga twegerageranya
ku bwaffe ffekka, tusobola okufuna ekiwummulo mu kukkirizibwa okw'ekisa
kya Kristo. Atusuubiza nti "Mujje gye ndi, mmwe mmwenna abakoze
ne mukoowa n'abazitoowereddwa, nze nnaabawummuza." (Matayo 11:28).
Ffe ffena abazitoowereddwa olw'enkovu (ez'ebibi) ebyayita era n'olw'okulumwa
okw'obutaliimu bwaffe era n'obuswavu, tusobola okuzuula emirembe era
n'obumativu mu Kristo.
4.
EKISEERA EKY'OMUSANGO OKUTANDIKA
Mu
ssuula ey'omunaana eya Danieri malayika yalaga nnabbi ekifaananyi ekinene
eky'ekiseera eky'omu maaso. Danieri yalaba (1) endiga, (2) embuzi ensajja
era, (3) mu limu ku jjembe ery'embuzi ensajja, mwavaamu "ejjembe
eddala eryali ettono ne likuula mu buyinza." (Danieri 9:8,9). Obubonero
obwo bulanga: (1) Obwakabaka bw'Abamedi n'Abaperusi. (2) Obwakabaka
bwa Buyonaani, (3) Obufuzi bwa Ruumi (Danieri 8:1-12, 20-26)
Ekitundu eky'okuna eky'obunnabbi kyali kiki?
"Ebikwolesebwa
eby'oku kiweebwayo ekyokebwa eky'ennaku zonna birituusa wa okubeerawo
?
N'agamba nti birituusa amakya n'amawungeera (oba ennaku mu Lwebbulaniya)
enkumi bbiri mu bisatu (2,300) awatukuvu ne walongosebwa." - Danieri
8:13,14.
Danieri
yazirika nga Malayika tannaba kunnyonnyola kitundu kya bunnabbi eky'ennaku
2,300 essuula ey'omunaana eggwaako nga tekinnyonnyoddwa. Naye oluvannyuma
malayika yaddamu okulabika era n'agamba bwati:
"Tegeera
bye wayolesebwa: Ssabbiiti nsanvu (wiiki mu Lwebbulaniya) ziragiddwa
olw'abantu bo (zisaliddwako, olwebbulaniya) n'ekibuga kyo ekitukuvu,
okukomya okwonoona, n'okumalawo okusobya, n'okutabaganya olw'obutali
butuukirivu." - Danieri 9:22-24.
Kitegeerekeka
nti ennaku 2,300 gy'emyaka 2,300, buli lunaku lutegeeza mwaka (Ezekieri
4:6). Ssabbiiti ensanvu oba emyaka 490 ky'ekitundu ekisooka eky'emyaka
2,300. Ebiseera bino byombi byatandika mu mwaka 457 BC, Abaperusi bwe
baayisa ekiragiro "eky'okuddamu okuzimba Yerusaremi." Bw'otoola
emyaka 490 okuva ku myaka 2,300 wasigalawo emyaka 1,810. Bw'ogatta emyaka
1,810 ku myaka 34 AD emyaka 490 we gyakoma, ekyo kitutuusa ku myaka
1844 AD.
5.
YEEKAALU EY'OMU GGULU OKULONGOOSEBWA KITEGEEZA OMUSANGO
Malayika
yagamba Danieri nti mu mwaka 1844, ku nkomerero y'emyaka 2,300, "awatukuvu
ne walongoosebwa" (Danieri 8:14). Naye kino kitegeeza ki? Okuva
mu AD 70, Abaruumi bwe baazikiriza Yeekaalu mu Yerusaalemi, abantu ba
Katonda tebabadde na Yeekaalu ey'oku nsi. N'olw'ekyo awatukuvu oba Yeekaalu
ey'okulongoosebwa eyatandikibwa mu mwaka 1844 eteekwa okuba Yeekaalu
ey'omu ggulu. Yeekaalu ey'oku nsi kwe yajja ekifaananyi.
Kaakati,
okulongoosa Yeekaalu ey'omu ggulu kitegeeza ki? Mu Isiraeri ow'edda
olunaku olw'okulongoosa Yeekaalu ey'oku nsi baaluyitanga olunaku olw'okutangirira
(Yom Kippur). Lwali lunaku lwa kusala musango.
Nga
bwe twakizuula mu ky'okuyiga ekye 12, omulimu gwa Kristo gw'akola mu
ggulu ku lwaffe mu Yeekaalu gulimu ebitundu bibiri; (1) Ssaddaaka eya
buli lunaku zalanga ku kuweereza kwa Kabona mu kifo ekisooka ekya Yeekaalu,
ekifo ekitukuvu. (2) Ssaddaaka eya buli mwaka ekwata ku kuweereza kwa
Kabona asinga obukulu, mu kisenge eky'okubiri ekya Yeekaalu, ekifo ekisinga
obutukuvu (Baleevi 16).
Mu
Yeekaalu ey'oku nsi abantu bwe baayatulanga ebibi byabwe buli lunaku
buli kadde, omusaayi gw'ensolo ezattibwanga gwamansulirwanga mu nsonda
ey'ekyoto ne gutwalibwa ne mu kifo ekitukuvu (Baleevi 4 n'essuula eyo
6). Bwe kityo mu ky'okulabirako, ebibi ebyayatulwanga buli lunaku, byateekebwanga
mu Yeekaalu ne biterekebwa eyo.
Buli
mwaka omulundi gumu ku lunaku olw'okutangirira Yeekaalu yonna yalongoosebwanga
okuva mu bibi byonna ebyayatulwanga mu mwaka omukadde (Baleevi 16).
Okukola okulongoosa kuno, Kabona asinga obukulu yakolanga omukolo ogw'enjawulo
ogw'embuzi ewongeddwa eri Katonda. N'atwala omusaayi gwayo mu nda mu
kifo ekisinga obutukuvu era n'amansira omusaayi guno ku ngulu ku Ssanduuko,
okulaga omusaayi gwa Yesu, Omulokozi agenda okujja okusasula empeera
ey'ekibi. Mu kabonero, Kabona asinga obukulu yaggyanga ebibi by'abantu
ebyali byatuddwa ku Yeekaalu era n'abiteeka ku mutwe ogw'embuzi endala,
eyo eyatwalibwanga mu ddungu okufa (Abaleevi 16:20-22).
Omukolo
guno ogw'olunaku olw'omwaka olw'okutangirira gwalongoosanga Yeekaalu
okuva mu bibi. Abantu baalutwalanga ng'olunaku olw'omusango, kubanga
abo abaagaananga okwatula ebibi byabwe baatwalibwanga ng'abatali batuukirivu
era "basalilwangako okuva mu bantu ba (Katonda)" (Baleevi
23:29).
Ekyo
kabona asinga obukulu ow'oku nsi kye yakolanga ng'akabonero omulundi
gumu buli mwaka, Yesu yakikola omulundi gumu olw'emirembe gyonna nga
Kabona waffe asinga obukulu (Abebbulaniya 9:6-12).
Mu lunaku olukulu olw'omusango Yesu ajja mu Yeekaalu ebibi byonna ebyatuddwa
eby'abantu abo abamukkiriza ng'Omulokozi waabwe. Singa twatula ebibi
byaffe, mu kiseera ekyo, ajja kubisangula okuva mu buwandiike obw'ebibi
byaffe emirembe gyonna (Bikolwa 3:19). Okuweereza kuno gwe mulimu ogw'omusango
Yesu gwe yatandika mu mwaka 1844.
Mu
mwaka 1844 ekiseera eky'omusango we kyatandikira mu ggulu, obubaka obw'essaawa
ey'okusala omusango bwatandika okubuulirwa mu nsi yonna (Kubikkulirwa
14:6-7). Eby'okuyiga eby'omu maaso ebya ZUULA bijja kwogera ku bubaka
buno.
6.
OKWOLEKAGANYA AMAASO N'OBUWANDIIKE OBW'OBULAMU BWO MU MUSANGO
Okutandika
n'omwaka 1844, Kristo ng'omulamuzi abadde nga yeekebejja obuwandiike
bwa buli muntu eyali abaddeko ku nsi kuno okukakasa buli agenda okubeera
mu bantu abanaalokolebwa bw'anajja omulundi ogw'okubiri. Ng'omulamuzi
waffe, Yesu "asangula" (aggyawo) ebibi byonna eby'abatukuvu
okuva mu biwandiiko eby'obulamu bwabwe mu ggulu (Bikolwa 3:19).
Erinnya
lyo bwe lirijja mu musango kirikubeerera kyangu okwolekera obuwandiike
obw'obulamu bwo - SINGA nga wamala okukkiriza Kristo ng'ali mu kifo
kyo (omuyima wo). Era omusango gw'abatukuvu bwe gunaggwa, Yesu ajja
kudda ku nsi okubawa empeera (Kubikkulirwa 22:12,14).
Weeteeseteese
olw'okujja kwa Yesu? Oba olina ekintu kyonna ky'obadde omukweka? Olina
enkolagana ennungi ey'obwesigwa n'oyo eyasuubiza nti:
"Bwe
twatula ebibi byaffe, Katonda omwesigwa era omutuukirivu abisonnyiwa,
era atunaazaako byonna ebitari bya butuukirivu." - 1 Yokaana 1:9.
Okwatula
kitegeeza okukkiriza okworeka ebibi byaffe, era ne tukkiriza ekisonyiwo
kya Katonda era ne tulaga obwetaavu bw'amaanyi ge n'ekisa kye.
Kabaka
Frederick William ow'oluberyeberye bwe yali akyalira ekkomera mu Postdam
yawuliriza abasibe bangi abaali beegayirira okusonyiyibwa. Abasibe bonna
baalayira nti obuvunanyizibwa bw'okusibibwa kwava ku balamuzi abakyamu,
abajulizi ab'obulimba, ne ku bawolereza abatategeera. Mu buli kasenge
k'ekkomera ebigambo byebimu ebyo bye yasanganga eby'abasibe abataalina
musango.
Naye
yatuuka mu kasenge akamu omusibe waamu teyalina kigambo kya kwogera.
Frederick yeewuunya era n'amusaagirako nti: "Ndowooza nawe baakusibira
bwerere." Omusajja n'amuddamu nti: "Ow'ekitiibwa nedda, nze
omusango gwansinga era ekyo ekibonerezo kye nkola kinsaanidde okukifuna."
Kabaka
kyeyava akyukira omukuumi w'ekkomera n'amukowoola nti: "Jangu osumulule
omumenyi w'amateeka ono, Mu bwangu nga tannaba kwonoona bantu bano abaasibirwa
obwerere."
Tweteekateeka
tutya olw'omusango? Tweteekateeka tutya olw'okuja kwa Kristo? Olw'okwatula
okw'amazima nti: nze mu butuufu ngw'aniidde ekibonerezo eky'okufa olw'ebibi
byange, naye omuntu omulala yatwala ekifo kyange era n'ansoonyiwa okusonnyiyibwa
okw'ekyewuunyo.
Kaakano
mu kiseera kino weeweeyo era buli kintu kyonna ekinaabaawo ojja kubeera
n'enkolagana ey'amazima ne Kristo ey'amaaso ku maaso era n'omutima ku
mutima eya mazima.