OMULOKOZI ATAVAAWO BULI LUNAKU

Ekiro kimu eky'enzikiza omuvubuka Omukristayo ayitibwa "Petero" bwe yabulira mu nsiko omutaali bantu, Katonda yamuyita erinnya lye "Petero." Eddoboozi eryava mu ggulu bwe lyaddamu okuyita omulundi ogw'okubiri nti 'Petero' Petero bwe yayimirira n'atunula wansi era n'alaba nga yali agenda okugwa mu lunnya oluwanvu mwe baasimanga amayinja.

Tekyandibadde kya kitalo singa buli omu ku ffe ffena tuwulira Katonda ng'atuyita amannya gaffe? Tekyandibadde kikulu singa Katonda yali mukwano gwaffe atambulira awamu naffe ku lusegere era nga tusobola okutuula awamu naye ne tunyumya emboozi naye ku ntalo zaffe ne ku bye tusuubira?

1. OKUBEERA AWAMU NE YESU OKUTALIIKO KIKOMO

Kikkirize oba kigaane, tusobola okubeera okumpi ennyo ne Yesu okusinga bwe kyandibadde singa Yesu yasigala naffe nga muntu alabibwa n'amaaso. Mu butuufu kyandibadde kya kitalo ddala okubeera ne Yesu mu mubiri ng'ali mu kibuga kyaffe, naye lowooza ku bungi bw'abantu abandibaddewo nga buli omu afuba okulaba ng'amukubako eriiso lye. Lowooza nga kyanditumaze mu bulamu bwaffe bwonna okufunayo akaseera ak'eddakiika entono ennyo okwogerako naye.

Kristo ayagala okuteekawo enkolagana ey'oluganda ey'obuntu na buli kinnomu kuffe. Eno y'ensonga lwaki yaleka ensi eno n'agenda okuweereza mu mulimu ogw'enjawulo mu ggulu asobozese buli omu kuffe buli lunaku okubera okumpi naye. Kubanga tali mu kifo kimu nga bwe gwali bwe yali ku nsi kuno, mu kiseera kino okuyita mu Mwoyo Omutukuvu ali kumpi na buli muntu yenna eyeewaddeyo okukulemberwa.
Kisuubizo ki ekizzaamu amanyi Kristo kye yatuwa nga tannaddayo mu ggulu?

"LABA NZE NDI WAMU NAMWE ENNAKU ZONNA, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo." - Mataya 28:20.

Kristo akola ki mu ggulu ekyo ekimusobozesa okubeera naffe ekiseera kyonna?

"Kale BWE TULINA KABONA ASINGA OBUKULU omunene eyayita mu ggulu YESU OMWANA WA KATONDA, tunywezenga okwatula kwaffe. Kubanga tetulina Kabona asinga obukulu atayinza kulumirwa wamu naffe bunafu bwaffe; naye eyakemebwa mu byonna bumu awatali kibi. Kale tusemberenga n'obuvumu eri entebe ey'ekisa tulyoke tuweebwe okusaasirwa, era tufune ekisa olw'okubeerwa bwe tukwetaaga." - Abebbulaniya 4:14-16.

Weetegereze ebisuubizo bye tufuna olw'okubeera n'omuntu Yesu Omubaka waffe mu ggulu. "Yakemebwa mu byonna bumu nga ffe." "Atuyamba bwe twetaaga obuyambi." Nga tulina Yesu Kristo nga Kabona waffe asinga obukulu tetwawuliddwa okuva ku ggulu erituli ewala; Kristo ayinza okutuyingiza mu maaso ga Katonda mwennyini. Tekyewunyisa tulagiddwa "okusemberera entebe ey'ekisa n'obuvumu."

Mu ggulu Yesu ali mu kifo ki?

"(Naye Kabona ono Yesu) bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw'ekibi okutuusa emirembe gyonna, n'alyoka atuula KU MUKONO OGWA DDYO OGWA KATONDA." - Abebbulaniya 10:12.

Kristo omulamu - oyo atutegeera - ye mubaka waffe ali "ku mukono ogwa ddyo" ogw'entebe ya Katonda.

Obulamu bwa Yesu Kristo ku nsi kuno bwamuteekateeka butya okubeera Kabona waffe?

"Kyekyava kimugwaanira mu byonna okufaananyizibwa BAGANDA BE, alyoke abeerenga Kabona asinga obukulu, ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi by'abantu. Kubanga olw'okubonyabonyezebwa, KY'AVA AYINZA OKUBABEERA ABO ABAKEMEBWA." - Abebbulaniya 2:17-18.

"Muganda waffe" eyayambala obuntu bwaffe, yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa, mu kiseera kino ye Kabona waffe asinga obukulu ku mukono ogwa ddyo ogwa Kitaffe. Yatufaanana, amanyi byonna bye tuyitamu. Yalumwako enjala, ennyonta, yakemebwa, era yakoowa. Yatuukako ekiseera eky'okwetaga okusaasirwa era n'okutegerwa.

Naye ekisinga byonna, Yesu agwanira okubeera Kabona waffe asinga obukulu kubanga "yafa olw'okutangirira" ebyonono byaffe. Yasasula omuwendo ogw'ebibi byaffe bwe yafa mu kifo kyaffe. Eno y'enjiri, amawulire amalungi eri abantu bonna abali buli wantu ate ag'ekiseera kyonna.

Omu ku bakulembeze baffe ab'essomero lya Bayibuli bino bye bya mubaako:

"Omuwala waffe asingira ddala obuto bwe yali aweza emyaka esatu entebe emenyebwa n'emuluma olugalo n'eggumba n'eryasa. Bwe twali tumuddusa tumutwala ew'omusawo, okukaaba kwe olw'obulumi kwatutuuka ku mitima. Naye mukulu we ow'emyaka etaano kyamuyisa bubi nnyo. Sigenda kwerabira bigambo bye bye yayogera ng'omusawo amaze okujjanjaba mune. Yakaaba n'agamba nti: 'Haaa… taata, singa kisoboka nandyagadde obulumi buno bubeere ku ngalo yange!'"

Abantu bonna bwe baali nga boononeddwa ekibi, era nga basaliddwa omusango ogw'okufa emirembe gyonna, Yesu yagamba Kitaawe nti: "Kitange njagala kibere ku nze." Era Kitaawe yawa Yesu ekyo kye yali ayagala ku musaalaba. Omulokozi waffe yatuusibwako obulumi bwonna obwo obutubonyaabonya - era n'okusingawo.

2. ENJIRI MU NDAGAANO ENKADDE

Abantu ba Isiraeri bwe baasiisira wansi w'olusozi Sinaayi Katonda yalagira Musa azimbe weema ey'okusinzizangamu eyeetikkibwa ng'agikola "mu ngeri y'ebyo bye yalagibwa ku lusozi" (Kuva 25:40). Oluvannyuma lw'emyaka nga 500, Kabaka Sulemani yazimba endala ey'amayinja eyadda mu kifo ky'eyo eyeetikkibwanga. Era yeekaalu eyo yazimbibwa ku pulaani y'emu ng'eri eyeetikkibwanga.

Katonda bwe yawa Musa ebiragiro eby'okuzimba yeekaalu kigendererwa ki eky'enjawulo kye yalina mu birowoozo bye?

"Era bankolere awatukuvu; NDYOKE NTUULE WAKATI WAABWE." - Kuva 25:8.

Ekibi kyaleeta akwawuukana okubi wakati w'omuntu ne Katonda we. Yeekaalu oba awatukuvu lye lyali ekkubo lya Katonda eryalaga engeri Katonda gye yali ayinza okubeera mu ffe. Awatukuvu oba Yeekaalu nga bwe yatuumibwa oluvannyuma yafuuka ekintu ekikulu eky'eddiini era nokusinga mu Ndagaano Enkadde. Buli nkya era n'akawuungezi abantu baakung'ananga okwetooloola Yeekaalu era ne baba n'enkolagana ne Katonda (Luke 1:9,10) nga bakaayanira ebisuubizo bye ebigamba nti: "Eyo kwenaasisinkaniranga naawe" (Kuva 30:6).

Endagaano enkadde eyigiriza enjiri y'emu ey'obulokozi n'eyo mu Ndagaano Empya. Endagaano zombi ziraga Yesu ng'afa ku lwaffe era ng'aweereza nga Kabona asinga obukulu mu Yeekaalu eyo mu ggulu.

3. OKUWEEREZA KWA YESU KU LWAFFE KWALAGIBWA MU YEEKAALU

Yeekaalu awamu n'emikolo egy'okuweereza gyalaganga ku ekyo Yesu ky'akola mu kiseera kino mu Yeekaalu ey'omu ggulu era ne ku ekyo ky'akola kaakano ku nsi okutuwa omukisa era n'okutulung'amya buli kinnomu ku ffe mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.

Okuva nga Yeekaalu eyo ku nsi bwe yakolebwa ng'egooberera ekifaananyi ekya Yeekaalu eyo mu ggulu, ewa ekifaananyi ekya Yeekaalu eyo mu ggulu Kristo gy'ali kati ng'aweereza. Okuva Essuula 25-40 zinnyonnyola okuweereza awamu n'emikolo egyalinga mu Yeekaalu. Mu bufunze enzimba ya Yeekaalu erabikako mu Ndagaano Empya bw'eti.

"Era n'Endagaano eyasooka yalina amateeka agaagobererwanga mu kusinza Katonda era yalina n'ekifo ekitukuvu ekyo ku nsi kuno… Kubanga waatekebwawo weema. Mu kitundu (ekisenge) kyayo ekisookerwako mwalimu ekikondo ky'ettaala, emmeeza n'emigaati egiweereddwayo eri Katonda. Ekitundu ekyo nga kiyitibwa Ekifo Ekitukuvu. Emabega w'olutimbe olw'okubiri, we waali eweema eyitibwa entukuvu ennyo. Mu yo mwalimu essanduuko ey'endagaano ebikkiddwako zaabu enjuyi zona. Mu ssanduuko eyo mwalimu, ebipande eby'endagaano, (Katonda kwe yawaandiika amateeka ekkumi. Ekyamateeka 10:1-5). Kungulu ku ssanduuko kwaliko ba Kerubi abeekitiibwa basiikiriza entebe ey'okusaasira." - Abebbulaniya 9:1-5.

Eweema entukuvu oba Yeekaalu yalina ebisenge bibiri, Ekifo Ekitukuvu n'e kifo ekisinga obutukuvu ennyo. Olujja lwali mu maaso ga Yeekaalu. Mu lujja mwalimu ekyoto ekya ffeeza, bakabona kwe baaweerangayo zissaddaaka era n'ekibya ky'amazzi mwe baanaabanga.

Ssaddaaka ezaweebwangayo ku kyoto ekyo zaali ziranga Yesu oyo okuyita mu kufa kwe ku musaalaba eyafuuka "omwana gw'endiga ogwa Katonda aggyawo ebibi by'ensi." (Yokana 1:29). Omwonoonyi ayagala okwenenya bwe yajjanga ku kyoto n'essaddaaka ye era n'ayatula ebibi bye, yafunanga okusonnyiyibwa era n'okulongoosebwa. Mu ngeri y'emu mu kiseera kino omwonoonyi afuna okusonyiyibwa n'okunaazibwa okuyita mu musaayi gwa Yesu (1 Yokana 1:9).

Mu kisenge ekisooka ekyo ekyayitibwanga Ekifo Ekitukuvu mwabangamu ettabaaza ez'ebikondo musaanvu yayakanga butayosa, ng' eno yali etegeeza Yesu omusana oba ekitangaala ky'ensi yonna ekitazikira (Yokana 8:12). Emmeeza ey'emigaati egyawongebwanga eri Katonda kaali akabonero akaali kategeeza omugaati ogw'obulamu bwa Kristo obukkusa enjala yaffe ey'Omwoyo (Yokana 6:35). Ekyoto ekya zaabu eky'obubaane, kyali kiraga okuweereza kwa Yesu okw'okusaba kw'atusabira mu maaso ga Katonda (Kubikkulirwa 8:3,4).

Mu kisenge eky'okubiri oba ekiyitibwa ekisinga obutukuvu mwalimu ssanduuko eya zaabu ey'endagaano. Eno yali etegeeza entebe ya Katonda. Ekibikkako kyayo eky'okutangirira oba ekifo eky'ekisa, kyali kitegeeza okutabaganya kwa Kristo Kabona waffe asinga obukulu, ng'awoza ku lw'omuntu omwonoonyi eyamenya amateeka ga Katonda. Ebipande ebibiri eby'amayinja Katonda kwe yawandiika Amateeka ekkumi byakuumirwa nga wansi w'ekifo eky'ekisa. Bamalayika aba zaabu ab'ekitiibwa baabikkanga ku kifo eky'ekisa buli omu ng'ali ku nkomerero y'essanduuko. Omusana ogw'ekitiibwa gwayakanga wakati wa ba Kerubi bano ababiri, akabonero akali kategeeza okuberawo kwa Katonda yennyini.

Olutimbe lwaziyizanga abantu abaali mu luggya obutalaba mu Kifo Ekitukuvu bakabona gye bawererezanga. Olutimbe olw'okubiri mu maaso g'e kifo ekisinga obutukuvu lwe lwaziyizanga bakabona abayingiranga mu kisenge ekisooka obutalaba ebyo ebyali munda.

Yesu bwe yafa ku musaalaba, kiki ekyali ku lutembe luno?

"Laba, eggigi lya yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuva waggulu okutuuka wansi." - Mat 27:51.

Ekifo ekisinga obutukuvu kyasigala mu bbanga Yesu bwe yafa. Nga Yesu amaze okufa tewakyali lutimbe wakati wa Katonda Omutukuvu n'omukkiriza omwesigwa kubanga Yesu Kabona waffe asinga obukulu atuyingiza mu maaso ga Katonda (Abebbulaniya 10:19-22). Tutuuka butereevu mu maaso g'entebe eyo mu ggulu, kubanga Yesu Kabona waffe asinga obukulu ali ku mukono gwa ddyo ogwa Katonda. Yesu atusobozesa okujja mu maaso ga Katonda - mu mutima gwa Kitaffe ow'okwagala. N'olwekyo, "Leka tusembere kumpi."

4. KUFA KWA KRISTO OKUTULOKOLA OKUBIKKULIBWA

Ng'ekifo kya yeekalu eky'oku nsi bwe kyakolanga ekifaananyi ekyava mu Yeekalu ey'omu gulu, Yesu mu kiseera kino gy'aweereza ku lwaffe, emikolo egyakolebwanga mu Yeekalu ey'oku nsi gyali; ekifaananyi eky'ebyo ebikolebwa mu ggulu (Abebbulaniya 8:5). Naye waliwo enjawulo nene: Bakabona abaaweerezanga mu Yeekalu ey'oku nsi tebaasobolanga kusonnyiwa bantu kibi, naye ku musaalaba gwa Yesu eyajja "ku nkomerero y'emirembe yalabika okuggyawo ebibi olwokwewayo yennyini" (Abebbulaniya 9:26).

Ekitabo ekya Abaleevi mu Ndagano Enkadde kinnyonnyola kalonda agenda ewala ku mikolo egyakolebwanga mu Yeekaalu. Emikolo egy'omu Yeekaalu gyali gigabanyiziddwamu mu bitundu bibiri: okuweereza okwa buli lunaku era n'emikolo egya buli mwaka. (ZUULA owe No. 13 ajja kwogera ku mikolo egya buli mwaka.)

Mu kuweereza okwa buli lunaku bakabona baawangayo Ssaddaaka olw'omuntu omu era n'olw'abantu bonna ab'egwanga lyonna. Omuntu bwe yayonoonanga, yaleetanga, ensolo eteriiko bulema "ng'ekiweebwayo olw'ekibi" yateekanga emikono gye ku mutwe gw'ekiweebwayo eky'ekibi era n'agittira mu kifo ky'ekiweebwayo ekyokebwa (Baleevi 4:29). Omusango gw'omwonoonyi guteekwa okukyusibwa okumuvaako ne ggudda ku nsolo eterina musango olw'okwatulirwako ekibi era n'okugiteekako emikono. Kano kaali akabonero aka Kristo okwetikka omusango gwaffe ku musaalaba, "Ye ataalina kibi yafuuka ekibi ku lwaffe" (2 Bakoliso 5:21). Ssaddaaka ey'ensolo yali eteekwa okuttibwa era n'omusayi gwayo ne guyiika kubanga yali eranga ku kiseera eky'omu maaso ku kibonerezo ekikulu Yesu kye yabonaabona ku musaalaba.

5. LWAKI OMUSAYI GWAYIIKA?

"Era awatali kuyiwa musaayi, tewabaawo kusonyiyibwa" (Abebbulaniya 9:22). Kiki ekyalingawo mu Ndagaano Enkadde mu Yeekaalu ekyalaganga mu kiseera eky'omu maaso ku kikolwa ekimu ekikulu eky'obulokozi ekya Kristo? Ng'amaze okufa olw'ebibi byaffe yayingira mu kifo ekitukuvu "n'ayingirira ddala omulundi gumu mu kifo ekitukuvu n'omusaayi gwe gwennyini. ng'amaze okutufunira okununulibwa okutaggwaawo" (Olunyiriri olwe 12). Omusaayi gwa Yesu bwe gwayiika ku musaalaba olw'ebibi byaffe "olutiimbe olwo mu Yeekaalu (mu Yerusaalemi) ne luyulikamu wabiri okuva wagulu okutuuka wansi" (Matayo 27:51). Kubanga olwa Ssaddaaka ya Yesu ku musaalaba, Ssaddaaka ez'ensolo zaali tezikyetaagibwa.

Omusaayi gwa Yesu bwe gwayiibwa ku musaalaba yali awaayo obuwulize bwe obw'obulamu bwe obutuukiridde nga budda mu kifo eky'obulamu bwaffe obwalemwa. Omwana ne Kitawe bwe baali baawuukana ku musaalaba, Kitawe w'Omwana yagenda n'obulumi era n'Omwana n'afa omutima gwe ne gwabika. Katonda omwana kennyini yakka mu byafaayo by'omuntu okwetikka ebyo ebyava mu kibi era n'okulaga mu mazima ekibi bwe kifaanana. Yali asobola okusonyiwa aboonoonyi awatali kukendeza buzito bwa kibi. Kristo "yaleeta emirembe okuyita mu kufa kwe ku musaalaba" (Bakolosayi 1:20).

6. OKUBIKKULIRWA KWA YESU OKUBEERA OMULAMU OKUTULOKOLA

Mulimu ki ogwa Yesu ogwa buli lunaku mu Yeekaalu y'omu ggulu?

"Kyava ayingiza bulijjo okulokola abo abajja eri Katonda nga bayita mu ye, KUBANGA ABEERA MULAMU ENNAKU ZONNA okubawolerezanga." - Abebbulaniya 7:25.

Yesu kaakati "mulamu" okuwaayo omusaayi gwe, Ssaddaaka ye, ku lwaffe. Mu kiseera kino akola n'obwegendereza obw'ekitalo okulokola buli muntu yenna okuva mu mutawaana ogw'ekibi. Nga bali mu nsobi, abantu abamu balowooza nti omutabaganya waffe, Yesu mu ggulu yeegayirira Katonda Kitaffe atayagala kutusonyiwa. Naye mu butuufu Katonda mu busanyufu bwe akkiriza ssaddaaka y'omwana we ku lwaffe.

Nga Kabona waffe asinga obukulu mu ggulu, Kristo mu kiseera kyekimu yeegayirira olulyo lw'omuntu. Akola okuyamba bannanfuusi okufuna omukisa ogw'okubiri ogw'ekisa era n'okuyamba aboonoonyi okufuna essuubi mu mawulire amalungi (Enjiri) era ayamba abakkiriza okuzuula obugagga obusingako obungi mu Kigambo kya Katonda era n'okufuna amaanyi amangi mu kusaba. Yesu alongoosa empisa zaffe zibe nga zikkiriziganya n'Amateeka ga Katonda, era atuyamba n'okubeera n'empisa ezo ezijja okugumira ekiseera eky'okugezesebwa.

Katonda yawaayo obulamu bwe ku lwa buli muntu eyali abaddeko ku nsi kuno. Era kaakati, nga Kabona asinga obukulu oba "bulijjo ng'omutabaganya, mulamu" okukulembera abantu okukkiriza okufa kwe okw'ebibi byabwe. Newankubadde nga ku musaalaba yatabaganya olulyo lw'omuntu lwonna olwagwa naye kennyini, naye tasobola kutusonyi okuggyako nga tukkiriza ekisa kye. Abantu tebagenda kuzikirira kubanga baali boonoonyi, naye balizikirira olw'okubanga baagaana okukkiriza okusonyiyibwa Yesu kw'atuwa.

Ekibi kyazikiriza oluganda olw'okwagala Adamu ne Kaawa omulundi ogumu kwe baalina ne Katonda. Naye Yesu, ng'endiga ya Katonda, yafa okuwa eddembe olulyo lw'omuntu okuva mu kibi era n'okuzzaawo omukwano guno ogwafa. Omaze okumuzuula nga Kabona wo asinga obukulu, oyo abeera omulamu bulijjo okukuuma enkolagana yo ne Katonda wo ey'okumpi era ennamu?

Okufa kwa Kristo nga ssaddaaka kwa njawulo nnyo. Okuweereza okw'omu ggulu okwa Kristo tekulina kw'okugerageranyiza. Ekintu kimu Kristo aleeta Katonda kumpi naffe. Ekirala Kristo asobozesa Omwoyo wa Katonda okutuula mu mitima gyaffe. Yeejjako ebibye byonna alyoke atujjuze ffe. Yeetaaga okuva gyetuli, okwewayo kwe kumu ng'okukwe. Leka naffe tumukkirize bulambalamba ng'omulokozi waffe era nga Mukama ow'obulamu bwaffe.

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy