AMAANYI AG'EKYAMA MU BULAMU BWANGE

Mu mwaka 1929, Frank Morris yalinnya ekyombo ekyali kigenda mu Switzerland. Yali amaze ebbanga ng'alindirira olugendo luno. Naye lwamufuukira ekintu eky'obuswavu. Omusajja eyali akola ku kyombo eyamuweebwa okumulabirira yasibiranga Frank mu kisenge mwe yali asula buli lunaku. Ng'amaze okumuwa eky'enkya eky'amangu. Frank yazannyangako katono. Yawuliranga obusiru bwe yakulemberwa ne yeetoloozebwa ku kyombo, ng'ali ng'ensolo ensibe ku lukoba. Olwo ate omusajja oyo yaterekanga Frank mu ntebe y'omugoba w'ekyombo. Buli lwe yasanga nga mukwano gwe omusaabaze ng'amuyise batambulemu naye ng'amugaana ng'agamba nti y'eyalina okumukuuma.

Frank yali mukulu, ng'ayagala okuyiga ebintu ebiggya. Naye era yali muzibe w'amaaso. Omusajja eyakolanga ku kyombo yalowoozanga nti yali tasobola kwerabirira. Frank yatwalibwa nga ekitereke ekiteekwa okwetikkibwa n'okukuumibwa. Naye ng'atuuse mu Switzerland obulamu bwe ne bukyukira ddala. Ng'ali eyo kwe kukitegeera nti waaliwo embwa ezayigirizibwa okukulembera abazibe b'amaaso. Olw'okukomyawo omusumba omujjamani mu America ayitibwa Buddy. Frank yatandikawo enkola ey'amaaso agalaba mu kiseera kino eri mu nsi yonna. Kaakati ng'ali n'embwa Buddy ku lusegere lwe, Frank yali asobola okutambula mu kifo kyonna. Ekiseera kyonna. Yakiwulira nga wa ddembe. Ku mukolo ogumu ogw'abamawulire ogwali mu kibuga New York mu nguudo ezijjudde abantu n'ebidduka ebiri ku misinde egyayiriyiri, embwa Buddy yakulembera Mukama waayo mu ngeri ey'ekikugu okumusaza ekkubo. Kubanga yeesiga Buddy, Frank kyamwanguyira okusala ekkubo awatali buzibu. Bannamawulire abaalina amaaso kyabakalubirira mu butuufu omu ku bo yapangisa mmotoka okusobola okusala ekkubo.

Mu mpapula entono ezinaddirira tugenda okuyiga ku Mwoyo Omutukuvu, omukulembeze ayagala tuteeke obulamu bwaffe mu mikono gye. Abantu ffena tuli balema olw'obuzaaliranwa obufaanagana (obw'ekibi), obuzibe bw'amaaso gaffe obusinga obukulu. Obulamu butuddukako ku misinde egy'ekitalo, n'emirundi egimu twesanga nga tusibiddwa mu kifo ky'okwetaaya wonna we twagala. Naye era tulwawo okwesigira ddala mu bulambalamba omukulembeze oyo. Naye ekintu kyetuteekwa okuzuula buli kinnomu ku ffe kino nti: tujja kufuna emirembe egy'amazima era n'amaanyi bwe tunesigamya obulamu bwaffe ku bukulembeze obw'Omwoyo Omutukuvu.

1. OMUBAKA WA KRISTO MU NSI

Kristo bwe yali anatera okulinnya mu ggulu, yasuubiza Abatume be ekirabo eky'obwerere.

"Naye nze mbagamba amazima: kibasaanira mmwe nze okugenda, kubanga nze bwe ssiriiigenda, Omubeezi talibajjira; naye ndimutuma gye muli… naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabalung'amyanga mu mazima gonna… oyo anangulumiza nze, kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe." - Yokana 16:7,13,14.

Mu nteekateeka ya Katonda, Yesu kyamwetagisa okuddayo mu ggulu abeere omubaka waffe mu maaso g'entebbe ya Katonda era "okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe" (Bebbulaniya 9:24). Nga Mukama waffe eyakomererwa atukiikirira mu ggulu era tulina Omwoyo Omutukuvu omubeezi era omulung'amya waffe ku nsi kuno. Ye ye mubaka wa Kristo eyatumibwa.

Yesu bwe yali wano ku nsi yaweerezanga ng'ali mu mubiri gw'obuntu era yali tasobola kubeera mu buli kifo. Naye Omwoyo Omutukuvu talina kkomo lifaanana bwe lityo; asobola okweereza ng'amubeezi era omulung'amya eri abantu abatabalika muwendo mu bifo bingi eby'enjawulo ate ng'akikola mu kiseera kyekimu. Kristo akola ku byetaago byaffe okuyita mu Mwoyo Omutukuvu.

2. OMWOYO OMUTUKUVU Y'ANI?

Abasinga obungi ku ffe tusobola okutebeereza Katonda Kitaffe nga tumugerageranya n'omuzadde asinga okufaayo ennyo eyali amannyiddwa. Era tusobola okukuba ekifaananyi ku Yesu Omwana, kubanga Yesu yali abaddeko naffe ng'omuntu. Naye Omwoyo muzibu okukuba ekifaananyi ky'omugerageranyizako. Tetulina muntu gwe tuyinza okumugerageranyiza. Ne Bayibuli tetuwa bubaka obumala ku Mwoyo Omutukuvu.

Obuntu bwe Yesu ayogera ku Mwoyo Omutukuvu ng'omuntu, omu ku bwa Katonda, awamu ne Katonda Kitaffe, ne Katonda Omwana.

"Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana, n'Omwoyo Omutukuvu." - Matayo 28:19.

Omwoyo alina empisa ez'obuntu: alina eborowoozo (Abaruumi 8:27), alina amagezi (1 Kolinso 2:10), atwagala (Abaruumi 15:30), anakuwala bwe twonoona (Efeso 4:30), asobola okutusomesa (Nekemiya 9:20), era alina amaanyi okutulung'amya.

Okwenyigira kwe mu butonzi: Omwoyo Omutukuvu mu kutondebwa kw'ensi naye yalina ekitundu kye yakola awamu ne Katonda Kitaffe ne Katonda omwana.

"Oluberyeberye Katonda yatonda eggulu n'ensi… n'OMwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi." - Luberyeberye 1:1,2.

3. EMIRIMU GY'OMWOYO OMUTUKUVU

(1) OKUKYUSA OMUTIMA GW'OMUNTU. Yesu bwe yasisinkana ne Nikoddemu yaggumiza omulimu gw'Omwoyo Omutukuvu mu kukyusa omutima gw'omuntu. Yagamba bwati:

"Ddala Ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa MAZZI NA MWOYO tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda." - Yokana 3:5.

Okuzaalibwa Omwoyo kitegeeza Omwoyo okukuwa entandikwa empya. Kisingira wala okugezaako okulongoosa mu mpisa akatono. Omwoyo atukyusa ng'atandikira munda mu mutima okudda ebweru ng'atuukiriza okusuubiza okugamba nti: "ndibawa omutima omuggya" (Ezekieri 36:26).

(2) ATULAGA EKIBI N'ATUWA OKWAGALA OKUKOLA OBUTUUKIRIVU. Agamba bwati: "(Omwoyo Omutukuvu) bw'alijja, ALIRUMIRIZZa ensi OLW'EKIBI, N'OLW'OBUTUUKIRIVU n'olw'omusango." - Yokana 16:8.

Bulijjo bwe tuwulira ebyafaayo by'okukyuka kw'omuntu okuva mu bulamu obw'obwenzi okudda eri Katonda era n'afuuka omukyala omwesigwa era omuzadde alabirira abaana be. Jjukira nti buli kigere kyonna omuntu ky'atambula ng'adda mu bulamu obutuukirivu kiva mu kukola kw'Omwoyo Omutukuvu.

(3) OKUTUKULEMBERA MU BULAMU BWAFFE OBW'EKIKRISTAYO. Kristo akyayogera naffe buterevu okuyita mu ddoboozi ettono ery'eggonjebwa ery'Omwoyo.

Agamba nti: "N'amatu go ganaawuliranga ekigambo ekikuvaako ennyuma nga kyogera nti lino lyekkubo, mulitambuliremu bwe munakkyamiranga ku mukono ogwa ddyo, era bwe munaakyukiranga ku gwa kkono." - Isaaya 30:21.

Okuyita mu kizungirizi ekya Satelayite Televizoni zaffe zituleetera ebifaananyi eby'ebintu okuva mu nsi eziri ewala mu bisenge byaffe. Omwoyo Omutukuvu akola nga Satelayite ya Katonda etuleetera okubeerawo kwa Yesu ku nsi okuva mu ggulu, ng'amusembeza kumpi buli wantu wonna waba asingaokwetaagibwa (Yokana 14:15-20).

(4) AYAMBA OBULAMU BWAFFE OBW'OKUSABA. Agamba nti: "Era bwe kityo Omwoyo atubeera obunafu bwaffe kubanga tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira; NAYE OMWOYO YENNYINI ATUWOLEREZA n'okusinda okutayogerekeka nga Katonda bw'ayagala." - Abaruumi 8:26,27.

Bwe tusanga obuzibu okunoonya ebigambo (ebituufu) Omwoyo atusabira. Bwe tuba nga tuweddemu amaanyi, tusobola kukaaba bukaabi eri Katonda, Omwoyo azimbulukusa okukaaba kwaffe n'ajjamu okusaba okw'amaanyi mu maaso g'entebe ya Katonda yennyini Kristo gy'ali mu kiseera kino ng'aweereza.

(5) OKUZIMBA EMPISA EZ'OBUKRISTAYO MU BANTU. Omwoyo abantu abatalina bibala bya Mwoyo abajjuza ebibala ebya buli ngeri eby'Omwoyo.

"NAYE EBIBALA EBY'OMWOYO kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwonbeefu, okwegendereza." - Bagalatiya 5:22-23.

(6) ATUTEEKATEEKA OKUBA ABAJULIZI. Yesu yasuubiza nti, "Naye MULIWEEBWA AMAANYI, OMWOYO OMUTUKUVU bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga BAJULIRWA BANGE mu Yerusalemi n'okutuuka ku nkomerero y'ensi." - Bikolwa 1:8.

Bonna abagaala basobola okufuulibwa abajulirwa okuyita mu Mwoyo. Tusobola okuba nga tetulina byakuddamu ebibuuzo byonna, naye Omwoyo ayinza okutuwa eby'okwogera ebyo ebikyusa emitima n'ebirowoozo.

"Ng'Omwoyo tanajja ku lunaku olwa Pentekote, abatume baalina obuzibu obw'okwogera eri abantu, naye Omwoyo bwe yakka baabuulira Kristo n'amaanyi agasobola n'okuvuunika ensi" (Ebikolwa 17:6).

4. EBIRABO EBY'OMWOYO

Ebyawandiikibwa ebitukuvu byawula bulungi wakati w'ebirabo bya Katonda eby'Omwoyo ebiweebwa buli amukkiriza okubeera n'obulamu obukristayo obuwanguzi n'ebirabo ebitali bimu eby'Omwoyo ebiweebwa abakkiriza olw'okuweereza okulungi mu makubo ag'enjawulo.

"Yesu bwe yalinnya mu ggulu, yatwala abasibe N'AWA ABANTU EBIRABO. Era ye omu oyo eyaawa ABAMU okuba ABATUME, abalala okuba ABALANZI, ABALALA OKUTEGEEZA ABANTU. Amawulire AMALUNGI abalala okuba ABASUMBA b'eMyoyo, abalala okuba ABAYIGIRIZA. Ekyo yakikola olw'okutendeka abantu ba Katonda mu mulimu gw'okuweereza." - Efeso 4:8,11-12.

Buli mukristayo tafuna birabo byonna, abamu bafuna ebirabo bingi okusinga abalala Omwoyo y'abibawa ''ng'agabira buli omu nga ye bw'ayagala" (1 Kolinso 12:11). Omwoyo awa buli mukkiriza olw'omulimu gwe ogw'enjawulo mu nteekateeka ya Katonda. Katonda amaanyi ekiseera era n'ekifo w'ateekwa okugabira ebirabo ebyo ebijja okuwa abantu be oba ekkanisa ye omukisa.

Amanya ag'ebirabo eby'Omwoyo agasangibwa mu 1 Kolinso 12:8-10, mulimu amagezi, okutegeera okukkiriza, okuwonya abalwadde, obunnabbi, okwogeranga ennimi ez'enjawulo era n'okunnyonnyola ennimi (Olunyiriri olwa 8-10).

Paulo atukkubiriza nti, "Kale mwegombenga ebirabo ebisinga obukulu," olwo n'alyoka agattaako na kino nti, "era ka mbalage ekkubo erisingira ddala obulungi" (1 Kolinso 12:31). Abakolinso essula eye 13 ye ssula ey'okwagala, y'eddirira olunyirira olugambye nti, "era ka mbalage ekkubo erisinga obulungi," ekkubo erisinga obulungi ly'ekkubo ery'okwagala. Era okwagala kibala kya Mwoyo (Bagalatiya 5:22).

Okwettanira kwaffe okusinga kwandibadde okunoonya ebibala eby'Omwoyo olwo tukkirize Omwoyo agabe ebirabo bye gye tuli nga ye bw'ayagala (Bakolinso 12:11).

5. OBUJJUVU BW'OMWOYO KU LUNAKU OLWA PENTEKOTE

Ku lunaku olwa Pentekote, Omwoyo yafukibwa mu kigera ekitagerwa, nga kituukiriza okusibiza kwa Yesu nti,

"Naye muliweebwa amaanyi, Omwoyo Omutukuvu bw'alimala okujja ku mmwe, nammwe munaabanga bajulirwa bange… Okutuusa ku nkomerero y'ensi." - Ebikolwa 1:8.

Ku lunaku olwa Pentekote Omwoyo yasobozesa Abatume okubuulira enjiri eri abantu mu nnimi eza buli ggwanga eryali wansi w'eggulu (Ebikolwa 2:3-6).

Abayizi aba Bayibuli abamu bagerageranya okujja kw'Omwoyo ku kutonya kw'enkuba esooka etonya mu ttogo era n'ey'oluvanyuma etonya mu ddumbi mu Palestine (Yoweeri 2:23). Omwoyo eyakka ku Pentekote agerageranyizibwa n'enkuba eya ttogo ereetera ensigo okumera era eyawa ekkanisa ento ey'abakristayo obulamu.

6. OMWOYO OW'ENKUBA EY'OLUVANYUMA

Obunnabbi bwa Bayibuli bututegeeza ku kiseeera ekijja Omwoyo wa Katonda lw'anaafukibwa ng'enkuba ku kkanisa, okuwa amaanyi abantu b'ekkanisa okuba abajulirwa (Yoweeri 2:28,29). Ebyasa bingi biyiseewo era enjiri ey'obulokozi ebunye ekitundu ekisinga obunene eky'ensi. Kino ky'ekiseera eky'enkuba ey'oluvanyuma okwengeza ensigo olw'okukungulwa.

Ng'ebyafaayo by'ensi bigenda bisemberera enkomerero, nga ne Yesu tannaba kudda omulundi ogw'okubiri, Katonda ajja kuteekateeka buli mukkiriza ow'amazima olw'eggulu ng'ayita mu kufuka Omwoyo we n'amaanyi. Gwe kaakano otuukibwako enkuba esooka eyo eteekateeka ekkanisa olw'ekiseera eky'enkuba ey'Omwoyo ey'oluvanyuma. Obulamu bwo bw'obeeramu kaakano bujjudde Omwoyo Omutukuvu? Ng'ojjuzibwa amaanyi ag'Omwoyo, onnokkiriza Katonda ayogereko nawe amawulire ag'okwagala kwe okwekitalo. Era n'ag'okudda kwe amangu?

7. EMBEERA ETUSAANYIZA OKUFUNA OMWOYO OMUTUKUVU

Ku lunaku olwa Pentekote Omwoyo Omutukuvu yakola ku bantu abo abawulira enjiri n'okwogera ne boogera nti, "Abooluganda tunakola tutya?" (Bikolwa 2:37).

Petero n'addamu nti; "MWENENYE era BULI OMU KU MMWE ABATIZIBWE mu linnya lya Yesu Kristo, mulyoke musonyiyibwe ebibi byammwe, era MUNAAFUNA EKIRABO YE MWOYO OMUTUKUVU." - Bikolwa 2:38.

Okwenenya - okukyuka okuva ku makubo ag'obulamu ag'ekibi era n'okudda eri Yesu Kristo y'embeera etusobozesa okufuna ekirabo eky'Omwoyo. Okufuna Omwoyo okutufukibwako tutekwa okusooka byonna okwenenya era n'okuwaayo obulamu bwaffe eri Kristo. Yesu naye kino yakikakasa nti okubeera abamalirivu okumugobeerera era n'okumugondera y'embeera etuweesa ekirabo eky'Omwoyo Omutukuvu (Yokana 14:15-17).

8. OBULAMU OBUJJUDDE OMWOYO

Nga Yesu tannaba kuva ku nsi kuno, yalagira abagobeerezi be nti;

"Temuva mu Yerusalemi, wabula mulinde EKIRABO Kitange kye yasuubiza, kubanga Yokana YABATIZA N'AMAZZI, kyokka mmwe mu nnaku ntono MULIBATIZIBWA NA MWOYO MUTUKUVU." - Bikolwa 1:4-5.

Emirundi n'emirundi ebyawandiikibwa ebitukuvu biraga nti Abakristayo bateekwa "okujjuzibwa Omwoyo Omutukuvu" (Bikolwa 2:4; 4:8; 4:31; 6:3; 6:5; 7:55; 9:17; 13:9; 13:52; 19:6). Omwoyo Omutukuvu afuula obulamu obw'obukristayo obujjuvu era obulungi kubanga obulamu obujjudde Omwoyo buleteebwa Yesu mu ffe.

Ng'annyoonnyola obulamu obw'obukrstayo obujjudde Omwoyo, omutume Paulo yasaba okusaba kuno ku lwa buli muntu akkiriza.

"Ne mmusaba, ye owekiitibwa ekingi, ABAJJUZE MMWE AMAANYI AGA MWOYO we KRISTO ALYOKE ABEERE MU MITIMA GYAMMWE OLW'OKUKKIRIZA kwe mulina… Katonda oyo ayinza okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowwoza OLW'AMAANYI GE AGAKOLERA MU FFE." - Efeso 3:16,17,20.

Okufaanana nga Frank Morris ng'ali ne'mbwa ye Buddy omukulembeze we omwesigwa, nga tuli n'Omwoyo Omutukuvu mu mitima gyaffe okutukulembera tusobola okukola ekissukiridde ne ku ekyo kye twali tubadde nakyo mu bulamu bwaffe obwayita. Ng'atulina okwegomba okuggya era n'ammanyi amaggya tusobole okugenda mu maaso n'obuvuumu mu kifo ky'okugezako okulwanangana n'ebizibu eby'omu bulamu.

Obulamu buno obujjudde Omwoyo buli lunaku buzzibwa buggya okuyita mu kuyiga Bayibuli awamu n'okusaba. Okusaba kutukuuma nga tutunudde mu buyinza bwe. Bino bimmenyawo ebintu byonna ebitwawula ne Kristo ebyo ebimugaana okutufukako ekirabo kye eky'obwerere eky'Omwoyo. Eno y'engeri gye tukulamu mu by'Omwoyo, nga empisa zaffe embi zijjibwawo mu kifo kyazo ne muddamu empisa ennungi ezijjudde obulamu.

Ekitabo kya Abaruumi essuula 8 kinnyonnyola obulamu obujjudde Omwoyo obusanyusa. Bw'oba osobola kisome era weetegereze emirundi gyonna Paulo gy'ayogera ku Mwoyo nga ge maanyi okwesigamye obulamu obukristayo.

Gwe omaze okuzuula obulamu obw'ekitalo obujjudde Omwoyo? Okiwuulira nti Omwoyo Omutukuvu ali mu bulamu bwo? Owuulira amaanyi ge mu bulamu bwo? Ggulawo obulamu bwo eri amaanyi agasingira ddala obukulu mu nsi yonna - Ye Mwoyo Omutukuvu.

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy