OKUDDA KWA YESU KULI KUMPI
KYENKANA WA?

Abantu abasinga obungi ku ffe tulina obuzaale obutuwaliriza okwagala okulengerako mu kiseera eky'omu maaso. Twagala nnyo okumanya kiki ekiri emitala eri. Naye okulanga ekituufu kitulema. Yadde tulina obuzibu okutebeereza obudde obw'olunaku olw'enkya bwe bunaabeera!

Waliwo omuntu omu alina obunnabbi obwakakasibwa nga butuufu ddala. Yesu Kristo ng'ayita mu kigambo kye asobola okututwalako mu kiseera eky'omu maaso ye yemukulembeze eyeesigika. Mu ky'okuyiga kino kye tugenda okulaba ky'ayogera ku kiseera ky'okudda kwe omulundi ogw'okubiri. Awamu n'ebyo byonna, ani ayinza okusinga okumanya ekisingawo ku nkomerero ey'ensi okujjako oyo eyagitonda ku luberyeberye?

1. OBUBONERO OBULAGA NTI KRISTO AJJA KUJJA MU NNAKU ZAFFE

Nga Yesu amaze okutegeeza abayigirizwa be nti ajja kukomawo ku nsi yaffe eno omulundi ogw'okubiri (Matayo 23:39). Kibuuzo ki kye baamubuuza?

"Tubulire, ebyo biribeerawo ddi? Era kabonero ki akaliraga okujja kwo, n'enkomerero y'ensi?" - Matayo 24:3.

Yesu yakkiriza n'abaddamu mu ngeri etegeerekeka obulungi. Mu ssuula ya Matayo 24 ne Lukka 21, ye kennyini yawa "obubonero" bungi obukakafu obwo kwe tugenda okutegeerera ekiseera eky'okujja kwe nga kisembedde. Obunnabbi obulala obwa Bayibuli butuyamba okujjuza ekifaananyi, nga bunnyonnyola embeera y'ensi bw'eribeera nga Yesu anaatera okudda. Nga bwe tunaalaba obunnabbi buno bugenze nga butuukirira mu maaso gaffe; bulaga nti okujja kwa Kristo omulundi ogw'okubiri ku nsi kuli kumpi ku luggi.

Ka tulabe obubonero kkumi obuli ku kubbo erigenda mu ggulu era twetegereze ebibuuzo omutambuze ow'omulembe guno by'ayinza okwebuuza bw'asoma ku bubonero buno.

AKABONERO AKASOOKA - OKUBONAABONA! OKUTYA! OKWELARIKIRIRA!
Emyaka giyise nkumu bbiri (2000) Yesu bwe yawa obunnabbi obunnyonnyola embeera eya bulijjo ey'obulamu era bw'osoma buwulikika nga obwavudde mu mawulire ag'olunaku olw'eggulo erya leero.

"Walibaawo eby'amagero ku njuba ne ku mwezi ne ku mmunyeenye. Ku nsi AMAWANGA GALYERALIKIRIRA nga gatya olw'okuwuuma kw'ennyanja n'okw'amayengo. ABANTU BALIZIRIKA OLW'ENTIISA N'OKWERALIKIRIRA EBIGENDA OKUBAAWO KU NSI. Kubanga eby'amaanyi mu bwengula bw'ebbanga birinyeenyezebwa. Olwo ne balaba omwana w'omuntu ng'ajjira mu bire, ng'alina obuyinza bungi n'ekitiibwa kinene. Naye ebyo bwe biritandika okubaawo, musitule era muyimuse emitwe gyammwe, kubanga okununulibwa kwammwe kuli kumpi." - Luka 21:25-28.

Tewali ngeri ndala esingako awo obulungi gye tusobola okuwandiika ennyonnyola obulungi embeera ensi yaffe gy'erimu kaakati. "Abantu balizirika olw'entisa n'olw'okweralikirira olw'ebyo ebigenda okubaawo ku nsi." Eby'okulwanyisa ebiterekeddwa mu mawanika bisobola okuzikiriza ensi yaffe yonna. Kiri kitya singa eby'okulwanyisa zzisabyalo eby'amaanyi ga nucliya biggwa mu mikono gya bannalukalala.

Ekigendererwa kya Yesu kwe kutuwa essuubi mu mirembe egirimu obuzibu. Obuzibu obuli ku nsi yaffe yonna ''entisa n'okweralikirira''' bikakasa amazima gano nti okujja kwa Yesu Kristo "kusembedde." Mu kiseera kino emirundi egimu abantu bangi bakaaba olw'okutabukatabuka nga bagamba nti: "ate laba ensi ky'etuuseko." Naye omuyizi w'obunnabbi bwa Bayibuli asobola okuddamu n'eddoboozi eririmu essuubi nti: "Laba waliwo omuntu ajja ku nsi yaffe eno" Ye Yesu.

AKABONERO AK'OKUBIRI - EBIZIBU BY'ENSI.
Ebizikiriza eby'obutonde bijja bitya mu bubonero obw'ennaku ez'enkomerero?

"Walibaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, n'enjala ne kawumpuli mu bitundu bingi… bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi." - Luka 21:11, 31.

Mu kaseera kano lowooza ku njala. Lowooza abaana abafa enjala nga n'embuto zibazimbye abatava ku mawulire. Ekyo tekyewuunyisa ensi, esobola okuweereza omuntu ku mwezi: tesobola kuliisa bantu baayo? Yesu yakitegeera nti enjala yali ya kulemerawo, era obuzaaliranwa obw'omuntu obw'okwerowoozako bujja kugenda nga bweyongera okuba obubi okutuusa ku nkomerero y'ekiseera.

Naye ate kiri kitya ku bikankano ebya Musisi? Okusinziira ku kitabo eky'ensi yonna omuwandiikibwa ebyo ebigwawo buli lunaku ku nsi eky'omwaka 1999, buli kyasa ekiddirira mu mulembe guno omukristayo wabaddewo okweyongera kwa kitalo mu bikankano ebya musisi, mu kyasa ekye 18. Musisi ow'amaanyi yayita emirundi mukaaga 6, mu kyasa 19 yayita emirundi musanvu 7, mu kyasa ekye 20 yayita emirundi egissukka 100. N'olwekyo obujulirwa bugenda bweyongera okulabika nga bwe tugenda tweyongera okusemberera ennaku zaffe.

Emiwendo gino gikakasa obunnabbi bwa Yesu. Enjala n'ebikankano ebya Musisi ow'amaanyi bigenda byeyongera okutuuka ku ntikko - obwakabaka bwa Katonda busembedde kumpi! Ekibuuzo ne kijja nti: ekyasa kya 21 kinaayongera kutuleetera ebikankano ebirala bikumi na bikumi oba kinaatuleetera kujja kwa kabaka wa Bakabaka?

AKABONERO AK'OKUSATU - OKUKUNG'ANYA OBUGAGGA.
Obugagga okugenda nga budda mu mikono gy'abasinga obutono ate ng'abalala beeyongera mu bwavu, amakulu ki?

"Mukung'anyizza obugagga ng'enkomerero y'ensi eri kumpi okutuuka." - Yakobo 5:3.

Newankubadde nga waliwo amagezi gaffe mu by'enfuna, abagagga beeyongera kubeera bagagga n'abaavu beeyongera kubeera baavu. Bannagagga abalina obukadde n'obukadde bw'ensimbi ke kabonero akalala akalaga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi (olunyiriri 8).

AKABONERO AK'OKUNA - OBWEGUGUNGO MU BAKOZI.
Lwaki obutamatira era n'obwegugungo mu bakozi bweyongera nnyo?

"Laba, empeera y'abakozi abaakungula ennimiro zammwe gye mulyazamaanya, ekaaba, n'ebiwoobe by'abo abakungula byayingira mu matu ga Mukama ow'egye. Era nammwe mugumikirizenga; munywezenga emitima gyammwe, kubanga okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi." - Yakobo 5:4, 8.

Ng'amaze okulanga okukung'anya obugagga obuteenkanankana mu nnaku zaffe Yakobo yalaba entalo nga zibalukawo nga ziva mu bakozi abatali bamativu. Olutalo wakati w'abakozi n'abakozesa zeyongera mu maaso. Akabonero akalala akalaga nti: okujja kwa Mukama waffe kuli kumpi.

AKABONERO AK'OKUTAANO - OKWONOONEKA KW'EMPISA MU BANTU.
Lwaki empisa ennungi ezifuga abantu ziddiridde?

"Naye tegeera kino nga mu nnaku ez'oluvanyuma ebiro eby'okulaba ennaku birijja. Kubanga abantu baliba nga beeyagala bokka, abagala ebintu, ebeenyumiriza, ab'amalala, abavumi, abatagondera bazadde baabwe, abateebaza, abatali batukuvu, abatayagala ba luganda abatatabagana, abawaayiriza, abateegendereza, abakambwe, abatayagala bulungi, ab'enkwe, abakakanyavu, abeegulumiza, abagala essanyu okusinga Katonda; nga balina ekifaananyi eky'okutya Katonda, naye nga beegana amaanyi gaakwo; era nabo obakubanga amabega." - 2 Timosewo 3:1-5, 13.

Waliwo omuntu omulala ayinza okulowooza n'okunnyonnyola ensi yaffe ekisingako obulungi? Ebirowoozo byo ebikuba ebifaananyi bitunuulize oludda lwonna lw'oyagala ennaku zino, ojja kulaba ekifaananyi eky'okwerowoozako eky'okufuna ebintu. Era ojja kulaba endwadde eyewuunyisa ey'okukwata abaana era n'okubonaabona. Ojja kufuna omuwendo gw'abavubuka b'otosobola na kubala abagudde eddalu, okutta abaana abato mu myaka gyabwe ekkumi era bonna nga boonooneddwa. Ebintu bino byonna ekifaananyi kye bituraga bitegeeza nti: okujja kwa Yesu kuli kumpi.

AKABONERO AK'OMUKAAGA - OKUSAASAANA KW'OBUSAMIZE.
Lwaki tulaba abantu okweyongera okusanyukira obusamize?

"Kubanga walijja ba Kristo ab'obulimba ne bannabbi ab'obulimba, nabo balikola obubonero obukulu n'eby'amagero, n'okukyamya bakyamye n'abalonde oba nga kiyinzika." - Matayo 24:24.

Ebyawandiikibwa bino biraga nti ku kiseera eky'enkomerero kigenda kulaga ebika ebya buli ngeri: eby'amagero, n'obubonero obw'obulimba. Abalogo n'abalaguzi bakulabika nga boogera. Omulembe omuggya (new age) kati bali buli wantu nga batunda amayinja agatangalijja agakola eby'amagero era nga bakolagana n'emyoyo egy'abafu, Obubonero, obw'obulimba, n'eby'amagero bikyase wonna. Bino byonna nga Yesu bwe yalagula byongera okukiraga obulungi nti tuli mu kiseera eky'okujja kw'Omwana w'omuntu (olunyiriri 27).

AKABONERO AK'OMUSANVU - ENSI YONNA OKUZUUKUKA.
Okuzuukuka kw'amawanga ga Africa, Middle East, Bulaaya (Europe) ne Buvanjuba amakulu gaakyo kiki?

"Amawanga gayimuke gambuke… muteekeewo ekiwabyo, kubanga ebikungulwa byengedde; mujje… kubanga obubi bwabwe bungi… oluggube oluggube, oluggube lw'abantu mu kiwonvu eky'okumaliriramu! Kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi mu kiwonvu eky'okumaliririramu." - Yoweeri 3:12-14.

Mu kiseera kino mu Asia ne Africa, mu buvanjuba bwa Bulaaya, edda eyayitibwanga Soviet Union, era n'ensi za Middle East, tulaba amawanga kinnalimu agasingidde ddala okuzuukuka my byafaayo. "Kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi."

AKABONERO AK'OMUNAANA - ENTEEKATEEKA EZ'EMIREMBE ERA N'OKUTEEKATEEKA ENTALO.
Tuli mu nsi ey'ekitalo. Buli muntu akkiriza nti tuteekwa okubeera n'emirembe. Twogera mirembe, naye tweggalira mu ntalo, n'ezo ezimaze emyaka n'ebisiibo ziddamu okubaluka. Bannabbi Mikka ne Yoweeri baalanga nti mu kiseera kyennyini ng'amawanga mwegogeerera okwegomba emirembe (Mikka 4:1-3), olw'obutesiga baliraanwa baabwe kibawaliriza okuteekateeka olutalo (Yoweri 3:9-13).

Dda nnyo Bayibuli yatuwa ekifaananyi eky'obuzibu obw'eddembe omuli entalo era n'eyogera nti emirembe egy'olubereera gigenda kujja nga Kristo amaze okudda.

AKABONERO OK'OMWENDA - OKUKULAKULANA KW'OMULEMBE.
Lwaki oluvannyuma lw'ebyasa by'ebyafaayo by'omuntu eby'entambula n'eby'empuliziganya ennaku zino bigasse ensi wamu?

"Okutuusa ekiseera eky'enkomerero kubanga bangi baliddingana mbiro, n'okumanya kulyeyongera." - Danieri 12:4.

Danieri wano alaga nti okumanya okw'obunnabbi bwe kugenda kweyongera "okutuusa ekiseera eky'enkomerero" oba "mu" kiseera eky'enkomerero. Naye era obunnabbi buno bwogera butereevu ku mulembe gwaffe ogwa Kompyuta mu myaka emitono egiyise amagezi aga buli kika geyongedde ku misinde gya kimyanso. Amagezi agatuukiddwako mu myaka ataano egiyise gasinga obungi ago agavumbulwa mu myaka enkumi ebbiri egy'emabega egyayitawo.

"ABANTU BANGI BALIDDING'ANA MBIRO nga badda eno n'eri okwongera okuvumbula okumanya." Emabega eri ng'omwaka 1850 tegunnabawo, abantu baatambuliranga ku mbalasi ne ku bigaali byazo, mu ngeri y'emu nga bwe baakolanga mu biseera ebyasooka.

Mu kiseera kino tutambulira ku mbiro ezisinga eddoboozi kwe litambulira era ne twetoloora ensi mu ngeri yonna okuva ku nnyonyi za Konkoodi nokutuuka okutambulira mu bizungirizi.
Okweyongera mu by'entambula awamu n'okuvumbula ebintu ebiggya ebingi ebyakavumbulwa mu nnaku zino bwe bujjulirwa nti tuli, "mu kiseera eky'enkomerero."

AKABONERO AK'EKKUMI - ENJIRI OKUBUULIRWA MU MAWANGA GONNA.
Yesu yalagula nti ng'anatera okudda enjiri eteekwa okutuuka mu nsi yonna.

"N'enjiri eno ey'obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, awo enkomerero n'eryoka ejja." - Matayo 24:14.

Emyaka mingi egyayita, kumpi kimu kyakubiri eky'ensi yaffe yali ng'esibiddwa mu buyinza obw'ekyuma, nga baggaliddwa obutawulira Amawulire Amalungi. Naye mu bbanga eritali ddene obuvanjuba bwa Bulaaya bwava mu bufuzi obw'ekyuma obwa Komyunisimu. Ekisenge ekiyitiibwa Berlin kyagwa era n'obufuzi obwa Soviet obw'amaanyi ne bukutukakutukamu. Mu bwangu ddala kumpi kimu kya kubiri eky'ensi yonna kyaggulwawo olw'okubuulira enjiri. Enjiri mu mazima ebuulirwa mu nsi yonna nga bwe kitabangawo oluberyeberye okuyita mu byuma eby'omulembe ebya Saterayiti obubaka obw'obukristayo buwerezebwa kumpi mu buli ggwanga. Tuli mu kiseera kyennyini Yesu kye yaayogerako bwe yagamba nti: "Nenjiri eno egenda kubuulirwa mu mawanga gonna olwo enkomerero n'eryoka ejja."

2. KISEERA KI YESU KY'ANAAJJIRAMU?

Mu bwangu ddala ng'amaze okunnyonnyola ebintu ebiribaawo ebiriraga ekiseera ebiriddirirwa okujja kwe omulundi ogw'okubiri, Yesu yawumbawumba okulabula kwe ng'agamba nti:

"Mazima mbagamba nti emirembe gino tegiriggwaawo, okutuusa ebyo byonna lwe birikolebwa." - Matayo 24:34.

Okuwumbawumba kwe kutegerekeka - Emirembe gy'ayogerako gy'egyo egirimu obw'obunnabbi egigenda okulaba Yesu ng'ajja omulundi ogw'okubiri ku nsi. Tewajja kuyita kiseera kinene, Yesu okuggyawo ekibi era n'okubonaabona, n'okuteekawo obwakabaka bwe obw'emirembe n'emirembe. Yesu atulabula nti: "Naye tewali amanyi olunaku lwennyini n'essawa" (olunnyiriri olwa 36).

Era Yesu yeeyongera mu maaso okugamba nti:
"Mukale nammwe mweteeketeeke kubanga mu kiseera kye mutalowoolezamu omwana w'omuntu ky'ajjiramu." - Matayo 24:44.

3. YESU LY'ESSUBI LYOKKA ERY'ENSI

Kristo ye w'enkomerero, essuubi erisingira ddala obukulu ery'ensi yaffe. Kubanga ye yekka y'ayinza okukolagana na buli kintu kyonna ekigyonoona - kye kibi. Yesu yafa ku musalaba asobole okuggyawo ekibi era ffe ffena abakkiriza ekirabo eky'obulokozi alyoke atulokole.

"Akola ekibi wa Sitaani, kubanga okuva ku luberyeberye Sitaani akola ebibi. Omwana wa Katonda kyeyava alabisibwa amalewo ebikolwa bya Setaani." - 1 Yokana 3:8.

Omulokozi waffe yatuteekerawo ekkubo eritusobozesa okuva ku nsi eno eggwaawo, bwe yeewaayo nga ssaddaaka omubiri gwe n'omusaayi gwe. Yesu oyo y'omu olunaku olumu agenda okuwonya ensi yaffe eno obulwadde bwonna ng'azikiriza ekibi, mu ssaawa eno akuwa okusangulwako omusango ogw'ekibi okuva ku bulamu bwo. Tolina kulindirira kutuusa ku kujja kwe omulundi ogw'okubiri akujje mu musango n'okwelarikirira era ne mu mpisa embi. Yesu ayagala okukuwa emirembe egy'ekisa kye mu kiseera kino kyenyini.

Omukyala omu omuvubuka bwe yali ng'akung'ana mu lumu ku nkung'ana ez'eddiini yawulira nga obulamu bwe bukwatiddwako olw'okubuulirwa kw'enjiri. Bwe yawuulira ebigambo by'okujja amangu okwa Yesu Kristo nga bibuulirwa, byonna byatereera. Yalaba nga kino kirimu amagezi, yasalawo nti ateekwa okulekeraawo okunoonya okwagala, essanyu n'emirembe mu bifo byonna ebikyamu. Yesu ye yali eky'okuddamu kyokka.

Olunaku olwaddirira ababuulizi b'enjiri bwe baagenda okumulaba, yabategeeza byonna ebibadde ku bulamu bwe obubi. Yali munywi wa mwenge lujuuju era nga n'obulamu bwe abuyimirizawo lwa kukola bwa malaaya. Ng'amaze okunnyonnyola obuzibu bwe bwonna yayoogera nga bw'akaaba nti: "olw'eggulo mu mazima wabadde oyogera ku nze."

Naye eddoboozi eryo lye yawulira nga lyogerera mu mutima gwe lyali ddoboozi lya Katonda. Era Katonda yali ayogera gyali mpola. Era n'omukyala yasalawo okutereeza byonna. Yasaba ng'ayita Yesu okujja mu mutima gwe ng'omulokozi we era nga Mukama we, era n'anywerera ku ssuubi ely'okujja kwe amangu. Mu wiiki ez'addirira yatandika okwetegereza mu bulamu bwe nti okutya kwe kwonna okungi, n'okweralikirira kwe kwonna ebyamutwalanga okunywa omwenge byali nga bigenze olw'okumala ekiseera kye nga ayogera ne Yesu. Yesu yatandika okumulokola mu maanyi agaali goonoona obulamu bwe.

Omukyala oyo yali akoze ebintu bingi ebyali bimuswaza. Naye ekisa kya Kristo era n'okusonyiyibwa byali bya maanyi okusinga obuswavu bwe. Ebyo ebyali ku mubbi ku musaalaba byalina amakulu mangi gyali.

Mu ssaawa ye ekomererayo eterimu ssuubi omubbi yakyukira eri oyo eyali abonaabona nga talina musango eyamuli ku mabbali n'amusaba nti: "Yesu onjijjukiranga ng'ojjira mu bwakabaka bwo" (Luka 23:42).

Eky'okuddamu eky'amangu okuva eri Yesu kwali okusuubiza omubbi ekifo mu lusuku lwa Katonda (olunyiriri olwa 43). Yesu oyo y'omu eyawa ekirabo eky'ekisa eky'okusonyiyibwa kw'omubbi eyali afa, mu kiseera kino akuwa gwe obulokozi obw'okusonyiyibwa okujjuvu era n'eddembe ery'ebirowoozo. Nsaba ebyo obyezuulire wekka kaakano.

Era naawe okyasobola okusaba ng'omubbi eyali afiira ku musaalaba nti, "Yesu, ongijjukiranga ng'ojjira mu bwakabaka bwo." Era ne Yesu ajja ku kuddamu nti, "Ndikomawo nate era naawe oliba nange mu lusuku lwa Katonda."

 

© 2002 The Voice of Prophecy Radio Broadcast
Los Angeles, California, U.S.A.