AMAKA GO MU GGULU

Omusajja ayitibwa Marco Polo, bwe yakomawo mu kibuga ky'ewaabwe Venice, oluvannyuma lw'emyaka emingi gye yamala ng'ali mu buvanjuba, mikwano gye baamulowooza nti agudde eddalu, olw'olugendo lwe yamalako emyaka emingi. Yalina ebintu bingi bye yategeezanga banne bye batakkiriza.

Marco Polo yali atuuseko mu kibuga ekimu nga kijjudde zaabu ne ffeza. Yali alabye ne ku jjinja eriddugavu eryaka omuliro, naye beyali ategeeza tewaali nomu eyali alabye manda (amayinja ga coal) Yali alabye olugoye olutasirira muliro newankubadde ng'olusudde mu kikoomi wakati, naye bambi beyali ategeeza baali tebalabanga ku Asbestors. Yabategeeza nga bwe yali alabye ku musota omunene ennyo oguweza obuwanvu entaliga z'omuntu ekkumi naye ng'oluba lwagwo lusobola okumira omuntu, ekinyeebwa ekinene ekyenkana omutwe gw'omuntu obunene ate nga munda kyeru ng'amata. Amazzi agava mu ttaka naye nga mubutuufu ge gayasa ettaala. Naye mu bantu beyali ategeeza waali nga tewabangawo n'omu eyali alabye ggoonya, ennazi yadde amafuta g'ettaala nga si masengejje. Ebintu ng'ebyo byabasesanga busesa. Oluvanyuma lw'emyaka nga giyiseewo, Marco Polo bwe yali ng'afa, omusajja nnalukalala eyamuli ku lusegere ku kitanda kye yamulagira amenyewo ebigambo ebyo byonna ebiwanvu bye yali abategeezezza. Naye Marco Polo yabaddamu nti: "Bituufu - buli kantu konna kennabategeeza katuufu. Mu butuufu, nnabategeezako kimu kya kubiri (½) ku ebyo byonna bye nnalaba."

Abawandiisi ba Bayibuli abatuwa ekifaananyi ekitono eky'eggulu bwe lifaanana okutujjukiza ebyo ebyali ku Marco Polo. Nga bali mu kwolesebwa ekifo ekimasamasa eky'ekitalo ekyenkaniddewo nga basobola kutunnyonnyolako katundu butundu ku ebyo bye balaba. Era naffe ne tufuna okusoomozebwa okufaananako nga mikwano gya Marco Polo. Tugezaako okugerageranya "ggoonya ne ekibala ky'ennazzi" bye tutalabangako. Kubanga ekifaananyi ekitono kye tufuna mu Bayibuli kitulaga nti eggulu kintu kinene nnyo kisinga okutuula ku bire ne tukuba ennanga zaffe.

1. EGGULU KIFO KYA MAZIMA ERA GYE KIRI?

Yesu kaakati atuteekerateekera ebifo byennyini mu ggulu lyennyini.

"Omutima gwammwe tegweralikiriranga: mukkirize Katonda era nange munzikirize (Yesu). Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; KUBANGA NG'ENDA OKUBATEEKERATEEKERA EKIFO. Era oba nga ng'enda okubateekerateekera ekifo, NDIKOMAWO NATE ne mbatwala gyendi, nze gyendi; nammwe mubeereyo." - Yokana 14:1-3.

Yesu ajja akomawo ku nsi yaffe eno omulundi ogw'okubiri okututwala mu mayumba mu kibuga eky'omu ggulu ekyo eky'ekitiibwa ekinene kye tutalowoozangako - Yerusalemi ekiggya. Ng'eyo tumazeeyo emyaka lukumi (1000) Kristo ateeketeeka okuleeta eggulu eryo wano ku nsi yaffe. Ng'ekibuga Yerusalemi ekiggya kikka okuva mu ggulu, omuliro gugenda kwokya ensi eno gugirongoose. Ensi eno ng'ezziddwa buggya olwo erifuuka amaka ag'olubeerera ag'abanunule. (Kubikkulirwa 20:7-15. Ojja kwongera okuyiga ku bino mu ky'okuyiga ekya No. 22.)

Kiki ekirala ekiddirira omuwandiisi Yokana eyawandiika Kubikkulirwa ky'atukubira ekifaananyi?

"Nendaba eggulu eriggya n'ensi empya: kubanga eggulu ery'oluberyeberye n'ensi ey'oluberyeberye nga bigenze; n'ennyanja nga tekyaliwo. Ne ndaba ekibuga ekitukuvu Yerusalemi ekiggya, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjereddwa bba. Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatulanga wamu nabo; nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo. Katonda waabwe." - Kubikkulirwa 21:1-3.

Ng'amaze okukyusa ensi eno n'omuliro; Yesu yasuubiza baani abalibeera mu nsi empya?

"Balina omukisa abateefu kubanga abo balisikira ensi." - Matayo 5:5. (era soma ne kubikkulirwa 21:7.)

Kristo atusuubiza okuzza obuggya ensi eno eyali ennungi ku mbeera yayo ennungi eyasooka ey'omu Adeni era abateefu gye bagenda okusikira.

2. TULIBEERA N'OMUBIRI MU GGULU?

Yesu bwe yalabikira abayigirizwa be mu mubiri gwe ogw'ekitiibwa ng'amaze okuzuukira; omubiri gwe yagunnyonnyola atya?

"Mulabe engaro zange n'ebigere byange, nga nze nzuno mwene; munkwateko mulabe; kubanga omuzimu tegulina nnyama na magumba, nga bwe mulaba, nze bwe ndi nabyo." - Luka 24:39.

Yesu yalina omubiri gwennyini, Yayita Tomasi amukwateko (Yokana 20:27). Ku mukolo guno yatambula n'ayingira mu nnyumba, ya yogera eri abantu ddala; era n'alya emmere yennyini (Luka 24:43). Eggulu si lya kusikirwa mizimu, naye abantu bennyini abo abasanyukira eby'obulamu obw'Omwoyo era abalina emibiri egy'ekitiibwa.

"Kubanga ffe ewaffe mu ggulu, era gye tulindirira omulokozi okuvaayo, Mukama waffe Yesu Kristo; aliwaanyisa omubiri ogw'okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng'omubiri ogw'ekitiibwa kye." - Abafiripi 3:20,21.

Tusobola okuba abakakafu nti emibiri gyaffe egy'omu ggulu gigenda kubeera migumu era nga mikakafu ng'omubiri gwa Yesu eyazuukizibwa bwe gwali. Mu ggulu, abantu baffe n'ab'emikwano betwabeeranga nabo mu maka gaffe tugenda kubeetegereza.

"Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala." - 1 Kolinso 13:12.

Mu ggulu "tulitegeerera ddala" Tugenda kutegeera era tusanyukire buli kinnomu n'okusinga nga bwe kiri kaakano mu nsi eno. Abayigirizwa ba Mukama waffe Yesu baamwetegereza ng'ali mu mubiri gwe ogw'omu ggulu, bulungi nnyo nga basinziira ku ndabika ye gye baali bamanyi (Luka 24:36-43). Maliyamu ku ntaana yamumanyira ku ddoboozi lye, lye yali amanyi bwe yamuyita erinnya lye (Yokana 20:14-16). Abayigirizwa be ababiri ku lugendo olwali lugenda Emawo baamutegeerera ku neeyisa ye gye baali bamanyi. Bwe beetegereza engeri omugenyi bwe yawa emmere omukisa, ne bamutegera nga Mukama waabwe olw'empisa ye eyo gye yali alina (Luka 24:13-35).

Abanunule bagenda kufuna essanyu ely'okuddamu okulabagana nate amaaso n'amaaso mu ggulu. Teebeereza essanyu olw'okutegereza okuseka kwa mukyala wo oba okuyita kwe wali omanyi okw'omwana gwe waziika mu ttaka emyaka mingi egiyiseewo, oba obubonero obw'enneeyisa ey'omukwano eya mukwano gwo. Tugenda kubeera n'ekisera eky'emirembe gyonna okunyweza enkolagana ey'obulamu obusingira ddala okuba obw'omuwendo era n'okukwana emikwano mu bantu abasingira ddala okutusanyusa mu nsi yonna era ne mu ggulu.

3. MU GGULU TULIBA TUKOLA MULIMU KI?

Tulina emirimu mingi egy'okukola mu ggulu. Kiri kitya okukuba pulani n'okuzimba enju yo gye wali olowoozezzako?

"Kubanga laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya; so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu Mwoyo… Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange… Era balizimba ennyumba ne basula mu era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu… Abalonde bange balirwawo nga balya omulimu gw'engalo zaabwe." - Isaaya 65:17-22.

Yesu ateekateeka amaka gaffe kinnomu mu kibuga ekitukuvu, Yerusalemi ekiggya (Yokana 14:1-3; Kubikkulirwa 21). Ennyiriri zino ziwa ekirowoozo nti tugenda kuzimba amayumba amalala - mpozzi biriba ebyalo ebirungi ebyetoloodde ennimiro ez'omu ggulu zijudde obulamu obw'ebimera ebya buli ngeri. Ani amanyi magezi ki agatulindiridde mu buyigirize obwa Katonda. Obuvumbuzi obw'ekiseera kino obwa saayansi n'obw'engendo empanvu ez'ebizungirizi bigenda kulabika ng'omuzannyo gw'abaana bwe tulitandika okuvumbula mu nnyumba ya Kitaffe.

Oyagala nnyo obulungi bw'ebiyiriro eby'amazzi, omuddo omuto, amatondo g'enkuba ey'ebibira, oba ebimuli ebyakasansula?

"Kubanga Mukama asanyusizza Sayuni… n'afuula olukoola lwe okubanga nga Adeni n'eddungu lye okubanga ng'olusuku lwa Mukama; essanyu n'okkujaguza birirabika omwo, okwebaza, n'eddoboozi ery'okuyimba." - Isaaya 51:3.

Katonda agenda kufuula ensi nga olusuku lwa Adeni olwasooka. Teribaayo nate buseerezi, oba olufu, oba ekyeya, ennyanja egenda kubeeranga nteefu, emiti egy'amanyi. Era n'embalama z'ensozi nga si nkulubufu.

Si bulungi bwansi bwokka era n'obuyinza bwaffe okubitegeera bugenda kweyongera nnyo. Kigenda kutufaananira ng'olunaku olusooka omuntu amaze ebbanga eddene nga mulwadde lw'afuluma ebweru. Era eddakiika amakumi abiri ezisooka bwe kityo bwe kigenda okuba emirembe gyonna.

Osanyukira nnyo okufuna ebintu ebiggya ebikubaako? Okugeza: ng'okuyiga? Oba okutonda?

"Eyo abantu abatafa n'essanyu eringi bagenda kurowooza eby'amagero eby'amaanyi ag'obutonzi, n'ebyama eby'okwagala okununula…. Amagezi aga buli ngeri yonna eg'ebirowoozo gagenda kweyongera, awamu n'amaanyi. Ebyetaaga ebyo okutegeera tebigenda kukooyesa birowoozo oba okumalamu amaanyi. Eyo okutugeera okusingira ddala obukulu kugenda kweyongera mu maaso, ebirubirirwa ebisinga okuba ebyawaggulu bituukibweko era buli kiseera wagendanga kubeerawo okulinnyalinnya okugenda waggulu, n'ebyewuunyo ebyokutenda, amazima amaggya okutegeera, ebintu ebiggya ebyetaagisa amaanyi ag'ebirowoozo Omwoyo n'omubiri. Eby'obbugagga byonna eby'eggulu n'ensi bigenda kuggulibwawo olw'okuyiga okwa bantu ba Katonda abanunule." - Ellen G. White, Olutalo Olunene (Nampa, Idaho; Pacific Press Publishing Association, 1950) Olupapula 677.

4. EKIBI KIRIDDAMU NATE OKUBONYAABONYA ABANTU MU GGULU?

"So temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newankubadde akola eky'omuzizo n'obulimba; wabula abo bokka abawandiikibwa mu kitabo eky'obulamu eky'omwana gw'endiga." - Kubikkulirwa 21:27.

Katonda agenda okujjirawo ddala ekibi awamu n'ebyo ebikolobero ebyava mu kibi, tebigenda kuddayo kulabika nate. Yesu bw'anaalabika tujja kuba nga tumufaanana (1 Yokana 3:2). Mu kifo ky'okulwana n'ebirowoozo: ky'okutta. Okubba, okulimba, oba okusobya ku bakazi. Tujja kugoobereranga ekisa eky'omuggulu.

"(Katonda) alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate, so tewaabengawo nate nnaku newankubadde okukaaba newankubadde okulumwa; eby'oluberyeberye biweddewo." - Kubikkulirwa 21:4.

Newankubadde omulabe waffe asingira ddala obubi "kufa" alijjibwawo. Mu nsi ey'omu ggulu ey'obuvubuka obw'emirembe n'emirembe, abanunule "tebafa" (1 Kolinso 15:53); tewali batuuze abaayo abagenda okubonaabona olw'emyaka egy'obukadde.

Eggulu terigenda kukoma bukomi kuzikiriza ebyo ebyava mu kibi kyokka, naye era ligenda kubijjawo. Lowooza, kiribeera kitya eri abantu abo abaabonaabonanga mu bulamu bwabwe bwonna n'obulema:

"Awo amaaso g'omuzibe w'amaaso ne galyoka gazibuka, n'amatu g'omuggavu w'amatu galigguka. Awo awenyera n'alyoka abuuka ng'ennangazi; n'olulimi lwa kasiru luliyimba olw'essanyu." - Isaaya 35:5,6.

5. SSANYU KI ERISINGIRA DDALA OKUBA EDDENE MU GGULU?

Kuba ekifaananyi eky'okulaba Mukama afuga eggulu n'ensi amaaso n'amaaso.

"Laba eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatula wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe." - Kubikkulirwa 21:3.

Katonda ayinza byonna atusuubiza okubeera mukwano gwaffe era omusomesa waffe. Nga ssanyu lya kitalo okutuula ku bigere bye!
Lowooza kaakano, abanunule balifuna omukisa ogutaggwaawo ate ogusinga obunene. Bagenda okunnyumyamu, n'omukozi w'ennyimba zonna, ow'amagezi gonna, era omusiizi w'ebifaananyi. Bagenda kubeera n'omukwano ogugenda ewala ne Katonda ekisingira ddala obunene okufumitiriza mu nsi yonna. Era omukwano guno gugendanga kubeeerawo mu kusinza.

"Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n'okuva ku Ssabbiiti okutuuka ku Ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinza mu maaso gange, bwayogera Mukama." - Isaaya 66:23.

Mu makkati g'ekibuga eky'omu ggulu mulimu entebe ya Katonda ennene enjeru. Eyeetolooddwa musoke afaanana ng'ejjinja eriyitibwa Zumaridi. Amaaso ge gamasamasa ng'enjuba eyaka. Wansi w'ebigere bye ennyanja ey'endabirwamu efaanana ng'ejjinja eritangalijja ng'ebunye wonna. Mu kifo kino ekitangalijja ekiraga ekitiibwa kya Katonda, abanunule bakukung'ana olw'okutendereza kwabwe okw'essanyu ery'obuwanguzi.

"N'aba Mukama abaagulibwa balikomawo, ne bajja e Sayuni nga bayimba: n'essanyu eritaggwaawo liribeera ku mitwe gyabwe; alifuna essanyu n'okujaguza, n'okunakuwala n'okusinda kuliddukira ddala." - Isaaya 35:10.

Wano we wali Katonda oyo alina obulungi bwe obutaggwaawo. Obwesigwa bwe, n'obugumikiriza bwe, n'okusaasira kwe bubeerawo ennaku zonna. Mutendereze erinnya lye ettukuvu.

6. TUTEEKWA BUTEEKWA OKUBEERAYO!

Yesu ayagala olunaku olwo olw'oku musisinkane amaaso n'amaaso. Y'ensonga lwaki yamalirira okukununula okuva mu bibi byo ku muwendo omunene bwe gutyo. Nawe ggwe kennyini oteekwa okukozesa omukisa ogw'ekirabo kye ekyo. Oteekwa okumalirira okwewayo eri Kristo nga Mukama era omulokozi wo. Weetaaga okusonyiyibwa okwo okutuweebwa okuva ku musaalaba, kubanga mu kibuga kya Katonda Yerusalemi ekiggya:

"Temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newankubadde akola eky'omuzizo n'obulimba; wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'omwana gw'endiga." - Kubikkulirwa 21:27.

Yesu atulokola okuva mu kibi, so tatulokolera mu bibi byaffe. Tuteekwa okujja gy'ali okuyita mu maanyi ge ngagali muffe era atuggye mu butali bulongoofu ne mu butali butuukirivu bwaffe. Yesu kye kyama kyaffe olw'okuyingira mu bwakabaka bwe obunatera okujja amangu.

Era obwakabaka obwo bukyasobola okutandika kaakano mu mutima gwo. Kristo bw'atulokola okuva mu bibi byaffe, atonda mu ffe eggulu ettono. Asobola otuyamba okukolagana n'ebyo ebituluma, ng'okwelarikirira, obusungu, okwegomba, okutya, era n'okusingibwa omusango.

Okubeera n'essubi ery'eggulu si kwe kudduka okuva mu mitawaana egy'obulamu buno, naye kituyamba okutondekawo eggulu eddala ku nsi kuno. Mu kiseera ekitali ky'ewala waliwo okubalirira okwakolebwa nti: abo abakkiririza mu bulamu oluvanyuma lw'okufa balina obulamu obusinga obusanyufu era beesiga nnyo abantu okusinga abo abatalina nzikiriza eyo.
Tewali kintu kigenda kukola ku bulamu bwo mu kiseera kino okusinga enkolagana yo ey'obwesige ne Kristo Yesu. Wuliriza engeri omutume Petero gy'annyonnyola amaanyi ag'okukkiriza okulamu:

"Yesu, oyo mumwagala newankubadde temumulabangako. Mumukkiriza newankubadde temumulaba kaakano, ne mujjula essanyu ery'ekitalo era eritalojjeka, ne mufuna kye mwagenderera mu kukkiriza kwe kulokoka kw'obulamu bwammwe." - 1 Petero 1:8,9.

Awamu n'ebyo byonna - gattako n'eggulu. Omaze okuzuula obulamu obungi Kristo bw'ayagala gwe obufune? Munnange nkusaba oleme okugaana ekirabo kye eky'okuyita kwe okw'ekisa.

"Mwoyo Omutukuvu n'omugole bagamba nti: "Jangu!" Era buli awulira bino agamba nti 'Jangu!' Buli alumwa ennyonta ajje, era buli ayagala amazzi ag'obulamu, agafune awatali kusasula." - Kubikkulirwa 22:17.

Yesu ali wamu naawe kaakano, ng'ayogera mu mutima gwo ng'osoma ennyiriri zino. Akuyita nti: "Jangu!" "Jangu!" "Jangu!" Teyandisobodde kuba na kwagala kusinga awo okwongera okuwaliririza. Oba nga tonakikola mu kaseera kano okusinga ebirala byonna gwe mukisa gwo okuzuula ekirabo kye.

Lwaki tomutegeeza nti okkiriza ekirabo kye eky'ekisa era nti oyagala emyaka egy'emirembe gyonna obeere naye. Mutegeeze nti omwagala. Mwebaze olwa byonna byakukoledde era n'olw'ebyo by'ateekateeka okukukolera. Singa nga owulira nga waliwo ekintu kyonna wakati wo ne Katonda, musabe akuwe obumalirivu okukijjawo. Olwa leero, ng'okyawulira eddoboozi lye, nga n'omutima gwo gukyakkiriza, weweeyo gy'ali awatali kwerekeramu. Mu kiseera kino nsaba okutamye omutwe gwo era omugambe nti: "Yesu, Mukama wange, nzijja gyoli. Mpaayo byonna bye nnina gyoli. Nja kubeeranga wuwo emirembe gyonna."

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy