YESU BW'ANAAKOMAWO KU LULWO Oluvanyuma
olw'okumala emyaka egiwerako ng'ayisibwa bubi, Armando Valladares yali
akozze, ng'alemadde okuva ku bulamu bwe obwasooka. Yali ng'akola ekibonerezo
eky'obusibe obw'emyaka asatu (30) mu kkomera erye Castro olw'okuzannyira
mu kkanisa ku lunaku olwa Christmas. Abakulu b'ekkomera, baamusiibya
nga enjala. Bamubonyaabonya yaswaziibwa, naye yagaana okulekayo okukkiriza
kwe. Ekintu
ekya muyamba okugenda mu maaso kwe kusuubiza kwe yalina wakati we n'omuwala
omuvubuka erinnya lye Martha. Basisinkana era ne baagalanira mu kkomera.
Omukyala ono yasikirizibwa nnyo okukkiriza kwe okugumu. Nga baakamala
okugattibwa mu bufumbo obutuufu mu luggya lw'ekkomera Martha yawalirizibwa
okuwang'angukira mu Miami. Okwawukana
kwabwe kuno kwali kwa bulumi. Naye Armando mu kyama yasobola okuwa omwagalwa
we ekisuubiizo. Ku kapapula akatono ke yaalonda kwe yali awandiise ekisuubizo
kye nti: "Ngenda kudda gyoli." Omusibe
ono yamalirira nti mu ngeri yonna ye ne Martha bagenda kukola ebirayiro
byabwe mu kkanisa mu maso ga Katonda. Olunaku olumu obufumbo bwabwe
bugenda kubeera nga bujjuvu. Yamugamba nti: "Bulijjo oli wamu nange." Ekisuubizo kya Armando kyamukuuma ekiseera kyonna eky'emyaka gyonna egy'okuyisibwa obubi ekintu ekyandizikiriza ebirowoozo eby'abasajja abasinga obungi. Era ne kikuuma ne Martha okubeerawo. Omukyala yakolanga obutakoowa ng'assayo Omwoyo ku kisuubizo ky'omwami we. Teyaggwaamu ssuubi. 1.
EKISUUBIZO Ebiseera
ebimu tukyasobola okukemebwa n'okwewunya, nti, ddala Kristo olunaku
olumu alikka okuva mu ggulu n'ajja olw'okwegatta naffe okwekyewunyo.
Nga twawukanye naye okumala ebbanga ddene! Enkomerero y'ensi ey'essanyu
ng'ekomekkereza ebyafaayo by'ennaku eby'omuntu kikyasobola okulabika
nga mawulire malungi nnyo agatakkirizikka. Naye waliwo ekintu kimu ekikuuma
essuubi nga ddamu mu mitima gyaffe. Kye kisuubizo kya Yesu okudda. Nga
Yesu tannaba kuddayo mu ggulu okuva ku bayigirizwa be, kino kye kisuubizo
kye yakola: "Omutima
gwammwe tegweralikiriranga; mukkiriza Katonda, era nange munzikirize.
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri
bwe kityo, nandibagambye: kubanga ng'enda okubateekerateekera ekifo,
ndikomawo nate ne mbatwala gyendi, nammwe mubeere eyo." - Yokana
14:1-3. Nga
Yesu tannaba kulinya mu ggulu, yakakasa abagoberezi be nti: "NDIKOMAWO
NATE," Yasuubiza okudda era atwale abo bonna abamwesiga mu kifo
eky'enjawulo ky'atuteekeddeteekedde. Ebyawandiikibwa ebitukuvu byogera
ku kudda kwe omulundi ogw'okubiri kumpi emirundi 2,500. Ensonga ey'okudda
kwa Yesu ku nsi kuno omulundi ogw'okubiri nkakafu nnyo ng'amazima gano
nti yaliko ku nsi kuno emyaka nkumi bbiri egiyise. Edda
ennyo Katonda yasuubiza nti Kristo agenda kujja, omulokozi agenda okwetikka
ebibi byaffe era atuwe okusonyiyibwa olw'ekibi ky'abantu. Ekisuubizo
kino mu biseera eby'edda kyali kirabika nga tekisoboka kukkirizika eri
abantu abaali babonyaabonyezebwa mu bulamu bwabwe. Naye Yesu yajja era
n'afa ku musaalaba. Okusuubira kwatuukirira nga kwa kitiibwa okusinga
n'abantu kye baali basuubira nti kisoboka. N'ekisuubizo ky'okudda kwe
omulundi ogw'okubiri nakyo kijja kutuukirira. Tusobola okwesigama ku
oyo atwagala, okudda era n'okukung'anya abo be yasasulira omuwendo ogutaggwaawo. Okuyita
mu kiseera kye kyonna eky'obusibe Armando yabbiriranga obugambo obuyiiye
n'obubaka n'obufaananyi n'abuwerezanga Martha. Era Martha yasobolanga
obusasanyanga, mu bantu. Era ebigambo byabwe byasikkiriza ensi. Era
Gavumenti nnyingi zannyigiriza ekkomera lye Castro okuta abasibe abaali
batawanyizibwa. Omukulembeze w'eggwanga lya Bufaransa yabiyingiramu,
era eky'enkomerera mu October mu mwaka 1982, Armando yaateekebwa ku
nnyonyi eyali egenda mu Paris. Kino kyamukalubirira okukkiriza nti yali
ateereddwa - n'ennyonyi gye yalimu ne bweyatuuka ku kisaawe nga ye takikkiriza.
Newankubadde
byali bwe bityo, oluvanyuma olw'okubonnabona emyaka 20 egy'obwetaavu
n'okulindirira Armando yatwalibwa mu mikono gya Martha. Osobola okukuba akafaananyi obwegaffu obw'ekitalo bwe buliba, enkomerero bwetulitunuragana ne Yesu amaaso n'amaaso? Okulabika kwe okw'ekitiibwa kugenda kumalawo ennaku yaffe era n'okulemwa kwaffe, kugenda kumalawo obulumi bwonna obuli mu mitima gyaffe. Okudda kwe Yesu kugenda kumatiza okwetaaga kwaffe okugenda ewala ennyo. Era kuliba essuubi eriisingira ddala okutukyamula. Era kugenda kutuyingiza mu bwegaffu obw'omukwano ogw'emirembe gyonna nga tuli n'omuntu w'ekitalo enyo mu ggulu ne ku nsi. Yesu ajja mangu! Oyagala nnyo okumusisinkana? 2.
YESU AJJA ATYA? (1)
Yesu alijja mu kyama? Okumyansa
bwe kumyansa kulabikira mu bbanga ddene, bwe kutyo n'okujja kwa Yesu
bwe kuliba; si kwa kyama yadde si kwa mu birowoozo. (2)
Yesu alidda omulundi ogw'okubiri nga muntu ddala? Ku
lunaku lwe olw'okudda mu ggulu okuva ku nsi kuno, bamalayika baakakasa
abatume nti; Yesu y'omu atwaliddwa mu ggulu, so si mulala - agenda kudda
mu buntu bwe nga Kabaka wa bakabaka. Yesu oyo y'omu eyawonyanga abalwadde
era n'azibula n'abazibe b'amaaso. Yesu oyo yennyini eyaayogera ebigambo
eri omukyala eyakwatibwa mu bwenzi. Yesu y'omu oyo eyasangula amaziga
g'abakungubazi era eyawambaatira abaana mu kifuba kye. Yesu y'omu oyo
eyafa ku musaalaba eyasula mu ntaana era ku lunaku olw'okusatu n'azuukira
okuva mu bafu. (3)
Yesu alijja naffe tulisobola okumulaba? Abantu
bonna abalamu, abatuukirivu era n'aboonoonyi bagenda kulaba okujja kwe.
Yesu yennyini agamba nti: abantu bameka abalimulaba? "Awo
lwe kalirabika akabonero ak'omwana w'omuntu mu ggulu; n'ebika byonna
eby'ensi lwe birikuba ebiwoobe, bariraba Omwana w'omuntu ng'aja ku bire
eby'eggulu n'amaanyi n'ekitiibwa." - Matayo 24:30. Buli
muntu yenna omulamu ali ku nsi agenda kulaba Yesu. (4)
Ani aliweerekera Yesu ng'ajja? "Naye omwana w'omuntu bwalijjira mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna (nga bali) naye, awo bw'alituula ku ntebe ey'ekitiibwa kye." - Matayo 25:31. Kuba
akafaananyi kiriba kitya Yesu bw'anaakomawo n'ekitiibwa kye kyonna nga
kimwetoloode n'ebamalayika be bonna. (5)
Tusobola okumanyira ddala essawa n'olunaku Yesu gy'aliddirako? Buli muntu ajja kulaba okujja kwa Yesu okw'ekitibwa, naye bangi bagenda kuba nga tebamweteekeddeteekedde. Ggwe ku bubwo weeteeseteese olw'okujja kwa Yesu? 3.
KIKI YESU KY'ANAAKOLA BW'ANAJJA OMULUNDI OG'OKUBIRI? (1)
Agenda kukung'anya abantu bonna abaalokolebwa (abalonde). Singa
ng'okkiriza Yesu okuteekateeka omutima gwo n'obulamu bwo, ogenda kumwaniriza
mu ssanyu ng'omulokozi. (2)
Yesu ajja kuzuukiza abafu abatuukirivu. Yesu
ajja kukka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu. Eddoboozi lye ery'ekitalo
ligenda kuwulirwa okwetoloola ensi yonna. Era okwogera kwalyo kuggulawo
entaana era ne lizuukiza obukadde n'obukadde bw'abantu abaafa nga bakkiriza
Yesu okuyita mu mirembe gyonna. Nga ssanyu liriba lya kitalo nnyo! (3)
Ku kujja kwe Yesu agenda kufuusa abatukuvu bonna si batukuvu abafu bokka
- naye n'abatukuvu abalamu. Olw'okuteekateeka
okubeeranga naye emirembe n'emirembe. Yesu agenda kukyusa emibiri gyaffe
gino egifa mu mibiri egy'ekittiibwa egitafa. "Laba
mbabuulira ekyama, tetulyebaka ffena, naye ffena tulifuusibwa, mangu
ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga, kubanga
kalivuga n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa kubanga
oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala
obutafa." - 1 Abakolinso 15:51-53. Yesu
bw'anajja, "tujja kufuusibwa." Kirowoozeko okumala akaseera.
Tewakyali kabootongo, tewakyali kukozimba, yadde kokolo. Amalwaliiro
gaggalidwawo n'okuziika tewakyali Kristo azze. (4)
Yesu ajja kutwala abatukuvu bonna mu ggulu. (5)
Yesu agenda kuggyawo ekibi era n'okubonaabona eky'ekiseera kyonna. Ababi
b'ebo abajeemera okukkiriza ekirabo kyonna eky'ekisa kya Yesu - mu butuufu
bagenda kwesalira bokka omusango. Bwe balitunuulira mu maaso ga Yesu
ng'ajja gye bali ku bire. Olw'okutegeera ebibi byabwe bigenda kubalumya
nnyo okubyetikka era balikaabirira ensozi era n'amanyinja nti, "Mutuggweeko
mutukise mu maaso g'Oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw'Omwana gw'endiga"
(Kubikkulirwa 6:16). Balyegomba okufa okusinga okuyimirira mu maaso
ga Yesu alaba byonna. Bakimanyi
nti eddoboozi kaakano eribwatuka okuva mu bire olunaku olumu lyabeegayiriranga
okukkiriza ekisa kya Katonda. Abo abaabuza obulamu bwabwe nga banoonya
ensimbi mu makubo agatali mattufu, oba amasanyu, oba kufuna buyinza
mu kiseera kino balikitegeera nti baagayalirira eky'obugagga eky'omugaso
ekisinga byonna eky'obulamu. Kuno kuliba kuzikirira. Newankubadde ng'ebyo biribeera bwe bityo, tewali n'omu eyayagala okuzikkirira. Katonda yennyini talina ssanyu mu kufa kw'ababi (Ezekieri 33:11). "Tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke mu kwenenya" (2 Petero 3:9). Yesu atwegayirira nti, "Mujje gyendi mmwe mmwenna abakooye era abazitoweereddwa, nange nnabawummuza" (Matayo 11:28). Naye kino tekkikkirizika, abantu abamu bagana okuyita kwe kuno okw'ekisa. 4.
WEETESETEESE OKUSISINKANA YESU BW'AKOMAWO? Yesu
kyamutwalako kinene okusobola okutukakasa ekiseera eky'omu maaso nti,
"Muyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi." Okukikola kyamutwalako
bulamu bwe "Era ne Kristo bw'atyo bwe
yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi alirabika
omulundi ogw'okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira olw'obulokozi."
- Abebbulaniya 9:28. Omulokozi
eyafa ku musaalaba okuggyawo ebibi byo ajja kukomawo "Omulundi
ogw'okubiri era ajja kuleeta obulokozi eri bonna abamulindirira."
Kristo yeewaayo okukomererwa alyoke awe buli kinnomu ku ffe obulokozi.
Naye awatali kudda kwe omulundi ogw'okubiri omusaalaba gwe guba tegulina
mugaso. Kristo ayagala okutuwa amaka ag'emirembe gyonna nga tuli awamu
naye. Kino okubaawo tuteekwa okumukkiriza okufuga emitima gyaffe ng'omulokozi
waffe era Mukama waffe kaakako. Ku
lunaku olwa August 16 omwaka 1945, mu bukiika obwa kkono obwa China,
omulenzi omuto yadduka emisinde ng'ayita mu kisaawe e Shanturg, nga
bw'aleekanira waggulu nti yali alabye ennyonyi mu bire. Abantu bonna
abaali beesobola abaali basibiddwa mu nkambi baafuluma era ne batunula
waggulu. Abaami bano, n'abakyala bano baali baabonaabona dda emyaka
mingi egy'okwawulibwa okuva ku bantu baabwe, n'okujjibwako ebyabwe,
okweralikirira, nga basibiddwa Abajapani olw'okuba abatuuze ab'eggwanga
ery'omulabe. Eri abangi ekintu kimu kyokka ekyabakuuma nga balamu mu
Mwoyo, lye essubi nti olunaku lumu olutalo lugenda kuggwa. Abantu
1,500 abaali abasibe abaali basibiddwa bwe bakitegeera nti ennyonyi
eno yali esobola okuba ng'ezze kuddukira bo. Ng'eddoboozi ly'ennyonyi
ligenda lyeyongera okuvuuma, omu ku bo n'ayogera nti, "Laba, ebendera
ya America esigiddwa ku ludda olumu olw'ennyonyi." Era nate nga
n'okulowooza kubaweeddemu mu butakkiriza eddoboozi ne ligamba nti, "Laba,
abali mu nnyonyi batuwubira emikono. Batumanyi, bazze kutunona."
Mu
kiseera kino essanyu lyassukirira abantu bano abaali bakyasigaddewo.
Abantu baagwa eddalu. Abantu batandika okudduka nga beetoloola, nga
bawogganira waggulu nga bawuuba emikono gyabwe ate nga bwe bakaaba.
Amangu
ddala abantu bakitegeera era n'ebasirika ne bateeka. Olugi olwa wansi
olw'ennyonyi amangu ddala lweggula era abantu batandika okuvaamu nga
bakka ne Paracuti. Abanunuzi baabwe baali nga tebakyali ba kujja olunaku
olumu oluli eyo mu maaso, naye baali bazze ku lunaku olwo lwennyini.
Mu kiseera ekyo baali nga bali awo mu maaso gaabwe. Abantu
beeyongera okukung'ana ku mulyango gw'ekisaawe. Tewali n'omu eyayimirira
okulowooza ku mundu seruwandula masasi eyali ebatunuulidde ng'eva ku
kitikkiro kyenju. Nga bamaze emyaka mu bunaku, olw'okubeera bokka, bayita
mu lugi ne badduka okutuuka abanunuzi abajjira mu nnyonyi we baagwa. Mu
bwangu ddala nnamungi w'omuntu ono yakomawo era ne badda mu nkambi yaabwe
nga beebagadde, abaserikale ku bibegabega byabwe. Omukulu eyali akuuma
enkambi eyo yeewayo yekka awatali kulwana. Mu butuufu ddala olutalo
lwali luwedde. Eddembe lyali lizze. Ensi yafuuka mpya. Mu
bwangu ddala Katonda waffe, omulokozi waffe ajja kukka okuva mu bire
okutununula. Ebyafaayo ebiwanvu eby'entiisa eby'obukambwe bw'omuntu
eri muntu munne bijja kukomezebwa. Wajja kubeerawo okusanyuka ku lunaku
olwo, okwogerera waggulu okw'essanyu, nga n'ekisembayo olwo ne tutegeera
nti, "Okujja kwe kusembedde, nsobola okulaba nga bamalayika nga
bafuuwa eng'ombe zaabwe." N'eddoboozi ly'ekkondere lyeyongera okuleekana.
Ekire eky'ekittiibwa kyeyongera okumasamasa okutuusa lwe kinaaba nga
tekikyaggumikirizika. Naye tetuteekwa kuyimirira nga tutunla butuunuzi
nga bwetukitegedde nti, "Andaba, Amaanyi nga bwendi." Tugenda
kutegera nga tulina essanyu eritannyonnyolekeka: ONO ye Katonda wange,
"Ajja ku lwange, si lunaku lulala, naye olwa lero, mu kiseera kino
kyennyini." Weeteeseteese
okwaniriza Kabaka mu kitiibwa kye? Oba nga si bwe kityo, nsaba oyite
Yesu yennyini mu buntu ajje mu bulamu bwo kaakano. Ng'okujja kwa Yesu
bwe kugenda okumalawo emitawaana egy'ensi, bwe kityo mu ngeri y'emu
okujja kwa Yesu mu mutima gwo kujja kukuyamba mu bizibu byo ebya buli
lunaku. Yesu omugonjoozi w'ebizibu omukulu asobola okukuwonya okuva
mu kusingibwa omusango ne mu mugugu ogw'ekibi, era n'akuwa obulamu obutaggwaawo.
Okujja kwa Yesu mu bulamu bwo kusobola okukukyusa emirembe gyonna, mu ngeri y'emu ng'okujja kwe mu nsi bwe kugenda okugikyusa ddala. Okyasobola okwesigama ku Yesu. Ajja kukuteekateeka olw'okujja kwe omulundi ogw'okubiri era ajja kukuwa obukakafu obw'obulamu obw'emirembe ne mirenbe ate obusanyufu.
© 2002 The
Voice of Prophecy Radio Broadcast |
|