EBIKWATA KU KISEERA KYO
EKY'OMU MAASO

Abasawo Patricia ne David Mrazek baafuna okunyolwa kunene mu mulimu gwabwe. Ng'abakugu mu kujanjaba endwadde ez'abaana baakolanga ku baana bangi abaali abalwadde. Ensonga eyabakwata omubabiro yali nti abaana abamu bawona okuva mu buzibu bungi ate mu kiseera kye kimu abalala ne bubazikiriza. Lwaki? Eky'okulabirako, lwaki omwana omu agenda mu kunywa enjaga ate mu kiseera kye kimu omulala n'asoma n'atuuka mu matendekero aga waggulu? Lwaki abaana abamu aboonoonebwa bakula nabo ne bafuuka aboonoonyi b'abantu abalala, ate mu kiseera kye kimu abalala bakula ne bafuuka bazadde abalungi?

Mrazek yakola okunoonyereza okugenda ewala okuzuula eby'okuddamu ku bibuuzo bino. Mu kuyiga kwabwe, empisa ezalabika ennyo mu baana abaalwalako endwadde ey'obwongo era ne bawona era ne baddamu okuba n'obulamu obulungi. Ekyama kye baazuula okimanyi? "Kwe kutunuulira ebintu n'essuubi."

Essuubi lye lyaletangawo enjawulo. Essuubi lye lisinga ebintu byonna ebirala okutuyamba okulwanyisa ebintu ebisobye singa nga bitwetuumyeko. Omwana w'omuntu yeetagira ddala nnyo essuubi. Naye tulifuna tutya? Essuubi nga zzibu nnyo okulizuula mu nsi yaffe eno - okuggyako nga tulinoonya okuva mu kulengera okw'obunnabbi bwa Bayibuli. Mu ky'okuyiga kino tujja kwetegereza ku bunnabbi obw'ekitalo obujjuzizza ebirowooza by'abantu obutabalika n'essuubi eddamu.

1. OBUNNABBI OBWA BAYIBULI OBWEWUUNYISA

Ng'ebula emyaka nga bitaano Kristo okuzaalibwa, Katonda yawa ensi okulengera mu kiseera eky'omu maaso okwewuunyisa okuyita mu nnabi Danieri. Katonda mu bufuunze yalaga ebyafaayo by'ensi eby'omu kiseera eky'omu maaso eby'emyaka nga 2,500, okuva ku kiseera kya Danieri n'okutuusa ku kiseera kyaffe kino.

Obunnabbi buva mu kirooto Katonda kye yawa Nebukadduneeza, kabaka we Babuloni emyaka nga 2,500 egiyisewo. Ekirooto kyamutaawanya nnyo - naye ate bwe yazuukuuka teyasobola kukijjukira, oluvanyuma ng'abagezigezi bonna ab'e Babuloni balemereddwa okuyamba kabaka okujjukira ekirooto kye, yadde okukimunnyonnyola amakulu gaakyo, newalabika omuvubuka omuto ow'omu bunyage erinnya lye Danieri ng'agamba nti Katonda ow'omu ggulu asobola okubikula ebyama.

Ng'ayimiridde mu maaso ga kabaka, n'obuvumu Danieri yagamba bwati:
"Ggwe, Ai kabaka, watunula, era, alaba, EKIFAANANYI EKINENE. Ekifaananyi ekyo, eky'amaanyi ekyamasamasa ennyo nnyini ne kiyimirira mu maaso go: n'engeri yaakyo ya ntiisa. Ekifaananyi ekyo, omutwe gwakyo gwa Zaabu nnungi, ekifuba kyakyo n'emikono gyakyo bya ffeza, olubuto lwakyo n'ebisambi byakyo bya kikomo, amagulu gaakyo ga kyuma, ebigere byakyo ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba. Watunula okutuusa ejjinja lwe lyatemebwa awatali ngalo, ne likuba ekifaananyi ebigere eby'ekyuma n'ebbumba, n'ekikomo, ne ffeza ne Zaabu ne biryoka bimenyekamenyeka wamu, ne bifuuka ng'ebisusunku eby'omu gguliro ekyanda nga kituuse: empeewo ne zibitwalira ddala bwe zityo n'okulaba ne bitalaba bbanga: n'ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi zonna." - Danieri 2:31-35.

Mu kulaba amangu, ekifaananyi, mu kiseera kino kirabikanga ekirina ekitono okukola okutuzuulira essuubi, naye ggwe kwatirirako.

2. OBUNNABBI OKUNNYONNYOLWA

Ng'amaze okutegeeza Nebukadduneeza ekirooto kye nnyini kye yaloota, nnabbi Danieri yagenda mu maaso okunnyonnyola nti:

"Ekirooto kye kiikyo: era tunaayatula amakula gaakyo mu maaso go kabaka." - Danieri 2:36.

OMUTWE OGWA ZAABU: Danieri yagamba ki kabaka omutwe ogwa zaabu kye gwali gutegeeza?

"Ggwe, ai kabaka, oli kabaka wa bakabaka, Katonda ow'omu ggulu gwe yawa obwakabaka, n'obuyinza, n'amaanyi, n'ekitiibwa… GGWE OLI MUTWE GWA ZAABU." - Danieri 2:37, 38.

Danieri yategeeza omufuzi eyali afuga obufuzi obusinga obunene obw'obwakabaka bw'ensi yonna nti: "Nebukadduneeza, Katonda akugamba nti obwakabaka bwo Babuloni, ku kifaananyi buyimiriddeko nga mutwe ogwa Zaabu."

EKIFUBA N'EMIKONO EBYA FFEZA: Okusinziira mu kulaba okw'obuntu Babuloni yalabika nga obwakabaka obugenda okubeera wo emirembe gyonna. Naye obunnabbi bugamba ki ekigenda okuddirira?

"Era walikuddirira obwakabaka obulala, bw'osinga ggwe." - Olunyiriri olwa 39.

Ng'atukiriza obunnabbi bwa Katonda, obwakabaka BWA Nebukadduneza bwazikirizibwa omugabe omuperusi Kulo bwe yawamba obwakabaka bwa Babuloni mu mwaka 539 BC. N'olw'ekyo ekifuba n'emikono ebya ffeza byali bitegeeza obw'akabaka obw'Abamedi n'Abaperusi.

OLUBUTO N'EBISAMBI EBY'EMIKOMO: Ekitundu kino eky'ekikomo kitegeeza ki ku kifaananyi?

"N'obwakabaka obulala obw'okusatu obw'ekikomo obulifuga ensi zonna." - Olunyiriri olwa 39.

Olubuto n'ebisambi eby'ekikomo eby'ekifaananyi byali bitegeeza obwakabaka obwa Abayonaani. Alexander omukulu yawangula Abamedi n'Abaperusi, era n'afuula Buyonaani okuba obwakabaka obw'okusatu obunene obwafuga ensi yonna. Bwafuga okuva mu mwaka 331 okutuusa 168 BC (nga Kristo tanazaalibwa).

AMAGULU AG'EKYUMA: (Nnabbi yagamba nti) "N'obwakabaka obw'okuna buliba bwa maanyi ng'ekyuma: kubanga ekyuma kimenyamenya ebintu byonna, era kibijeemulula: era ng'ekyuma ekibeetenta ebyo byonna, bwebuli menyamenya bwebulibeetenta bwe butyo." - Olunyiriri olwa 40.

Nga Alexander amaze okufa obufuzi bwe bwanafuwa era ne bwawukanamu n'entalo okutuusa eky'enkomerero mu mwaka 168BC mu lutalo olwe Pydna, "Obufuzi obw'ekyuma" Lumi yazikiriza Buyonaani.

Kayisaali Agusto yafuga obwakabaka bwa Abaruumi Yesu bwe yazaalibwa nga wayise emyaka nga ebikumi bibiri (Luka 2:1). Kristo n'abayigirizwa be babeerawo mu kiseera eky'obufuzi obw'ekyuma nga bwekiragibwa ku kifaananyi. Omuwandiisi w'ebyafaayo Gibbon, eyaliwo mu kyasa eky'ekkumi n'omunaana, tewali kubuusabuusa yali alowooza ku bunnabbi bwa Danieri bwe yawandiika nti, "Ekifaananyi ekya zaabu, oba ekya feeza, oba eky'ekikomo ekyali kiraga amawanga ne bakabaka, eky'addirira bwamenyebwa n'obufizi obw'ekyuma obwa Rome." - Edward Gibbon, The History of the Decline and Fall of the Roman Empire (John D. Morris and Company). Omuzingo ogwa 4 pg. 89.

Lowooza okumala akaseera ku bunnabbi buno ng'osinzidde mu kulaba okw'obuntu. Kisobola kitya Danieri, eyaliwo mu kiseera eky'obufizi bwa Babuloni, okubeera n'ebirowoozo eby'okutegeera obufuzi bumeka obugenda okuddirira bunnaabawo mu bukumi bw'emyaka mu kiseera eky'omu maaso? Tukisanga nga kizibu okuteebereza kiki ekinabeera mu katale ak'emigabo mu wiiki eneeddirira! Naye ate Babuloni obufuzi obwa Abamedi n'Abaperusi, Buyonaani, ne Roma, bwaddiriragana bunnaabawo mu ngeri y'emu ddala ng'obunnabbi bwe bwayogera - nga bufaanako ng'abaana ab'essomero abawulize abali mu lunnyiriri.

Katonda y'afuga ebyo ebigenda okujja mu maaso? Tusobola okubeera n'essubi nga tusinzira ku nteekateeka ye enkulu? Eky'okuddamu kiri nti: Yee!

EBIGERE N'OBUGERE EBY'EBBUMBA LITABUDDWAMU EKYUMA: Waaliwo obuyinza obw'obufizi obulala obw'okutaano obwali obw'okugobeerera Rome okufuga ensi yonna?

"Era kubanga walaba ebigere n'obugere ekitundu kya bbumba ery'omubumbi, n'ekitundu kya kyuma, obwakabaka buliba bwawulemu: naye muliba mu bwo ku maanyi g'ekyuma, kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi. Era ng'obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba, era n'obwababaka bwe buliba bwe butyo. Ekitundu kya maanyi n'ekitundu kya n'ekitundu kimenyefu." - Danieri 2:41, 42.

Nnabbi teyalangayo obufuzi obw'ensi yonna obw'okutaano, naye okwawukanayawukana okw'obufuzi obw'ekyuma obwa Rome. Rome yali ya kwawukanamu obwakabaka kkumi nga butegeeza ebigere n'obugere ku kifaananyi.

Kino ddala kyaliwo? Mu mazima ddala kyaliwo. Mu kyasa eky'okuna n'eky'okutaano eky'omulembe omukristayo abalumbaganyi abakafiri abaava mu bukiika obwa kkono beeyiwa ku bufuzi obw'aba Rome obwali bunafuye ne babukubakuba. N'eky'enkomerero amawanga kkumi gaagabana ekitundu ekisinga obunene eky'ebuggwanjuba ekya Rome era amawanga kkumi agetongodde agefuga ne gasimba amakanda mu Bulaya. Bwe kityo obugere kitegeeza amawanga agali mu Bulaya ag'omu kiseera kya kaakano.

3. EBISEERA BYAFFE BINO MU BUNNABBI BWA BAYIBULI

Obunnabbi bwa Danieri bulanga nti okufuba okugenda kubeerawo okugezako okugatta amawanga ga Bulaya okubeera wansi w'omufuzi omu?

"Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi, balyetabula n'ezzadde ly'abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng'ekyuma bwe kitetabula na bbumba." - Danieri 2:43.

Emirundi n'emirundi abasajja ab'amaanyi bagezezako okugatta amawanga ga Bulaya naye ne balemererwa. Napoleon yatuukira ddala kumpi okusinga omuntu omulala yenna okugatta amawanga ga Bulaya ageyawulayawula, naye mpozzi oboolyawo yali alowooza ku bunnabbi buno. Bwe yadduka mu ddwaniiro mu Waterloo ng'akaaba nti, "Katonda omuyinza w'ebintu byonna anzitoweeredde nnyo."

Keiser Williams II ne Adolf Hitler baalina amaggye agakyasingidde ddala okuba ag'amaanyi ag'omulembe gwabwe. Naye buli omu kubo yalemererwa okugatta Bulaya wansi w'obufuzi bwabwe. Lwaki? Kubanga ekigambo kya Katonda kyanywera nti, "Balyetabula n'ezzadde ly'abantu, naye tebaligattagana bokka na bokka." Ebyo ebyava mu ssematalo ebiiri ez'ensi yonna bikakasa nti Katonda ebyo ebiri mu kiseera eky'omu maaso biri mu mikono gye, ye y'abirung'amya. Ekyo mu butuufu kitumala okutuwa essubi, emirembe mu birowoozo era n'obwesige mu nteekateeka ye olw'obulamu bwaffe.


OBUGERE EKKUMI AMAWANGA AMAKULU KKUMI AGAAVA MU BUGGWANJUBA BW'OBUFUZI BWA ROME
Anglo-Saxons (England)
Franks (Bufalansa)
Alamanni (Gyamani)
Lombards (Italy)
Ostrogoths (Bano oluwanyuma baazikirizibwa)
Visigoths (Spain)
Burgundians (Switzerland)
Vandals (Mu mambuka ga Africa nabo bazikirizibwa)
Suevi (Portugal)
Heruli (Bazikirizibwa oluvanyuma lw'emyaka mitono)


4. TUTUNULEKO MU KISEERA EKY'OMU MAASO

Ekitundu kimu kyokka eky'obunnabbi bwa Danieri ekisigadde nga tekinatuukirira. Ejjinja eryakuba ekifaananyi obugere era ne lisa ekifaananyi era ne lifuuka olusozi olunene, ne lijjula ensi yonna amakulu galyo kyeki?

"ERA MU MIREMBE GYA BAKABAKA ABO, (amawanga ag'omulembe guno aga Bulaya), KATONDA OW'EGGULU ALISSAAWO OBWAKABAKA, obutalizikirizibwa emirembe gyonna so n'okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala, naye bulimenyamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ERA BUNAABEERANGA EMIREMBE GYONNA." - Danieri 2:44.

"Bakabaka abo" kyogera ku bakabaka abo abategeeza ebigere n'obugere eby'ekifaananyi - be bafuzi abo mu kiseera kino abo mu Bulaya, kino kitegeeza mu nnaku zaffe zino. Ejjinja eryo eryatemebwa awatali ngalo za muntu lwa kukuba ekifaananyi era likimenyemenyemu ebitundu era lijja kujjula ensi yonna (olunnyiriri olwa 34 ne 35 n'olwa 45). Mu kiseera ekitali kye wala nnyo Yesu ajja kuva mu ggulu "okuteekawwo obwabakaba bwe" obwabakaka bwe obw'essanyu n'emirembe. Bwe kityo nno, KRISTO, Olwazi olw'emirembe gyonna era Kabaka wa Bakabaka, ajja kufuga ensi emirembe n'emirembe!

Ebintu byonna ebiri mu bunnabbi bwa Danieri essula 2 bumaze okutuukirira okuggyako ekikolwa ekisembayo - ejjinja okukuba ekifaananyi. Okusinzila ku nteekateeka ya Katonda ey'ekiseera, tusemberedde entikko enkulu ey'eby'afaayo - okudda kwa Yesu ku nsi yaffe eno. Yesu Kristo, Omwana wa Katonda anaatera okukommekkereza ebyafaayo by'omuntu obujjudde entalo n'okuyiwa omusaayi olwo ateekewo obwakabaka bwe obw'okwagala n'ekisa.

5. EKIROOTO KYA KABAKA N'OBULAMU BWO

Obunnabbi buno butulaga omukono gwa Katonda ogukulembera mu kusituka ne mu kuggwa kw'amawanga. Katonda amanyi ebiseera ebyayita era obunnabbi bwa Bayibuli buno butulaga bulungi nti Katonda amanyi bulungi n'ekiseera eky'omu maaso.

Obanga Katonda akulembera entambula ey'amawanga n'obwegendereza obwenkanawo mu mazima ddala asoboola okulung'amya obulamu obwa buli kinnomu ku ffe. Yesu yatukakasa nti, "Naye era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zabalibwa zonna. Kale temutyanga" (Matayo 10:30-31). Ekirabo kya Katonda eky'okukkiriza kisobola okufuuka eddagala eriwonya okweralikirira kwaffe kwonna n'okutya. Essuubi ly'atuwa mu mitima gyaffe lisobola okukola ng'essika ery'emyoyo gyaffe (Abebbulaniya 6:19).

Erasmus omusajja omuyivu eyaliwo mu kyasa ekye 16 C, yagerageranya ekikolwa ekimu ekyaliwo mu lugendo olw'okunnyanja ekyo ekyasimba amakada mu bulamu bwe. Ekyombo kye kyeyali asseyeeyezamu kyatubira mu nnyanja mu muyaga. Ejjengo ery'amaanyi ly'akitomera era ekyombo ne kitandika okumenyekamenyeka era n'abasaabaze ne batandiika okweraliikiriwa. Baabulako katono okuzirika. Abamu ku bo baawoggananga nga basaba obuyambi okuva eri abatukuvu baabwe, baayimbanga ennyimba oba baasabanga nga baleekaana nnyo.

Naye Erasmus yeetegereza omusaabaze omu eyeeyisa mu ngeri ey'enjawulo. Yawandiika bwati, "Ku ffena waliwo omuntu omu eyasigala ng'ali wamu yali mukyala omuvubuka eyali ng'akutte omwana omuto gwe yali ayonsa mu mikono gye. Omukyala oyo yekka ataawoggana yadde okukaaba yadde okuwanjaga n'eggulu. Talina kirala kye yakola okuggyako okusaba akasirise ng'eno bw'avumbagidde omwana we ku mubiri."

Erasmus yakikakasa nti okusaba kuno kwali kweyongera bweyongezi ku bulamu bwe obwa buli lunaku obwali obusabi. Kirabika nga omukyala ono yali yeewonya eri Katonda.

Ekyombo bwe kyatandika okubbira wansi mu mazzi, omukyala ono omuvubuka yatekebwa ku lubaawo n'aweebwa ekiti akikozese ng'enkasi era ne bamusindika mu mayengo ag'ennyanja. Omukono ogumu yalina okukwata omwana we ate omukono omulala agukozese okwevuga. Abantu batono abalowoza nti ayinza okuwona obutafa amayengo.

Naye okukkiriza kwe era n'obukkakkamu bwe bya mukolera ekirala. Omukyala oyo n'omwana we beebaasooka okutuuka ku lukalu.
Essuubi mu bwesigwa bwa Katonda kusobola okukola enjawulo yonna - newankubadde ensi yonna etwetoloodde erabika nga eweddewo. Teturi eyo ffeka nga twetwala ku bwaffe. Omukono ogusinga amaanyi gutukulembedde era gutukutte.

Singa nga onoojemulukukira Yesu Kristo mu bulambalamba ajja kukuwa okukkiriza okujja okukuyisa mu buli ngeri eyakibuyaga yenna. Njagala ozuule emirembe egy'omu ggulu Yesu gye yasuubiza nti,

"Emirembe mbalekera, emirembe gyange ngibawa. Si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweralikiriranga so tegutyanga." - Yokana 14:27.

Olina emirembe egyo? Obanga ogirina weebaze Yesu, Omulokozi wo. Obanga togirina lwaki tomuyita ajje mu bulamu bwo olwa leero?

 

© 2002 The Voice of Prophecy Radio Broadcast
Los Angeles, California, U.S.A.