OMUKISA OGW'OKUBIRI OGW'OBULAMU

Oluvannyuma lw'okumala ekiseera kye ekisinga obuwanvu nga akkiririza mu ddiini ya Buddha, omusajja omukulu mu Singapore eyakyuka n'afuuka omukristayo yabuuzibwa ekibuuzo kino nti: "Mr. Lim. 'njawulo ki gy'osanze wakati w'okubeera mu bulamu abwa Buddha n'obukristayo?"

Yaddamu bwati: "Ekyo kyangu nnyo. Kasookedde nzuula Yesu okuba omulokozi wange nnina emirembe mu mutima gwange."

Ekyo kye kibeerawo bwe tuteeka obulamu bwaffe ku Kristo.

Agamba bwati: "(Katonda wo) onoomukuumanga mirembe mirembe, eyeesigamya Omwoyo ggwe ku ggwe; kubanga akwesiga ggwe." - Isaaya 26:3.

Okubeera omukristayo kivaamu emirembe egituukiridde - okutegeera okutuufu okw'obukuumi bwe era n'okubeera obulungi.

Abo abazudde kino baba bazudde ekkubo lyokka eribatuusa ku mukisa ogw'okubiri ogw'obulamu - Ye Yesu.

1. KITEGEEZA KI ABO ABAABULA OKULOKOLEBWA?

Kisoboka eri omuntu omulamu okufuna ekiseera kye bayita ekirungi ate mu kiseera kyekimu n'afa - okufa mu by'Omwoyo.

Agamba bwati: "ERA NAMMWE BWE MWALI NGA MUFIIRIDDE MU BYONOONO NE MU BIBI byamwe, bye mwatambulirangamu edda ng'emirembe egy'ensi eno bwe giri, okugobereranga omukulu ow'obuyinza obw'omu bbanga, OMWOYO OGUKOZA KAAKANO MU BAANA abatawulira." - Abaefeso 2:1,2.

Setani akulembera omuntu afudde mu by'Omwoyo ng'amussa wansi ku lujjegere olw'ebibi era n'obujeemu. Naye amazima agewuunyisa ag'amawulire amalungi gali nti Katonda ayagala omuntu ng'oyo ali mu kuzikirira. Abaagala nga bakyali mu bibi byabwe bafiiridde omwo, era n'abawa obulokozi obujjuvu obw'obwerere okubaggya mu buzibu bwabwe.

"Kyokka Katonda ow'ekisa ekingi era atwagala ennyo, ne BWE TWALI NGA TUFIIRIDDE MU BUJEEMU BWAFFE, YATUZUUKIZA WAMU ne Kristo… yakola ekyo alyoke alage mu mirembe egigenda okujja, obulungi bwe n'ekisa kye ekingi ennyo, kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu." - Abaefeso 2:4-7.

Katonda yatwagala ffe nga tetulina kintu kyonna ekitwagaza. Ekisa kye kyatonda mu ffe obulamu obuggya mu Kristo. Tetusobola kwekyusa, naye Katonda ayinza. Bwe tujja gy'ali mu kukkiriza ne mu kwewombeeka, atuwa omukisa ogw'okubiri ku bulamu ng'ekirabo eky'obwerere.

2. TWETAGA KULOKOLEBWA OKUVA MU KI?

(1) TWETAGA OKULOKOLEBWA OKUVA MU KIBI.
"Kubanga bonna baayoonoona." - Abaruumi 3:23.

Okukyogera mu ngeri ennyangu, kitegeeza nti tetukola ekyo kye tutegeera nti kituufu. Omuzadde aliko obusungu akyayinza okukuba n'okulumya omwana we mu birowoozo. Omuntu akyasobola okunyiiza omuvuzi wa mmotoka era n'aleeta akabenje. Omuyizi mu ssomero akyayinza okunyiiga n'ayogera ebigambo eby'obusungu eri omuyizi munne. Omusubuuzi akyasobola okuteekateeka ne yeerabira okuwa omusolo ku bintu bye ebimu "Bonna baayoonoona" eyo y'embeera y'omuntu.

Bayibuli ennyonnyola etya, ekibi?

"Buli ekitali kya butuukirivu, kibi." - 1 Yokana 5:17.

Twetaaga okununulibwa okuva mu mpisa zonna ezitali za bulamu era n'okuwaliriza. Okumenyako ebitono: okulimba, okwegomba, okuvuma obusungu n'ebirala nkumu.

"Omuntu yenna akola ekibi amenya amateeka, mu butuufu, ekibi kwe kumenya amateeka." 1 Yokana 3:4.

N'olwekyo twetaagga okulokolebwa okuva mu kibi - okumenya amateeka ga Katonda.

(2) TWETAAGA OKULOKOLEBWA OKUVA MU KUMENYAWO ENKOLAGANA NE KATONDA.
"Obutali butuukirivu bwammwe bwe bwawuudde mmwe ne Katonda wammwe n'ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n'atayagala kuwuulira." - Isaaya 59:2.

Ebibi ebitaasonyiyibwanga bijjawo enkolagana yaffe ne Katonda. Kristo yajja okuzzaawo obwesigwa mu Katonda obwo Setaani bwe yali aziise.

(3) TWETAAGA OKULOKOLEBWA OKUVA MU KUFA OKWEMIREMBE GYONNA - EMPEERA EY'EKIBI.
"Ekibi kyayingira mu nsi okuyita mu muntu omu, era okufa ne kuyingira okuyita mu kibi era mu ngeri eno okufa kwajja eri abantu bonna, kubanga bonna baayoonoona." - Abaruumi 5:12.

(4) TWETAAGA OKULOKOLEBWA OKUVA MU BULAMU OBWONOONYI, OBUTALI BUSANYUFA ERA OBUTALIMU MAKULU.
Eri aboononyi, obulamu lwe luguudo olukoma mu kufa.

(5) TWETAAGA OKULOKOLEBWA OKUVA MU NSI EY'EKIBI.
Tutekwa okulokolebwa okuva mu nsi ejjudde ekibi n'ebyo ebyava mu kibi- ennaku, okweraliikirira, ekiwuubalo. Entalo obulwadde n'okufa.

3. ANI ASOBOLA OKUTULOKOLA

Yesu yekka y'ayinza okutulokola:

(1) YESU AYINZA OKUTULOKOLA OKUVA MU KIBI.
Agamba bwati: "Olimutuuma erinnya lye Yesu kubanga ye y'alilokola abantu be okubaggya mu bibi byabwe." - Matayo 1:21.

Omusajja ow'enzikiriza y'aba Hindu yategeeza mukwano gwe omukristayo nti: "Waliwo ebintu bingi bye nsanga mu nzikiriza ya ba Hindu ebitasangibwa mu nzikiriza y'abakristayo, ekitasangibwa mu ba Hindu-ye Mulokozi." Enzikiriza y'abakristayo y'eddiini yokka mu nsi ewa abantu omulokozi.

(2) YESU AYINZA OKUTULOKOLA OKUVA MU LUGANDA OLWAMENYEKA OLW'ENKOLAGANA YAFFE NE KATONDA.
Agamba bwati: "Mwali nga mwawuliddwa okuva ku Kristo… nga temulina ssuubi era nga temulina Katonda mu nsi. Naye kaakano mu Kristo, mmwe abaali ewala musembezeddwa okuyita mu musaayi gwa Kristo." - Abaefeso 2:12,13.

Yesu ye w'omukwano atuukiridde gwe tusobola okugatta oluganda naye. Ayagala mu ffe okututeekamu ekyo ekisingira ddala obulungi. "Okuyita mu musaayi gwa Kristo" ebibi byaffe eby'obulamu obwayita bisonyiyiddwa, era buli lunaku atuwa okukkirizibwa kwe kuno; n'atuwa amaanyi ku kibi n'obulamu bwe obutuukiridde. Tukimanyi nti bulijjo ajja kubeerawo okutusitula buli kaseera lwe tugwa. Okwagala kwaffe gy'ali naffe kutuviiramu okwegomba okubeera mu kkubo eryo erimusanyusa.

(3) YESU AYINZA OKUTULOKOLA OKUVA MU KUFA OKW'EMIREMBE N'EMIREMBE - Y'EMPEERA YE KIBI.
Agamba bwati: "Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa (okw'emirembe gyonna): naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe." - Abaruumi 6:23.

Tuli bamenyi b'amateeka abasalirwa edda omusango ogw'okufa. Empeera y'ekibi kwe kufa. Yesu atulokola okuva mu kufa okw'emirembe n'emirembe.

"Naye Katonda alagira ddala nga bw'atwagala, kubanga Kristo yatufiirira bwetwali nga tukyali boonoonyi." - Abaruumi 5:8.

Kubanga alina okwagala okutaggwaawo, Yesu "yatufiirira." Era yatufiirira era n'abonaabona mu bujjuvu olw'ebyo ebyava mu kibi, kaakano Katonda asobola okusonyiwa era n'okukkiriza omwonoonyi ng'asasudde ekibi empeera yakyo entuufu.

(4) YESU AYINZA OKUTULOKOLA OKUVA MU OBWONOONYI OBUTALIIMU SSANYU.
Agamba bwati: "Omuntu yenna bw'abeera mu Kristo afuuka muntu muggya - eby'edda nga biwedde era nga bigenze, buli kintu nga kifuuse kiggya." - 2 Kolinso 5:17.

Ffe ku bwaffe tetusobola kwerokola okuva mu kibi, oba okukyusa obuzaaliranwa bwaffe, mu ngeri y'emu ng'a empologoma bw'eteyinza kusalawo kufuuka ndiga (Abaruumi 7:18). Ekibi kisinga amaanyi okumalirira kwaffe. Naye Kristo, "okuyita mu maanyi ag'Omwoyo we" asobola - okutuwa amaanyi (Abaefeso 3:16). Akola okuggya mu ffe empisa zaffe embi ezizikiriza obulamu okuzzaamu empisa ze ez'obulamu. Okwagala, emirembe, okusanyuka, ekisa n'okwefuga (Bagalatiya 5:22,23). Kristo abeera mu bulamu bwaffe era n'atuwa okuwona mu by'Omwoyo era n'atuwa n'obulamu obuggya.

Ku by'okukyuka Harold Hughes yali aweddemu essuubi. Yagezaako okulekerawo okunywa omwenge emirundi mingi, naye n'alemererwa. Yakimanya bulungi nnyo nti olutalo olw'okunywa omwenge lwali lutade mukyala we ne bawala be babiri mu kubonaabona okumala emyaka kkumi. Olunaku lumu mu makya yeesogga ekinaabiro n'addira omumwa gw'emundu ye entono n'aguteeka mu kamwa ke yette. Naye nga tannaba kusika manduso kwerasa, yasalawo ensonga zino asooke azitegeeze Katonda. Okusaba kwalwawo ne kufuuka okukaabirira Katonda olw'obuyambi era Katonda n'awuulira.

Harold Hughes yeewayo eri Kristo era n'afuna amaanyi ag'Omwoyo olw'okugumikiriza. Yava ku kunywa omwenge ekiseera kye kyonna; era nafuuka omwami omuzadde, omwagazi era omusajja eyeesigika era n'atuuka n'okufuna ekifo mu lukiiko olukulu Senate. Harold Hughes yazuula amaanyi agasingira ddala okuba amangi agakyusa mu nsi munno - Ye Yesu.

(5) YESU AYINZA OKUTULOKOLA OKUVA MU NSI EY'EKIBI.
Eby'okuyiga ebirala ebina ebiddirira bijja kutunnyonnyola engeri gye kisoboka okubeerawo.

4. TULOKOLEBWA BWE TULINNYA KU MADDAALA AMANGU ASATU

(1) EDDALA ERISOOKA: SABA KRISTO AKOLAGANE N'EKIBI EKIRI MU BULAMU BWO.
Ekitundu kyaffe kye kiruwa mu kweggyako obulamu bwaffe obw'ekibi?

Agamba nti: "MWENENYE, mukyuke, ebibi byammwe bisangulibwe." - Bikolwa 3:19.

Kiki ekikulembera omuntu okumutuusa ku kwenenya?

Okuddamu: "Ekisa kya Katonda kikulembera mu kwenenya." - Abaruumi 2:4.

"Okunakuwala kwammwe kwabaviiramu okwenenya." - 2 Kolinso 7:9.

Mu bwangu, okwenenya kwe kunakuwalira obulamu obwayita obw'ekibi era n'okukyuka okuva mu bibi byaffe, n'osaba okuva mu mayisa ne mu nkola ey'edda embi.


ENGERI GYE TUFUNAMU OBULAMU OBUGGYA OKUVA KU KRISTO

  1. Tumukkiriza ng'omulokozi Waffe, era Mukama waffe.
  2. Tunyweza enkolagana ey'oluganda naye. (Okusaba okwa buli lunaku
    n'okusoma Bayibuli nsonga nkulu.)
  3. Kristo ng'ayita mu Mwoyo we akola okujja empisa embi muffe n'okuzzamu empisa ennungi.

Tetunakuwala olw'okutya okubonerezebwa, naye olw'okubanga twanukula ekisa kya Katonda ekyaleeta Yesu okufa mu kifo kyaffe: olw'okwonoona kwaffe. Tukyawa ekibi kubanga kirumya Katonda.

Bwe tufuna obulamu obuggya mu Kristo, tukola kyonna ekisoboka okugoloola ensobi zetwakola ezayita (Ezekieri 33:14-16).

Ekitundu kya Katonda kye kiruwa, kyakola okutuggyako obulamu obw'edda obw'ekibi?

Ebikolwa byombi, okwenenya n'okusonyiyibwa kirabo ekiva eri Katonda kulwaffe.

Agamba bwati: "Oyo Katonda yamugulumiza ku mukono gwe ogwa ddyo abeere omulangira era omulokozi alyoke awe abantu okwenenya era n'okusonyiyibwa ebibi." - Bikolwa 5:31.

Bwe twenenya omulokozi atwagala asonyiwa ebibi byafe era n'atunaaza okuva mu kibi, era ebibi n'abisuula mu buziba bw'ennyanja.

Agamba bwati: "Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazako byonna ebitali bya butuukirivu." - 1 Yokana 1:9. (Mikka 7:18,19.)

Tewaliiwo kibi eky'ekitalo ekyenkaniddawo, omulokozi eyafa olw'ebibi byaffe ku musaalaba ky'atayinza kusonyiwa. Omuntu oyo alina obwesige mu Kristo yeetaga okusaba ekintu kimu okusonyiyibwa ebibi bye. Okufa kwa Yesu ku lwaffe tekusobola kutusonyiyisa bibi byaffe okuggyako nga tukumusabye. Ensonga eno ekaabya amaziga nti: ebibi byaffe bye byakomerezesa emikono n'amaggulu ebya Kristo. Era nti Yesu ayagala nnyo nnyini ddala n'okusinga ffe kye tusobola okulowooza ffe okukkiriza ekirabo kye eky'okusonyiyibwa era n'okutabaganyizibwa.

Ebigambo byatuuka mu matu g'omuvubuka omuto eyali yadduka edda okuva mu maka ga bakadde be nti nnyina yali agenda kufa. Amawulire gano gamuleetera okwejjusa olw'enkolagana yaabwe eyali tekyaliwo. Omuvubuka yadduka mangu okudda eka. Yayingira mu kisenge nnyina mweyali yeebase. Ne yeesuula ku buliri nnyina kwe yali agalamiziddwa. Ng'ali mu maziga ag'ekitalo yasaba nnyina amusonyiwe.

Maama we yamusembeza kumpi naye, mu ddoboozi eritakyawulikika yamugamba: "Mwana wange, nnandibadde nnakusonyiwa dda singa wansaba okukusonyiwa."

Oba nga wava ku Katonda n'omuvaako oba nga wali tonnamutegeera - nsaba olowooze nga Katonda wo ow'okwagala bw'ayagala ennyo okukwaniriza mu maka go. Ekisinga byonna ayagala nnyo ggwe okkirize ekirabo ky'akuwa eky'okusonnyiyibwa. Yesu akwagala. Yafa ku lulwo. Bulijjo yeeteeseteese okukusonyiwa. N'olwekyo yanukula okuyita kwe okw'ekisa kye kw'ayita okwenenya. Yatula ebibi byo. Kkiriza nti Katonda akusonyiwa era akikola. Mwesige era weesige n'ebisuubizo bye.

(2) EDDALA ERY'OKUBIRI: FUNA OBULAMU OBUGGYA OKUVA KU YESU.
Ekitundu kyo mu kufuna obulamu obuggya okuva ku Yesu kwe kukkiriza nti: mu mazima Yesu amaze okukulokola. Awatali kubuusabuusa ensonga eno nti akusonyiye, era akunaazizza, era aggyewo obulamu bwo obw'edda obw'ekibi era akuwadde mu bulambalamba obulamu obuggya obukyusiddwa.

Agamba bwati: "Bonna… Abaakiriza erinnya lye yaabawa obuyinza (amaanyi. Omukisa) okufuuka abaana ba Katonda." - Yokana 1:12.

Ng'omwana wa Katonda olina ''obuyinza'' okufuna obulamu obuggya okuva ku Yesu. Nga bwe twakyogede waggulu. Kino tosobola kukyekolera n'okituukako ku bubwo - Ky'ekirabo ekiva ewa Katonda Kitaawo ow'omuggulu. Yesu atuwa ekisuubizo ng'ekyo eky'amazima olw'okuggyawo okutya kwaffe n'okubuusabuusa.

Ekitundu kya Katonda kye kiruwa mu kutuwa obulamu obuggya?

"Yesu yaddamu n'amugamba nti ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka ba Katonda." - Yokana 3:3.

Okusinziira ku kuyigiriza kwa Yesu, omwononyi akkiriza ne yeenenya, mu butuufu aba azaaliddwa mu bulamu obuggya. Kino kya magero Katonda yekka y'ayinza okukikola. Yasuubiza nti:

"Era ndibawa N'OMUTIMA omuggya n'enteeka OMWOYO OMUGGYA munda yammwe; era ndiggyamu omutima ogw'ejjinja mu mubiri gwammwe ne mbawa omutima ogw'ennyama." - Ezeekyeri 36:26.

Yesu akyusa emitima gyaffe - empisa zaffe n'ebirowoozo, era n'atuula mu ffe (Kolosayi 1:27). Obulamu buno obuggya si bulungi kyokka naye birowoozo bya Mwoyo, bugumu, bukakafu, kwe kuzuukizibwa okuva mu kufa okw'eby'Omwoyo eri obulamu obuggya era n'okubeerawo okuggya.

(3) EDDALA ERY'OKUSATU: OKUBEERA ABALAMU KU LWA KRISTO BULI LUNAKU.
Obulamu obukristayo butwaliramu okukyuka okuva mu kwerowoozako okwa buli lunaku era n'okwegatta ne Yesu mukwano gwaffe omwagalwa. Tukula mu bulamu buno obuggya olw'okunyweza enkolagana yaffe ne Yesu, Kino kitegeeza okumala naye ebbanga lyonna, nga tuzimba obwesigwa n'enkolagana ey'olwatu. Katonda atuwa ebituyamba okukula mu by'Omwoyo bitaano: Okusoma Bayibuli, Okusaba, Okufumintiriza, Okukung'ana awamu n'abakristayo abalala, Okugabana n'abalala ebyo ebitubako mu bulamu.

Okubeera mu Kristo tekitegeeza nti tetusobola kukola nsobi. Naye bwe twesittala era ne twonoona, tukaayanira okusonyiyiibwa kwa Kristo era ne tweyongera okugenda mu maaso. Tutambula nga twolekedde oludda olumannyiddwa era tumanyi nti Kristo abeera mulamu mu mitima gyaffe

5. ESSANYU LY'OMUKISA OGW'OKUBIRI

Harold Hughes yafuna ebitiibwa bingi ng'ali mu mulimu gwe ogw'enjawulo ng'omukiise mu lukiiko Senate mu Amerika, naye ekimu ku bikulu ebyamujjira kyaliwo nga ky'ajje aweeyo obulamu eri Kristo.

Olw'eggulo olumu Harold yali bw'omu mu kisenge ekituulwamu ng'asoma Bayibuli ye, nawulira omuntu amukwata ku kibegabega kye. Bwe yakyuka, nalaba bawala be ababiri abato, nga bayimiridde nga bambadde engoye zaabwe ezisulwamu. Yasooka n'abatunuulira okumala akabanga anti bali nga bakyuse nnyo, era yali nga tabeera nabo mu kiseera kiri eky'olutalo lwe ddekabusa nga beenyoola n'omwenge.

Omuwala asinga obuto ye Carol n'amugamba nti: "Ttaata tuzze kukunywegeera nga tukusiibula tugenda kwebaka!"

Amaaso ga musajjamukulu ne gajjula amaziga. Anti ekiseera kyali kiyiseewo kiwanvu kasookedde abaana be bajja okumugwa mu kifuba mu ngeri eyo. Naye abaana bo teebalina kutya, kubanga Ttaata yali akomyewo eka.

Mu butuufu Yesu awa abantu omukisa ogw'okubiri. Aggyawo embeera eteriimu ssuubi era n'atukolera entandikwa empya. Omulokozi ayagaliza buli omu kuffe ku nkomerero akomewo eka. Wakkiriza dda okuyita kwa Kristo okw'okwagala? Okufuna okusonyiyibwa kwa Katonda era n'okunaazibwa kyangu nnyo nga okugoloola emikono gyo olw'okuwambatira omwana.

Singa nga tonnaba kukkiriza Kristo ng'omulokozi wo, okyasobola okukikola olwa leero ng'osaba bwoti: "Kitange, ndimunakuwavu nnyo olw'obulamu bwange obw'edda obw'ekibi. Nkwebaza olw'okuweereza omwana wo mu nsi okufa mu kifo kyange. Yesu, nsaba osonyiwe ebibi byange era ojje mu bulamu bwange era ondokole. Njagala okufuna omukisa ogw'okubiri ogw'obulamu - Njagala okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri. N'ekisingako ekyo, njagala okunyweza oluganda olw'okubeeranga naawe buli lunaku. Nkwebaza olw'okukola eky'amagero ekyo mu nze. Mu linnya lya Yesu, Amiina."

Kino kya kitalo era kitegeere nti: Bwe tujja gy'ali, Yesu atulokola.

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy