OLUTINDO OLUTUUSA ABANTU KU
BULAMU OBUMATIZA

Omusekese gw'amagumba ge baagusanga ku mabbali g'ekisiisira ku kizinga ekitaaliko bantu mu makkati g'eriyanja Atlantic. Omulunnyanja atamanyiddwa linnya yawandiikanga mu katabo ebyo ebyamubangako buli lunaku eby'omwezi gwe ogw'okuna ogw'okugezebwa kwe. Yasuulibwa ku kizinga Ascension n'amaato ag'aba Dutch mu mwaka 1725 ng'alangibwa omusango ogutaayatulwa. Mangu ddala yatuuka n'okunywa omusaayi ogw'e Nfudu olw'enkalamata eyamuli obubi. Omusajja ono okubonaabona kwe okw'omubiri kwali mu bulumi obw'ekitalo, naye obulumi bwe obwasingira ddala okumuzitoweerera era obulagibwa mu katabo ke mweyakuumiranga ebyo ebyamubangako buli lunaku, gwali omusango gwe.

Yawandiika ebigambo ebyamuluma ennyo nga bino: "Nga obulumi bwa kitalo abonoonyi abafa bwe batuukako, abo abava mu kkubo ery'obutuukirivu, abusannyukira okwongera ku muwendo ogw'abantu abaakolimirwa Katonda." Omusajja ono omulunnyanja okusuulibwa kwe ku kizinga kino okutaali bantu kwajja olw'okuva ku Katonda mu bulamu bwe. Kino ku nkomerero y'obulamu bwe kye yasanga nga kizito nnyo tekigumikirizika.

Okuva Adamu ne Kaawa bwe "beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku" nga bamaze okulya ku muti ogwabagaanibwa okulya, abaana b'abantu bonna babadde nga balwana n'ekiwuubaalo eky'okuwulira nga balekeddwa bokka (Luberyeberye 3:8). Ebirowoozo ebiggya eby'obuswavu, okuwuulira omusango, n'okutya byawaliriza abantu ababiri abasooka ku nsi okudduka Mukama bwe yajja ng'abayita. Eky'omukisa omubi, okwewulira okwo okwabatuukako kuli ddala mu ffe mu kiseera kya kaakano.

Kiki ekyo ekituleetera okwawukana wakati waffe ne Katonda?

Eky'okuddamu kigamba nti: "Naye obutali butuukirivu bwamwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n'ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso, n'atayagala kuwuullira." - Isaaya 59:2.

Olukonko luno olunene olwawuudde abonoonyi okuva ku Katonda si ye yaalukola. Katonda si ye yadduka okuva ku Adamu ne Kaawa, wabula bo beebadduka okuva ku ye.

1. OKUMATIZA ENJALA EYEEKWESE MU FFE

Ng'ekibi tekinnaba kwonoona kifaananyi, Adamu ne Kaawa baasanyukiranga omukwano n'omutonzi waabwe mu maka gaabwe mu lusuku olulungi mu Adeni. Eky'ennaku baayingiza obulimba bwa Setaani obw'okubeera abalina amagezi nga Katonda era ne bamenyawo endagaano oy'obwesigwa n'omutonzi waabwe (Luberyeberye 3).

Nga bamaze okugobebwa okuva mu lusuku lwa Adeni, Adamu ne Kaawa baasanga obulamu nga bukaluba nnyo ebweru eyo. Okuzaala abaana, okulima ettaka, byafuuka bya musaayi, bya ntuuyo na maziga. Oluganda lwabwe olw'okumpi ne Katonda nga lumenyesewo, beesanga nga bye beegomba tebimatiza okuyaayaana okw'obulumi, okuva ku kikolwa ekya Adamu ne Kaawa eky'obujeemu ekyasooka "bonna" (olulyo lw'omuntu lwonna) lwagwa mu kikolwa ky'ekimu eky'ekibi era bonna bafugibwa kufa - empeera y'ekibi.

Agamba bwati: "Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kutyo okufa ne kubuuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayoonona." - Balumi 5:12.

Ffena tutuukibwako enjala eno ennene ey'omutima olw'ekyo kye twafiirwa, nga twetaaga obukuumi obwo obusobola okutuweebwa Katonda yekka. Emirundi egimu tugezako okumatiza enjala eno n'eby'okulya, oba olw'okunywa omwenge n'enjaga oba olw'okwesuula eddalu.

Naye okuyaayaana kwonna bwe bubonero obw'obutabeera na Katonda. Era tewaliwo kibuwonya okuggyako okufuna okwagala kwe mu bulamu bwaffe.

Agamba bwati: "Onondaganga ekkubo ery'obulamu; gyoli waliwo essanyu erituukirira, mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli ebisanyusa emirembe gyonna." - Zabuli 16:11.

Ekintu kyokka ekigenda okukuleeta okumatizibwa okw'amazima, ng'olukonko oluli wakati waffe ne Katonda nga lutindiddwa. Naffe ne tusobola okulutambulirako ne tutuuka wali.

2. OKUTINDA OLUKONKO OLW'EKIBI N'OKUFA

Abantu si be bokka ekibi be kyayawula ne babeera bokka. Omutima gwa Katonda nagwo gwamuluma ku lunaku Adamu ne Kaawa lwe baamukuba amabega gaabwe. Era Katonda akyali munakuwavu nnyo olw'ennaku y'omuntu era n'okubonnabona. Katonda ayagala nnyo okumatiza okwetaaga kwaffe okw'omunda era n'okuwonya ebiwundu byaffe eby'ebirowoozo. Okutunula obutunuzi ku lukonko olutwawudde naye tekyamumala. Katonda yasalawo ye kennyini okufuuka olutindo, olutinda olukonko olw'ekibi n'okufa.

Agamba nti: "Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bwati n'okuwaayo n'awaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo. Kubanga Katonda teyatuma mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye." - Yok 3:16,17.

Katonda yawaayo omwana we era ne Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka olw'ekibi; ng'asasula empeera y'ekibi ye kennyini. Obulamu bwe, okufa kwe era n'okuzuukira kwe byakifuula ekisoboka okusonyiwa n'okulokola omwonoonyi awatali kunyooma kibi. Era n'alaga ensi yonna empisa za Kristo ne Setaani. Olutindo olw'omubiri gwa Kristo ogwakubibwa, luzzaayo abantu okubaggya mu mutego ogw'ekibi. Okwagala kwatinda olukonko, era ne kusobozesa abantu bonna abateeka okukkiriza kwabwe mu Kristo nga ye Mukama era omulokozi okutambulira ku lwo okutuuka mu bulamu obutaggwaawo.

3. ENSONGA OMUSANVU ENKULU ZEWEETAGA OKUMANYA KU YESU

Ensonga zino omusanvu ku Yesu togenda kuzisanga ku muntu mulala yenna eyali abaddewo ku nsi:

(1) YESU YAVA MU GGULU N'AJJA KU NSI
Yesu yayogera atya ku kiseera ky'amaze nga wali? Yagamba nti:

"Mazima ddala mbagamba nti: Ibulayimu yali tannabawo, nze nga wendi." - Yok 8:58.

Yesu yakakassa ensi nti nze "Ndi!" Bulijjo mbadde nga wendi era bulijjo nja kubeera wo. Newankubadde Yesu yazaalibwa ne nnyina nga muntu (Matayo 1:22,23), Ye Katonda - Katonda ng'a li mu mubiri ogw'omuntu.

Dwight L. Moody ne Billy Graham ow'omu kyasa ekye 19, olumu baayogera bwe bati ku kufuuka kwa Yesu omuntu: "Kwandibadde kweganyisa kunene nnyo Yesu okujja n'abeera mu kibaya ekimasamasa, n'akuzibwa ne malayika, n'aliisibwa n'ekigiiko ekyazzabu. Naye omutonzi w'eggulu n'ensi yajja n'ayambala omubiri ogw'omuntu, n'azaalibwa mu kiraalo eky'abazadde be abaavu, mu mbeera esingira ddala okuba embi eyali ebaddewo."

Mu kiseera ekya Yesu Kristo okuzaalibwa, malayika yagamba Yusufu nti:

"(Maliyamu) alizaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye YESU; kubanga yewuuyo alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe." - Matayo 1:21.

Yesu omutonzi w'eggulu lyonna n'ensi (Yokana 1:1-3,14); yamalirira okujja ku nsi yaffe eno okutulokola okuva mu kibi ne mu kufa.

(2) YESU MU BULAMU KU NSI KUNO YALINA OBULAMU OBUTAAKOLA KIBI - OBUTUUKIRIVU

"Yesu mwana wa Katonda… kubanga mu byonna yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa, kyoka n'atakola kibi." - Bebulaniya 4:14,15.

Katonda yakola kinene nnyo okusinga okutuggya mu bulamu obw'ekibi era n'okutuzza mu bulamu obumatiza.

Setaani, omulabe wa Kristo, okuyita mu bulamu bwonna obwa Yesu ku nsi yakola enteekateeka amukeme amusuule mu kibi. Mu ddungu omulabe yamulumba olulumba olw'entiisa ku bwesigwa bwe mu katonda we (Matayo 4:1-11). Mu lusuku Gesesumani nga Yesu tannaba kukomererwa obuzito bw'okukemebwa bwamuzitowerera ekyekaniddewo n'entuuyo z'omu maaso ge zaavamu omusaayi (Luka 22:44).

Naye Yesu yayimirira nga munywevu era ebikemo byonna omulabe bye yamuleeteranga - "Naye nga talina kibi." Kubanga Yesu yatuusibwako ebizibu n'ebikemo byonna ebituuka ku baana ba bantu, ategeera olutalo lwe tuliko. Era asobola "okulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe" (Abebbulaniya 4:15).

Lwaki Yesu kyali kimwetagiisa okubeera n'obulamu obutaliimu kibi?

Agamba bwati: "Kristo ataalina kibi, Katonda yamufuula ekibi, ffe olw'okwegatta ne Kristo tulyoke tufune obutuukirivu obuva eri Katonda." - 2 Bakolinso 5:21.

Yesu yawangula ebikemo era n'abeera n'obulamu obutuukirivu alyoke abutugabire ng'awaanyisa n'obulamu bwaffe obw'edda obw'ekibi.

(3) YESU YAFA OLW'OKUGGYAWO EKIBI
Abantu bameka abaayonoona?

Agamba bwati: "Kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda." - Abaruumi 3:23.

Empeera y'e kibi kyeki?

Agamba bwati: "Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe." - Abaruumi 6:23.

Lwaki Yesu yafa?

Agamba bwati: "Laba omwana gw'endiga ogwa Katonda AGGYAWO EBIBI BY'ENSI." (Yokana 1:29).

Ffenna twayonoona era ffena tufugibwa okufa; naye Yesu yafa mu kifo kyaffe, Yafuuka "ekibi ku lwaffe" Yasasula ebbanja lyaffe ery'okufa. Okufa kwe kirabo era "EKIRABO KYA KATONDA bwe BULAMU OBUTAGGWAAWO mu Kristo Yesu Mukama waffe" (Abaruumi 6:23).

Yesu yawaayo obulamu bwe obutukuvu obutuukiridde ng'ekirabo eky'okutwagala ffe. Okwagala okufaanana ng'okwo kussukirira okutegeera kwaffe okw'obuntu. Era olw'okufa kwe okwo "tulina EMIREMBE ne Katonda" (Abarumi 5:1).

(4) YESU YAZUUKIRA MU BAFU
Okufa kwa Yesu ku musaalaba eyo si ye yali enkomerero y'obulamu bwe obw'ekitalo. Singa yasigala mu ntaana teyandibadde mulokozi waffe.

Agamba bwati: "Oba nga Kristo teyazuukira, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa, era mukyali mu bibi byammwe. Era n'abo abaafa nga bakkiriza Kristo, baazikirira." - 1 Ab'ekolinso 15:17,18.

Muhamade ne Buddha baaleetera ensi eno amazima amakulu ag'amagezi. Gakoze ku bulamu bw'abantu obukadde n'obukadde, naye tegalimu maanyi okuwa abantu obulamu kubanga nabo bennyini bali mu ntaana zaabwe.

Kubanga Yesu ku lunaku olw'okusatu oluvannyuma lw'okufa kwe yazuukira okuva mu ntaana ye, bisuubizo ki by'asobola okutuwa?

"Kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu." - Yok 14:19.

Kubanga ye mulamu. Kubanga alina obuyinza ku maanyi ag'okufa, ayinza akutulokola okuva mu kufa, era n'atuwa obulamu obwo obungi ate era obw'emirembe n'emirembe. Ajja kubeera mu mitima gyaffe singa nga tumuyita okujja okuyingiramu. Omulokozi eyazuukira w'ali okukola ku byetaago byaffe leero.

Agamba nti: "Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi lw'eriggwaawo." - Matayo 28:20.

Abaami n'abakyala okwetoloola ensi yonna bawa obujulirwa engeri Kristo gye yalokola obulamu bwabwe mu mize egisingira ddala okuba emibi ne mu bulumi obw'ebirowoozo.

Omu ku bayizi baffe abasooka yawandiika ebigambo bino ku kapapula ke kwe yaddiramu ebibuuzo, nga yeebaza nti: "Nnali mutamiivu lujuuju, olunaku olumu nga ndi mu kunywa omwenge gwange, nnalaba kaadi mu bisasiro ng'eranga eby'okuyiga ebya Bayibuli ebyammwe. Nnagironda, ne ngijuza, era ne nfuna okumanya kwange okw'amazima ku Kristo. Nga mmaze okusoma eby'okuyiga byange, nnawayo omutima gwange eri Katonda era n'omwenge tegwaddayo kumpommera."

Yesu bwe yeemala obulamu bw'omusajja ono, amaanyi amaggya gaamuwa obuyinza okuwangula obuutamiivu bwe. Kubanga Yesu ye mulokozi eyazuukira, ayinza okulokola bonna abajja gyali olw'okubayamba.

(5) YESU YAGENDA MU GGULU
Yesu nga tannaba kuddayo mu ggulu naye ng'amaze okuzuukizibwa (Bikolwa 1:9), Abagobereezi be yabasuubiza nti:

"Omutima gwammwe tegweralikiriranga; mukkiriza Katonda era nange munzikirize. Mu nyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeeramu… kubanga NG'ENDA KUBATEEKERATEEKERA EKIFO… Era oba nga ng'enda okubateekeerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gyendi, nze gyendi, nammwe mubeere eyo." - Yokana 14:1-3.

(6) OKUWEEREZA KWA YESU NGA KABONA MU GGULU
Yesu buli kiseera anoonya okulaba ng'atuteekateeka olw'ebifo eby'omu ggulu.

Agamba bwati: "Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeere nga KABONA ASINGA OBUKULU ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi, by'abantu, kubanga olw'okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng'akemebwa, kyava ayinza okubabeera abo abakemebwa." - Abebbulaniya 2:17-18.

Yesu yajja mu nsi yaffe eno "okutangirira ebibi by'abantu" era n'okutununula okuva mu bunaku n'obuddu obw'ekibi. Yafa okutulokola alyoke aggirewo ddala ensibuko y'ekibi, okubonnabona n'okufa ng'azikiriza Setani.

Yesu Kabona waffe asinga obukulu "yafaananyizibwa mu byonna baganda be" Era kaakano buli kaseera alabika mu maaso ga Kitaffe ku lwaffe ng'omutabaganya waffe. Yesu oyo yennyini eyawa omukisa abaana, eyabuddabudda omukazi eyakwatibwa mu bwenzi, era eyasonyiwa omubbi eyali afiira ku musaalaba, mu kiseera kino ali mu ggulu ng'aweereza olw'ebyetaago byaffe, ng'ayamba "abo abakemebwa."

(7) YESU AJJA KUDDA
Nga tannaba kuddayo mu ggulu, kisuubizo ki Yesu kye yakola?

Eky'okuddamu kiri nti: "Era obanga ng'enda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gyendi; nze gyendi, nammwe mubeere eyo." - Yok 14:3.

Yesu bw'anaakomawo, ajja nakutulokola okuva mu kibi, endwadde, obucwano, n'okufa ebiruma ensi yaffe eno. Era ajja kututwala mu nsi empya omuli essanyu eritaggwaawo era n'obulamu obw'emirembe n'emirembe.

4. OKWAGALA OKUTALEMERERWA

Olugero lwogera ku bufumbo obwateekebwateekebwa mu Taiwan wakati w'omusajja Ulong n'omuwala omuto ayitibwa 'Kimuli kya Zzaabu.' Omwami Ulong bwe yaggya akatimba ku mukyala ng'omukolo ogw'okkugatta guwedde, yeekanga, n'atayagala na kuddayo kumutunulako. Ekyenyi ky'omukyala kyali kijudde enkovu eza kawaali.

Ng'ebyo biwedde, Ulong teyayagalanga kukolagana ne mukyala we. Omukyala yagezangako okukola kyonna kyasobola okumusanyusa, era yakolanga emirimu mingi mu maka ng'alowooza nti omwami we oluvannyuma alimukkiriza. Naye omwami yasigala nga munyiikaavu eri essanyu ery'okwagala eryamulagibwanga.

Oluvannyuma lw'emyaka kkumi n'ebiri egy'obufumbo obw'okwekwasa. Ulong amaaso ge gombi gatandika okuziba. Omusawo yamugamba nti ajja kuba muzibe w'amaaso singa emmunye z'amaso ge tezirongosebwe ne bateekamu endala. Naye okulongoosa kwali kwetaaga ensimbi nnyingi era waaliwo abantu bangi abaali balindiridde okulongoosebwa, n'olwekyo yali wa kulinda ebbanga ddene.

Kimuli kya Zzaabu yatandika okukolanga ekiseera kyonna olw'okufuna ensimbi. Olunaku lumu Ulong yategeezebwa nti waaliwo omuntu omu eyali afunye akabenje k'emmotoka n'afiirawo era ne bamujjako emmunye ze. Ulong yatwalibwa mangu mu ddwaliro okulongoosebwa.

Ng'awonye, mu maddu amangi yaayagala okulaba mukyala we amwebaze olw'okupakasa ensimbi ezamujjanjaba. Omukyala bwe yakyusa omutwe gwe asobole okumutunuulira omwami Ulong n'amuvumbagira. Omukyala yatunuliira omwami we ng'amaaso gaddugadde tegalaba nga n'emmunye ze baziggyemu. Omwami ng'essanyu eringi limuyitiridde yaggwa wansi n'akaba. Era guno gwe gwali omulundi gwe ogusooka omwami okwatula erinnya lya mukyala we "Kimuli kya Zzaabu."

Yesu ayagala nnyo abe n'enkolagana n'abo ababadde bannanfuusi gyali okumala ebbanga eggwanvu. Ayagala ffe eky'enkomerero tumwatuule erinnya lye ng'omulokozi waffe.

Yesu yamalirira okuwaayo, si maaso ge gokka, naye yawaayo omubiri gwe gwonna asobole okulaga okwagala kwe okutalemererwa. Okwagala kwe kwa maanyi nti Kristo "yajja mu nsi okulokola abalina ebibi" (1 Timoseo 1:15).

Ssaddaaka ya Yesu enkulu yateekawo olutindo olubikka obunnanfusi bwaffe era n'obunnaggwanga bwaffe. Ggwe kennyini wali okizudde Kristo ayagala okukuyisa ku lukonko akuteeke mu mikono gye? Onookkiriza era n'osaba nti. "Yesu nkwagala. Weebale nnyo olwa ssaddaaka yo ettekkirizika. Jangu mu mutima gwange ondokole kaakano - Ndokola nzenna bulambalamba, Ndokola ommaleyo, Ndokola emirembe gyonna"?


YESU
YAJJA nga Katonda mu mubiri gw'omuntu.
YABEERA n'obulamu obutuukiridde mu kifo kyaffe.
YAFA ol'webibi byaffe.
YAZUUKIRA okutulokola mu kufa
YAGENDA MU GGULU Okututeekerateekera amaka mu Ggulu.
AWEREEZA buli lunaku nga Kabona waffe
AKOMAWO MANGU okututwala Tubeere naye emirembe gyonna.


 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy