ENTEEKATEEKA
OLW'OBULAMU BWO
Ng'omusumba
amaze okwogera ku ky'okuyiga ekigamba nti "Ensonga lwaki nzikiriza
mu Yesu Kristo" Omusajja omuvubuka eyali ayambadde obulungi yamukyalira
ng'ali mu kuyiga kwe era n'ayogera bwati: "Eky'okuyiga kyo olwa
leero kibadde kisanyusa nnyo, naye buli kintu kyonna ky'oyogedde ku
Kristo wakigye mu Bayibuli yo. Ntegeeza, obanga Yesu Kristo yali abaddeko
ku nsi kuno, lwaki ebyafaayo tebimwogerako?"
Omusumba
nga bw'anoonya mu bitabo bye ebingi yamuddamu bwati: "Ekyo kibuuzo
kirungi. Naye amazima gali nti ebyafaayo byogera ku Yesu Kristo."
Omuvubuka
yaddamu nti: "Ekyo nze kennyini kye nnayagadde okulaba."
Omusumba
yamugamba nti: "Wano waliwo ebbaluwa eye 97 ey'ekitabo ekye 10
eky'ebbaluwa za Pliny omuto, omufuzi Omurooma mu Bithynia ekitundu ekya
Asiya entono ey'edda. Pliny yawandiikira Trajan omufuzi w'obwakabaka
bwa Abarooma ng'amutegeeza ku bintu ebyaliwo mu kitundu kye. Wano yali
yeebuuza amagezi engeri gye yali agenda okukwatamu enzikiriza empya
ey'abakristayo. Yamutegeeza ku kukulakulana kwabwe okw'amaanyi era ne
ku nnyimba zaabwe ze bayimba ezakung'anyizibwa omukulembeze waabwe Kristo.
Pliny ebbaluwa ye eno yagiweereza mu mwaka nga 110 AD. Ebbaluwa ya Pliny
ewa obukakafu obw'ebyafaayo by'omusajja ayitibwa Kristo era ne ku kusaasana
kw'enzikiriza ye mu kiseera eky'Abatume be."
Nga
bwe yeewuunya omuvubuka yaddamu n'agamba nti: "yongera okuntegeezayo
ebirala."
Omusumba
ng'eno bw'abikkula ekitabo ekirala yamwongerako na kino nti: "Omusajja
omulala ow'ebyafaayo eyaliwo mu kiseera ekya Pliny yali Tacitus. Mu
kitabo kye omuwandiikibwa ebyo ebiba bibaddewo okuyita mu mwaka (eky'e
15 Essuula eya 44), atutegeeza obukyayi bwa Nero era n'obw'okuyigganyizibwa
kwa Abakristayo mu kiseera ekibuga Ruumi we kyayokerwa omuliro. Tacitus
annyonnyola erinnya 'Abakristayo' nga bwe lyava mu linnya 'Kristo.'
Agamba nti Yesu Kristo, omutandisi w'eddiini y'Abakristayo yattibwa
omufuzi Pontiyo Piraato, eyali omufuzi mu Bayudaaya, mu kiseera eky'okufuga
kwa kabaka Tiberio omuruumi. Ebigambo byonna, n'amannya Tacitus by'atuwa
by'ebyo byennyini ne Bayibuli by'etuwa."
Omugenyi
yaddamu nga yeewuunya nti, "omusumba nali simanyi nti ebintu ng'ebyo
mu byafaayo by'ensi nabyo mwebiri."
Omusumba
n'amwongerako na kino nti: 'Njagala weetegereze nti mu mwaka nga ogwa
180 AD Celsus yawandika ekitabo ng'alumba abakristayo, alaga nti mu
kiseera ekyo abakristayo baali bafuuse ba maanyi nnyo omuntu yenna okulwana
nabo.
Omusumba
yagenda mu maaso n'amugamba nti: "Singa g'okyabuusabuusa, jjukira
nti enjiri enya nabyo byafaayo ebifaanana ng'ebitabo bino ebya bulijjo."
Omuvubuka
ono bwe yakikakasa nti ebyafaayo by'ombi; ebitukuvu n'ebyo ebya bulijjo
bikkiriziganya nti Yesu yabeerako ku nsi ng'omuntu, n'avaawo n'agenda
ng'amatidde nti ddala Yesu Kristo mu byafaayo mw'ali.
1.
KRISTO YALIWO OKUVA EMIREMBE GYONNA
Yesu
teyali muntu mulungi kyokka, naye ye Katonda. Yesu kennyini kiki kye
yayogera ku ebyo ebikwata ku bwa Katonda bwe?
"Singa
muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mu mutegera era
mumulabye
Alabye ku nze ng'alabye ku Kitange." - Yok 14:7-9.
Singa
oyagala okutegeera eky'okuddamu ku kibuuzo ekigamba nti: 'Katonda y'ani?'
Era afaanana atya? Tunula bulungi ku Yesu ayogera nti:
"Nze
ne Kitange tuli omu." - Yok 10:30.
Katonda
Kitaffe ne Yesu omwana baaliwo okuva emirembe gyonna (Bebbulaniya 1:8).
Tewabeerangawo kiseera Yesu lw'ataali wamu ne Katonda kitaawe. Kitaffe
alina okwagala kwe kumu era n'okufaayo kwe kumu eri buli muntu, ng'okwo
okwalagibwa Kristo mu kiseera kye kyeyamala ng'ali ku nsi.
2. KRISTO, OMUTIMA GW'EBYAFAAYO ERA N'OBUNNABBI
Okuva
ng'obulamu bwa Kristo bwe butuukiriza obunnabbi, ebikwata ku bulamu
bwe byali byawandiikibwa dda nga tannaba kuzaalibwa. Obunnabbi obw'Endagaano
Enkadde bulaga bulungi obulamu bwa Kristo, okufa kwe, n'okuzuukira kwe
nga tebinnabaawo. Endagaano Empya bye byafaayo by'obulamu bwe ebituukiriza
ebyayogerwa edda. Okuviira
ddala mu myaka nga bitaano okutuusiza ddala emyaka lukumi mu bitaano
emabega nga Kristo tannaba kuzaalibwa, bannabbi ab'Endagaano Enkadde
emirundi mingi baalagulanga ebyo byennyini ebyali ku bulamu bwa Kristo.
Okuviira ddala ku ntandikwa y'omulimu gwa Kristo ku nsi, abantu bwe
bagerageranyanga obulamu bwe n'ebyo ebyalangibwanga mu bunnabbi obw'Endagaano
Enkadde kiki kye baakakasa?
"Tulabye
oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, - Yesu, omwana wa
Yusufu, ow'e Nazaalesi." - Yokana 1:45.
Omulokozi
waffe naye yajuliza ku kutuukirira kw'obunnabbi okukakasa bw'ali oba
ekyo kye yali.
"Nasookera
ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna
(Endagaano Enkadde) ebyamuwandiikirwa ye." - Luka 24:25-27.
Okutuukirira
kw'obunnabbi kuwa obujulizi obumatiza nti Yesu ye Kristo omununuzi eyasuubizibwa.
3.
OBULAMU BWA YESU KRISTO KWALI OKUTUUKIRIRA KW'OBUNNABBI
Leka
tulabe obumu ku bunnabbi buno okuva mu Ndagaano Enkadde era n'okutuukirizibwa
kwabo mu Ndagaano Empya.
EKIFO
KY'OKUZAALIBWA KWE
Obunnabbi obw'omu Ndagaano Enkadde bugamba nti:
"Naye ggwe BESIREKEMU Efulasa; ggwe omuto
okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu
Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo."
- Mikka 5:2.
Okutuukirira kwabwo mu Ndagaano Empya:
"Awo Yesu bwe yazaalibwa mu BESIREKEMU
eky'e Buyudaya." - Matayo 2:1.
OKUZAALIBWA
KWE N'OMUWALA EMBEERERA
Obunnabbi oby'omu Ndagaano Enkadde bulaga nti:
"Laba, OMUWALA ATAMANYI MUSAJJA aliba
olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri.
- Katonda ali naffe." - Isaaya 7:14.
Okutuukirira kwakyo mu Ndagaano Empya.
"Yusufu omwana wa Daudi, totya kutwala
Maliyamu mukazi wo, KUBANGA OLUBUTO LWE LWA MWOYO MUTUKUVU. Naye alizaala
omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye Yesu - MUKAMA alokola.
Kubanga ye y'alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe." - Mat 1:20-23.
OKUZAALIBWA
KWE MU LUNNYIRIRI LWA YUDA
Obunnabbi mu Ndagaano Enkadde bugamba nti:
"EFFUMU LYA KABAKA (ENTEBE YA KABAKA)
TERIIVENGA KU YUDA
okutuusa Siiro lwallijja." - Luberyeberye
49:10.
Okutuukirira kwabwo mu Ndagaano Empya wagamba nti:
"Kubanga kitegeerekese nga MUKAMA WAFFE
YAVA MU YUDA." - Abebbulaniiya 7:14.
OKUGAANIBWA
KWE
Obunnabbi mu Ndagaano Enkadde bulaga nti:
"Yannyoomebwa N'AGAANIBWA abantu."
- Isaaya 53:3.
Okutuukirira kw'obunnabbi obwo mu Ndagaano Empya:
"Yajja mu matwale ge, naye ABAALI MU MATWALE
GE TEBAAMUSEMBEZA." - Yok 1:11.
OKULIIBWAMU
KWE OLUKWE N'OMUWENDO GW'ENSIMBI ZE BAAMUSASULA
Obunnabbi mu Ndagaano Enkadde bugamba nti:
"Era ne MUNNANGE MUKWANO GWANGE NZE, gwe
nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, ansitulidde ekisinziiro kye."
- Zabbuli 41:9.
"Ne mbagamba nti oba kirungi mu maaso ga mmwe, mumpe empeera yange;
naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange EBITUNDU
ASATU EBY'EFFEEZA." - Zekkaliya 11:12.
Okutuukirira kwabyo mu Ndagaano Empya:
"Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa
Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, n'agamba nti mukkiriza
kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya FFEEZA
AMAKUMI ASATU." - Matayo 26:14,15.
OKUFA
KWE KU MUSALABA
Obunnabbi obw'omu Ndagano Enkadde bulanga nti:
"Bampummudde ENGALO ZANGE n'ebigere byange."
- Zabuli 22:16.
Okutuukirira kw'obunnabbi obwo mu Ndagaano Empya:
"Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga,
ne BAMUKOMERERA AWO." - Luka 23:33. (Yongera okusoma
Yokana 20:25).
OKUZUUKIRA
KWE OKUVA MU NTAANA
Obunnnabbi obw'Endagaano Enkadde bugamba nti:
"Kubanga TOLIREKA MMEEME YANGE MU MAGOMBE;
so toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda." - Zabbuli 16:10.
Okutuukirira kw'obunnabbi obwo mu Ndagaano Empya:
"Bwe yalaba oluberyeberye, n'ayogera ku
kuzuukira kwa Kristo nga TEYALEKEBWA MU MAGOMBE so nga n'omubiri gwe
tegwavunda, Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, ffenna ffe bajulirwa."
- Ebikolwa by'abatume 2:31,32.
Obujulirwa bwa maanyi nti Yesu teyaliiwo kutuukiriza obumu ku bunnabbi.
Obulamu bwe bwawandiikibwa dda ne nkola ey'omu ggulu. Mu mazima, Yesu
mwana wa Katonda. Nga tumaze okulaba ku bujulirwa obwo, twetaaga okusaba
okw'okumalirira ku ani anabeera Mukama ow'obulamu bwaffe. Singa nga
kino tokikolanga, nkusaba oteeke obulamu bwo mu mikono gya Yesu.
4.
OBULAMU BWATEEKEBWATEEKEBWA KATONDA
Yesu
yabeera mu bulamu obwateekebwateekebwa Katonda, obwo obwalagibwa ebikumi
by'emyaka emabega nga tannazaalibwa. Bulijjo ng'amanyi ensonga eno,
yabeeranga mwangu eri obukulembeze bwa Katonda. Kristo yagamba nti:
"So
nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza
Kubanga nkola bulijjo by'asiima." - Yok 8:28,29.
Katonda
yateekateeka obulamu obw'omuntu obwa Yesu nga tanaaba kuzaalibwa era
Katonda alina enteekateeka eya buli muntu. Amanyi buli omu ku ffe ky'ayinza
okutuukiriza mu kwetaaga kwaffe okw'omu nda era ne tufuna obulamu obungi.
Ray
bulijjo teyali mukakafu nti yeetaaga okugondera enteekateeka ya Katonda.
Naye bwe yatuuka ku kusalawo okukulu okw'okulondawo essomero gy'anaagenda
okusomera, mu kiseera kino, nga gwe mulundi gwe ogusooka mu bulamu yasalawo
okunoonya obukulembeze bwa Katonda. Yasabira ennaku eziwerako era n'agezako
okuwuliriza okuddibwamu. Oluvannyuma lw'ekiseera yafuna ensonga ezitegerekeka
entuufu lwaki yali ateekwa okulonda Option B, kubanga ebisale byalyo
byali wansi, ate nga ddene bulungi ate nga teririmu kyekubiira. Nga
yakamala okutandika okuyiga yakwanagana n'abakristayo abeewuunyisa,
abaali mu kibiina ekiyitibwa Campus Crusade ekya Kristo. Mu myaka ebiri
emirala egyaddirira yafuna okukyuka okw'ekitalo mu bulamu bwe.
Mu
kiseera kino, Ray bw'atunula emabega yeetegereza nti buli kiseera ayolekedde
okulondawo okukulu, era n'anoonya obukulembeze bwa Katonda. 'Katonda
yaggulawo essuula empya ey'obulamu bwange' Ray bw'atyo bwe yagamba.
Tusobola
tutya okutegeera enteeketeeka ya Katonda olw'obulamu bwo? Katonda akulembera
abantu ng'abayisa mu makubo mangi:
(1) BAYIBULI
Okusinziira ku muwamdiisi wa Zabbuli kitabo ki ekikulembera obulamu?
Agamba bwati:
"Ekigambo kyo y'etabaaza eri ebigere byange
n'omussana eri ekkubo lyange." - Zabbuli 119:105.
Ekigambo kya
Katonda kizza bugya ebirowoozo byaffe era ne kituwa okulaba (Balumi
12:2, Zabbuli 119:99). Okuyiga okw'okusaba okwa buli lunaku mu byawandiikibwa
ebitukuvu ly'ekkubo erisingira ddala obulungi.
(2) EBIKOLWA BYA KATONDA
Katonda era naye atukulembera ng'ayita mu bikolwa bye eby'obwakatonda
by'ateeseteese. Zabbuli eya 23 emulaga mu kifaananyi eky'omusumba omulungi.
Omusumba akulembera endiga ze okuziyisa mu malundiro ag'omuddo omulungi
ne mu nkonko ez'amayinja. Tulina omusumba bulijjo ali okumpi ku lusegere
lwaffe.
(3) KATONDA OKWOGERA OBUTEREEVU ERI OMUTIMA
Katonda atukulembera ng'ayogera buterevu eri ebirowoozo byaffe. Omwoyo
ayinza okuwa omusana "amaaso ag'omutima gwammwe" (Abaefeso
1:18). Gye tukoma okussa mu nkola okwogera ne Katonda gy'akoma okutukulembera.
Azimba ebirowoozo awamu n'okutegeera kwaffe, era n'okutegeera tube abasobola
okulaba bulungi eddaala eriddirira lye tuggwanye okulinnyako.
5.
EBIKULEMBERA BITEEKWA OKUKKIRIZIGANYA
Kisoboka
omuntu okulowooza nti ali mu bulamu obwateekebwateekebwa Katonda so
nga agobeerera obukyamu bwe na birowoozo bye (Ngero 16:25). Okwewulira
kwaffe mu mibiri kuteekwa okuba nga kukkiriziganya n'enjigiriza ya Bayibuli.
Tuba tetunafuna mirembe bwe tugamba nti Katonda atukuulembedde okugggyako
nga ebitukulembera ebisatu bikkiriziganya.
Twala
Jake nga ky'eky'okulabirako: Yalina omukyala omwagalwa era n'abaana
baabwe babiri, naye ate eky'ennaku n'akwanayo omukazi omulala. Olwo
n'alyoka agamba mikwano gye nti: "ekyo nnakisabidde era muli mpulira
okwo kwagala kwa Katonda."
Engeri
Jake gye yeewuulira mu era n'okutegeera kwe okw'omu nda kiteegerekeka
bulungi nti bye byamussa wansi mu kkubo ekyamu. Yakirowooza nti kyali
kikolwa kya Katonda okusisinkana n'omukyala we ow'okubiri era teyaddayo
mabega kujjukira nti Bayibuli ewakanya obwenzi. Era Bayibuli "amateeka
n'obujulirwa," ky'ekitabo eky'obuyinza ekitukulembera, era omulamuzi
asembayo olw'okusalawo eky'okukola ekituufu (Isaaya 8:20). Tetuuteekwa
kukkiriza ekirowoozo kyonna oba ekikolwa ekirabika ng'ekya Katonda okutukulembera
okutuggya ku mateeka ga Bayibuli.
6. GONDERA ENTEEKATEEKA YA KATONDA
Sitaani
bwe yajja okukema Yesu mu ddungu, yamuleetera ekirowoozo nti: "Singa
nga oneewala ssaddaaka ey'obuuami Kitaawo gye yakuteekerateekera, nja
kukuwa ensi yonna mu mukono gwo - ng'olina etutumu, emikisa, era obulamu
obujudde emirembe." Sitaani n'okkujuliza yajuliza n'ebyawandiikibwa
okugezako okukulembera Yesu okumukyamya. Naye buli kiseera Yesu yamulwanyisanga
n'ekigambo nti "Kyawandiikibwa" (Matayo 4:1-11).
Eky'okuyiga
kimu eky'obuyinza kye tusobola okuyiga okuva ku bulamu bwa Yesu; kwe
kugondera okwagala kwa kitaawe. Newankubadde bwe yali mu bulumi obw'ekitalo
obw'omu Gesessumani, yeegayirira nti, "Ayi Kitange, ekikompe kino
kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala, wabula nga gwe
bw'oyagala" (Matayo 26:39). Oluvannyuma lw'emyaka esatu egy'okuweereza
kwe, buli lunaku ng'ali bumu n'enteeketeeka ya Kitaawe. Yesu ng'afa
ebigambo bye byali nti: "Kiwedde" (Yok 19:30). Mu butuufu
Yesu yali agamba nti, "obulamu bwange Katonda bweyanteekerateekera
kaakano mbumaliriza era mbutuukirizza."
Nga
otandika okuwulira eddobozi lya Katonda nga lyogera mu ngeri etegeerekeka
okuyita mu kigambo kye, ne mu bikolwa ebya Katonda, era ne mu birowoozo
byo; okyasobola okuyiga okukkiriza obukulembeze bwe n'omutima gwo gwonna.
Era naawe okyasobola okuzuula essanyu ery'obulamu bwo obwateekebwateekebwa
era ne bukulemberwa Katonda.