OBULAMU BWANGE MAZIMA DDALA BULINA AMAKULU ERI KATONDA?

Ennaku ezimu ensi efaananako olusuku lwa Katonda. Bw'ogolokoka ku makya ne weegolola mu ddirisa, n'otunuulira ebweru ng'akasana nga kamasamasa ku malagala g'emiti. Ebiseera ebimu obulamu bulabika nga bwa muwendo, bw'otunuulira amaaso g'ow'omukwano omwagala ng'akusiibula, bw'owuliriza akayimba akasingira ddala obulungi k'owulira nga kakutuuse mu Mwoyo, bw'olaba okwagala kw'omwana omuto kw'obadde tosuubira.

Naye ate ennaku endala, ensi n'efuuka ekifo eky'entiisa. Bw'ogolokoka n'osoma omutwe gw'amawulire nga gyogera ku mutemu eyasudde bbomu n'eyonoona ebintu oba n'etta oba n'egyamu omwana amaaso. Ate era n'osoma ku mutemu omulala eyasse abantu ekkumi, amawulire amalala ga njala, amalala ga ntalo zzisabyalo, n'amalala ga musisi. Waliwo ebiseera obutaliimu bwe buyitirira, nga buli kintu tekifaanana bulungi.

Bino byonna bitegeeza ki? Tusobola okutegeera ebikuuno, n'ebikolobero eby'ensi yaffe ey'ekyamagero? Lwaki tuli wano? Obulamu bwange ddala bulina amakulu eri Katonda oba ndi akantu akatono ennyo mu bwaguuga bw'ensi?

1. KATONDA YATONDA ENSI ETUUKIRIDDE

Katonda ye mutonzi, omukubi wa pulani, omusiizi w'ebifaananyi ebya buli kintu, okuva ku mmunyeenye okutuuka ku biwawatiro by'ebiwojjolo. Agamba bwati:

"Katonda yalagira, eggulu ne litondebwa, ebiririmu byonna byakolebwa na kigambo kye… kubanga yayogera ensi n'ebaawo, yalagira n'enywera." - Zabbuli 33:6-9.

Katonda yalina kwogera bwogezi olwo ebintu byonna byagondera kye yali ayagala.

2. ENNAKU OMUKAAGA MWE YATONDERA ENSI YAFFE

"Kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu; Mukama kyeyava aluwa Omukisa olunaku olwa Ssabbiiti, n'alutukuza." - Kuva 20:11.

Katonda ow'emirembe n'emirembe, omutonzi ow'obuyinza bwonna, yandisobodde okutonda ensi mu ddakika buddakika "ng'akozesa omukka ogw'omukamwa ke." Naye katonda yalondawo ennaku mukaaga - eddakiika omukaaga oba esekendisi mukaaga byandibadde abimala. Essuula esooka mu Bayibuli mu kitabo kya Luberyeberye 1, ennyonnyola ebyo katonda bye yatondanga buli lunaku mu wiiki ey'obutonzi.

Kitonde ki ekisinga obukulu eky'entikko ey'obutonzi, katonda kye yatonda ku lunaku olw'omukaaga?

"KATONDA N'ATONDA OMUNTU MU NGERI YE, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera: OMUSAJJA N'OMUKAZI BWE YABATONDA." - Luberyeberye 1:27.


WIIKI EY'OBUTONZI
OLUNAKU OLUSOOKA: Obutangavu. Enkola ey'ekiro n'emisana
OLUNAKU OLW'OKUBIRI: Ebbanga ery'ensi
OLUNAKU OLW'OKUSATU: Olukalu n'ebimera
OLUNAKU OLW'OKUNA: Enjuba n'omwezi byalabika
OLUNAKU OLW'OKUTAANO: Eby'ennyanja era n'ennyonyi
OLUNAKU OLW'OMUKAAGA: Ensolo ez'oku nsi n'omuntu
OLUNAKU OLW'OMUSANVU: Ssabbiiti


Katonda yasalawo okutonda omuntu amufaanana, nga ye kennyini asobola okulowooza, okulumwa, n'okwagala. Buli yatondebwa muntu mu "kifaananyi" kya Katonda.

Ennaku omukaaga bwe zaggwaako ensi yali ejjudde ebimera era n'ebisolo olwo ne Katonda n'ayanjula ekitundu ekisinga obukulu eky'obutonzi bwe. Okusinziira ku Luberyeberye 2:7. Katonda ayinza byonna yatonda omubiri gwa Adamu ng'agujja mu nfuufu ey'o ku nsi. Bwe kityo Katonda bwe yafuuwa mu nnyindo ze "omukka ogw'obulamu" omuntu n'afuuka "omukka omulamu" - kitegeeza n'aba n'obulamu. Katonda n'atuuma omuntu eyasooka gwe yatonda mu kifaananyi kye Adamu. Ekigambo ekitegeeza nti "omusajja" era n'omukazi eyasooka n'amutuuma Kaawa ekitegeeza "obulamu" (Lub 2:20,3:20). Katonda ow'okwagala yalaba obwetaavu bw'omuntu obw'okubeera n'ow'omukwano.

Nga balamu tebaliiko kamogo okuva mu mukono gwa Katonda, Adamu ne Kaawa bombi baali balaga ekifaananyi kya Katonda. Katonda yandisobodde okukola ebitonde ebiringa Roboti nga bitambula nga bimativu mu lusuku lwa Katonda Adeni era nga buli kiseera byogerera waggulu nga bimutendereza. Naye Katonda yayagala ekisingako awo - enkolagana ey'amazima. Roboti eyinza okuseka, okwogera, ne wankubadde okwoza essowani, naye tezirina kwagala, era tezisobola kwagala.

Katonda yatutonda mu kifaananyi kye nga tulina obuyinza okulowooza, era n'okweronderawo eky'okukola, okujukira, okutegeera era n'okwagala. Adamu ne Kaawa baali baana ba Katonda era mu ngeri gye tutasobola kukinnyonyola baali ba muwendo gy'ali.

3. EKIBI KIJJA MU NSI ETUUKIRIDDE

Adamu ne Kaawa baalina buli kintu kyonna ekisobola okubasanyusa. Baasanyukiranga obulungi obutuukiridde obw'omubiri, obulamu obwebirowozoobutaliimu ndwadde obw'Omwoyo, nga bali mu lusuku olw'amaka gaabwe mu nsi eteriiko kabi (Luberyeberye 2:8; 1:28-31). Katonda yabasuubiza abaana era n'obuyinza okulowooza, okutetenkanya, balyoke bafune essanyu n'okumatizibwa mu mirimu egy'emikono gyabwe (Lub 1:28; 2:15). Baali nga balabagana amaaso n'amaaso n'omutonzi waabwe. Tewaaliwo kweralikirira kwonna, okutya, yadde obulwadde okwonoona ennaku zaabwe ezaali zijjudde essanyu.

Ensi yafuuka etya ekifo eky'okubonnabona n'emitawaana? Essuula ey'okubiri n'ey'okusatu ey'ekitabo kya Luberyeberye zitutegeeza engeri yonna ekibi gye kyayingira mu nsi yaffe. Nsaba essuula zino ozisome mu kiseera kyo eky'eddembe. Mu bufunze bino by'ebirimu.

Katonda ng'amaze okutonda ensi etuukiridde omulabe yagya mu lusuku Adeni okukema Adamu ne Kaawa okujeemera omutonzi waabwe. Katonda omulimu gwa Setani ogw'okusikiriza yaguteeka ku muti gumu mu lusuku, "omuti ogw'okumanyanga obulungi n'obubi." Era yalabula abantu ababiri abasooka okwewala omuti ogwo, era n'obutalyanga ku bibala byagwo, bwe kitaba bwe kityo baali ba kufa.

Naye olunaku lumu Kaawa yatambula n'atuuka okumpi n'omuti ogwali gwabagaanibwa. Omulabe mangu ago yatandikirawo okukola omulimu gwe. Yamugamba nti Katonda yamulimba nti singa alirya ku bibala by'omuti alifa. Naye yali wa kufuuka mugezi nga Katonda yennyini bwali. Eky'ennaku, Kaawa, ate oluvannyuma ne Adamu, abaali bamanyi obulungi bwokka, bakkiriza omulabe Setaani okubasomesa, era ne bakkiriza okulya ku muti ogwabagaanibwa - bwe batyo ne bamenya endagaano yaabwe ey'obwesige n'obuwulize eri Katonda.

Katonda yali ateeseteese Adamu ne Kaawa "okufuga" ensi eno ng'abawanika b'emirimu gya Katonda gye yatonda (Lub 1:26). Naye kubanga baamenyawo obwesigwa bwabwe eri Katonda, ne balonda Setaani okuba omukulembeze waabwe omuggya, abantu abo baafiirwa obuyinza bwabwe. Mu kiseera kino Setaani akaayanira ensi eno ng'eyiye era agezaako okukola kyonna ky'asobola okufuula abantu abagiriko nga baddu be.

Waliwo ebiseera bingi lwe twesanga nga ebintu tubikola n'omutima gw'okwerowoozako n'oluusi mu bukambwe naye nga mu mazima ddala si bwe twandyagadde okubikola. Lwaki? Kubanga omulabe oyo Setaani atalabika akola okulemesa abantu mu mpisa zaabwe.

Bw'osoma essuula eya Luberyeberye 3, ojja kukizuula nti ekibi ky'aleetera Adamu ne Kaawa okutya n'okwekweka okuva mu maaso ga Katonda, Ekibi kyayingira mu bitonde byonna. Kyova olaba nga ku bimuli ebirungi kuliko amaggwa. Ettaka awatali mazzi lyonooneka era n'okukola kufuuka omugugu. Endwadde zatandika okutuluma ffena. Obuggya, obulabe, n'omulugube bya yongera ku nnaku y'omuntu. N'ekisingira ddala byonna, awamu ne kibi okufa kwajja.

4. SITAANI OYO AYONOONA ENSI YAFFE N'EKIBI Y'ANI?

Agamba bw'ati: "OKUVA KU LUBERYEBERYE YE MUSSI… Kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba ERA KITAAWE W'OBULIMBA." - Yokana 8:44.

Okusinziira ku njigiriza ye Yesu, Sitaani ye mutandisi w'ekibi, mu nsi yonna era omussi era omulimba

Tomasi Carlyle, omusajja kalimagezi omungereza omulundi ogumu yatwala Ralph Waldo Emerson mu zimu ku nguudo ezisinga obubi mu London. Bwe baali nga batambula, nga basirise nga bagenda beetegereza obubi obuli mu kibuga; oluvannyuma Carlyle n'abuuza munne nti: "Kaakano okkiririza mu Sitaani?"

5. KATONDA YATONDA SITAANI?

Nedda! Katonda omulungi teyanditonze Sitaani. Era ne Bayibuli egamba nti Sitaani awamu ne bamalayika be yalimba, baafiirwa ekifo kyabwe mu ggulu ne bajja ku nsi yafe eno.

"Ne waba OLUTALO MU GGULU. Mikaeri ne bamalayika be nga batabaala okulwana n'ogusota; OGUSOTA NE GULWANA NE BAMALAYIKA baagwo; ne batayinza, SO NE WATALABIKA KIFO KYABWE NATE MU GGULU. N'ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw'edda. Oguyitibwa omulyolyomi era Setaani, omulimba w'ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo ne basuulibwa nagwo." - Kubikkulirwa 12:7-9.

Setaani yatuuka atya mu ggulu mu kifo ekisooka?

Agamba bwati: "Wali KERUBI eyafuukibwako amafuta Abikkako: era nze nnakusimba n'okubeera n'obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu' wali NG'OTUUKIRIDDE MU MAKUBO GO KU LUNAKU KWE WATONDERWA okutuusa OBUTALI BUTUUKIRIVU LWE BWALABIKA MU GGWE." - Ezeekyeri 28:14,15.

Katonda teyatonda Sitaani, yatonda Lusifa malayika, omu ku bamalayika abakulembera, eyayimiriranga okumpi n'entebe ya Katonda. Naye bwe yaayonoona obutali butukirivu bwasangibwa "mu ye." Yagobebwa mu ggulu, era yeefula nga mukwano gwa Adamu ne Kaawa, naye oluvannyuma ye mulabe w'omuntu asingira ddala obubi.

6. LUSIFA MALAYIKA ONO OMUTUUKIRIVU LWAKI YAYONOONA?

Agamba bwati: "NG'OGUDDE OKUVA MU GGULU ggwe emmunyeenye ey'enkya, omwana w'enkya! NG'OTEMEDDWA OKUTUUKA KU TTAKA… oyogera mu mutima gwo nti ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za Katonda… NDIFAANANA OYO ALI WAGGULU ENNYO." - Isaaya 14:12-14.

Ekitonde ekyafuuka Sitaani oluberyeberye yali ayitibwa Lusifa ekitegeeza "emmunyeenye ey'enkya" ba "omuntu amasamasa." Mu mutima gwa malayika ono, okwerowoozako n'okwegomba byatandika okutwala ekifo ky'okwagala. Ensigo ey'amalala yamera mu ye n'etwala ekifo kya Katonda.

Lusifa ateekwa okuba nga yakola nnyo okusendasenda ebitonde ebirala eby'omu ggulu. Kyangu okuteebereza Setaani awa ensonga ze nti Katonda yali alina ebintu by'akweka era nti n'amateeka ga Katonda gaali makakali nnyo, era nti Katonda yali mufuzi atabafaako. Yavuma Katonda oyo alina empisa ezinnyonyola okwagala kye kitegeeza.

Olutalo luno mu ggulu lwaggwaawo lutya?

"Omutima gwo gwagulumizibwa olw'obulungi bwo… kusudde wansi." - Ezeekyeri 28:17.

Amalala gaafuula malayika era omukulu wa bamalayika okuba omulabe oba Setaani. Olw'okukuuma enkola entuufu n'emirembe n'obweggaffu mu ggulu, ye ne bamalayika ekimu eky'okusatu ab'omu ggulu, be yajeemesa, baali balina okugobwa mu ggulu (Kubikkulirwa 12:4,7-9).

7. ANI AVUNAANYIZIBWA OLW'EKIBI?

Lwaki Katonda teyatonda ekitonde ekitasobola kwonoona? Singa bw'atyo bwe yakola mu kiseera kino tewandibaddewo mutawaana ogw'obubi mu nsi yaffe. Naye Katonda yayagala abantu abaali basobola okubeera n'enkolagana erimu amakulu. "Bw'atyo Katonda n'atonda omuntu mu kifaananyi kye" (Luberyeberye 1:27). Kino kitegeeza nti tuli ba ddembe era tuvunanyizibwa. Tukyasobola okusalawo okwagala Katonda oba okumukuba amabega.

Katonda, bamalayika awamu n'abantu ab'emirembe gyonna yabawa obuzaaliranwa obw'Omwoyo era n'obuyinza okweronderawo ekituufu.

Agamba bwati, "Mulonde leero gwe munaawerezanga." - Yoswa 24:15.

Katonda ayita abantu beyatonda mu kifaananyi kye okulondawo okukola ekituufu kubanga ebirowoozo byabwe bibategeeza nti: "amakubo ga Katonda ge gasinga obulungi." Era n'okukyuka okuva mu bukyamu kubanga ebirowoozo byabwe bibalumiriza nga bibarabula olw'ebyo ebiva mu bujeemu n'ekibi.

Ebitonde byokka ebirina amagezi ag'okulowooza era n'okulondawo eky'okukola bye byokka ebisobola okubeera n'okwagala okutuufu. Katonda yayagala okutonda omuntu oyo asobola okutegeera era n'okusanyukira empisa ze, ng'ali mu ddembe nga tewali mulala amuwaliriza, omuntu oyo n'ayagala Katonda, ate n'aba n'okwagala ne bantu banne. Katonda yayagala nyo okugabana okwagala kwe ekyenkaniddewo era n'atwala n'omutawaana omunene okutonda bamalayika n'abantu abalina obuyinza mu okwesalirawo eky'okukola. Yakimanya nti kyali kisoboka olunaku olumu mu ggulu ekitonde kye okulondawo okugaana okumuwereza. Ne Setaani kye kitonde ekyasooka mu ggulu ne ku nsi okukola okulondawo kuno okw'ekitalo. Omutawaana ogw'ekibi Setaani ye yagutandika (Yokana 8:44, 1 Yokana 3:8).

8. OMUSALABA GWE GUSOBOLA OKUZIKIRIZA EKIBI

Lwaki Katonda teyazikiriza Lusifa ng'endwadde ye ey'ekibi tenasobola kusaasana? Lusifa yali amaze okusomoza obwenkanya bwa gavumenti ya Katonda. Yali amaze okulimba (abantu) ku bikwata ku Katonda. Singa amangu ago Katonda yazikiriza Lusifa bamalayika banditandise okumuweereza lwa kumutya so si lwa kumwagala. Kino nno kyandibadde nga kijeewo ekigendererwa kya Katonda olubereberye ekyamutondesa ebitonde ebirina obuyinza okweronderawo eky'okukola.

Omuntu mu mazima ayinza atya okumanya nti ekkubo lya Katonda lye lyali lisingira ddala obulungi? Katonda yawa Lusifa ekiseera okuteeka mu lwatu enkola ye eyo ewakanya eya Katonda. Eno y'ensonga lwaki yafuna omukisa okukema Adamu ne Kaawa.

Ensi eno yafuuka ekifo awagezesebwa empisa za Setaani n'ez'obwakabaka bwe nga buwakanagana ne mpisa za Katonda n'ez'obwakabaka bwe. Ani mutuufu? Ani gwe tusobola okwesigira ddala. Obulimba bwa Lusifa bwagenda wala ekyenkaniddewo, kubanga kitutte ekiseera kiwanvu ebitonde ebiri mu ggulu ne ku nsi okumatira obubi obwenkola ye bwe buli. Naye ekirivamu ku nkomerero buli muntu agenda kukiraba nti: "empeera y'ekibi kwe kufa" era nti "ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwawo mu Kristo Yesu Mukama Waffe" (Balumi 6:23).

Olwo ebitonde byonna eby'eggulu n'ensi bigenda kukkiriza nti:

"Bikulu era bya kitalo ebikolwa byo, Mukama Katonda, omuyinza w'ebintu byonna; ga butuukirivu era ga mazima amakubo go, ggwe kabaka ow'emirembe n'emirembe… kubanga amawanga gonna galijja era galisinziza mu maaso go; kubanga ebikolwa byo eby'obutuukirivu birabise." - Kubikkulirwa 15:3,4.

Nga buli mumtu amaze okutegeera obubi obw'ekibi era n'okuzikiriza okw'amagezi ga Setaani, olwo Katonda lw'alisobola okuzikiriza Setaani n'ekibi. Era agenda kuzikiriza n'abo abagaana ekisa kye n'ebalondawo okwesiba ku Setaani.

Katonda mutuukirivu, mu kiseera kye kimu ayagala nnyo okumalawo omutawaana ogw'ekibi n'okubonnabona senga nga tumukkiriza okukikola. Naye akyalinda okutuusa lw'anaakikola ku nkola ey'emirembe n'emirembe, era okutuusa lw'anaasobola okukuuma eddembe lyaffe ery'okwesalirawo era aziyize ekibi obutaddayo kulabika omulundi omulala.

Katonda yasuubiza okuzikiriza ekibi emirembe n'emirembe ng'alongoosa eggulu n'ensi n'omuliro. Naye nga bwe yasuubiza
"tusubira eggulu eriggya n'ensi empya, obutuukirivu mwe butuula" (2 Petero 3:10,13). Ekibi tekigenda kuddayo mulundi mulala okubonyaabonya ensi. Ebibi ebyava mu kibi bigenda kuba nga bitegeerekeka bulungi olwo okujeemera Katonda kigenda kulabika ng'ekyennyinyalwa emirembe gyonna.

Ani alisobozesa okuzikirira okw'enkomerero okwa Setaani n'ekibi okubeerawo?

Agamba bwati: "Kale kubanga abaana bagatta omusaayi n'omubiri, era naye yennyini (KRISTO) bw'atyo yagatta ebyo; olw'okufa alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag'okufa, ye Setaani; era alyoke abawe eddembe abo bonna abali mu buddu obulamu bwabwe bwonna olw'entiisa y'okufa." - Bebulaniya 2:14,15.

Ku musaalaba bamalayika n'ensi endala ezitayoonoonangako zalaba Setaani ne zitegeera ki kyali - omulimba, omussi. Eyo empisa ze entuufu gye zabikkulirwa bwe yawaliriza abantu okutta omwana wa Katonda ataliina musango. Ebitonde byonna eby'omu ggulu lyonna ne ku nsi byalaba obusiru n'obukambwe bw'ekibi bwe buli. Mu bujjuvu, omusaalaba gwabikkula ebigendererwa bya setaani era Katonda bw'alizikiriza Setaani awamu n'abo abagugubidde mu kibi bonna bagenda kukakasa nti Katonda Mutuukirivu.

Okufa kwa Yesu Kristo ku musaalaba kwayanika mu lwatu eri ebitonde byonna ekigendererwa kya Setaani ekituufu - (Yokana 12:31,32). Ate era omusaalaba gwabikkula Kristo nga bwali - omulokozi w'ensi. E Ggologosa, amaanyi ag'okwagala gavaayo bulambalamba nga goolekedde okwegomba obuyinza. Omusaalaba awatali kubuusabuusa gwakakasa nti okwagala okw'okwewaayo Katonda mw'asinzira mu byonna by'akola okukolagana ne Setaani ne kibi awamu n'abantu abonoonyi abasajja n'abakazi.

Ku musaalaba Kristo yakiraga mu lulimi olutegeerekeka okwagala kwa Katonda okutasosola okwawangulira ddala Setani. Olutalo lwali nti ku Kristo ne ku setaani ani ateekwa okufuga ensi eno. Kino omusaalaba gwa kikakasa emirembe gyonna. Ateekwa kubeera Kristo.

Wali ozuude enkolagana n'omulokozi eyafa okulaga okwagala kwe okutasingika era okutakyuka? Muli okiwulira otya ku muntu eyaggya ku nsi yaffe ng'omuntu era n'afa mu kifo kyo alyoke akulokole okuva mu ebyo ebyava mu kibi? Nsaba mu kiseera kino okoteke ku mutwe gwo weebaze Yesu era omusabe ajje mu gwe, mu bulamu bwo akwetwalire.

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy