TUYINZA OKUKKIRIRIZA MU BAYIBULI

Ba kyewaggula abamanyifu ennyo abaasanyaawo ekyombo ekya Bangereza ekiyitibwa Bounty, nga bali ne bakyala baabwe beesanga nga basenze ku kizinga okutaali bantu ekiyitibwa Pitcairn mu maserengeta ge liyanja Pacific. Ekibinja kino kyalimu Abangereza abalunnyanja mwenda, abasajja aba Tahitian mukaaga, n'abakyala aba Tahitian kkumi n'omuwala omu ow'emyaka ekkumi n'ettano. Nga bali ku kizinga ekyo, omu ku balunnyanja yazuula engeri gy'ayinza okusogola omwenge era mangu ddala obutamiivu bwayonoona ekizinga kyonna. Okulwanagana wakati w'abaami n'abakyala kwavaamu entalo.

Oluvannyuma lw'ekiseera waasigalawo omusajja omu ku abo abatuuka ku kizinga ekyo. Naye omusajja ono Alexander Smith, yazuula Bayibuli mu kabadda emu ey'engoye gye bajja mu kyombo. Yatandika okugisoma era n'okugiyigiriza abalala kye yali egamba. Bwe yakola kino, obulamu bwe ne bukyusibwa, n'eky'enkomerero n'obulamu obw'abantu bonna abaali ku kizinga ne bukyuka.

Abantu b'okukizinga kino baali beekutudde ku bantu ab'ebitundu ebirala eby'ensi okutuusa mu mwaka 1808 ekyombo kya Abamerica ekiyitibwa Topaz bwe kyatuuka ku kizinga ekyo. Abantu abakirimu baasanga ekizinga ekikulakulana, abantu baakyo nga tebaanywa mwenge, teri makomera era nga teri bazzi ba misango. Bayibuli yali ekyusiza obulamu bw'abantu b'okukizinga ekyo okuva mu geyeena ow'oku nsi okudda ku ky'okulabirako ekyo Katonda ky'ayagala ensi ebeere. Era ekizinga ekyo bwe kityo bwe kiri ne leero.

Katonda akyayogera eri abantu okuyita mu byawandiikibwa ebitukuvu ebya Bayibuli? Kino kituufu ddala aky'akikola. Nga nkyawandiika bino, ntunuulidde olupapula olw'eby'okuddamu olwatuweerezebwa omuyizi waffe ow'eby'okuyiga bino. Awandiise wansi w'olupapula olwo bw'ati: "Ndi mu kkomera, ku lukalala lw'abantu abo abaasalirwa omusango ogw'okufa. Bwe nnali nga sinnaba na byakuyiga ebya Bayibuli bino, nnali mbuze, naye kaakati nina ekintu kye ntunuulidde mu kiseera kyange eky'omu maaso era nnazuula okwagala okuggya."

Bayibuli erina amaanyi ago agasobolera ddala okukyusa obulamu bw'abantu. Mu mazima ddala, abantu bwe batandika okusoma Bayibuli, obulamu bwabwe bukyuka mu mpisa.

1. ENGERI KATONDA GY'AYOGERAMU NAFFE OKUYITA MU BAYIBULI

Omuntu omusajja n'omukazi abasooka, Adamu ne Kaawa, nga bamaze okutondebwa, Katonda yaayogeranga nabo nga balabagana amaaso na amaaso. Naye nga bamaze okwonoona, Katonda bwe yajja okubakyalira, abantu abo baakola ki?

Eky'okuddamu kigamba nti: "Ne bawulira eddobozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseera eky'empewo; omusajja ne mukazi we ne beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati mu miti egy'omu lusuku." - Lubereberye 3:8.

Ekibi kya yoonoona enkolagana ya Katonda ey'okulabagana n'omuntu amaaso ku maaso. Ng'ekibi kimaze okuyingira mu nsi Katonda yayogera nga atya n'abantu?

Agamba bwati: "Mazima Mukama Katonda taliiko ky'alikola wabula ng'abikulidde abaddu be banabbi ekyama kye." - Amosi 3:7.

Katonda tatulekanga mu kizikiza ku bintu ebikwata ku bulamu n'amakulu gaabwo. Okuyita mu bannabbi - abantu Katonda beeyayita okwogera n'okuwandiika ku lulwe - Katonda yatulaga eky'okuddamu eri ebibuuzo ebikulu ebikwata ku bulamu.

2. ANI EYAWANDIIKA BAYIBULI?

Bannabbi baayogeranga obubaka obwa Katonda era ne babuwandiika nga bakyali balamu, era ne bwe baafa ebiwandiiko byabwe byasigalawo. Nga Katonda abakulembedde, obubaka buno obwa bannabbi bwakung'anyizibwa awamu mu kitabo ekiyitibwa Bayibuli.

Naye obubaka obw'ebyawandiikibwa byabwe bino bikakafu kyenkanawa?

Addamu bw'ati: "Okusookera ddala, mutegeere kino nti buli kigambo ekya bannabbi ekyawandiikibwa tekyajja nga kiva mu kunnyonnyola okwa nnabbi. Kubanga obunnabbi tebuvanga mu kwagala kwa muntu naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu." - 2 Petero 1:20, 21.

Abawandiisi ba Bayibuli tebagiwandiikanga nga basinziira mu kwagala kwabwe, naye baawandiikanga nga bakulemberwa, oba nga balung'amizibwa Omwoyo wa Katonda. Bayibuli kitabo kya Katonda!

Mu Bayibuli Katonda atutegeeza ebikwata ku YE kennyini era n'atubikkulira ekigendererwa kye olw'olulyo lw'omuntu. Bayibuli etulaga ekigendererwa kya Katonda mu kiseera ekyayita, era n'etulaga n'ebiseera eby'omu maaso; n'etutegeeza engeri omutawaana ogw'ekibi bwe gugenda okumalibwawo era n'engeri emirembe gye gigenda okujja ku nsi yaffe eno.

Obubaka bwonna obwa Bayibuli bwava wa Katonda?

"Buli ekyawandiikibwa nga Katonda yakirungamya, era kigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kulung'amya ne mu kugunjula omuntu abe mutukirivu, omuntu wa Katonda alyoke abe ng'atuukiridde, ng'alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi." - 2 Timosewo 3:16, 17.

Bayibuli ekola ku bulamu bw'abantu ekigenda ewala, olw'ensonga nti Bayibuli yonna yalung'amizibwa, - Kitabo kya Katonda. Bannabbi baakwanaganya ebyo bye baalaba ne bye baawulira mu lulimi lw'omuntu, naye ng'obubaka bwabwe bwava buteerevu eri Katonda. N'olw'ekyo singa oyagala okumanya byonna obulamu kye buliko, soma ebyawandiikibwa ebitukuvu. Okusoma Bayibuli kujja kukyusa obulamu bwo. Gy'onookoma okusaba nga bw'ogisoma, gy'onookoma okufuna eddembe mu birowoozo byo. Omwoyo oyo eyalung'amya bannabbi okuwandiika Bayibuli ajja kukozesa engigiriza ya Bayibuli, enjiri yaamu, okukola okukyusa obulamu bwo singa onoomusaba okubeerawo ng'ogisoma.

3. OBWEGGAFU BWA BAYIBULI

Bayibuli mu butuufu tterekero lya bitabo enkaaga mu omukaaga. Ebitabo asatu mu omwenda (39) eby'omu Ndagaano Enkadde byakung'anyizibwa okuva mu mwaka ogwa 1450 BC okutuuka nga mu mwaka 400 BC, ate ebitabo abiri mu omusanvu (27), eby'omu Ndagaano Empya by'akung'anyizibwa wakati w'emyaka 50 AD okutuuka 100 AD.

Nnabbi Musa yatandika okuwandiika ebitabo ebitaano ebisooka ebya Bayibuli mabega eyo nga emyaka 1400 BC teginatuuka. Omutume Yokana yawandiika ekitabo kya Bayibuli ekisembayo - Kubikkulirwa, mu mwaka nga 95 AD. Mu myaka egyo 1,500 egyali wakati w'okuwandiikibwa kw'ekitabo ekisooka n'ekisembayo ebya Bayibuli, abantu abalung'amizibwa Omwoyo abawera nga 38 be baawandiika. Abamu baali bannekoreragyange, abalala baali basumba, abalala baali bavubi, abalala baali bannamagye, abalala basawo, abalala babuulizi ba njiri, abalala baali ba Kabaka - abantu abaava mu mbeera ey'obulamu obw'enjawulo. Emirundi egimu nga bava mu buzaaliranwa n'amagezi ag'enjawulo.

Naye wano we wali ekyewuunyisa ekya byonna. Ebitabo bino enkaaga mu omukaaga (66) eby'omu Bayibuli, nga birimu essuula 1,189, ne ennyiriri 31,173, zonna awamu, tubisanga birina obumu obutuukiridde mu bubaka bwe buwa abantu.

Ka tuteebereze nti singa omuntu azze n'akonkona ku lugi lwo, bw'omuggulirawo n'ayingira, omuntu oyo n'ateeka wansi ejjinja ery'omuwendo n'atambula n'agenda nga talina kigambo kyonna ky'ayogedde. Abagenyi abalala 40 nabo ne baddirira kinnomu nga buli omu ateekawo ejjinja eririko ennamba ey'enukuta.

Omugenyi asembayo bw'agenda, ekikwewuunyisa kwe kulaba ekifaananyi nga kiyimiridde mu maaso go. Naye ate n'okitegeera ng'abagenyi bali tewali eyali asisinkanye ne munne, nga bajja gyoli baava mu nsi ez'enjawulo, okugeza nga America, China, Russia, Africa, ne mu bitundu ebirala eby'ensi. Wandirowoozezza otya? Nti waliwo omuntu omu eyakola enteekateeka ey'ekifaananyi ekyo era n'awa buli muntu ekitundu ekituufu eky'enjawulo eky'ejjinja.

Bayibuli yonna awamu ewa obubaka obwegasse awamu - okufaananako ekifaananyi (ky'omuntu) ekituukiridde. Omwoyo omu eyateekateeka byonna gwe Mwoyo gwa Katonda. Obwegaffu obw'ekitalo obuli mu byawandiikibwa ebitukuvu butuwa obukakafu nti ne wankubadde abantu be baawandiikanga, naye baali balung'amizibwa Katonda.

4. OSOBOLA OKWESIGA BAYIBULI

(1) Okukuumibwa kwa Bayibuli nakwo kwewuunyisa. Ebiwandiiko byonna ebya Bayibuli ebyasooka byawandiikibwanga na ngalo - ng'ebyuma ebikuba ebitabo tebinavumbulwa. Abawandiisi baawandiikanga n'emikono nga bajja mu biwandiiko ebyasooka ebitabo era ne babisaasanyanga. Ebitabo eby'ekika kino oba ebitundu ku byo bingi bikyaliwo.

Ebiwandiiko bino eby'engalo z'abantu nga bya Ndagaano Enkadde nga biri mu lulimi olwebbulaniya eby'edda ennyo okuva nga mu myaka egye - 150 okutuusa 200 nga ne Kristo tanaaba kuzaalibwa byazuulibwa okumpi n'ennyanja enfu (Dead Sea), mu mwaka 1947. Ekyewuunyisa kye kino nti ebitabo ebyo eby'akamala emyaka enkumi ebbiri, birimu obubaka bwe bumu ddala obw'amazima ng'ago getusanga mu bitabo ebye Ndagaano Enkadde ebya Bayibuli ezikubibwa kaakati mu byuma. Buno bukakafu bwa maanyi nyo obulaga engeri ekigambo kya Katonda gye kyesigika.

Ekitundu ekisinga obunene ekye Endagaano Empya Abatume baasooka okukiwandiika ng'ebbaluwa zeebaaweerezanga eri amakanisa ge baateekawo oluvanyuma olw'okufa era n'okuzuukira kwa Kristo. Ebiwandiiko ebissukka mu 4,500, nga biwandiikiddwa ne ngalo z'abantu eby'Endagaano Empya bisangibwa mu nnyumba ennene omukuumirwa ebintu eby'edda ne mu materekero amanene ag'ebitabo mu Bulaaya ne mu America. Ebimu ku byo bya dda nnyo nga mu kyasa eky'okubiri. Bw'ogerageranya ebiwandiiko bino eby'emikono ne Bayibuli ze tulina kaakati, tukisanga nti Endagaano Empya era nayo kyekimu yasigala nga tekyusibwamu okuva nga bweyawandiikibwa olubereberye.

Mu kiseera kya kaakati Bayibuli oba ebitundu byayo bikyusiddwa mu nnimi ezissukka mu 2,060. Ky'ekitabo ekisinga okutundibwa mu nsi yonna. Obukadde bwa Bayibuli ezissuka mu 150 zitundibwa buli mwaka.

(2) Obutuufu bw'ebyafaayo bya Bayibuli nabwo bwewuunyisa. Ebivumbuddwa bingi eby'abasajja n'abakazi abayivu abanoonyereza ebisigala by'abantu abaaliwo ab'edda ebisimibwa mu ttaka, nabyo bitulaze ne bikakasa obutuufu bwa Bayibuli. Ab'ebyafaayo bavumbudde ebiwandiiko eby'edda ebyawandiikibwa ku bbumba, ne ku mayinja ne byongera abantu okutegeera ku amannya, ebifo era n'ebyafaayo ebimanyiddwa okuva mu Bayibuli yokka.

Eky'okulabirako: Okusinziira ku Lubereberye 11:31, Ibulayimu n'abo mu maka ge "Baava mu Uli y'ensi eya Bakaludaaya okuyingira mu nsi Kanani." Olw'okubanga Bayibuli yokka y'eyogera ku Uli, abasomi abamu kwe kugamba nti tewabeerangawo kibuga kiyitibwa Uli. Lumu abanoonyereza ebisigala ebyedda baasimula omunaala ogwa yeekalu mu maserengeta ga Iraq ne bazuulamu ekikopo nga mu ntobo yakyo ewandiikiddwako erinya Uli, mu mpandiika eyedda ey'Abamisiri. Ebyaddirira okuzuulibwa, byalaga nti Uli kyali ekibuga ekyali kikulakulana ky'obuyigirize obw'ekika ekya waggulu. Erinnya ly'ekibuga lyali lyerabiddwa, mu Bayibuli mwokka mwe lyali lisigadde nga likuumibwa - okutuusa abasimi by'eby'omu ttaka bwe basima ne bazuula obukakafu bwakyo. Era Uli kyekimu ku by'okulabirako ebingi eby'abasima eby'omu ttaka ebikakasa obutuufu bwa Bayibuli.

(3) Okutuukirira kw'obunnabbi bwa Bayibuli nakyo kiraga nti oyinza okwesiga Bayibuli. Ebyawandiikibwa bijudde obunnabbi obwenjawulo obw'omu kiseera eky'omu maaso mu kiseera kino obutuukirira mu maaso gaffe. Tujja kwetegereza obumu ku bunnabbi buno mu by'okuyiga byaffe eby'omu maaso.

5. ENGERI EY'OKUTEGEERA BAYIBULI

Ng'osoma ekigambo kya Katonda kuuma amateeka gano mu birowoozo byo:

(1) Yiga Bayibuli yo n'omutima omusabi. Singa nga osemberera ebyawandiikibwa Ebitukuvu n'omutima era n'ebirowoozo ebigguddwawo n'okusaba, ebyawandiikibwa bifuuka enkolagana ey'obuntu ne Yesu (Yokaana 16:13-14).

(2) Bayibuli gisome buli lunaku. Okusoma Bayibuli buli lunaku ky'ekisumuluzo eri amaanyi mu bulamu bwaffe, - okusisinkana n'ebirowoozo bya Katonda (Balumi 1:16).

(3) Ng'ogisoma, leka Bayibuli yeeyogerere yokka. Buuza ekibuzo kino nti, kiki omuwandiisi wa Bayibuli kye yali agenderera okwogera? Nga tutegedde amakulu g'ekyawandiikibwa tusobola mu ngeri ey'amagezi okukiteeka mu nkola ey'obulamu bwaffe mu kisera kino.

(4) Bayibuli giyige ng'ogobeerera buli kya kuyiga. Gerageranya ekyawandiikibwa n'ekyawandiikibwa ekirala. Yesu eno y'engeri gye yakozesa okukakasa abantu nti ye yali Kristo.

"N'asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye." - Luka 24:27.

Nga tutadde awamu ebyawandiikibwa byonna eby'ogera ku ky'okuyiga ekimu tufuna okutegeera okwenkanankana.

(5) Yiga Bayibuli olw'okufuna amaanyi okubeera n'obulamu olwa Kristo. Mu Bebbulaniya 4:12 Ekigambo kya Katonda kinnyonnyolwa ng'ekitala eky'obwogi obubiri. Kisinga ebigambo ebiwandiike ku lupapula, kya kulwanyisa ekiramu mu mikono gyaffe okulwana n'ebikemo eby'ekibi.

(6) Wuliriza Katonda ng'ayogera naawe okuyita mu kigambo kye. Senga omuntu wa kutegeera amazima ga Bayibuli ku ky'okuyiga ekimu, ateekwa okubeera nga mweteefuteefu okugobeerera ky'eyigiriza, so si kugobeerera abantu kye balowooza yadde ekkanisa ky'egamba.

6. BAYIBULI EYINZA OKUKYUSA OBULAMU BWO

"Ekigambo kyo nga bigguliddwawo bireeta omusana' Biwa okutegeera abatalina magezi." - Zabbuli 119:130.

Okuyiga Bayibuli kujja kuwa amaanyi ''okutegeera kwo'' era amaanyi okuwangula empisa embi, era okusobozesa okukula, mu by'omubiri, mu by'amagezi n'empisa era ne mu by'Omwoyo.

Bayibuli eyogera na mutima. Ekolagana n'ebyo ebibeera ku bulamu bw'omuntu - okuzaala, okwagala, obufumbo, obuzadde era n'okufa. Ewonya ekiwundu, ebigendera ddala ewala mu buzaaliranwa bw'omuntu era n'ennaku n'ekibi ebiva mu bwo.

Ekigambo kya Katonda si kitabo eky'ekika ky'abantu ekimu, oba emirembe egimu, oba eggwanga erimu oba obuzaaliranwa obumu. Newankubadde nga yawandiikibwa bavanjuba, era nate ogisanga n'abaami n'abakyala ab'ebuggwanjuba. Mu maka g'abantu aba bulijjo ogisangamu era ne mu mbiri ez'abagagga eyingirayo. Abaana bagaala engero zaayo ezisanyusa. Abazira baayo bawa amaanyi abantu abavubuka. Abalwadde, abanaku, era n'abakadde bagisangamu essanyu n'essuubi olw'obulamu obusingako obulungi.

Kubanga Katonda akolera mu Bayibuli erina amaanyi mangi. Emeenyamenya n'emitima emikakanyavu emikambwe, n'egigonza n'egijjuza okwagala. Bayibuli twali tugirabye ng'ekyusa ababbi era n'abanywi b'enjaga n'ebafuula ababuulizi b'enjiri. Tugirabye ng'ekyusa omulimba ate omubbi n'emufuula omusomesa omwesimbu ate omwesigwa. Era tulabye ekitabo kino nga kijja abantu ku mugo gw'entaana olw'okwetuga era ne kibawa entandikwa empya erimu essuubi. Bayibuli ereeta okwagala wakati w'abantu ababadde abalabe. Ab'amalala ebakkakkanya n'ebafuula abawombefu era n'abeerowoozako bokka ebafuula ba kisa. Bayibuli etuzzamu amaanyi bwe tuba tubadde banafu, etusanyusa mu nnaku, etukulembera mu bye tutamanyi, era etuweweeza nga tukooye.
Etulaga engeri gye tusobola okubeera mu bulamu bunno nga tuli bazira, era n'engeri gye tusobola okufa nga teturina kutya.

Ekitabo kya Katonda, Bayibuli eyinza okukyusa obulamu bwo! Kino ojja kukiraba bw'onoogenda nga weeyongerayongera okuyiga omusomo guno ogwe DDOBOOZI LY'OBUNNABBI - "ZUULA."

Lwaki Bayibuli yatuwandiikirwa? Kino Yesu akiddamu bwati:

"Naye bino (amazima ga Bayibuli) biwandiikiddwa, mulyoke mukkirze nti Yesu ye Kristo, omwana wa Katonda; era olw'okukkiriza okwo, mulyoke mufune obulamu mu ye." - Yokana 20:31.

Ensonga esingira ddala obukulu lwaki tuteekwa okumanya ebyawandiikibwa ebitukuvu eri nti ekifaananyi kyayo ekijjuvu Bayibuli ebikkula Yesu Kristo era n'etuwa obukakafu obw'obulamu obutaggwaawo. Bwe tutunuulira ku Yesu Kristo okuyita mu Bayibuli, tukyusibwa era ne tugenda nga tumufaanana. N'olw'ekyo lwaki kaakati totandikirawo okuzuula amaanyi g'ekigambo kya Katonda ekyo ekisobola okukufuula nga Yesu?

© 2002 The Voice of Prophecy Radio Broadcast
Los Angeles, California, U.S.A.