TUYINZA OKUKKIRIRIZA MU KATONDA

Jim omulundi ogumu yabuuza omusajja atakkiririza mu Katonda ekibuuzo oba ng'omulundi ogumu yali alwanaganye n'ekirowoozo ekigamba nti oboolyawo Katonda w'ali?

Ekyewuunyisa Jim, omusajja atakkiriza kwe kumuddamu nti; "Ddala bwe kityo bwekiri" Yeeyongera n'amugamba bwati: "Emyaka mingi egiyiseewo, omwana waffe omuberyeberye bwe yaazaalibwa kabuulako katono okufuuka omuntu akkiririza mu Katonda. Bwe nnatunuulira ku kifaananyi ky'omuntu omuto, naye ng'atuukiridde ng'ali mu kitanda kye, bwe nnatunuulira obugalo bwe nga bwefunyizza, era bwe nnatunuulira obuuso bwe obutono nga butemya, nnamala ekiseera eky'emyezi mingi nga ndekedde awo okubeera atakkiririza mu Katonda. Bwe nnatunuulira ku kaana ako akato kya mmatiza nti wali watekwa okubeerawo Katonda."

1. BULI KINTU EKIWUNDIBWA WABEERAWO AKIWUNDA

Enkola ey'omubiri gw'omuntu yeetagisa okubeerawo eyagiteekateeka. Bannasaayansi batutegeeza nti obwongo butereka era ne bujjukira ebifaananyi nkumi na nkumi ebyetabuddetabudde era ne bugonjoola ebizibu, ne busanyukira ebirungi, era ne bwetegeera, era ne bwagala okukuza ekisinga obulungi mu muntu. Amasannyalaze agatandikira mu bwongo gafuga emirimu gyonna egikolebwa mu mibiri gyaffe.

Ebyuma bikalimagezi (kompyuta) nabyo bikozesa maanyi ga masannyalaze. Naye bwongo bwa muntu bwe bwagivumbula era ne bugizimba era ne bugiragira ekyo ky'eteekwa okukola.

Tekyewuunyisa omuwandiisi wa Zabbuli akakasa nti omubiri gw'omuntu gw'ogera bulungi era lwatu ku mutonzi ow'ekitalo.

Agamba bwati: "Nkutendereza kubanga nakolebwa mu ngeri etiisa, era eyeewuunyisa. Ekyo nkimannyidde ddala." - Zabbuli 139:14.

Tekitwetaagisa kugenda wala okunoonya "emirimu" gya Katonda. Enkola ey'ekitalo ey'obwongo bw'omuntu, awamu n'ebitundu ebirala eby'omubiri: gy'emirimu gya Katonda egiraga amagezi ag'ekitalo ag'omutonzi.

Tewali bbomba eyakolebwa omuntu gy'oyinza okugeraageranya n'omutima gw'omuntu. Tewali nkola ya kompyuta eyinza okwenkanankana n'obusimu obuli mu nkola ey'omubiri. Tewali nkola ya Televizoni ekola obulungi nga eddobozi ly'omuntu, amatu ge era n'amaaso ge. Tewali kyuma ekiwujja empewo era ne kigibugumya ekisobola okugerageranyizibwa n'omulimu ogukolebwa ennyindo zaffe n'amawuggwe n'eddiba. Enkola ey'ekikugu ey'omubiri gw'omuntu eraga nti waliwo eyagiteekateeka, era n'eyagiteekateeka ye Katonda.

Omubiri gw'omuntu nkola ey'ebitundu ebingi byonna eby'egasse awamu nga byonna byateekebwateekebwa bulungi. Amawuggwe, era n'omutima, obusimu obw'omubiri, ebinywa, byonna bikola omulimu omuzibu ogutakkkirizika, ate era byesigamye ku mulimu omulala omuzibu ogutakkirizika.

Singa otadde sente kkumi mu nsawo yo nga buli emu ogitaddeko akabonero okuva ku nnamba emu okutuuka ku kkumi, era n'ozisuukunda ate n'oziggyamu emu emu, olowooza okyayinza okuziggyamu nga zigobeerera ennamba ze wazitaddeko? Okusinziira ku tteeka erifuga eby'okubala, olina omukisa gumu mu mirundi buwumbi ekkumi mwosobolera okuggya sente ezo mu nsawo yo nga zonna zi gobeerera ennamba okuva ku emu okutuuka ku kkumi.

Kaakati nno lowooza emikisa gy'olubuto, obwongo, omutima, ekibumba, emisuuwa eminene, n'obusuuwa obutono, ensigo, amatu, amaaso, era n'ammanyo byonna nga biri wamu era nga byonna bikola ate nga bikolaganira wamu n'ebitundu ebirala mu kiseera ky'ekimu.

Kunnyonnyola ki okusinga kuno amakulu okunnyonnyola enteekateeka ey'omubiri ogw'omuntu?

Agamba nti: "Katonda n'ayogera nti; Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe… Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yatondera omusajja n'omukazi." - Lubereberye 1:26,27.

Omusajja eyasooka n'omukazi baali tebasobola kubeerawo bokka. Bayibuli etukakasa nti Katonda yatutonda mu kifaananyi kye. Yasooka kulowooza n'alyoka atutondamu ebitonde.

2. BULI KINTU EKYAKOLEBWA WALIWO EYAKIKOLA

Naye obujulirwa obw'okubeeraawo kwa Katonda tebukoma ku nteekateeka ya mibiri gyaffe gyokka, naye bubuna okuyita mu ggulu lyonna. Leka ettala ezaaka mu kibuga era otunule waggulu mu bbanga ekiro. Ekire ekyo eky'amata ekiri waggulu w'emmunnyennye ze tuyita 'Milky Way' oba Entungalugoye, kino kibinja eky'enjuba obuwumbi n'obuwumbi ezifaanana ng'enjuba yaffe eno. Mu butuufu enjuba yaffe eno era awamu ne sseng'endo zaayo kitundu ku 'Milky Way.' Era 'Milky Way' yaffe eno y'emu ku bikuukuulu by'emunnyennye ebissuuka obuwumbi nga kikumi ebisoboka okulabika okuyita mu zigalubindi ennene ennyo ku nsi.

Tekyewuunyisa omuwandiisi wa Zabbuli okukakasa nti emmunyennye z'ogera ekitiibwa ky'omukozi waazo:

Agamba bwati: "Eggulu liraga ekitiibwa kya Katonda n'ebiri mu bbanga byoleka omulimu gwe." - Zabbuli 19:1-3.

Nga tutunuulidde obwaguuga bw'eggulu n'ensi n'enkola yabyo ey'ekitalo tekyandibadde kya magezi okukakasa nti:

"Ku luberyeberye Katonda yatonda eggulu n'ensi." - Lubereberye 1:1.

"(Katonda) yaliwo ng'ebintu byonna tebinnatondebwa; era byonna bibeerawo mu ye." - Kolosayi 1:17.

Ebitonde byonna biwa obujulirwa ku Katonda omuteesiteesi omukulu era omutonzi aw'amagezi agatakoma. Mu bigambo bino ebyangu ebigamba nti 'Ku luberyeberye Katonda,' mwetuzuula eky'okuddamu eky'ekyama eky'obulamu. Waliwo Katonda eyatonda ebintu byonna.

Bannasaayansi bangi abakulu mu kiseera kino bakkiririza mu Katonda. Omusawo omukugu mu ddagala Arthur Campton, omuwanguzi we kirabo ekiyitibwa Nobel Prize, omulundi ogumu yayogera bw'ati ku lunnyiriri luno.

"Nze ku lwange, okukkiriza kutandika n'okukakasa amagezi ago aga waggulu ago agateekawo eggulu n'ensi okubeerawo era ne gatonda n'omuntu. Si kizibu gyendi okubeera n'okukkiriza kuno kubanga kitegeerekeka bulungi nti, buli awali enteekateeka waliwo amagezi aga Katonda. Enteekateeka y'eggulu n'ensi ennung'amu ewa obujulirwa ku mazima ag'ebigambo ebisinga obukulu ebyali byogeddwa nti- 'Ku luberyeberye Katonda.'"

Bayibuli tegezako kukakasa Katonda nti w'ali naye erangirira bulangirizi okubeerawo kwe. Omusawo omukugu mu by'obulamu Arthur Conklin, olumu yawandiika bw'ati, "Emikisa egy'obulamu okubeerawo nga butandika n'ekintu ekyagwawo obugwi kigerageranyizibwa n'ekitabo ekinnyonnyola amakulu g'ebigambo (Dictionary) okuva ku kubwatuka okw'ekyuma ekikuba ebitabo."

Tukimanyi nti omuntu tayinza kukola kintu ng'akigya mu kintu ekitaliiwo. Tusobola okuzimba ebintu, okuvumbula, okugattagatta ebintu awamu, naye tetusobola kugya kintu mu kintu ekitaliiwo yadde akakere akasingira ddala obutono, oba akamuli akasingira ddala obutono. Ebintu ebikwetoolodde byogerera waggulu nti Nnamugereka owedda, ye Katonda eyabitonda. Era y'abibeezesawo. Eky'okuddamu ekikkirizika kyokka ku ntandikwa y'eggulu n'ensi eno, n'okubeerawo kw'abantu ye - Katonda.

3. KATONDA AKOLAGANA N'ABANTU

Katonda eyabamba eggulu erijjudde emmunyenye, era eyatonda eggulu n'ensi, anoonya enkolagana ey'obuntu naffe. Yalina enkolagana ey'obuntu ne Musa. Agamba nti "Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe" (Kuva 33:11). Katonda ayagala okubeera mu nkolagana ey'oluganda naawe era afuuke mukwano gwo. Yesu yasuubiza abo abamugobeerera nti: "Mmwe muli mikwano gyange" (Yok 15:14).

Ffenna twali tulwanaganyeeko mu mitima gyaffe n'ekirowoozo kya Katonda kubanga bulijjo abantu obuzaaliranwa bwabwe bannaddiini. Tewali nsolo yonna ey'omu nsiko eyali ezimbyeko ekyoto eky'okusinzizangako Katonda. Naye buli kifo w'osanga abantu abasajja n'abakazi, obasanga basinza. Munda mu mutima gwa buli bantu mulimu okwegomba okusinza, ekitegeeza nti bategeera Katonda era beegomba okufuuka mikwano gya Katonda. Singa tujeemulukukira okwagala kwaffe okwo okutuli mu mitima ne tunoonya Katonda, tewakyaliwo kubuusabuusa ku kubeerawo kwe.

Mu myaka egye 1990 obukadde n'obukadde obw'abantu abaali batakkiririza mu Katonda mu Russia baalekayo obutakkiriza bwabwe ne bakyukira Katonda. Professa mu Yunivasite eye St. Petersburg yayogera ebigambo ebyali bifaanana ng'ebyo ebyayogerwa abantu abangi abakyuka ne bava mu butakkiririza mu Katonda mu Soviet Union.

Yagamba bwati: "Mbadde nnoonyereza mu Sayaansi amakulu agali mu bulamu bwange, naye sirina kye nnazuulayo kyennyinza okwesiga. Bannasaayansi bannange abannetoolodde balina endowooza y'emu ey'obutaliimu mu mitima gyabwe. Bwe ntunuulira obutaliimu obw'ensi ate n'obutaliimu obw'Omwoyo gwange, nkiwulira nti wateekwa okubeerawo kye kitegeeza. Nate, bwe nnafuna Bayibuli gye wampa era ne ntandika okugisoma, obutaliimu obw'obulamu ne bumatizibwa. Bayibuli nnagizuula nga bwe bwesige bwokka obw'omwoyo gwange. Nzikiriza Yesu Kristo nga ye Mulokozi wange era mmaze okuzuula emirembe egy'amazima era n'okumatizibwa okw'obulamu bwange."

Omukristayo akkiririza mu Katonda kubanga amuzuula oba amusanga nga Katonda oyo yekka y'amatiza ebyetaago ebigenda ewala eby'omu mutima. Katonda oyo Abakristayo gwe bazuula n'essanyu nga w'ali, atuwa ebigendererwa ebiggya, amakulu amaggya ag'obulamu, era n'essanyu eriggya.

Katonda tatusuubiza bulamu obutaliimu bizibu na ntalo. Naye atuwa obukakafu nti ajja kutukulembera n'okutuwanirira singa tukolagana naye. Era obukadde n'obukadde bw'abakristayo bajja kukuwa obujulirwa nti beeteefuteefu okufiirwa ebintu byabwe byonna okusinga okuddayo emabega mu bulamu obutaliimu kutya Katonda.

Kino kye kyewuunyo ekisingira ddala byonna - nti Katonda ayinza byonna. Nnamugereka, eyatonda era abeezesaawo eggulu n'ensi ayagala okubeera n'enkolagana ey'obuntu eri buli musajja n'omukazi, n'abuli mulenzi n'omuwala. Kino Kabaka Dawudi kyamwewuunyisa bwe yawandiika nti:

"Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, n'omwezi n'emmumyemye bwe wateekawo, ne nneebuuza nti, omuntu ataliiko bwali, lwaki omulowoozako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirilwa?" - Zabbuli 8:3,4.

Omutonzi waffe alowooza ku buli omu ku ffe. Akusanyukira nnyo nga aling'anga ggwe kitonde kyoka kye yatonda.

N'olw'ensonga eyo tusobola okukkiririza mu Katonda: (1) Kubanga Katonda ye yaateekateeka ebintu eby'ekitalo bye yateka ku bulamu bwaffe. (2) Kubanga okwetaaga Katonda okuli muffe kutuleka nga tetuli batebenkevu okutuusa lwe tuzuula ekiwummulo kyaffe mu ye. (3) Era kubanga bwe tumunoonya ne tumuzuula, Katonda amatiza buli kyetaago kyaffe era n'okuwankawanka kwaffe akumatiriza ddala.

4. KATONDA ONO WA KIKA KI?

Ensonga esinga byonna eri nti Katonda oyo ayagala okweraga eri ebitonde bye mu ngeri y'emu nga kitaawe w'omwana bw'ayagala abaana be bamumanye. Era mu Bayibuli Katonda atutegeeza ye nga bwali era ne bw'afaanana.

Kifaananyi ki Katonda kye yakozesa okutonda abasajja n'abakazi?

"Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mweyamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabatonda." - Lubereberye 1:27.

Okuva nga bwe twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, obusobozi bwaffe okulowooza era n'okulumwa, okujukira era n'okusuubira era n'okutetenkanya byonna byava ku ye.

Empisa ya Katonda enkulu y'eruwa?

"Katonda kwagala." - 1 Yokaana 4:8.

Katonda akolagana n'ebitonde bye ng'ayita mu ekyo ekiri mu mutima gwe eky'okwagala. Tewali kintu n'ekimu kye yali akoze oba ky'agenda okukola nga tekiva mu buterowoozako yadde mu kwegannyisa okw'okwagala.

5. YESU ALAGA ATYA KATONDA BW'AFAANANA?

Mu Bayibuli Katonda yeeyogerako buli kaseera ye nga bw'ali Kitaffe.

Agamba nti: "Ffena tetulina Kitaffe omu? Si Katonda omu eyatutonda?" - Malaki 2:10.

Ba taata be tulaba kaakano kifaananyi kya Kitaffe ow'omuggulu, naye nabo tubeetaga. Waliwo ba taata abaggayavu, aboonoona abaana baabwe. Naye Katonda, tafaanana bw'atyo. Ye afaayo era atulumirwa. Kitaffe wa kisa ayagala okuzannya emizannyo n'abaana be ab'obulenzi n'obuwala. Kitaffe wa kisa asanyusa abaana be ng'abategeeza engero ez'ekitalo nga bagenda okwebaka.

Kitaffe ow'okwagala ayagala okukola ekisinga okweraga obwerazi gye tuli okuyita mu byawandiikibwa ebitukuvu. Yakimanya nti omuntu gw'obeera naye aba mukakafu nnyo gy'oli okusinga oyo gwe wali owuliddeko obuwulizi oba gwe wali osomyeko mu kitabo. N'olw'ensonga eyo- kyeyava ajja ku nsi yaffe eno nga muntu ddala - omuntu Yesu.

"(Kristo) oyo kye kifaananyi kya Katonda atalabika." - Kolosayi 1:15.

Bwe kityo singa nga olabye Yesu, oba nga olabye Katonda. Yakka wansi ku ddala lyaffe, yafuuka nga ffe - alyoke atuyigirize okubeerawo nga tuli basanyufu, era naffe tusobole okulaba nga Katonda bw'ali. Yesu - ye Katonda asoboka okulabibwa. Yesu ye yennyini yagamba nti, "Buli alabye ku nze, ngalabye ku Kitange" (Yokana 14:9).

Bw'osoma ebigambo by'obulamu bwa Yesu mu Njiri ennya, ebitabo ebina ebisooka mu Ndagaano Empya, ojja kulaba ekifaananyi ekisamaaliriza ekya Katonda Kitaffe ow'o mu ggulu. Abavubi baasuula eri obutimba bwabwe ne bagoberera Kristo, yadde n'abaana abato baakung'ananga gyali olw'okufuna emikisa gye. Yasanyusanga aboononyi abasingira ddala obubi era yakkakkanyanga abantu bannanfuusi abaali basinga kukwerowooza okuba n'obutuukirivu. Yaawonyanga buli kintu okuva ku buzibe bw'amaaso n'okutuuka ku bigenge. Mu bikolwa bye byonna Yesu yalaga ensi nti Katonda kwagala. Yasisinkananga n'ebyetaago by'omuntu mu ngeri omuntu yenna gye yali takolangako okumusooka.

Okubikkula Katonda nga bw'afaanana okwasembayo, Yesu yakukolera ku musaalaba.

"Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati; n'okuwaayo n'awaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo." - Yokana 3:16.

Yesu teyafa kutuwa obulamu obw'essanyu bwokka obw'omu kiseera kino kyokka, naye era n'olw'okutuwa obulamu obutaggwaawo. Okumala emyaka mingi abantu baali beewuunya, nga basuubira nga balowooza ku Katonda. Baalabanga emirimu gy'engalo ze nga giwandiikiddwa ku ggulu ne ku bulungi obw'ebitonde.

Bwe gwatuuka ku musaalaba, Yesu n'aggyawo akasiriikiriro ak'emyaka gyonna, abantu beesanga nga batunuulidde ddala mu maaso ga Katonda, nga bamulaba mu mazima nga bw'ali nga wa kwagala, wa mirembe gyonna, nga wa kwagala okutaggwawo. Okyasobola okuzuula Katonda mu ssaawa eno nga Yesu bw'atumubikkulira. Okuzuula kw'onoomuzuula kujja kukulembera okukola akakalu naye akagamba nti: "Kitange nkwagala!"

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy