OLUTINDO
OLUTUUSA ABANTU KU
BULAMU OBUMATIZA
Omusekese
gw'amagumba ge baagusanga ku mabbali g'ekisiisira ku kizinga ekitaaliko
bantu mu makkati g'eriyanja Atlantic. Omulunnyanja atamanyiddwa linnya
yawandiikanga mu katabo ebyo ebyamubangako buli lunaku eby'omwezi gwe
ogw'okuna ogw'okugezebwa kwe. Yasuulibwa ku kizinga Ascension n'amaato
ag'aba Dutch mu mwaka 1725 ng'alangibwa omusango ogutaayatulwa. Mangu
ddala yatuuka n'okunywa omusaayi ogw'e Nfudu olw'enkalamata eyamuli
obubi. Omusajja ono okubonaabona kwe okw'omubiri kwali mu bulumi obw'ekitalo,
naye obulumi bwe obwasingira ddala okumuzitoweerera era obulagibwa mu
katabo ke mweyakuumiranga ebyo ebyamubangako buli lunaku, gwali omusango
gwe.
Yawandiika
ebigambo ebyamuluma ennyo nga bino: "Nga obulumi bwa kitalo abonoonyi
abafa bwe batuukako, abo abava mu kkubo ery'obutuukirivu, abusannyukira
okwongera ku muwendo ogw'abantu abaakolimirwa Katonda." Omusajja
ono omulunnyanja okusuulibwa kwe ku kizinga kino okutaali bantu kwajja
olw'okuva ku Katonda mu bulamu bwe. Kino ku nkomerero y'obulamu bwe
kye yasanga nga kizito nnyo tekigumikirizika.
Okuva
Adamu ne Kaawa bwe "beekweka mu maaso ga Mukama Katonda wakati
mu miti egy'omu lusuku" nga bamaze okulya ku muti ogwabagaanibwa
okulya, abaana b'abantu bonna babadde nga balwana n'ekiwuubaalo eky'okuwulira
nga balekeddwa bokka (Luberyeberye 3:8). Ebirowoozo ebiggya eby'obuswavu,
okuwuulira omusango, n'okutya byawaliriza abantu ababiri abasooka ku
nsi okudduka Mukama bwe yajja ng'abayita. Eky'omukisa omubi, okwewulira
okwo okwabatuukako kuli ddala mu ffe mu kiseera kya kaakano.
Kiki
ekyo ekituleetera okwawukana wakati waffe ne Katonda?
Eky'okuddamu
kigamba nti: "Naye obutali butuukirivu
bwamwe bwe bwawudde mmwe ne Katonda wammwe, n'ebibi byammwe bye bimukwesezza
amaaso, n'atayagala kuwuullira." - Isaaya 59:2.
Olukonko
luno olunene olwawuudde abonoonyi okuva ku Katonda si ye yaalukola.
Katonda si ye yadduka okuva ku Adamu ne Kaawa, wabula bo beebadduka
okuva ku ye.
1.
OKUMATIZA ENJALA EYEEKWESE MU FFE
Ng'ekibi
tekinnaba kwonoona kifaananyi, Adamu ne Kaawa baasanyukiranga omukwano
n'omutonzi waabwe mu maka gaabwe mu lusuku olulungi mu Adeni. Eky'ennaku
baayingiza obulimba bwa Setaani obw'okubeera abalina amagezi nga Katonda
era ne bamenyawo endagaano oy'obwesigwa n'omutonzi waabwe (Luberyeberye
3).
Nga
bamaze okugobebwa okuva mu lusuku lwa Adeni, Adamu ne Kaawa baasanga
obulamu nga bukaluba nnyo ebweru eyo. Okuzaala abaana, okulima ettaka,
byafuuka bya musaayi, bya ntuuyo na maziga. Oluganda lwabwe olw'okumpi
ne Katonda nga lumenyesewo, beesanga nga bye beegomba tebimatiza okuyaayaana
okw'obulumi, okuva ku kikolwa ekya Adamu ne Kaawa eky'obujeemu ekyasooka
"bonna" (olulyo lw'omuntu lwonna) lwagwa mu kikolwa ky'ekimu
eky'ekibi era bonna bafugibwa kufa - empeera y'ekibi.
Agamba
bwati: "Olw'ebyo, nga ku bw'omuntu omu
ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw'ekibi, bwe kutyo
okufa ne kubuuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayoonona." - Balumi
5:12.
Ffena
tutuukibwako enjala eno ennene ey'omutima olw'ekyo kye twafiirwa, nga
twetaaga obukuumi obwo obusobola okutuweebwa Katonda yekka. Emirundi
egimu tugezako okumatiza enjala eno n'eby'okulya, oba olw'okunywa omwenge
n'enjaga oba olw'okwesuula eddalu.
Naye
okuyaayaana kwonna bwe bubonero obw'obutabeera na Katonda. Era tewaliwo
kibuwonya okuggyako okufuna okwagala kwe mu bulamu bwaffe.
Agamba
bwati: "Onondaganga ekkubo ery'obulamu;
gyoli waliwo essanyu erituukirira, mu mukono gwo ogwa ddyo mwe muli
ebisanyusa emirembe gyonna." - Zabuli 16:11.
Ekintu
kyokka ekigenda okukuleeta okumatizibwa okw'amazima, ng'olukonko oluli
wakati waffe ne Katonda nga lutindiddwa. Naffe ne tusobola okulutambulirako
ne tutuuka wali.
2.
OKUTINDA OLUKONKO OLW'EKIBI N'OKUFA
Abantu
si be bokka ekibi be kyayawula ne babeera bokka. Omutima gwa Katonda
nagwo gwamuluma ku lunaku Adamu ne Kaawa lwe baamukuba amabega gaabwe.
Era Katonda akyali munakuwavu nnyo olw'ennaku y'omuntu era n'okubonnabona.
Katonda ayagala nnyo okumatiza okwetaaga kwaffe okw'omunda era n'okuwonya
ebiwundu byaffe eby'ebirowoozo. Okutunula
obutunuzi ku lukonko olutwawudde naye tekyamumala. Katonda yasalawo
ye kennyini okufuuka olutindo, olutinda olukonko olw'ekibi n'okufa.
Agamba
nti: "Kubanga Katonda bwe yayagala ensi
bwati n'okuwaayo n'awaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu
yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.
Kubanga Katonda teyatuma mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye
ensi erokokere ku ye." - Yok 3:16,17.
Katonda
yawaayo omwana we era ne Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka olw'ekibi;
ng'asasula empeera y'ekibi ye kennyini. Obulamu bwe, okufa kwe era n'okuzuukira
kwe byakifuula ekisoboka okusonyiwa n'okulokola omwonoonyi awatali kunyooma
kibi. Era n'alaga ensi yonna empisa za Kristo ne Setaani. Olutindo olw'omubiri
gwa Kristo ogwakubibwa, luzzaayo abantu okubaggya mu mutego ogw'ekibi.
Okwagala kwatinda olukonko, era ne kusobozesa abantu bonna abateeka
okukkiriza kwabwe mu Kristo nga ye Mukama era omulokozi okutambulira
ku lwo okutuuka mu bulamu obutaggwaawo.
3. ENSONGA OMUSANVU ENKULU ZEWEETAGA OKUMANYA KU YESU
Ensonga
zino omusanvu ku Yesu togenda kuzisanga ku muntu mulala yenna eyali
abaddewo ku nsi:
(1)
YESU YAVA MU GGULU N'AJJA KU NSI
Yesu yayogera atya ku kiseera ky'amaze nga wali? Yagamba nti:
"Mazima
ddala mbagamba nti: Ibulayimu yali tannabawo, nze nga wendi." -
Yok 8:58.
Yesu
yakakassa ensi nti nze "Ndi!" Bulijjo mbadde nga wendi era
bulijjo nja kubeera wo. Newankubadde Yesu yazaalibwa ne nnyina nga muntu
(Matayo 1:22,23), Ye Katonda - Katonda ng'a li mu mubiri ogw'omuntu.
Dwight
L. Moody ne Billy Graham ow'omu kyasa ekye 19, olumu baayogera bwe bati
ku kufuuka kwa Yesu omuntu: "Kwandibadde kweganyisa kunene nnyo
Yesu okujja n'abeera mu kibaya ekimasamasa, n'akuzibwa ne malayika,
n'aliisibwa n'ekigiiko ekyazzabu. Naye omutonzi w'eggulu n'ensi yajja
n'ayambala omubiri ogw'omuntu, n'azaalibwa mu kiraalo eky'abazadde be
abaavu, mu mbeera esingira ddala okuba embi eyali ebaddewo."
Mu
kiseera ekya Yesu Kristo okuzaalibwa, malayika yagamba Yusufu nti:
"(Maliyamu)
alizaala omwana wa bulenzi, n'omutuuma erinnya lye YESU; kubanga yewuuyo
alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe." - Matayo 1:21.
Yesu
omutonzi w'eggulu lyonna n'ensi (Yokana 1:1-3,14); yamalirira okujja
ku nsi yaffe eno okutulokola okuva mu kibi ne mu kufa.
(2)
YESU MU BULAMU KU NSI KUNO YALINA OBULAMU OBUTAAKOLA KIBI - OBUTUUKIRIVU
"Yesu
mwana wa Katonda
kubanga mu byonna yakemebwa nga ffe bwe tukemebwa,
kyoka n'atakola kibi." - Bebulaniya 4:14,15.
Katonda
yakola kinene nnyo okusinga okutuggya mu bulamu obw'ekibi era n'okutuzza
mu bulamu obumatiza.
Setaani,
omulabe wa Kristo, okuyita mu bulamu bwonna obwa Yesu ku nsi yakola
enteekateeka amukeme amusuule mu kibi. Mu ddungu omulabe yamulumba olulumba
olw'entiisa ku bwesigwa bwe mu katonda we (Matayo 4:1-11). Mu lusuku
Gesesumani nga Yesu tannaba kukomererwa obuzito bw'okukemebwa bwamuzitowerera
ekyekaniddewo n'entuuyo z'omu maaso ge zaavamu omusaayi (Luka 22:44).
Naye
Yesu yayimirira nga munywevu era ebikemo byonna omulabe bye yamuleeteranga
- "Naye nga talina kibi." Kubanga Yesu yatuusibwako ebizibu
n'ebikemo byonna ebituuka ku baana ba bantu, ategeera olutalo lwe tuliko.
Era asobola "okulumirwa wamu naffe mu bunafu bwaffe" (Abebbulaniya
4:15).
Lwaki
Yesu kyali kimwetagiisa okubeera n'obulamu obutaliimu kibi?
Agamba
bwati: "Kristo ataalina kibi, Katonda
yamufuula ekibi, ffe olw'okwegatta ne Kristo tulyoke tufune obutuukirivu
obuva eri Katonda." - 2 Bakolinso 5:21.
Yesu
yawangula ebikemo era n'abeera n'obulamu obutuukirivu alyoke abutugabire
ng'awaanyisa n'obulamu bwaffe obw'edda obw'ekibi.
(3)
YESU YAFA OLW'OKUGGYAWO EKIBI
Abantu bameka abaayonoona?
Agamba
bwati: "Kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka
ku kitiibwa kya Katonda." - Abaruumi 3:23.
Empeera
y'e kibi kyeki?
Agamba
bwati: "Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa;
naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama
waffe." - Abaruumi 6:23.
Lwaki
Yesu yafa?
Agamba
bwati: "Laba omwana gw'endiga ogwa Katonda AGGYAWO EBIBI BY'ENSI."
(Yokana 1:29).
Ffenna
twayonoona era ffena tufugibwa okufa; naye Yesu yafa mu kifo kyaffe,
Yafuuka "ekibi ku lwaffe" Yasasula ebbanja lyaffe ery'okufa.
Okufa kwe kirabo era "EKIRABO KYA KATONDA bwe BULAMU OBUTAGGWAAWO
mu Kristo Yesu Mukama waffe" (Abaruumi 6:23).
Yesu
yawaayo obulamu bwe obutukuvu obutuukiridde ng'ekirabo eky'okutwagala
ffe. Okwagala okufaanana ng'okwo kussukirira okutegeera kwaffe okw'obuntu.
Era olw'okufa kwe okwo "tulina EMIREMBE ne Katonda" (Abarumi
5:1).
(4)
YESU YAZUUKIRA MU BAFU
Okufa kwa Yesu ku musaalaba eyo si ye yali enkomerero y'obulamu bwe
obw'ekitalo. Singa yasigala mu ntaana teyandibadde mulokozi waffe.
Agamba
bwati: "Oba nga Kristo teyazuukira, okukkiriza
kwammwe tekuliiko kye kugasa, era mukyali mu bibi byammwe. Era n'abo
abaafa nga bakkiriza Kristo, baazikirira." - 1 Ab'ekolinso 15:17,18.
Muhamade
ne Buddha baaleetera ensi eno amazima amakulu ag'amagezi. Gakoze ku
bulamu bw'abantu obukadde n'obukadde, naye tegalimu maanyi okuwa abantu
obulamu kubanga nabo bennyini bali mu ntaana zaabwe.
Kubanga
Yesu ku lunaku olw'okusatu oluvannyuma lw'okufa kwe yazuukira okuva
mu ntaana ye, bisuubizo ki by'asobola okutuwa?
"Kubanga
nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu." - Yok 14:19.
Kubanga
ye mulamu. Kubanga alina obuyinza ku maanyi ag'okufa, ayinza akutulokola
okuva mu kufa, era n'atuwa obulamu obwo obungi ate era obw'emirembe
n'emirembe. Ajja kubeera mu mitima gyaffe singa nga tumuyita okujja
okuyingiramu. Omulokozi eyazuukira w'ali okukola ku byetaago byaffe
leero.
Agamba
nti: "Nange ndi wamu nammwe okutuusa ensi
lw'eriggwaawo." - Matayo 28:20.
Abaami
n'abakyala okwetoloola ensi yonna bawa obujulirwa engeri Kristo gye
yalokola obulamu bwabwe mu mize egisingira ddala okuba emibi ne mu bulumi
obw'ebirowoozo.
Omu
ku bayizi baffe abasooka yawandiika ebigambo bino ku kapapula ke kwe
yaddiramu ebibuuzo, nga yeebaza nti: "Nnali mutamiivu lujuuju,
olunaku olumu nga ndi mu kunywa omwenge gwange, nnalaba kaadi mu bisasiro
ng'eranga eby'okuyiga ebya Bayibuli ebyammwe. Nnagironda, ne ngijuza,
era ne nfuna okumanya kwange okw'amazima ku Kristo. Nga mmaze okusoma
eby'okuyiga byange, nnawayo omutima gwange eri Katonda era n'omwenge
tegwaddayo kumpommera."
Yesu
bwe yeemala obulamu bw'omusajja ono, amaanyi amaggya gaamuwa obuyinza
okuwangula obuutamiivu bwe. Kubanga Yesu ye mulokozi eyazuukira, ayinza
okulokola bonna abajja gyali olw'okubayamba.
(5)
YESU YAGENDA MU GGULU
Yesu
nga tannaba kuddayo mu ggulu naye ng'amaze okuzuukizibwa (Bikolwa 1:9),
Abagobereezi be yabasuubiza nti:
"Omutima
gwammwe tegweralikiriranga; mukkiriza Katonda era nange munzikirize.
Mu nyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeeramu
kubanga
NG'ENDA KUBATEEKERATEEKERA EKIFO
Era oba nga ng'enda okubateekeerateekera
ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gyendi, nze gyendi, nammwe mubeere
eyo." - Yokana 14:1-3.
(6)
OKUWEEREZA KWA YESU NGA KABONA MU GGULU
Yesu buli kiseera anoonya okulaba ng'atuteekateeka olw'ebifo eby'omu
ggulu.
Agamba
bwati: "Kyekyava kimugwanira mu byonna
okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeere nga KABONA ASINGA OBUKULU
ow'ekisa omwesigwa mu bigambo ebiri eri Katonda, olw'okutangirira ebibi,
by'abantu, kubanga olw'okubonyaabonyezebwa ye yennyini ng'akemebwa,
kyava ayinza okubabeera abo abakemebwa." - Abebbulaniya 2:17-18.
Yesu
yajja mu nsi yaffe eno "okutangirira ebibi by'abantu" era
n'okutununula okuva mu bunaku n'obuddu obw'ekibi. Yafa okutulokola alyoke
aggirewo ddala ensibuko y'ekibi, okubonnabona n'okufa ng'azikiriza Setani.
Yesu
Kabona waffe asinga obukulu "yafaananyizibwa mu byonna baganda
be" Era kaakano buli kaseera alabika mu maaso ga Kitaffe ku lwaffe
ng'omutabaganya waffe. Yesu oyo yennyini eyawa omukisa abaana, eyabuddabudda
omukazi eyakwatibwa mu bwenzi, era eyasonyiwa omubbi eyali afiira ku
musaalaba, mu kiseera kino ali mu ggulu ng'aweereza olw'ebyetaago byaffe,
ng'ayamba "abo abakemebwa."
(7)
YESU AJJA KUDDA
Nga tannaba kuddayo mu ggulu, kisuubizo ki Yesu kye yakola?
Eky'okuddamu
kiri nti: "Era obanga ng'enda okubateekerateekera
ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gyendi; nze gyendi, nammwe mubeere
eyo." - Yok 14:3.
Yesu
bw'anaakomawo, ajja nakutulokola okuva mu kibi, endwadde, obucwano,
n'okufa ebiruma ensi yaffe eno. Era ajja kututwala mu nsi empya omuli
essanyu eritaggwaawo era n'obulamu obw'emirembe n'emirembe.
4.
OKWAGALA OKUTALEMERERWA
Olugero
lwogera ku bufumbo obwateekebwateekebwa mu Taiwan wakati w'omusajja
Ulong n'omuwala omuto ayitibwa 'Kimuli kya Zzaabu.' Omwami Ulong bwe
yaggya akatimba ku mukyala ng'omukolo ogw'okkugatta guwedde, yeekanga,
n'atayagala na kuddayo kumutunulako. Ekyenyi ky'omukyala kyali kijudde
enkovu eza kawaali.
Ng'ebyo
biwedde, Ulong teyayagalanga kukolagana ne mukyala we. Omukyala yagezangako
okukola kyonna kyasobola okumusanyusa, era yakolanga emirimu mingi mu
maka ng'alowooza nti omwami we oluvannyuma alimukkiriza. Naye omwami
yasigala nga munyiikaavu eri essanyu ery'okwagala eryamulagibwanga.
Oluvannyuma
lw'emyaka kkumi n'ebiri egy'obufumbo obw'okwekwasa. Ulong amaaso ge
gombi gatandika okuziba. Omusawo yamugamba nti ajja kuba muzibe w'amaaso
singa emmunye z'amaso ge tezirongosebwe ne bateekamu endala. Naye okulongoosa
kwali kwetaaga ensimbi nnyingi era waaliwo abantu bangi abaali balindiridde
okulongoosebwa, n'olwekyo yali wa kulinda ebbanga ddene.
Kimuli
kya Zzaabu yatandika okukolanga ekiseera kyonna olw'okufuna ensimbi.
Olunaku lumu Ulong yategeezebwa nti waaliwo omuntu omu eyali afunye
akabenje k'emmotoka n'afiirawo era ne bamujjako emmunye ze. Ulong yatwalibwa
mangu mu ddwaliro okulongoosebwa.
Ng'awonye,
mu maddu amangi yaayagala okulaba mukyala we amwebaze olw'okupakasa
ensimbi ezamujjanjaba. Omukyala bwe yakyusa omutwe gwe asobole okumutunuulira
omwami Ulong n'amuvumbagira. Omukyala yatunuliira omwami we ng'amaaso
gaddugadde tegalaba nga n'emmunye ze baziggyemu. Omwami ng'essanyu eringi
limuyitiridde yaggwa wansi n'akaba. Era guno gwe gwali omulundi gwe
ogusooka omwami okwatula erinnya lya mukyala we "Kimuli kya Zzaabu."
Yesu
ayagala nnyo abe n'enkolagana n'abo ababadde bannanfuusi gyali okumala
ebbanga eggwanvu. Ayagala ffe eky'enkomerero tumwatuule erinnya lye
ng'omulokozi waffe.
Yesu
yamalirira okuwaayo, si maaso ge gokka, naye yawaayo omubiri gwe gwonna
asobole okulaga okwagala kwe okutalemererwa. Okwagala kwe kwa maanyi
nti Kristo "yajja mu nsi okulokola abalina ebibi" (1 Timoseo
1:15).
Ssaddaaka
ya Yesu enkulu yateekawo olutindo olubikka obunnanfusi bwaffe era n'obunnaggwanga
bwaffe. Ggwe kennyini wali okizudde Kristo ayagala okukuyisa ku lukonko
akuteeke mu mikono gye? Onookkiriza era n'osaba nti. "Yesu nkwagala.
Weebale nnyo olwa ssaddaaka yo ettekkirizika. Jangu mu mutima gwange
ondokole kaakano - Ndokola nzenna bulambalamba, Ndokola ommaleyo, Ndokola
emirembe gyonna"?
YESU
YAJJA nga Katonda mu mubiri gw'omuntu.
YABEERA n'obulamu obutuukiridde mu kifo kyaffe.
YAFA ol'webibi byaffe.
YAZUUKIRA okutulokola mu kufa
YAGENDA MU GGULU Okututeekerateekera amaka mu Ggulu.
AWEREEZA buli lunaku nga Kabona waffe
AKOMAWO MANGU okututwala Tubeere naye emirembe gyonna.