ENTEEKATEEKA OLW'OBULAMU BWO

Ng'omusumba amaze okwogera ku ky'okuyiga ekigamba nti "Ensonga lwaki nzikiriza mu Yesu Kristo" Omusajja omuvubuka eyali ayambadde obulungi yamukyalira ng'ali mu kuyiga kwe era n'ayogera bwati: "Eky'okuyiga kyo olwa leero kibadde kisanyusa nnyo, naye buli kintu kyonna ky'oyogedde ku Kristo wakigye mu Bayibuli yo. Ntegeeza, obanga Yesu Kristo yali abaddeko ku nsi kuno, lwaki ebyafaayo tebimwogerako?"

Omusumba nga bw'anoonya mu bitabo bye ebingi yamuddamu bwati: "Ekyo kibuuzo kirungi. Naye amazima gali nti ebyafaayo byogera ku Yesu Kristo."

Omuvubuka yaddamu nti: "Ekyo nze kennyini kye nnayagadde okulaba."

Omusumba yamugamba nti: "Wano waliwo ebbaluwa eye 97 ey'ekitabo ekye 10 eky'ebbaluwa za Pliny omuto, omufuzi Omurooma mu Bithynia ekitundu ekya Asiya entono ey'edda. Pliny yawandiikira Trajan omufuzi w'obwakabaka bwa Abarooma ng'amutegeeza ku bintu ebyaliwo mu kitundu kye. Wano yali yeebuuza amagezi engeri gye yali agenda okukwatamu enzikiriza empya ey'abakristayo. Yamutegeeza ku kukulakulana kwabwe okw'amaanyi era ne ku nnyimba zaabwe ze bayimba ezakung'anyizibwa omukulembeze waabwe Kristo. Pliny ebbaluwa ye eno yagiweereza mu mwaka nga 110 AD. Ebbaluwa ya Pliny ewa obukakafu obw'ebyafaayo by'omusajja ayitibwa Kristo era ne ku kusaasana kw'enzikiriza ye mu kiseera eky'Abatume be."

Nga bwe yeewuunya omuvubuka yaddamu n'agamba nti: "yongera okuntegeezayo ebirala."

Omusumba ng'eno bw'abikkula ekitabo ekirala yamwongerako na kino nti: "Omusajja omulala ow'ebyafaayo eyaliwo mu kiseera ekya Pliny yali Tacitus. Mu kitabo kye omuwandiikibwa ebyo ebiba bibaddewo okuyita mu mwaka (eky'e 15 Essuula eya 44), atutegeeza obukyayi bwa Nero era n'obw'okuyigganyizibwa kwa Abakristayo mu kiseera ekibuga Ruumi we kyayokerwa omuliro. Tacitus annyonnyola erinnya 'Abakristayo' nga bwe lyava mu linnya 'Kristo.' Agamba nti Yesu Kristo, omutandisi w'eddiini y'Abakristayo yattibwa omufuzi Pontiyo Piraato, eyali omufuzi mu Bayudaaya, mu kiseera eky'okufuga kwa kabaka Tiberio omuruumi. Ebigambo byonna, n'amannya Tacitus by'atuwa by'ebyo byennyini ne Bayibuli by'etuwa."

Omugenyi yaddamu nga yeewuunya nti, "omusumba nali simanyi nti ebintu ng'ebyo mu byafaayo by'ensi nabyo mwebiri."

Omusumba n'amwongerako na kino nti: 'Njagala weetegereze nti mu mwaka nga ogwa 180 AD Celsus yawandika ekitabo ng'alumba abakristayo, alaga nti mu kiseera ekyo abakristayo baali bafuuse ba maanyi nnyo omuntu yenna okulwana nabo.

Omusumba yagenda mu maaso n'amugamba nti: "Singa g'okyabuusabuusa, jjukira nti enjiri enya nabyo byafaayo ebifaanana ng'ebitabo bino ebya bulijjo."

Omuvubuka ono bwe yakikakasa nti ebyafaayo by'ombi; ebitukuvu n'ebyo ebya bulijjo bikkiriziganya nti Yesu yabeerako ku nsi ng'omuntu, n'avaawo n'agenda ng'amatidde nti ddala Yesu Kristo mu byafaayo mw'ali.

1. KRISTO YALIWO OKUVA EMIREMBE GYONNA

Yesu teyali muntu mulungi kyokka, naye ye Katonda. Yesu kennyini kiki kye yayogera ku ebyo ebikwata ku bwa Katonda bwe?

"Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mu mutegera era mumulabye… Alabye ku nze ng'alabye ku Kitange." - Yok 14:7-9.

Singa oyagala okutegeera eky'okuddamu ku kibuuzo ekigamba nti: 'Katonda y'ani?' Era afaanana atya? Tunula bulungi ku Yesu ayogera nti:

"Nze ne Kitange tuli omu." - Yok 10:30.

Katonda Kitaffe ne Yesu omwana baaliwo okuva emirembe gyonna (Bebbulaniya 1:8). Tewabeerangawo kiseera Yesu lw'ataali wamu ne Katonda kitaawe. Kitaffe alina okwagala kwe kumu era n'okufaayo kwe kumu eri buli muntu, ng'okwo okwalagibwa Kristo mu kiseera kye kyeyamala ng'ali ku nsi.

2. KRISTO, OMUTIMA GW'EBYAFAAYO ERA N'OBUNNABBI

Okuva ng'obulamu bwa Kristo bwe butuukiriza obunnabbi, ebikwata ku bulamu bwe byali byawandiikibwa dda nga tannaba kuzaalibwa. Obunnabbi obw'Endagaano Enkadde bulaga bulungi obulamu bwa Kristo, okufa kwe, n'okuzuukira kwe nga tebinnabaawo. Endagaano Empya bye byafaayo by'obulamu bwe ebituukiriza ebyayogerwa edda. Okuviira ddala mu myaka nga bitaano okutuusiza ddala emyaka lukumi mu bitaano emabega nga Kristo tannaba kuzaalibwa, bannabbi ab'Endagaano Enkadde emirundi mingi baalagulanga ebyo byennyini ebyali ku bulamu bwa Kristo. Okuviira ddala ku ntandikwa y'omulimu gwa Kristo ku nsi, abantu bwe bagerageranyanga obulamu bwe n'ebyo ebyalangibwanga mu bunnabbi obw'Endagaano Enkadde kiki kye baakakasa?

"Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, - Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaalesi." - Yokana 1:45.

Omulokozi waffe naye yajuliza ku kutuukirira kw'obunnabbi okukakasa bw'ali oba ekyo kye yali.

"Nasookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n'abategeeza mu byawandiikibwa ebyo byonna (Endagaano Enkadde) ebyamuwandiikirwa ye." - Luka 24:25-27.

Okutuukirira kw'obunnabbi kuwa obujulizi obumatiza nti Yesu ye Kristo omununuzi eyasuubizibwa.

3. OBULAMU BWA YESU KRISTO KWALI OKUTUUKIRIRA KW'OBUNNABBI

Leka tulabe obumu ku bunnabbi buno okuva mu Ndagaano Enkadde era n'okutuukirizibwa kwabo mu Ndagaano Empya.

EKIFO KY'OKUZAALIBWA KWE
Obunnabbi obw'omu Ndagaano Enkadde bugamba nti:
"Naye ggwe BESIREKEMU Efulasa; ggwe omuto okuba mu nkumi za Yuda, mu ggwe mwe muliva gye ndi aliba omufuzi mu Isiraeri; okutambulatambula kwe kwa dda na dda, emirembe nga teginnabaawo." - Mikka 5:2.
Okutuukirira kwabwo mu Ndagaano Empya:
"Awo Yesu bwe yazaalibwa mu BESIREKEMU eky'e Buyudaya." - Matayo 2:1.

OKUZAALIBWA KWE N'OMUWALA EMBEERERA
Obunnabbi oby'omu Ndagaano Enkadde bulaga nti:
"Laba, OMUWALA ATAMANYI MUSAJJA aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri. - Katonda ali naffe." - Isaaya 7:14.
Okutuukirira kwakyo mu Ndagaano Empya.
"Yusufu omwana wa Daudi, totya kutwala Maliyamu mukazi wo, KUBANGA OLUBUTO LWE LWA MWOYO MUTUKUVU. Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye Yesu - MUKAMA alokola. Kubanga ye y'alirokola abantu be okuva mu bibi byabwe." - Mat 1:20-23.

OKUZAALIBWA KWE MU LUNNYIRIRI LWA YUDA
Obunnabbi mu Ndagaano Enkadde bugamba nti:
"EFFUMU LYA KABAKA (ENTEBE YA KABAKA) TERIIVENGA KU YUDA… okutuusa Siiro lwallijja." - Luberyeberye 49:10.
Okutuukirira kwabwo mu Ndagaano Empya wagamba nti:
"Kubanga kitegeerekese nga MUKAMA WAFFE YAVA MU YUDA." - Abebbulaniiya 7:14.

OKUGAANIBWA KWE
Obunnabbi mu Ndagaano Enkadde bulaga nti:
"Yannyoomebwa N'AGAANIBWA abantu." - Isaaya 53:3.
Okutuukirira kw'obunnabbi obwo mu Ndagaano Empya:
"Yajja mu matwale ge, naye ABAALI MU MATWALE GE TEBAAMUSEMBEZA." - Yok 1:11.

OKULIIBWAMU KWE OLUKWE N'OMUWENDO GW'ENSIMBI ZE BAAMUSASULA
Obunnabbi mu Ndagaano Enkadde bugamba nti:
"Era ne MUNNANGE MUKWANO GWANGE NZE, gwe nneesiga, eyalyanga ku mmere yange, ansitulidde ekisinziiro kye." - Zabbuli 41:9.
"Ne mbagamba nti oba kirungi mu maaso ga mmwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange EBITUNDU ASATU EBY'EFFEEZA." - Zekkaliya 11:12.

Okutuukirira kwabyo mu Ndagaano Empya:
"Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu, n'agamba nti mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya FFEEZA AMAKUMI ASATU." - Matayo 26:14,15.

OKUFA KWE KU MUSALABA
Obunnabbi obw'omu Ndagano Enkadde bulanga nti:
"Bampummudde ENGALO ZANGE n'ebigere byange." - Zabuli 22:16.
Okutuukirira kw'obunnabbi obwo mu Ndagaano Empya:
"Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Kiwanga, ne BAMUKOMERERA AWO." - Luka 23:33. (Yongera okusoma Yokana 20:25).

OKUZUUKIRA KWE OKUVA MU NTAANA
Obunnnabbi obw'Endagaano Enkadde bugamba nti:
"Kubanga TOLIREKA MMEEME YANGE MU MAGOMBE; so toliganya Omutukuvu wo okulaba okuvunda." - Zabbuli 16:10.
Okutuukirira kw'obunnabbi obwo mu Ndagaano Empya:
"Bwe yalaba oluberyeberye, n'ayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga TEYALEKEBWA MU MAGOMBE so nga n'omubiri gwe tegwavunda, Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, ffenna ffe bajulirwa." - Ebikolwa by'abatume 2:31,32.
Obujulirwa bwa maanyi nti Yesu teyaliiwo kutuukiriza obumu ku bunnabbi.
Obulamu bwe bwawandiikibwa dda ne nkola ey'omu ggulu. Mu mazima, Yesu mwana wa Katonda. Nga tumaze okulaba ku bujulirwa obwo, twetaaga okusaba okw'okumalirira ku ani anabeera Mukama ow'obulamu bwaffe. Singa nga kino tokikolanga, nkusaba oteeke obulamu bwo mu mikono gya Yesu.

4. OBULAMU BWATEEKEBWATEEKEBWA KATONDA

Yesu yabeera mu bulamu obwateekebwateekebwa Katonda, obwo obwalagibwa ebikumi by'emyaka emabega nga tannazaalibwa. Bulijjo ng'amanyi ensonga eno, yabeeranga mwangu eri obukulembeze bwa Katonda. Kristo yagamba nti:

"So nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza… Kubanga nkola bulijjo by'asiima." - Yok 8:28,29.

Katonda yateekateeka obulamu obw'omuntu obwa Yesu nga tanaaba kuzaalibwa era Katonda alina enteekateeka eya buli muntu. Amanyi buli omu ku ffe ky'ayinza okutuukiriza mu kwetaaga kwaffe okw'omu nda era ne tufuna obulamu obungi.

Ray bulijjo teyali mukakafu nti yeetaaga okugondera enteekateeka ya Katonda. Naye bwe yatuuka ku kusalawo okukulu okw'okulondawo essomero gy'anaagenda okusomera, mu kiseera kino, nga gwe mulundi gwe ogusooka mu bulamu yasalawo okunoonya obukulembeze bwa Katonda. Yasabira ennaku eziwerako era n'agezako okuwuliriza okuddibwamu. Oluvannyuma lw'ekiseera yafuna ensonga ezitegerekeka entuufu lwaki yali ateekwa okulonda Option B, kubanga ebisale byalyo byali wansi, ate nga ddene bulungi ate nga teririmu kyekubiira. Nga yakamala okutandika okuyiga yakwanagana n'abakristayo abeewuunyisa, abaali mu kibiina ekiyitibwa Campus Crusade ekya Kristo. Mu myaka ebiri emirala egyaddirira yafuna okukyuka okw'ekitalo mu bulamu bwe.

Mu kiseera kino, Ray bw'atunula emabega yeetegereza nti buli kiseera ayolekedde okulondawo okukulu, era n'anoonya obukulembeze bwa Katonda. 'Katonda yaggulawo essuula empya ey'obulamu bwange' Ray bw'atyo bwe yagamba.

Tusobola tutya okutegeera enteeketeeka ya Katonda olw'obulamu bwo? Katonda akulembera abantu ng'abayisa mu makubo mangi:
(1) BAYIBULI
Okusinziira ku muwamdiisi wa Zabbuli kitabo ki ekikulembera obulamu?
Agamba bwati: "Ekigambo kyo y'etabaaza eri ebigere byange n'omussana eri ekkubo lyange." - Zabbuli 119:105.
Ekigambo kya Katonda kizza bugya ebirowoozo byaffe era ne kituwa okulaba (Balumi 12:2, Zabbuli 119:99). Okuyiga okw'okusaba okwa buli lunaku mu byawandiikibwa ebitukuvu ly'ekkubo erisingira ddala obulungi.
(2) EBIKOLWA BYA KATONDA
Katonda era naye atukulembera ng'ayita mu bikolwa bye eby'obwakatonda by'ateeseteese. Zabbuli eya 23 emulaga mu kifaananyi eky'omusumba omulungi. Omusumba akulembera endiga ze okuziyisa mu malundiro ag'omuddo omulungi ne mu nkonko ez'amayinja. Tulina omusumba bulijjo ali okumpi ku lusegere lwaffe.
(3) KATONDA OKWOGERA OBUTEREEVU ERI OMUTIMA
Katonda atukulembera ng'ayogera buterevu eri ebirowoozo byaffe. Omwoyo ayinza okuwa omusana "amaaso ag'omutima gwammwe" (Abaefeso 1:18). Gye tukoma okussa mu nkola okwogera ne Katonda gy'akoma okutukulembera. Azimba ebirowoozo awamu n'okutegeera kwaffe, era n'okutegeera tube abasobola okulaba bulungi eddaala eriddirira lye tuggwanye okulinnyako.

5. EBIKULEMBERA BITEEKWA OKUKKIRIZIGANYA

Kisoboka omuntu okulowooza nti ali mu bulamu obwateekebwateekebwa Katonda so nga agobeerera obukyamu bwe na birowoozo bye (Ngero 16:25). Okwewulira kwaffe mu mibiri kuteekwa okuba nga kukkiriziganya n'enjigiriza ya Bayibuli. Tuba tetunafuna mirembe bwe tugamba nti Katonda atukuulembedde okugggyako nga ebitukulembera ebisatu bikkiriziganya.

Twala Jake nga ky'eky'okulabirako: Yalina omukyala omwagalwa era n'abaana baabwe babiri, naye ate eky'ennaku n'akwanayo omukazi omulala. Olwo n'alyoka agamba mikwano gye nti: "ekyo nnakisabidde era muli mpulira okwo kwagala kwa Katonda."

Engeri Jake gye yeewuulira mu era n'okutegeera kwe okw'omu nda kiteegerekeka bulungi nti bye byamussa wansi mu kkubo ekyamu. Yakirowooza nti kyali kikolwa kya Katonda okusisinkana n'omukyala we ow'okubiri era teyaddayo mabega kujjukira nti Bayibuli ewakanya obwenzi. Era Bayibuli "amateeka n'obujulirwa," ky'ekitabo eky'obuyinza ekitukulembera, era omulamuzi asembayo olw'okusalawo eky'okukola ekituufu (Isaaya 8:20). Tetuuteekwa kukkiriza ekirowoozo kyonna oba ekikolwa ekirabika ng'ekya Katonda okutukulembera okutuggya ku mateeka ga Bayibuli.

6. GONDERA ENTEEKATEEKA YA KATONDA

Sitaani bwe yajja okukema Yesu mu ddungu, yamuleetera ekirowoozo nti: "Singa nga oneewala ssaddaaka ey'obuuami Kitaawo gye yakuteekerateekera, nja kukuwa ensi yonna mu mukono gwo - ng'olina etutumu, emikisa, era obulamu obujudde emirembe." Sitaani n'okkujuliza yajuliza n'ebyawandiikibwa okugezako okukulembera Yesu okumukyamya. Naye buli kiseera Yesu yamulwanyisanga n'ekigambo nti "Kyawandiikibwa" (Matayo 4:1-11).

Eky'okuyiga kimu eky'obuyinza kye tusobola okuyiga okuva ku bulamu bwa Yesu; kwe kugondera okwagala kwa kitaawe. Newankubadde bwe yali mu bulumi obw'ekitalo obw'omu Gesessumani, yeegayirira nti, "Ayi Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala, wabula nga gwe bw'oyagala" (Matayo 26:39). Oluvannyuma lw'emyaka esatu egy'okuweereza kwe, buli lunaku ng'ali bumu n'enteeketeeka ya Kitaawe. Yesu ng'afa ebigambo bye byali nti: "Kiwedde" (Yok 19:30). Mu butuufu Yesu yali agamba nti, "obulamu bwange Katonda bweyanteekerateekera kaakano mbumaliriza era mbutuukirizza."

Nga otandika okuwulira eddobozi lya Katonda nga lyogera mu ngeri etegeerekeka okuyita mu kigambo kye, ne mu bikolwa ebya Katonda, era ne mu birowoozo byo; okyasobola okuyiga okukkiriza obukulembeze bwe n'omutima gwo gwonna. Era naawe okyasobola okuzuula essanyu ery'obulamu bwo obwateekebwateekebwa era ne bukulemberwa Katonda.

 

copyright © 2002 The Voice of Prophecy